Comment of The Week

This topic contains 14 replies, has 6 voices, and was last updated by  Kalibattanya 7 years ago.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 15 total)
  • Author
    Posts
  • #19031

    Kalibattanya
    Participant

    Muyige empisa z’omu bantu
    BKD Thursday, 14 October 2010

    ENGERI abantu gye beeyisaamu ennaku zino ekwasa ennaku. Abakulu n’abato bonna kumpi beeyisa mu ngeri y’emu era tuswala nnyo. Bangi tebakyafaayo ku lulimi lwe bakozesa mu bantu, batambula balya n’ennyambala

    Otuula mu takisi ne weenyiwa anti nga kumpi buli ayingira aliko ekikyamu. Abavubuka bagenda ne bayingira nga beegaaya ate nga baswankula. Bakitwala nti ateegaaya tali ku mulembe.

    Abantu abakulu abamu bava mu wooteeri gye baliiridde emmere ne basalawo okwesokoola amannyo mu takisi. Kuno bagattako n’okwesokoola ennyindo nga tebalina na butambaala.
    Abantu abamu banyumya boogerera wagulu kyokka nga n’emboozi gye baliko eba ebaswaza naye bbo nga tebafaayo.

    Ennyambala y’abawala nayo yeesittaza.Bannange nsaba musigaze ekitiibwa kyammwe ekya bannakazadde b’eggwanga naye bwe munaakula mutyo, olwo abaana be munaazaala banaabaamu akanigguusa? .
    Kibirige Charles Kalwanga-Kalisizo Rakai

    #27225

    Ndibassa
    Participant

    Kati nno gatako bano ba term egenda abalowooza nti teri lwankya:dry: bagamba nti owemuka e Bunyolo nga talidda Buganda

    #27229

    Alex Kigongo
    Participant

    Mwambale bulungi ku mikolo okuli Kabaka
    Bukedde Thursday, 04 November 2010
    NNEEBAZA abantu okulaga okwagala eri Ssaabasajja. Mu bifo gy’anaakyala abantu bajjumbira okugendayo era abamu ne bayimirira ne mu makubo okumulinda bamulage ku ssanyu.

    Kino kizzaamu amaanyi era kijja kutuyamba nga Abaganda okugenda mu maaso. Abaana balabira ku bakulu bye balina okukolera Kabaka eggwanga lyaffe ne litafa.

    Wabula waliwo ennyambala etensanyusa ku mikolo okuba Kabaka. Abawala abamu bambala empale empavu ate ne beetala.

    Nsaba bw’oba onooba ku mukolo ofube okwambala busuuti n’amakanzu okuli ekkooti emikolo tugiweese ekitiibwa ate tuleme kukunamira Kabaka.
    Allen Nakyanja, Kawuku

    #27308

    Mulongo
    Participant

    Abayimbi temukyusa mannya
    Thursday, 09 December 2010
    NSABA okutuusa okwemulugunya kwange kuno eri abayimbi naddala abaganda nti lwaki mweggyako amannya gammwe ag’obuzaaliranwa ne mwetuuma amannya g’ebisolosolo?
    Kyemuvudde mukyusa ne mu nneeyisa ne mutandika okweyisiza ddala ng’ensolo.

    Abayimbi abasinga obututumufu era b’ebo abakozesa amannya gaabwe ag’obuzaaliranwa. Okugeza: Kafeero, Basudde, Mayinja, Ssemakula, Lutaaya, Elly Wamala n’abalala.

    Ekirala abayimbi bano era be basinga empisa n’obukkakkamu. Kale buli lwe mwetuuma g’ebisolo mujja kweyisiza ddala ng’ensolo.

    Kibirige Charles, Kalwanga-kalisizo, Rakai.

    #27309

    Efulansi
    Participant

    Kiriza oba gaana, week eno, eno comment yesinga okuba eyekisilu. Deputy superintendent, agamba atya abantu okumwa ebitundu ebye kyaama? Abantu bano tebewamu katibwa yadde! Bano abasajja kuzikilira kwenyini, kyebavudde bamalawo Uganda. Eeee ee Abaganda tulina kusala magezi mangu ddala!!!

