Ddala Lubale ye diini ya Buganda?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyeddiini / Religion Ddala Lubale ye diini ya Buganda?

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 35 total)
  • Author
    Posts
  • #19169
    luutu26luutu26
    Participant

      Munsonyiwe mu katono kyembuza dala lubale ye dini ya Buganda? Ye banaffe bwekiba nga kitufu nga bwempulira nti nga Lubale yakulinye oyinza okola ebyamagero lwaki tetuda kudini yaffe eyo netulemwa kwesiba ku dini ngwira.

      #24279
      OmumbejjaOmumbejja
      Participant

        Katonda owe butonda Abaganda baali bamumanyi nga ye Dunda Liso Ddene nga bwe bamuyitanga. Songa ba Lubaale baalinga bantu abakolanga ebintu ebitali bimu ebyobuzira gamba nga balwaana nebafa nga bazira nga nga bwaafa, abantu ababanga bagenda mu lutalo nga bamuyita abayambe mu lutabaalo. Oba bwaaba nga Lubaale yayagalanga abaana nga bwaafa abazadde abayagalanga oluzaalo nga bamukowoola abasabire bafune oluzaalo

        #24293
        KalibattanyaKalibattanya
        Participant

          Kiteeso kikulu nnyo Luutu26 kyoleese. Ebyo ebibina byobufuzi namadiini bye bintu ebyatwawula yawula nebitujja mu bulamu obulungi nebitussa mu kufa ne bizibu enkuyanja mwetukyatubidde nabuli kati. Kyetaagisa tuddemu tutunulire amadiini gano, tuteese nga Abaganda, abatondebwa Katonda omu era abaana abenda emu. Mu bwegaffu mwetujja mwokka okujja obuwanguzi neddembe. Bannange eno ensonga nkulu nnyo nnyo nnyo. Yokka eno bwetugigonjoola tubeera tuli home free!!!

          #24308
          NdibassaNdibassa
          Participant

            Kino bwokyetegereza nti ddala Abaganda bwetukungaana mu byobuwangwa byaffe mwetusinga okweyagalira gwaate bwetugenda mu madiini amagwiira nga negyeziva bo tebasobola kukoppa yo kintu kyonna kyaffe, ffe netulyooka twesososla nze wekyamopitirilako ye mwaami omu omusiraamu alina abanabe bangi naye abamu bwebakyuusa eddini ne musaawa envannyuma tebamuziika kumpi nabantu be wabula ewala ddala kyenkana ekijja gyekikoma mbu mukafiiri naye nga mwaanawe ngabalala bonna, naye ekyo bwokitwaala awlala wonna webakulembeza egwanga bakugamba bugambi nti enzikiriza ye ejja luvannyuma lwagwanga lye.

            Era nebwogenda mumawanga agaleeta enjawukana mu Buganda bwebatuuka okukola ebyobuwangwa bwaabwe eddini basooka kugiteeka wabbali .
            Ate oba Yesu yennyini teyagenda nga menyawo Makanisa ga nzikiriza ndala era teyajja namugwa kugusiba mu bantu kumugoberera era buli omu yali waddembe okusigala asinziza mu diini ye gyayagala ,naye ffe abantu obuntu netufukira bannaffe ekyambika kuba tulina okusanyusa ba big a daddy abatuleterea eddini bo nebaddayo ewaabwe nebakakkalabya emirimu gyaabwe .
            Bwaaba Katonda yennyini yalekawo sitani nalekera abo abagala okumusinza nabagala okusinza ye , oluusi abantu tulwanira ebintu byetutamaze kwetegereza .

            #24316
            KulabakoKulabako
            Participant

              Zino ediini omweeru bwagitwaala munsi ya mweeru munne bibabuguma gezaako mu Buwalabu bwogenda ne bible bagikulesa ku kisaawe naye bwojja ewaffe kati abantu batandise ddala kweyisiza ddala nga bali mu buwalabu , naye bo ngawagenzeeyo nobagamba basuule ebyaabwe batandike okukola ebintu byabaganda byebakola eka bayinza nokukuganya okusula olunaku munsi yaabwe , kale tulina okwetunulamu kuba ddala waliwo okukkiriza okukola ebyabalal naye ngabo tosobola kubagamba kukola byaffe nebakuganya , ate kyandibadde kale singa tekizaala njawukkanawakati waffe oli nakugamba nti tokilya wano tojjaawo kino bwokikwatako nzesikirya oba bwotoba nganze toba good enough.