    ‘Abajja e Mulago musooke kwemwa’
    Friday, 10 December 2010 10:42
    “TUKOOYE okukwata ku balwadde abajama” Bwatyo amyuka akulira eddwaaliro ly’e Mulago Dr. B.B Byarugaba bwe yagambye mu lukiiko olwatudde okukubaganyizaako ebirowoozo ku Mulago w’atuuse.
    Dr. Byarugaba yasabye abalwadde abagenda e Mulago okusooka okwemwa mu bitundu eby’ekyama, enkwawa, okusenya amannyo, okwoza n’okunaaba kuba nabo ng’abasawo basanga obuzibu okujjanjaba omulwadde omujama.

    #27314

    Namukaabya
    Participant

    Oluusi waliwo abagwa mu mirimu nga te gyaali gyaabwe mu kusooka oli bwebamujja mukiraalo nebamugamba akulire kino nakiri byeebyo byowulira naye bwemuba te mwekanasangako biraalo byante zammwe nganenkuba eto nya nemumaala nensisira zammwe nobusa , lwaaki aba yefuula owe kitalo ddayo e Mbalala oba e Rwakitula gyooba ojjanjabira , mbadde abantu mwe mubalyaako ssente ezandiguze colgate ne ssabuuni , ate nemutakoma awo nga ne mudwaliro gyemujja gyebaweera sente zo musolo okubagulira eddagala nayo gonna mugabba yo ate nemusigala nga mubasaba sente .
    Temwalabako nga Baganda bakyekwatira mu byo bufuzi nti buli kimu kyaali kitambula
    kati bano bazze banyaze buli kimu ate bawooza ne waafu

    #27397

    Kalibattanya
    Participant

    Okusosola mu ddiini kuzza mabega Okusosola mu ddiini kuzza mabega
    Thursday, 13 January 2011
    NSINZIIRA ku bigambo bya Sheikh eyali omugenyi omukulu ku mukolo e Lwamasaka, Ngando mu dduwa y’okukulisaayo mutabani w’omugenzi Hajji Sulaiman Sengendo

    e Mecca bwe yagambye mbu Essaza Butambala lirina kukulemberwa ‘bantu baabwe’ n’avumirira eky’abatuuze okulonda omubaka omukyala owa Disitulikiti mu palamenti ne ssentebe w’eggombolola y’e Ngando bombi be yagambye nti si baabwe. Yawagiddwa nnyo abaabaddewo olw’ebigambo bino.Wabula ndowooza nti bwe tuba tulonda tuleme kukulembeza nnyo ddiini, mawanga n’ebirala ng’ebyo wabula tulonde busobozi lwe tujja okutuuka ku nkulaalakulana.
    E Butambala eriyo n’abenzikiriza ez’enjawulo nga bwe tunaatandika okusosolagana kiyinza okuleeta obuzibu.

    Herman J. Zziwa, 0772847356.

    #27400

    Mulongo
    Participant

    Abeesimbawo tekyetaagisa kuba bayigirize – Muliika
    Bya Godfrey Lukanga

    KATIKKIRO wa Buganda eyawummula Daniel Muliika agambye nti Ssemateeka w’eggwanga asaana kukyusibwa muggyibwemu akawaayiro k’obuyigirize ku bannabyabufuzi abeesimbawo okuvuganya ku bifo eby’enjawulo.

    “Bwe kibeera kyetaagisa gavumenti eteekewo abataputa mu Palamenti n’ebifo ebirala ebyetaagisa ebbaluwa z’obuyigirize. Okuteeseza eggwanga tekyetaagisa bbaluwa za buyigirize wabula kyetaaga bantu abalumirirwa eggwanga abamanyi n’ebyetaago bya Bannayuganda” Muliika bwe yategeezezza.

    Bino Muliika yabyogeredde mu musomo gw’okukubaganya ebirowoozo mu ngeri y’okutumbula demokolasiya ow’ekimmemmette mu ggwanga ku yunivasite e Makerere ogwategekeddwa ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu ebyakulembeddwa ekibiina kya ‘Human Rights and Peace Centre’ ku Lwokuna.

    Published on: Saturday, 15th January, 2011

    #27434

    Mulongo
    Participant

    Akalowoozo k’omukunngaanya
    Musasi Waffe

    Abaganda tuli mu kulya naye Katonga ajjula.

    Buli omu asitukiremu tulwanyise obuseegu, era ndowooza nti essaawa y’eno abantu ba Ssaabasajja ffenna tusitukiremu tulwanyise obuseegu.

    Abalondoola omutindo gw’e byamawulire gye buvuddeko baavaayo ne babaako emikutu gya leediyo gye baggalawo, nga bagamba nti gyali tegituukiriza bisaanyizo bisookerwako. Ffe abatali Bannamateeka twalemwa okumanya amakulu g’ebisaanyizo ebisookerwako, naye tulowooza nti waliwo n’emikutu gy’amawulire emirala egyetaaga okukolwako n’amaanyi.

    Abo mbavuddeko, naye abantu ba Ssaabasajja mbasaba muveeyo bukuukuubira okulwanyisa agayisa agavundu ge tulowooza nti abagaleese wano era abafuba okugatumbula bawendule era ekigendererwa kyabwe kya kusaanyawo Buganda mu by’empisa.

    Kye njogerako ze mpapula z’amawulire enngwenyufu, ezifulumya ebifaananyi ebiwunya ng’ebyawongo ebyesittaza buli muntu abikubako ekimunye. Ebifaananyi bino babiwereekereza ebigambo eby’obuwemu ennyo ebitakkirizibwa mu nnono zaffe kwasanguzibwa mu lujjudde.

    Bannannyini n’abafulumya empapula zino simanyi mawanga gaabwe, yadde obuwangwa bwabwe, naye ekinnuma kwe kudibaga olulimi lwaffe Oluganda, era oboolyawo sanditidde nnyo singa bawandiika mu nnimi ndala, naye ekinduguda, kwe kulinnyirira empisa zaffe bo ne balowooza nti mu kuwemula n’okwesittaza abantu baffe, nga mw’otwalidde n’amabujje, mwe bagenda okuyoola omudidi gw’ensimbi.

    Mbuusabuusa nti Omuganda omugunjufu asobola okunaaba ensonyi mu maaso n’asalawo okusiiwuukira ddala empisa, okugenda nga amansa entungo awatali kukwatibwa yadde akafansonyi.

    Mu kitundu omuli amawulire agafulumya ebintu eby’obuwemu nga bino, n’agayisa agavundu agalala, ng’ekimansulo, abasajja abakwata abaana, bamalaaya abeetunda ku nguudo n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo temubyebalaabala.

    Abantu ba Kabaka musaana okukimanya nti luno lutalo lwennyini olwaggulwa ku buwangwa bwaffe n’empisa, era ye ssaawa muzuukuke twerwaneko. Okuggyako nga terwanyeeko kati naye omulembe ogugenda okutuddirira gugenda kubeera muwemufu nnyo, kati olwo Buganda efuuke ekivume olw’olulimi okuseeguwazibwa ate nga mukimanyi mwenna nti olulimi lye ggwanga.

    #28081

    Alex Kigongo
    Participant

    Kampala | May 05, 2014
    Bya Muwanga Kakooza

    GAVUMENTI eggye enta mu by’okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi mu Lubiri e Mmengo mu Kampala.

    Kino we kiggyidde ng’abamu ku Baganda bawakanya entegeka zino nga bagamba nti zijja kutaataaganya Olubiri. Abataka abakulu b’obusolya be baasooka okusimbira entegeka zino ekkuuli.

    Beegattiddwako abaana b’engoma nabo abaagenze ewa Katikkiro Charles Peter Mayiga okuwaayo ettoffaali ne balabula Katikkiro obutakkiriza ntegeka za kussa kisaawe kya nnyonyi mu Lubiri nga bagamba ennyonyi zijja kuleekaanira Kabaka n’ebifuta okumuwunyirira era Katikkiro n’abagumya nti Buganda tegenda kupapira ntegeka zino.

    Wabula akulira ekitongole ky’ennyonnyi mu ggwanga ekya ‘’Civil Aviation Authority’’ Rama Makuza eyabadde ne minisita w’eggwanga ow’ebyentambula John Byabagambi yagambye nti gavumenti ejje enta mu ntegeka z’okussa ekisaawe mu Lubiri.

    Baabadde mu kakiiko ka palamenti ak’ebyentambula nga baddamu ekibuuzo era omubaka Patrick Amuriat (Kaberamaido) kwe kubuuza wa entegeka zino we zituuse.