              #24320
              MusajjalumbwaMusajjalumbwa
              Participant

                Katonda waffe owe Butonda kyayagaza abantu be era ekigendererwa kye mu mateeka ge ekkumi ne mu byonna byatuyigiriza, kiri kintu kimu kyokka; ABANTU BE BONNA BABEERE BUMU, WAMU NGA BASSA KIMU. Ekintu oba ebintu ebirala byonna ebibajja abantu ba Katonda ku mulamwa ogwo biba tebiva wa Katonda. Kale Abaganda twawaba, netuva ku Katonda waffe, naye kyavudde abadde yatuleka tuloze ku maanyi ga Sitani eyatujjira nga atuleetamu enjawukana. Eddiini ezo bwezandibadde zakajja abantu banditudde wamu ne Kabaka waabwe nebateesa kiki ekyokukola, ekyo kukkiriza nekyokuleeka. Naye bajjajja ffe basinga okwesiga abeeru babawarabu nebekutula kutula. Kati laba bwetudongwa, banyinaffe nebaganda baffe abamu batuuka nokwooza endoobe za Banyamulenge!!!

                #24325
                BusagwaBusagwa
                Participant

                  Ekyeddiini kintu kikulu!!Nze nazalibwa ndi musiraamu naye kati nafuuka Free Christ!kubanga natunula eddiini gyeyava nga ne mu myeezi emitukuvu batta abantu ate nga enjiri gyebabuulira yonna ya bukyayi bwereere! bwoddako eno Mu New Born Christians nabo kyekimu! bano mbu ba Pastors amakanisa gaabwe gonna ga Bukuusa!
                  Kyennazuula kiri nti okukkiriza mu Katonda kiyamba buli omu!!

                  #24327
                  BusagwaBusagwa
                  Participant

                    Ekyeddiini kintu kikulu!!Nze nazalibwa ndi musiraamu naye kati nafuuka Free Christ!kubanga natunula eddiini gyeyava nga ne mu myeezi emitukuvu batta abantu ate nga enjiri gyebabuulira yonna ya bukyayi bwereere! bwoddako eno Mu New Born Christians nabo kyekimu! bano mbu ba Pastors amakanisa gaabwe gonna ga Bukuusa!
                    Kyennazuula kiri nti okukkiriza mu Katonda kiyamba buli omu!!

                    #24328
                    JjuukoJjuuko
                    Participant

                      Wamma ..mwami Busagwa oyogedde ekyo ekituffu.
                      Ffenna koobe ki.., Katonda yomu..
                      Nebwosaala mu muzikiti…oba okusaba mu Kkanissa, oba mu Klezia, Katonda yomu…Allelua…….

                      #24340
                      TontoTonto
                      Participant

                        Katonda is a spirit. Ne Lubaale naye spirit. Kiri eri buli omu okwesalirawo spirit ki janagoberera the spirit Katonda, oba the spirit lubaale oba e jembe Nambaga. The decision is yours, no matter whether you live in Buganda or in India or anywhere in the world. But here are some guidelines from the spirit Katonda. These guidelines apply to you and me:

                        Deuteronomy 30:15-20 reads:
                        15 See, I set before you today life and prosperity, death and destruction. 16 For I command you today to love the LORD your God (the spirit Katonda), to walk in his ways, and to keep his commands, decrees and laws; then you will live and increase, and the LORD your God will bless you in the land you are entering to possess.

                        17 But if your heart turns away and you are not obedient, and if you are drawn away to bow down to other gods and worship them (e.g. e Jembe Nambaga oba the spirit Lubaale), 18 I declare to you this day that you will certainly be destroyed. You will not live long in the land you are crossing the Jordan to enter and possess.