    Gavumenti yasooka kutegeeza nga bw’egenda okwogeraganya ne Mmengo ku nsonga eno ng’eyagala okussaawo ekisaawe ky’ennyonnyi ez’omunda mu ggwanga zisobole okugwa mu Kampala ng’essira lissibwa ku Lubiri oba mu Namanve mu kifo kya zonna okubeera e Ntebe awagwa n’eziva ebweru w’eggwanga.

    Wadde minisita Byabagambi yasoose okutegeeza nga Mmengo bwe yasimbira entegeka zino ekkuuli kyokka Makuza yagambye nti abakugu baakizudde nti Olubiri lufunda nga kizibu okussaawo ekisaawe ky’ennyonyi ne zifuna we ziddukira nga zigenda okubuuka oba okugwa.

    N’agamba nti n’eby’okukissa mu Namanve nabyo bikyali bizibu kuba okutambula mu mmotoka okutuukayo oba okuvaayo kitwala ebbanga ddene olwa jjaamu.

    Yagambye nti waliwo n’ensonga endala ez’ekikugu ezitangira ekifo ng’olubiri okussibwamu ekisaawe.

    Yagambye nti okukubaganya ebirowoozo ku kifo ekituufu awasaanidde okussibwa ekisaawe kukyagenda mu maaso.

    N’anokolayo Kajjansi w’agamba nti waliwo ennyonyi entono eziggwawo kati. Kabaka yassaawo akakiiko akaavunaanyizibwa ku nkulaakulana y’Olubiri kyokka ng’Abaganda bakyakubaganya ebirowoozo ku bizinensi ki eziyinza okussibwa mu Lubiri ne zitakosa byabuwangwa era nga zikuuma ekitiibwa ky’ekifo kino.

    Olubiri lwali luwambiddwa gavumenti ya Obote mu 1967 era Pulezidenti Museveni ye yaluddiza Mmengo kyokka nga kati lulimu ebitooke ebitonotono ne Twekobe nga tewali nkulaakulana nnene erya awo ekolerwamu.

    Olumu bavugiramu emmotfmoka z’empaka olulala ne mussibwamu ebivvulu.
    http://www.bukedde.co.ug/news/78044-obufunda-bw-olubiri-butulemesezza-okuluzimbamu-ekisaawe-ky-ennyonyi-minisita.html

    #28082

    Alex Kigongo
    Participant

    Dr. Apolo K. Kaggwa, Amerika.
    Okulandukira ku bitali byabwe bujja, nsaalwa na butamanya. Tebaagala buvunaanyizibwa kuddukanya byabwe. Baagala kiwedde, Buganda ebatuuseeko buli kye beetaaga, so nga bye begoomba biva mu ntuuyo. Ebyo bye bibagaana okweggya mu bwavu, so si Buganda gye bawalana. Banaatera okuyiga nti okwesiba ku bya Buganda si bugagga. Ffe ba nnyinibyo tubali bukiika. Banaagenda okwesaanga nga buli kye baanyaga bakituddizza, nga kw’ogasse n’okuliwa ze babba ne ze tubabanja ez’obupangisa.

    Empisa yaabwe eyo yava mu 1966 bwe baatuluumba. Abangereza bwe baalekulira, n’Akataayi tekaasala kkubo. Newankubadde twali bato nnyo, sigenda kwerabira lunaku olwo. Ekikangabwa kyabuutikira Obuganda nga baakatukkakkanako. Nzijukira okubwatuka kw’emmundu n’emizinga mu lubiri, gattako ne nnamutikkwa w’enkuba eyali efukumuka. Olutalo okukkakkana akawungeezi ng’olubiri lwaka. Abaasimattuka olw’e Mmengo nga tewali n’omu amanyi Ssaabasajja gyali. Okutemya n’okuzibula ng’obwakabaka bwaffe buli mu katabanguko. Bwayita ku lugwanyu okusaanawo.

    Baalugera dda nti, “Amaanyi tegalya; ssinga embazzi y’ewaata.” Okuva lwe baaluwamba mu 1966 ne balufuula enkambi y’amagye, n’okutuusa kati nga balutuddizza bakyalowooza nti be balulinako obuyinza. Ffe abaaliwo omwezi guno mu 1966, twali tetusuubira nti baliruta nga tukyatemya. N’olwekyo bwe mpulira nti ate baabano baagala ku lweddiza, njula kubambalira tulabe asiinga munne.