                        19 This day I call heaven and earth as witnesses against you that I have set before you life and death, blessings and curses. Now choose life, so that you and your children may live 20 and that you may love the LORD your God, listen to his voice, and hold fast to him. For the LORD is your life, and he will give you many years in the land he swore to give to your fathers, Abraham, Isaac and Jacob.

                        #24401
                        OmumbejjaOmumbejja
                        Participant

                          Lubaale Wanga yalagulanga ku lutabaalo

                          LUBAALE Wanga yabeeranga Buvvu e Ssese. Yali mwana wa Bukulu, Bukulu yajja ne Kintu. Luboobi ye yabeeranga kabona wa Lubaale oyo era nga y’alongoosa ekiggwa kye. Naye Lubaale oyo ye yaleetereza abakoonyi b’emiggo.

                          Olwatuuka nga Lubaale Wanga akwata Kasoma eyeddira Olugave, oyo yali ng’amaze okusanga Kabaka Mutebi. Naye Kabaka oyo bwe yakyawa abataka abeekitiibwa abaali baagala okumwenkanya ekitiibwa; Mande ne Kabembe Owenkima ne Kajubi e Bujubi Owenseenene, bwe yali ng’ayagala okubaggyako ekitiibwa ekyo, yatuma musajja we Kalali nti, ‘Genda olagulwe ku Lubaale Wanga eyakwata kitaawo tulabe ng’ebigambo ebyo bwe binaabeera. Awo Kalali n’agenda alagulwa.

                          Bwe yalagulwa Lubaale Wanga n’amugamba nti, “Ddira emiggo emiwanvu osibeko ensimbi n’endege. Bw’omala ng’okung’aanya abaana abato ab’obulenzi ng’obawa emiggo egyo obasibe essanja mu bulago bwabwe, Mande ne Kajubi olibawangula.”

                          Kalali ng’akola bw’atyo n’agenda okulwanyisa Mande era yamulwanyisanga bw’ati; Abalenzi abo be yawanga emiggo, emiggo egyo gye baalagangayo eri olutalo era teyalwa n’amuwangula. Bwe yamala okuwangula oyo ng’alumba Kajubi n’alwana naye n’amuwangula.

                          Kalali bwe yamala okuwangula abataka abo ng’asaba Kabaka ekyalo Nsaggu ekiri mu Busiro n’assaamu abalenzi be yawangula nabo olutalo ne bafuukira ddala basajja ba Kabaka.

                          Baakoonanga emiggo egyo ennaku zonna nga bwe bayimba era buli gye baayagalanga okugenda nga gye bagenda. Olw’ekitiibwa ekyabaweebwanga, buli we baakoonanga nga babawa ensimbi emu oba bbiri. Naye bwe zaayala, nga babawa mwenda mwenda. Naye eyagaananga okubawa ensimbi nga bamukolimira.

                          Wabula oluvannyuma ku mulembe gwa Ssekabaka Mukaabya abantu bwe baategeera obulimba bwabwe, bwe baakoonanga emiggo nga bannanyini nnyumba basirika busirisi awatali kubawa nsimbi kubanga baali bakitegedde nti bye bakolima tewali kye bikola okuggyako okunoonya okufuna kwokka.

                          Era bwe baalabanga abakoonyi b’emiggo bagenze, nga basena amazzi ne bafuka mu kifo we bakoonye emiggo, nga bwe balaamiriza nti, ‘Ekibi tumaze okukinaaza mu maaso gaffe.’ Bwe batyo bwe baadibya omulimu gw’okukoona emiggo.

                          Wandiika ng’onnyonnyola ensinza y’Abaganda ennansi.

                          Published on: Saturday, 11th July, 2009

                          #25926

                          Mu kutegeera okwange okumpimpi, Lubaale kitegeeza omuntu oyo yenna eyabanga ayize ebyama by’Obutonzi n’abikugukamu era nga afunye amagezi ag’obumanyi n’amaanyi agalinnya mu bbanga ly’Olubaale (cosmos) lwonna era ng’asobola okuggyayo amagezi agamusobozesa okweyamba yekka n’okuyamba abantu abalala nga bwe yabanga asobodde. Oyo yenna eyasobolanga okulinnya mu Maanyi g’Olubaale n’afuuka Omulubaale (Cosmic Being) oba Omumbaale -ekitegeeza oyo awangudde amaanyi ag’embaalebaale (cosmoses) ezitali zimu, bwe yabanga avuddewo ku nsi nga omubiri takyaguddamu, abantu ne bamuyita Lubaale kubanga yabanga awangudde amaanyi g’Olubaale lwonna.

                          Bwe yabangawo nga mulamu, teyasamirirwanga wabula nga buli ayeetaaga okuyambibwa mu ngeri yonna agendayo n’amwebuzaako n’amuwabula. Bwe yabanga agenze obutadda mu bbala lya mubiri ogwo, abantu ne batandika okumusamiranga oba okumusabanga bye baagala abakolere era bwe baabifunanga ne babiyita ebyewuunyo. Awo wewaava okusamira ekyo kya bayita Lubaale. Mu ngeri eyo, Omulubaale oba Omumbaale yabangawo nga muntu alabika n’amaaso kyokka nga si muntu-buntu kubanga yabanga afunye Amaanyi ag’Obutonzi, kati abantu kye tuyita Obutuukirivu era nga kyategeezanga oyo ayingidde mu bumu n’Amaanyi agayitibwa Mukama-Katonda.

                          Omulubaale oba Omumbaale oyo ayingidde mu bumu bw’Olubaale luno n’embaalabaale endala wonna mu Butonzi, yabanga n’Amaanyi ag’Obutonzi era yabanga amaze okujjula bugule ebitone ebitukuvu eby’Obwakatonda. Teyayitibwanga muntu wabula yayitibwanga amannya agaayolekanga ekitiibwa kye eky’Obutonzi, okugeza nga gano: 1. Ssebikuuno, kubanga obulamu bwabanga bwa bikuuno (byewuunyo) 2. Sseruggulamiryango, kubanga yalina obuyinza bwa Mukama okuggulirawo abalala emiryango gy’eggulu n’abatwala eri Mukama ate nga bakyali balamu mu nsi, bw’atyo n’abafuula Abatuukiridde (perfected Beings). 3. Sseggululigambawanjubataganaana, kubanga yabanga afunye obuyinza obw’obwakatonda nga ne Wajuba tasobola kugaana kigambo kye. Ekitegeeza nti yalina obuyinza obwobwakatonda.

                          Abo bonna abaabanga batendekeddwa mu Maanyi g’Olubaale (Cosmic Consciousness) ag’Obumanyi, baakolanga nnyo nabo nga bagenderera okutuuka ku ddaala lye limu ery’okuwangula Amaanyi g’Obutonzi babeere bumu nago ku nsi ne mu ggulu ate nga bakyaliwo balamu ku nsi. Kino kyamanyibwanga okuba nti ky’ekigendererwa ekiweesa emyoyo ebbala ery’obwomuntu.

                          Amagezi ag’Obumanyi buno tegaali wano wokka mu Buganda naye gaali gaabuna wonna mu Africa ne mu mawanga amalala ebweeru w’Africa kubanga ge gaala amagezi gennyini ag’Obutukuvu agatondebwa mu buli mwoyo oguzaalibwa ku nsi ng’omuntu. Mu baganda baffe Abanyankore Omuntu oyo yenna eyabanga awangudde amaanyi ag’Olubaale, yayitibwanga Rubambansi (Cosmic Being). Naye Abalubaale abalamu oba ba Rubambansi abalamu bwe baabulawo mu nsi ng’abantu bamaze okukola ebya vvulube, agamu ku mannya g’Abambaale bano ne gasigalawo mu Bwakabaka ne gayitibwanga Bakabaka kubanga mu mirembe egy’edda ensi bwe yali ekyalimu Abambaale Abannamaddala, Bakabaka bo bennyini babeeranga Bambaale oba ba Rubambansi nga bamanyi ebyama bino era babeeranga bantu batuukirivu. Mu Bungereza baayitibwanga God-Kings. Mu Nigeria baayitibwanga ba Orishas. Ebyembi bino byonna byagenda byonoonebwa olw’okubulwako abantu abakugu abamanyi ebyama bino. Abazungu bwe bajja mu Africa ne basanga abantu abaali bategeerako akatono ku byama bino baakola kinene nnyo okuzikiririza ddala biggwewo. Sso ate nga nabo, eddiini ze baatuleetera nazo zigenze ziva ku mulamwa gwennyini omutuufu olw’okubulwako Bassebikuuno, Abambaale abamanyi ebyama bino. Anti eddiini zonna eziriwo ku nsi nazo zisamira busamizi tezigoberera Balubaale oba Abanunuzi abalamu abalabika n’amaaso. Kye tuyita okusoma missa oba okusinza mu masinzizo gaffe wonna mu mawanga tekirina nnyo njawulu nekyo abaganda abaliwo kati kye bayita okusamira. Okusamira kitegeeza okukoowoola Omulubaale oba Omutuukirivu, Omulokozi oba Omununuzi atakyaliwo ku nsi mu bbala ery’omubiri guno.

                          Teba nkadde tunaanyuma olulala.

                          #25927
                          NdibassaNdibassa
                          Participant

                            Mukulu Ntanzi twesimye nnyo okutwegattako mulukiiko lwaffe luno, era ebigambo byo mbyoose buliro ,wabula kyembuuza nti abantu abo bomenye bwebaba bakyaali kunsi olwo tubefananyirizeeko nga bwolaba abatukuvu, nga bo abeeru bwebatwaala abantu baabwe abakolanga ebyamagero , era bwotambula munsi nga Greece osanga nabamu nga tebabaziika nga baabakaza nebabaleka mu makesi gaabwe nebabazimbira Amakanisa nga olunaku lwe bwelutuuka , kati nga bwowulira nti olunaku lwa nyina wa Yesu Mary nga bantu bagenda mu Makanisa webamuzimbira ekijjukizo kye nga basabira yo esaala zaabwe nebintu byebaba bagadde abasabire era nga bangi bawa obujulizi nti bitukirira

                            #25930
                            BusagwaBusagwa
                            Participant

                              Mukulu Ntanzi webale Kubeerawo kubanga onzijjukizza erinya lya Jjajjaange Sseggululigamba era ntegedde lwaaki balimuyita..Yali mumanyi ate owegonjebwa eri buli Kitonde nga nensiri nebwemuluma
                              nagitta agoba ngobe!!Ebintu byoyogeddeko bituufu Bina ku Bina era Mu mawanga nga Mali,Senegal ne Gambia waliyo bebayita ba Griots..abamanyi ebyafaayo bye nsi zaabwe!Tojjanga okwo!!

                              #25933

                              Ssebo Bbalaafu Safaaya ne Busagwa Muliro mbakulisa nnyo nnyini ddala era mwebale okunnamusa okubeegattako naddala mu nsonga gye nneekakasa ey’Obuwangwa bwa Bajjajjaffe Bakalimagezi Abasengejje abaalingawo edda mu mirembe egyayita, ekibuga kati kye tumanyi nga Entebbe bwe kyali kiyitibwa Entembe mu budde ennyanja Nnalubaale bwe yali tennabeerawo nga awo w’eri we wali ekibuga ekyo ekyayitibwanga Entembe. Ekyama ekyo kyatubikkulirwa Omwami ayitibwa Bambi Baaba Omutuukirivu Omulamu bwe nnasomako mu biwandiiko bye ebitali bimu, naddala mu katabo Ejjoba ly’Enjuba akaafuluma eyo mu myaka gya 1980 nga gyakatandika.

                              Ekyo Ssebo Mwami Bbalaafu Safaaya ky’ogamba ekyakolebwa baganda baffe Abagereeki okukuuma emibiri gy’Abantu abaalinga ab’enjawulo mu bikolwa byabwe eby’Obutukuvu oba mu buweereza bwabwe, ne babakoleranga ebijjukizo kituufu bina ku bina. Mu nkola eyo ne Ekeleziya Katolika mwe yajja okukoleranga Abatuukirivu baayo ebijjukizo. Enkola eno wano mu Buganda yaliwo edda ennyo era yasigalira mu Bwakabaka si mu Buganda mwokka naye n’e Bunyoro, ne mu Bwakabaka bwa Bajjajjaffe ab’e Misiri, gye baalimanga emisiri gy’emmere eyaliisanga abantu, eddunga Sahara bwe lyali terinnabaawo, ensi ng’ekyalimu abantu Abatuukirivu. Emibiri gya Bakabaka bwe bamala okukisa omukono mu ngabo, giziragibwa ne giterekebwa nga bagifudde egy’enziriga era ne bagizimbira amayumba mwe gikuumirwa. Na buli kati emibiri egy’enziriga weegiri mu Buganda mu bitundu ebitali bimu buli awali amasiro ga Bassekabaka.

                              Mpozzi ku mulembe gwaffe guno, aba Sserulanda e Sseesamirembe mu Rakai be bagezezzaako okuttukiza enkola eyo wadde ng’abantu abamu tebakitegeera era bakyogerera amafuukuule sso nga kirina ensonga enkulu ennyo egenda okuyamba okukuuma ebyafaayo by’Eggwanga lino mu maaso eyo ensi gy’egenda.

                              Kikulu nnyo naddala mu ffe abantu abategeera obukulu bw’obuwangwa okukuuma emibiri gy’Abantu abatukuvu naddala abo abaabanga batuuse ku madaala aga waggulu ng’Okubeera Omulubaale oba Omumbaale (Cosmic Being). Oli bwe yabanga ate atuuse ku ddala ery’Obumbaale Obusiige (Cosmic Christ) yabanga agenze wala sso ng’eriyo amadaala amalala aga waggulu ennyo ate n’okusinga eryo; agaamanyibwanga edda mu Buganda ne mu mawanga amalala wonna mu Africa eya Bakaddugala.

                              Mu kunoonyereza kwe tugende tukola mu Nnono z’Obuwangwa bwaffe Abaddugavu tukisanze nga ebyo ebyogerwa nti byatandikibwa Bagereeki (Greeks) oba Abarooma n’Abayindi ddala byonna leka bibeere ebya Falaawo b’e Misiri (Egypt) byonna byatandikirwa wano mu nsi zino ezeetoolodde Ennyanja Lweru oba Nnalubaale (Victoria). Wano we byaggibwa ne bitwalibwa era ne bisaasaanira amawanga amalala. Eky’okulabirako, Bajjajjaffe ab’e Misiri baagamba nti baasibuka mu kitundu ekyetoolodde Olusozi Rwenjura (Rwenzori), ekitegeeza nti baava wano mu Uganda.

                              Bw’ononyereza ebigambo ebitali bimu eby’oluyindi osanga nga bifaanana ebigamba bya wano: okugeza nga bino Guru (Ggulu), Wahiguru (Owawaggulu), Moksha (Mukasa) eyayigiriza abantu ekyama kati ekiyitibwa Hatha Yoga, oba okusika n’okussa omukka mu ngeri y’okwogoloza omubiri;, Karma (Kaluma- nywera), Yogi (Mwogi), Hanji (Wanji) era nga ddala bayitaba hanji nga ffe bwe tuyitaba nti wanji! n’ebirala bingi.

                              Abayonaani (Greeks)okugenda okuwandiika ekigambo “Muntu Weemanye – Man Know Thyself) baakiggya Misiri (Egypt) gye kyawandiikibwanga ku Matendekero Ageebikusike (Mystery Schools) sso nga wano ewaffe mu Buganda kyayogerwanaga mu ngeri nkusikire ddala nnyo, nti “Ekiri mu Ttu” kimanyibwa nnyinikyo! Atayize kyama kya kweyingira munda mu mubirigwe, lwe lubirirwe, ne yeeyambula omubiri guno ng’ategeera ky’akola ate nga tafudde bufi, tasobola kutuuka kwezuula y’Ani ate ateezudde nga Yezu bwe yeezuula, tasobola kuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.

                              Taba nkadde, tuwaye olulala.

                            Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 35 total)
                            • You must be logged in to reply to this topic.

                            Comments are closed.