    Kale nno temulowooza nti babadde baluubirira kuluzimbamu kisaawe kya nnyonyi za basaabaze. Nedda, baagala kufuna bwa nnannyini olwo basinziire omwo batukoleko akabi. Olubiri olwo lugazi ekimala, zo ennyonyi ez’abasaabaze zirusukkiridde, wabula ez’amagye zandisobodde okulukozesa bwe baba nga baagala okutuluumba mu kibuga. Kyokka bageenze okwesanga nga naffe tubataddeko abiri tetutemya. Anti, “Ekijj’omanyi; kinyaga bitono.”

    Okumanya nga okuziimba mu lubiri ekisaawe kwekwasa, ewaabwe ettaka lya lukale si lya nsikirano nga bwe kiri mu Buganda, ate nga nsiko njereere teri kantu. W’osanga w’osenga. Kale obanga ffe tukyabasiinga okukulaakulana, lwaki tebadda waabwe etali kantu gye baba baziimba ekisaawe kye baagala? Ekyo tekyetaagisa bakugu kuzuula mbu olubiri olwo lufuunda. N’abataka nabo baakiraba ne babekengera. Anti, “Sekawuka kaali kakulumye;bw’okalaba okadduka.”

    Buli kimu kye baanyaga kya kutuddizibwa nga bwe kyali. Keebe Fedulo, Mairo Akenda ne kalonda w’ebyaffe ebikyasigaddeyo nga bwe twakkiriziganya nabo ku mefuga mu 1962. Ate obanga tukyababanja, siraba ki kwe basinziira okutusaba ettaka lya Ssaabasajja nga ebisiinga obungi bakyabigaanidde. Ssi ekyo kyokka, mubegendereze. Tewali kye basaba na mwoyo ogutulumirirwa. Nedda, bakimanyi nti awatali Fedulo, tetukkirizibwa kusolooza musolo, nga kitusoka mu nnyingiza mu ggwanika. N’olwekyo bajja kujjanga na nsimbi ez’omusolo bakiramuze, olwo nga naffe tukibawa. Ako ke kakodyo n’olugezigezi mwe baanaayitanga okweddiza bye batakyasobola kunyaga nga bwe baakolanga mu gy’enkaaga. Anti, “Anaagwagwawala; asooka kutuunda bibye.” Y’ensonga lwaki tubalemesezza okutuuka ku kye baluubirira. Bannaffe mwebale kubirwanirira. Awangaale.

    #28083

    Alex Kigongo
    Participant

    Byansi
    Ebyokussa ebisaawe ku mbiri babikoppye wa? Anti bannaffe bbo bayimiridewo ku kukoppa, okuva mu byenfuga okutuusa ku buli kimu. Ewa Queen wewagwa enyonyi oba ewa Kabaka we Norway, oba owa Denmark? Kal etukooye enkwenge zino, ate tujja kubejjako, nebwebanazimba ki. Kubanga twabkwoowa, wadde bi federo kati tetwagala. Batuviirebuviizi. Kabulengane.

    #28084

    Alex Kigongo
    Participant

    FACEBOOK UAH

    Piwi Christine
    Your presumed new world order hasn’t been a success story as you want us to believe; Have you ever thought about why bigger economies like Norway haven’t thought about joining the EU noting that the citizens of the bigger economies in the same EU are questioning this integration with a need to pull out. OR have you thought about why the BRICS are on the downfall of late OR do you realize that there is less bargain power for the weaker economies, ask the PIIGS at how their economies are being run by the EU cabinet. As a nation there is no pride in being a weak or small economy, human being are not created to settle for less, its natural to aim higher or else the strong rule over you.

    Buganda as a strong nation is what our fore fathers wanted to achieve not until some selfish rulers became a problem on the people around this region. It has been such rulers who have staled the progress of even smaller integration like EAC whose success is limited on paper not to the people. Its the same kind of leaders who dream to be big as AU yet the ground work is being stamped on by their big ugly feet.

    Therefore in this failed state called Uganda, Buganda can stand out and govern itself. It’s not by magic that nations become stronger, selfless rule apply. That’s why you see small nations like Denmark have survived on cattle yet our brothers down here who have had cattle for the last 1000 years can hardly point it’s contribution to the Uganda OR small nations like Iceland (325,671 people) have GDP nominal at $13.654 billion making it $41,739 Per capita YET Uganda of 35M people can only come up with $21.002 billion as nominal GDP an equivalent of $589 Per capita, WHAT A SHAME?!! Really can i be a proud Ugandan. That’s why i look at the reasons why it’s like that…. And to me, this united front is a failure making me believe that Uganda will one day become history as Yugoslavia did (READ; Croatia, Czech, Slovenia, Serbia +++ … AS .. Buganda, Busonga, Bunyoro, Toro, Ankole +++) THEREFORE people like you or Opio might think you got us in a tight corner, but our frustrations a looming large.

    BE SMALL – SELFLESS RULE – GROW BIG – BARGAIN FOR POWER

    READ A BOOK BOY AND LEARN TO RELATE!!!

    AWANGAALE AYI SSAABASAJJA KEBAKA EMPOLOGOMA YA BUGANDA

    #28088

    Kalibattanya
    Participant

    The greatest lure of tourists to Egypt are the famous pyramids. Built millenia ago, by Africans with neither mortar nor cement, they remain a symbol of ingenuity and a classic work of engineering. In Mali, there are similar works, including structures that housed universities, built using the same technique as the pyramids. Back home, Kisingiri House in the larger Bulange area is another marvel: built with ensambya, enkoma, reeds and mud, and it has stood for over a century.
    As Buganda rejoices over the ‘restoration’ of the Kasubi Tombs( amasiro), what exactly is Buganda about it? What indicates age-old architecture, ingenuity, creativity? The whole structure is another ‘modern’ day steel and concrete thing.

    Well, times change. Else, we would have expected the restored masiro to be made of ensambya, enkoma, emuli, well-thatched, ceiling lined with embugo, with periodic maintenance according to each clan’s role. You only need to visit Rwanda’s national museum in Huye, to appreciate their architecture. Within the bowls of the museum is a replica of a typical king’s palace, built the the Kinyarwanda way.

    Sandra Birungi
    Kampala
    UAH Googlegroup

    #28092

    Kalibattanya
    Participant

    Katikkiro yatugamba nti Ssaabasajja yasiima ekizimbe ekibadde kiyitibwa Bulange Plaza kiyitibwe Masengere. Naye abamu nga bebuuza magesenre kitegeeza ki? Bano ababiri bawandiise ebirabika okukuba tooki mu kibuuzo kino:

    May 24

    Namulindwa Saudah Amasengere liba jjovu erivva kukyika kyamayinja agasaanusibwa okufuna mu ebyuma era abaweesi bafuna ekifo kimu webalikungganyiza likwata era libanga olwazi.balyaasa nebafuna mu ebiyinja ebikuuta ebigere era silyangu lyakumerengula.ate Masengere gansaze ekyo kyali kkizimbe mulubiri nga emisango egyiremye ewakatikiro Kabaka mwagisalira.olugya lwaayo lwali lwalwazi olwo(amasengere) buli gwegwakkanga muvvi bamutwalanga bamuwalawala wamu nokumukulula olwo kuba gyebamutwala teli ayagala yo yagendanga akaaba nti wuuwi amasengere gansaze kwekwavva elinya eryo.

    Patrick K. Walugembe Webale nnyo Namulindwa Saudah. Wama oli Muganda lwanjokyo!, Masengeregansaze kyali Kigango mu Lubiri, naye okukyukamu katini mubyoyogedde; Masengeregansaze Katikiro mwe yasaliranga emisango, nga Ssekabaka Mukabya Muteesa I, omujjulira okuva mu Kigango Ggombolola. Era n’Abakungu bonna mwebatulanga. Nga bwogambye, Kabaka bwe yasaliranga omuntu omusango ne gumusinga, Abambowa bamusibanga emiguwa ne bamutwala nga bamukulula, ettaka ne limunubula. Obwoggi bw’ttaka obwo, nebalyoka babuyita amasengere nti”Lino erinaze si ttaka, wabula masengere gegansaze”, kuba amasengere ge galina obwogi okusinga ettaka.

    Naye enno ndowoza yange, katilidde Katikiro lwali tunyonyola lwaki Bulange Plaza kati eyitibwa Masengere!!

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 15 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed