Ddala Lubale ye diini ya Buganda?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyeddiini / Religion Ddala Lubale ye diini ya Buganda?

Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 35 total)
  • Author
    Posts
  • #25940
    KulabakoKulabako
    Participant

      Omutukirivu ali omu

      Mu katikitiko eyange gyenasomera batumatiza enjawulo yo mutukirivu no mutukuvu, bwewabaawo nomuntu omulala abuzabuzibwa ebintu bino ebibiri
      kambyogereko wano omutukirivu atukiridde ali omu ye Katonda kitaffe , abalala bonna betuyita ba Saints abo batukuvu abatukuzibwa omutukirivu, kyamazima kyeeko ekifanaganako nabewaffe betuyita ba lubaale kubanga naye omuyita nakusabira , mpozzi neekyo nakyo abantu bamanyi okukikolako ensobi , omutukuvu tatukolera bya magero , wabula atusabira busabizi , ekyo kulabirako kakati olaba Yesu yennyi teyatugamba nti munsabe wabula musabe Katonda mu linnya lyange.

      #25941
      MulongoMulongo
      Participant

        Mukulu Mmilodi webale kuteesa. Wabula nze ndaba ensobi eziwera mu byotugambye wano. Okusooka tewali muntu asobola kugenda yye yekka nayiga byaama bya Butonzi. Omutonzi yalina kulwekisa kye okuwa omuntu amagezi era namulaga byaaba ayagadde yye okumulaga. Ekisinga okuyamba mu kino, ye muntu yennini okuyaayanira okumanya kuno era nokusaba omutonzi amulage.N’olwekyo ekyokugamba nti ba Lubaale befuniranga amagezi agabatwqala mu bbanga nebadda nga bafunye okumanya okungi, nze ekyo ndowooza ssi bwekiri.

        Nasomako ku bigambo bya Baaba Bambi naye nze tebyammatiza. Abantu bangiko banoonyanga amakulu ge byafaayo mu bigambo. Katugambe bagamba nti ate oba abe gundi kino bakiyita bati ate nga naffe tukiyita bwetutyo nolweekyo tuli ba luganda. Ekyo nze ndowooza kisobu, nomuyise akulekera ekigambo nga tomulinako kakwaate. Ate era omuntu omu bwobeera olina oluganda ku Banankole tekitegeeza nti Obuganda bwonna bubalinako oluganda. Tujjukire Yesu kyeyagamba nti “Muganda wange yoyo awulira ebigambo bya Kitange.” Ekyo kituyamba obutagenda nga twekukuutiriza ku bantu betutalina kyetufaanaganya mu mulamwa gw’obuntu.

        Ekintu ekikulu mu kubeerawo kwomuntu kwekumanya Katonda we. Weewawo tulanya okulaga gyetwaava nebwetutambudde mu mawanga gaffe. Naye nga ebintu by’obuntu birimu ensobi nyingi, olwokumanya okutono nokwelabira. Nze ngamba mu byetunoonyereza byonna tuteekwa kuva ku Katonda we Butonda nga tukka, sso ssi kuva wansi nga twambuka.

        #25950

        Nneewuunya okulaba nga gye buvuddeko mu nnaku ntono eziyise nnawandiika nga mpa ebirowoozo byange ku mutwe Ddala Lubaale y’Eddiini ya Buganda? kyokka bye nnawandiika birabika oluvannyuma byasangulwa ku wakitimba waffe ono.

        Nnandyagadde okumanya ensonga ematiza obulungi lwaki byasangulwa kubanga nsuubidde nti bwe tuba nga tujja kukubaganya ebirowoozo n’okuyiga buli omu okuva ku munne, twandibadde tuleka abantu abalina ebirowoozo ebitali bimu sso era ebitafaanagana okutimbibwa mu mukutu gwaffe guno. Nkyakkaatiriza nti Lubaale nga bwe tumumanyidde mu kusamira bw’atyo si bwe yakolebwanga.

        Nnasoma era nnina ekitabo ekyawandiikidwa Mwami Ssekamwa kyeyayita Okusamira y’Eddiini y’Abaganda ey’Ennono? Yakola omulimu munene okuwandiika ekitabo ekyo era kirimu eby’okuyiga bingi. Bw’okisoma osangamu bingi ebyoleka Abaganda nga bamanyi Katonda naye era osangamu bingi ebyoleka nti wano oba wali abantu baawaba ne bava ku nnono entukuvu nga bwe zaabanga edda.

        Mu kiwandiiko kye naweereza ku mukutu guno nnagezaako okunnyonnyola n’okulaga ebikwata ku Lubaale nga nsinziira mu kunoonyereza okuviira ddala eyo mu myaka nga ne Yezu Kristu tannazaalibwa. Era mbadde nsuubira okwongera okuwandiika ku nsonga eno naye kirabika nterebuse. Nsaba ntangaazibwe bwe wabaawo ensobi gye nnakola mu kiwandiiko ekyo nsobole okugitereeza.

        #25951
        NdibassaNdibassa
        Participant

          Ebintu byewatandikirako biri ku page 2 keberayo gyebiri wano tetugoba batatufananya ndowooza , okujjako abo bokka abaggira ku ki bus ate nebavirako ku stage ensobu abo O buganda tebukyabaganya ki bus kyaabwe ekya kyenvu kubaleka ndowooza batya okubakubira ekikka nokufiira kustage yawano.

          #25952

          Ssebo/Nnyabo Mulongo naawe Ssebo/Nnyabo Kulabako

          Mwebale nnyo Amabaluwa gange ge mwampandiikidde ku nsonga gye nnawandiikako ku mutwe “Ddala Lubaale y’Eddiini ya Buganda?”

          Bwe nnali ngoberera ebimu kw’ebyo ebizze biwandiikibwa abantu abatali bamu ku mulamwa Ddaala Lubaale y’Eddiini ya Buganda?
          nnali sisobola kuwandiika byonna bye mmanyi oba Mukama by’ampadde okumanya n’okutegeera ku nsonga zino. Nagendanga nkonako bukoonyi katono ku buli nsonga kubanga ssandiwandiise byonna mu bujjuvu mu kaagaanya akatono ke tuba nako ku mmukutu nga guno. Naye olw’okubanga muliko ne bye muwandiise nga mutoola mu bye nnawandiika, leka mbaddemu bwenti:

          1. Mu bunafu bw’obuteesobolera bwange nkimanyi era nkitegeera nti tewaliiwo Mutuukirivu mulala yenna wabula Mukama-Katonda. Kyokka ate era nkimanyi nti Mukama-Katonda ayagala buli omu ku ffe abaanabe abeere ng’atuuka okubeera Omutuukirivu nga YE Mukama Kitaffe bw’Ali Omutuukirivu atuukiridde mu buli kimu. Kino kye yayogeza ne Yezu Kristu bwe yagamba Abayigirizwa be nti: “Mubeere batuukirivu nga Kitange mu ggulu bw’Ali Omutuukirivu (Be ye perfect as my Father in heaven is perfect). Yezu okwogera ekyo yali tatamidde mwenge wabula yali akimanyi nti okufuuka Abatuukirivu y’ensonga yennyini etuleesa ku nsi okuzaalibwako ng’emyoyo egyambadde ebbala ery’obwomuntu; tulyoke tusobole okutuukirira Mukama tubeere Abatuukirivu nga YE ate nga kino tulina kukikola nga tuyita mu bulamu buno bwe tuba tulimu. Bwe tulemwa tuba tulina kuddamu kuzaalibwa era tuyinza okubbuka (re-incarnation) emirundi n’emirundi okutuusa lwe tuliwangula engule y’Obutuukirivu mu kutuukirira Mukama Kitaffe, nga ate tukyali balamu. Mukama Omutuukirivu atuukiridde mu buli kimu ffe ng’abaana be tulina okutuukirira nga YE tulyoke tubeere naye mu ggulu mu ssanyu, okwesiima n’okwetaaya emirembe n’emirembe.

          2. Mukama-Katonda kennyini ayagalira ddala ffe abaana be tubeere batuukirivu nga YE era eyo y’ensonga lwaki asalawo okujja ku nsi mu buli mulembe ng’Ayambadde ebbala ery’obwomuntu asobole okugenda ng’alondamu abo abamaze okwengera obulungi abasobola okumutegeera nti wadde alabika muntu kyokka ye Mukama Kigambo ayeefudde omuntu. Nkimanyi nti amazima gano gakaayirira abantu bangi nnyo okukkiriza nti mu buli mulembe Mukama ajja ku nsi n’Abeerako nga yeefudde Omuntu. Oba nga yasobola okukikola omulundi ogumu, asobola okukikola emirundi emirala mingi nnyo ddala kubanga abantu buse na buse ffenna abaana be tetunnaba kutuukirira. Bwe tulimala ffenna okutuukirira kiriba tekikyamwetaagisa kuddamu kujja ku nsi kuno ng’Omuntu. Mukama okujja ku nsi ng’Omuntu teyatandikira ku Yezu Immanweri mutabani wa Maria ne Yozefu. Yali yajja dda ku nsi emirundi n’emirundi mu buli mulembe era n’oluvannyuma lw’okulabikira mu mubiri abantu gwe bayita Yezu tasalangako kujja. Ebyfaayo by’obutangaavu eby’ensi yonna biraga nti Yezu nga tannaabaawo, Mukama yajja ng’Omuntu mu bbala ly’omusajja gwe baayitanga Vajra Manjushri. Mu mulembe omulala n’Ajjaa nga Sarmad. Mu mulembe omulala n’Ajja nga Mukusa. Mu mulembe omulala n’Ajja nga Nyakirima-ka-Muzora. Mu mulembe omulala n’Ajja nga Orunmila mu Nigeria. Tewaliiwo mulembe Mukama lw’atabeerawo ku nsi kuno naye abasinga obungi tebamumanya-bumanya kubanga ne lwe yajja nga Yezu Kristu eno ewaffe mu Africa tewaliiwo n’omu yamumanya era aba wano mu Buganda okugenda okumunyako nti ku nsi kwaliko Mukama ayeefuula omuntu mu bbala ly’omuntu ayitibwa Omusiige Yezu emyaka teginnawera kikumi mw’ataano (150). Ate si buli muntu eyali mu nsi Judea nti yamanya oba yalabako ku Yezu mubiri ku mubiri; nedda.

          Mukama ajja mu buli mulembe n’agenda ng’alondamu abengedde obulungi n’abayigiriza ekyama ekibasobozesa okumanya eby’omu ggulu n’okubawa ekisumuluzo ekiggulawo emiryango gy’eggulu basobole okugendayo buli budde wonna we baba baagalidde; babeerenga naye ku nsi ne mu ggulu. Bino abantu abatali batendeke mu Byama bino bwe babiwulira babiyita birooto. Mujjukire nti ne ku Mulembe gwa Yezu bwe yabyogeranga baabiyitanga birooto ne batuuka n’okumuyita Belzebuub Kabaka w’Amasitani! N’olwekyo nze sseewuunya nnyo bwe mpulira abantu abawakana nti omuntu tasobola kutuuka ku Butuukirivu ng’akyali mulamu, kubanga nkimanyi nti kisobokera ddala kikumi ku kikumi.

          Mujjukire Nicodemus bwe yalemwa okutegeera Yezu ng’amugambye nti okuggyako ng’ozaaliddwa omulundi ogw’okubiri tosobola kugenda mu ggulu eri Mukama. Nicodemus yalemwa era bwe yagenda teyadda eri Yezu kubanga yali tannatuuka kwengera kutegeera byama bino. Okuzaalibwa ogw’okubiri kitegeeza kusisinkana Mukama ayeefudde omuntu ku mulembegwo ggwe n’okebuka n’omumanaya n’omusaba n’akutendeka era n’akuwa ekisumuluzo ky’Ebyama bino Ebitukuvu. Olwo n’akuwandako eddusu ery’omukisa n’ozibuka amaaso n’otandika okubitegeera nga bw’Aba abikubikkulira buli wonna w’aba ayagalidde okubeerako ne ky’Akwoleka oba wano ku nsi oba akikwolekera eri mu myanjo egy’omumbaalebaale ez’omu ggulu. Omuntu yenna atannatuuka kwengera tasobola kutegeera Mukama azze ku nsi nga yeefudde omuntu ng’Omununuzi w’Emyoyo. Tasobola kukkiriza bigambo nga bino kubanga abeera ng’ebibala ebitannatuuka kukungulwa kuva mu nnimiro ya nsi eno.

          Tujjukire nti Yezu yagamba nti, Eby’okukungulwa bingi naye abakunguzi batono; yali ategeeza nti abantu abatuuse okukungulwa (okutendekebwa mu By’Omwoyo) bangi naye Abanunuzi b’emyoyo batono. Ku mulembe gwe, Yezu yeeyali Omukunguzi w’emyoyo mu nsi ya Judea naye yamala emyaka esatu gyokka ng’akungula era yakungulamu abantu kkumi na babiri bokka okusinziira ku Baibuli. Yatandika okukungula ng’aweza egy’obukulu 30 abantu ne balemwa okumutegeera ne bamuyigganya era ne bamukomerera ku musaala mbu ne bamutta!

          3. Ntegeera bulungi enjawulo wakati w’Omutukuvu n’Omutuukirivu. Omutukuvu tekitegeeza Mukulembeze wa Ddiini gamba nga Paapa oba Kalidinaali oba Ssaabepisikoopi oba Shaikh oba Rabbi nti bokka abo be bayinza okubeera Abatukuvu. Nedda. Naawe ggwe nange tusobola okubeera Abatukuvu kasita tulongoosa ebikolwa byaffe, ebirowoozo byaffe, ebyo bye twegomba n’ebyo bye twogera buli bbanga kasita tubeera nga twewongedde Omukama eyatutonda. Omuntu yenna atukudde mu biti ebyo ebina: Ebirowoozo, ebigambo, ebyegombo n’ebikolwa abeera muntu Mutukuvu kyokka tabeera Mutuukirivu. Abantu abatukuvu bayinza okubeera abangi ku nsi era kweebali abamu nga n’okubamanya tetubamanyi sso nga abamu kw’abo bayinza n’okubeera abakazi abafumbo mu byalo eyo; abakazi abeekutte obulungi ne bakuuma obutukuvu bw’emibiri gyabwe mu bikolwa, mu birowoozo, mu bigambo ne mw’ebyo bye beegomba eby’omugaso eri emyoyo gyabwe.

          Okwerongoosa emyoyo gyaffe kitegeeza kutuuka ku butukuvu mu biti ebyo ebina (4). Abatukuvu ba Mukama bangi abatamanyibwa wano ku nsi kyokka eky’obutamanyibwa tekitegeeza nti ku nsi tebaliiko. Mu butuufu, abantu abatukuvu, okufaananako n’abantu Abatuukirivu emirundi mingi tebaagala nnyo bantu kubamanya era beekuumira mu kyama nga bali ku nsi kuno. Ne Mukama kennyini abakweeka abantu b’ensi eno baleme okubamanya kubanga abantu abangi baba bakyali babisi nga bwe babamanya bayinza okubasalira enkwe ne babatta nga bwe baakola Yezu, Sarmad, Vajra Manjushri, Al Hallaj, Sebatiyane, ne Shamas Tabriz n’abalala.

          Abantu ababamanya baba batono era baba ba mukisa nnyo. Kati leka nzire ku Batuukirivu. Omuntu Omutuukirivu kitegeeza oyo awangudde n’atuukirira Mukama-Katonda nga ayita mu mwoyo omwereere, olw’ekisa n’okwagala kwa Mukama, nga Mukama alabye obutukuvu bwe mu biti biri ebina, n’amubikkulira ate ebyama ebisingawo n’amuwa omukisa n’amuggulirawo emiryango gy’eggulu n’amutwala n’amutuusa mu maasoge mu ggulu ate ng’Omuntu oyo akyali mulamu alya, anywa era atambula ku nsi kuno. Naye abantu kye batamanyi abasinga obungi kiri nti, Mukama okukuwa omukisa ng’ogwo tasinziira eri mu ggulu wabula ajja ku nsi ng’Omuntu n’akutuukirira n’akuwa ekisumuluzo ky’eggulu n’akulaga engeri gy’okyeyambisaamu. Bw’okyeyambisa nga bw’aba akulagiridde n’olyoka oyiga okulinnya mu nsi entukuvu ez’omu ggulu, okutuusa lw’otuuka mu ggulu Mukama gy’Abeera mu ssanyu, okweyagala, okwesiima n’okwetaaya okutuukiridde. Kasita omutuukirira mu myanjo egyo, olwo n’olyoka obeera Omuntu Omutuukirivu ku nsi ne mu ggulu. Abatuukirivu bennyini bazze babeerawo mu buli mulembe era ensi eno tesobola kubeerawo nga teriiko bantu Batuukirivu kubanga okubeerawo kw’Abatuukirivu ku nsi kwe kusaasirwa kw’ensi. Mu kino ntegeeza nti na kati w’osomera bino ku nsi kun kuliko abantu Abatuukirivu ddala abalamu abalya, abanywa era abakola emirimu gyabwe mu baana ba’abantu.

          4. Buli Mutuukirivu yenna owannamaddala oyo atuukiridde Mukama mu ggulu olw’Enneema ya Mukama n’Okwagala kwe, oyo ate y’asobola okuyamba abantu abalala n’ababikkulira ekyama kino ng’abawa omukisa ogwo kasita abeera ng’afunye obuyinza obwo okuva butereevu ku Mukama Sseggululigamba-Wanjuba-Tagaana. Okubawa omukisa ogwo kiyitibwa kubatendeke mu byama bya Kkubo ly’Abatuukirivu (Path of the Saints) okuva edda n’edda eryayitibwanga Ekkubo Eddemeezi. Ddemeezi kubanga zzibu teriwangulikika mangu. Yezu okwogera ebigambo biri nti “Mubeere batuukirivu nga Kitange mu ggulu bw’Ali Omutuukirivu” yali abigamba bayigirizwa be abo be yali amaze okubikkulira ebyama ebyo. Naye ne bw’obigamba atabikkuliddwa byama ebyo, atannafuna nneema kubitegeera oba otawaanira busa kubanga tasobola kutegeera ky’omugamba sso tasobola kukissa mu nkola kubanga aba tamanyi bwe kikolebwa.

          5. Abalubaale oba Abambaale abaalingawo edda abaamanya ebyama bino ssaagambye nti beetuusa bokka ku madaala ago; mw’ekyo wankutte bubi. Abantu abatuuka ku Bulubaale baba bantu nga ggwe nange ne gundi naye basooka kutendekebwa mu byama bya Butonzi bo bennyini nga tebanafuuka Balubaale (Cosmic Beings). Oyo abatendeka ajja ku nsi nga ye Mukama ayeefudde omuntu n’ababikkulira ebyama ebyo ne babigoberera ne batuuka ku ddaala ly’obutuukirivu nga basookera mu butukuvu bw’ebikolwa, ebirowoozo, n’ebigambo nga bwe baba batendekebwa. Tewaliiwo akola yekka ne yeetendeka yekka ne yeetuusa ku Butuukirivu yekka wadde ku Butukuvu nga tasoose kufuna mukisa kuva ku muntu oba ku bantu abalala abaamusooka okutuuka ku madaala ago. Okuggyako ng’omuntu oyo yazaalibwa ku nsi nga muntu Mutuukirivu ayitibwa Sserukoonoka (Born-Saint). Kyokka tujjukire nti omuntu gy’akoma okwerongoosa omwoyo gwe mu bigambo, mu birowoozo ne mu bikolwa ebya buli budde buli lunaku wonna w’aba ali n’aba nga yeekuumira mu butukuvu obwo, Mukama talema kumuwa mukisa na nneema okwongera okwetukuza. Ekiva mu kwetukuza mw’ebyo bye njogeddeko, Mukama amuwa omukisa ate okusisinkana Omutuukirivu Omulamu aba aliwo ku nsi n’ajja amutendekera ddala mu Byama by’Ekkubo ery’Obutuukirivu; enkya bbiri naye n’ajja awangula Engule ey’Obutuukirivu!

          6. Ssaagala tutabuletabule ebya Lubaale abantu abaliwo kati nsi mu Buganda nga bwe bakitegeera ate tubitabule n’Obutuukirivu bwe njogerako wano. Byombi tebifaanana era si by’ebimu kubanga engeri Abasamize gye bakitegeeramu ne gye bakikozesaamu nsobu, baagyonoona dda. Bakuuma lubugo naye nga Lubaale yennyini yabavaamu dda. Tebakyamanyidde ddala kiyitibwa Lubaale, era nga bwe nnannyonnyola mu kiwandiiko ekyasoose. Kino okirabira ku ngeri abo abeeyita Abasamize abasamira Lubaale abasinga obungi gye beeyisaamu; kebera empisa zaabwe olabe oba nga ddala zisaanira Obntukuvu oba nedda. Mu Nnono Entukuvu ez’Obutonzi, Lubaale gaba Maanyi-bwanyi ag’Obutonzi agaatonda byonna; Gayitibwa Luba; Lubanga agaabanga byonna; agaabeerangawo ebirala byonna nga tebinnaabeerawo. Agaabalako byonna ebirabika n’ebitalabika. Ekiyitibwa obulamu kisibuka mu Maanyi ago agafuga Olubaale lwonna era agafuga embaalebaale zonna eziriwo mu Butonzi ezitaliiko kkomo. Oyo yenna atuuka mu Maanyi ago, oyo atuukirira mu Maanyi ago agaatonda byonna y’ayitibwa Omumbaale omutuufu. Aba muntu nga mulamu osobola okumulaba n’omwebuuzaako n’akubuulira byonna era n’akuwabula n’akuggya mu nnawookeera w’obutamanya n’olukokkere lwa Walumbe Nnamuzisa. N’olwekyo nno bwe njogera Lubaale nze sitegeeza abo Abasamize bammwe be mumanyidde abagenda balimbalimba abantu nga basaddaaka abaana b’abantu oba nga balagula abantu ate eno bwe babatuuma okuyiwa omusaayi gw’enkoko, embuzi endiga n’ebiringa ebyo ate n’okubirya ennyama. Nedda. Omuntu ddala akkirwaamu Amaanyi g’Olubaale tasobola kuteeka nnyama ya kitonde kyonna ekyetambuza mu kamwake n’agirya. Tasobola kunywa bitamiiza. Tasobola kuyiwa musaayi gwa bantu oba ogw’ensolo. Tabba, takola kibi kyonna ekiyitibwa ekibi, ekyonoono, ekivve oba ekikolwa ekyevvume. Ky’Ava abeera muntu Omutuukirivu. Omumbaale owannamaddala tekimwetaagaisa kucuusa ddoboozi lye ng’aliko by’akola oba by’akugamba mbu olwo akkiddwako Lubaale Mukasa oba Lubaale Muwanga, Nedda. Omutuufu asigala nga bw’abeera buli bbanga buli ssaawa na buli lunaku. Tabeera awo mbu Lubaale bw’amuvaako ate n’akola ebisobyo nti bw’amukkako olwo n’abeera omutukuvu, nedda. Buli budde Omumbaale Omutuufu abeera muntu Mutukuvu era abeera Mutuukirivu mu bigambo bye, mu birowoozobye, ne mu bikolwa bye wonna w’aba ali. Obutuukirivu kasita obutuukako bubeera bubwo emirembe n’emirembe tebulikuvaako.

          7. Omuntu Omutukuvu ye asobola okubeera ng’akyalya ennyama era nga n’omwenge aky’anywa; asobola okugwa mu nsobi entonotono ng’ezo kubanga Obutukuvu bulimu amasa n’emitendera egy’enjawulo. Omutukuvu gy’akoma okukulaakulana gy’akoma okugenda nga awangula amasa n’emitendera egisingawo mu Butukuvu okutuusa lw’aviira ddala mu bikolwa ebikontana n’ekyo mpozzi kye mumanyi ng’Amateeka Ekkumi n’embeera zennyini ez’Obutukuvu n’obutakontana na mateeka ga Butonzi abasinga obungi ge batannamanya. Omutukuvu yennyini ateekwa okubeera nga awangudde Omwanjo oguyitibwa Mpyoola-Misani (Second Spiritual Plane) ng’amaze okuwangula amaanyi ag’ebirowoozo era nga mmeeme (mind) amaze okugizzaayo n’agibbika mu Ssemmeeme (Universal Mind). Kino kye kyama ky’Essota ery’e Kalungu n’engeri gye liwangulwamu. Kino kitegeeza nti Omutukuvu yennyini owannamaddala omwoyo gwe gweguba gufuga ebirowoozobye obutafaanana nga bantu balala aba bulijjo abatannatuuka ku ddala lino. Ye ng’omwoyo y’afuga era y’awa mmeemeye ebiragiro. Sso ng’abantu ba bulijjo, mmeeme y’ebafuga era batambulira ku ntoli zaayo. Leka nkibagambire ddala mu lulimi lwa Bajjajjaffe ab’edda Bakalimagezi Abasengejje nga bwe baakiyitanga: baagambanga nti Omumbaale Omutukuvu Amaanyige gali ag’Enkundi gaba tegakyamufuga wabula ye y’aba agafuga kubanga aba amaze okugabbika mu Nnyanja Nnalubaale y’Obumanyi Obutuukiridde Cosmic Ocean of Eternal Divine Wisdom). Wano okiraba bulungi nti Omumbaale Omutukuvu ateekwa okubeera nga awangudde embaalebaale zonna ezisangibwa mu Mwanjo Mpyoola-Misani ate n’ezo zonna ezisangibwa mu Mwanjo Nsitulo (Astral Plane) era aba takyafugibwa maanyi ga mbaalebaale zonna ezo ezisangibwa mu Mwanjo Ntattwansi (Physical Plane).

          8. Bwe tugamba nti abantu bonna baganda baffe ekyo era kye tuba tutegeeza kubanga abatonde bonna abali ku nsi baatondebwa Mukama Kitaffe Omu. Abatonde bonna bava ku lulera lumu kubanga buli mutonde yenna aliko enkovu eva ku lulera olwo, eyitibwa Ekkuundi. Leka babeere Bacholi oba Balango oba Bakarimojong, Basoga oba Bamasai. Leka babeere Bakikuyu oba Baborigine (Aborigines) ab’omu Australia, aba Zulu mu South Africa oba Abaluba ab’omu Kongo. Leka babeere Bawarabu, Basipanisa oba Abazungu. Ate ekyewuunyisa bonna busibuka wano mu bitundu by’Omugga Kagera (River Nile) mu mawanga gano Uganda, Kenya Tanzania Rwanda-Burundi. Bonna baana ba Mukama-Katonda Omu. N’olwekyo nno muleme kubuzaabuza bantu nga mubagamba nti Abaganda bokka be baganda ba Katonda.

          Ekigambo Baganda kitegeeza abo abali mu buganda (bundles) obutali bumu obuyitibwa amawanga (tribes or ethnic groups) wonna mu nsi yonna. Tekyategeezanga ttaka kati lye tuyita Buganda (geographical location) mu nsi Uganda naye Obuganda kyategeezanga ensi yonna okusangibwa abantu ku mukasansi (planet earth) kuno, kubanga bonna baava wano era weewali n’ekyalo Butonda (Obutonda obw’oku nsi abantu we baasookera okuzaala bantu bannaabwe), olwo ng’ensi eno Mukasansi (earth) etandika okubeeramu abantu. Tusaana tujjukire nti abantu bonna baasibuka wano ne balyoka bagenda nga basaasaanira ensi yonna. Abatonde bonna buli alina ekkundi aba mwana wa Kintu ne Nnambi, bali gwe baayita Adam ne Eva oba Adam ne Haawa. Baganda baffe ab’omu Sudan kye bayita Garang ne Abuk. Ab’omu Kenya Abakikuyu kye bayita Gikuyu ne Mumbi. Muleke kwerabira byafaayo bya Buganda kubanga bigatta ensi eno yonna n’abantu bonna abagiriko.

          9. “Muganda wange y’oyo awulira ebigambo bya Kitange” tekitegeeza nti Omuganda awulira ebigambo bya Kitange naye kitegeeza omutonde yenna oyo akola ebyo Mukama by’Ayagala. N’olwekyo nno Muganda wange Mulongo omulungi wakitegera bubi nnyo ddala. Kya kusaalirwa. Oli leka abeere nga “Muganda” kyokka nga takola ebyo Mukama Kitaffe by’ayagala oyo taba mugandawo. Naye oli leka abeere Omunyoro oba Omufaransa oba Omutibeti naye ng’akola ebyo Mukama Kitaffe by’ayagala, oyo abeera mugandawo. Ago ge makulu agaagendererwa mu Bigambo bya Yezu Kristu. Bwe kiba nno nga bwe kityo bwe kiri, Abaganda tuba bakyamu okutandika okugenda nga tusosola mu bantu ba Mukama wonna ku nsi kuno nga tusinziira ku nnimi ze boogera oba ku mawanga (ethnic or tribal groups) gaabwe. Mu ngeri y;emu nabo babeera bakyamu ddala bwe batusosola oba okutucaawa olw’okuba tuli Baganda. Ye baffe leka twebuuze ggwe eyawandiise ekyo; gwe alowooleza mw’abo abakola Mukama by’ayagala balyoke babeere Abaganda bagandabo, ddala weekakasa otuukiriza ebyo Mukama Kitaffe ali mu ggulu by’ayagala? Bw’oba okikola wamma weesiimye era nange nkwesiimisiza nnyo ddala. Ate ku ludda olulala bw’ojuliza ebya Baibuli obanga agamba nti Obuganda tebwaliwo Baibuli bwe yali tennabaawo oba nti Abaganda tebaaliwo ku nsi nga Baibuli tennabaawo. Obuganda bwaliwo nga Baibuli teriiwo era Abaganda baali bamanyi Mukama-Katonda n’Obutukuvu era baalinanga Abatuukirivu be baayitanga Bassebikuuno, Basseruggulamiryango oba Bassempuluttusa abaawuluttulanga emyoyo ne bagizzaayo eri Mukama. Bw’otugamba bw’otyo oba mukyamu ddala.

          Tuleme kugenda nga twesibaganya fekka na fekka mu bibowabowa bya nzikiriza, amadiini, ennimi ze twogera oba obuwangwa bwaffe n’ebyekinnansi tulyoke tusinziire okwo okucawagana, okuwalang’ana n’okutting’ana ate nga mu kiseera kye kimu bwe tweyita Bannaddiini oba abantu abamanyi Katonda! Mu ddiini ze mujuliza Etteeka oba Ekiragiro eky’omukaaga kigamba nti, “Tottanga” kyokka mpulira abamu mu ffe mugenda mukuba eng’oma z’okutting’ana. Obukulisitu oba Obukulisitaayo leka bubeere Obusiraamu abaffe bwe butyo bwe batuyigiriza? Abo abayigganya Abaganda oba abaagala okusaanyawo Obuganda ddala bwe kiba nga bwekityo bwe kiri mu ntegeka zaabwe, tebajja kusobola kukikola kukikola kubanga Mukama yeeyatonda Obuganda n’Abaganda. N’okutuusa leero Abayisirayiri bakyaliwo kunsi wadde nga adolf Hutler yabatta bukadde na bukadde! Abantu abayigganyizibwa ne battibwa nnyo balwa edda batuuka ku buwanguzi kasita beesiba ku Mukama ne bakuma Obutukuvu bwabwe mu Nnono Entukuvu. Naye Abayisirayiri tebawangulanga kubanga na buli kati bakyayiwa emisaayi gy’abalala nga n’abalala bayiwa egyabwe. Entabwe eva ku ki? Enjuyi zombi zaabulwa okukuuma etteeka ly’Obutonzi erya Kyenkola bannange ssaagala bakinkole, nga kibi!

          Okuva edda n’edda nga n’amadiini ago tegannajja mu Buganda abantu baasangibwa baawaba dda nga baava dda ku by’Obutukuvu n’Ebyobutuukirivu nga bali mu kuyiwa misaayi gya bantu bannaabwe. Empisa embi gamba ng’obutemu, obubbi, obwamalaaya, obwenzi, okulimba zaali zimaze okuyingira mu bantu. Entalo za Buganda ne Bunyoro tewali atazimanyi. Okutting’ana okwo kwajjawo luvannyuma lw’abantu kuwaba ne bava ku Kkubo ery’Obulung’amu. Oba nno nga tukkiriza nti eriyo Mukama era nga twesiga Mukama okutuwanguzisa, leka tusooke tuddeyo mu Nnono Ez’Obutukuvu ezitatukkiriza kukola bikolwa bibi, byonoono, ebivve n’ebikolwa eby’evvume ng’okuyiwa omusaayi n’okutting’ana!

          10. Okwogera obwogezi nti ekintu ekikulu eri omuntu kwe kumanya Katondawe, kyokka ebigambo bye tugenda twogera eri abantu oba bye tuwandiika nga biwabya abantu ba Mukama era nga bibaleetera okumenya Ekiragiro Tottanga, olwo tuba tutegeeza ki? Abaffe tunaamanya tutya Katonda waffe ng’ate tuli mu kumenya biragiro bye n’Amateekage? Nga tuli mu kutting’ana? Oba ng’abalala batutta ffe Abaganda, abaffe naffe tubafaanane tukole nga bo naffe tubatte ng’ate mmwe Muyigiriza abantu nti oli bw’akukuba oluyi mucuusize n’ettama eddala nalyo alikube oluyi! Olwo tunaaba tulina enjawulo nabo? Oba twesiga Mukama Katonda nti ajja kutuwanguzisa, awo nno tuddeyo tuyige ebyama eby’Abatukuvu n’Abatuukirivu tukole ng’Abatuukirivu bwe bakola tujja kuwangula nga tetulina musaayi gw’abantu mu ngalo zaffe (nga tetulina muntu gwe tusse).

          Oba ng’oli yafuuwa bufuuyi ng’ombe emirundi musanvu, ebisenge by’ekibuga Jericho ne byerinnimula ku ddimwa! Lwaki tulowooza nti amaanyi n’amagezi agaakolanga ebyo gaggwawo oba nti tegakyaliwo mu Butonzi oba mu bantu abamanyi ebyama by’Obutonzi? Olw’okuba bwe bikolebwa Abaddugavu olwo ne mubiyita bya Sitaani kyokka Omuzungu bw’abikola olwo ne bibeera ebya Mwoyo Mutukuvu? Mulabe okubula okwo kwe mwabulamu baganda bange! Kitalo nnyo. Bajjajjaffe Abatangaavu baagobanga endwadde, ne bagoba entalo, era ne bagoba ne Musisi oba amataba nga bagamba nti, “Kibi kigwaana wala!” nga beeyambisa magezi sso ssi ntalo. Entalo ez’okuyiwa omusaayi zajjawo luvannyuma lw’abantu kusobya Nnono Entukuvu.

          11. Okunoonya ebya Mukama Katonda n’Ebyobutonzi tulina kubinoonya nga tuva wano wansi ku ttaka wetuli Mukama we yatussa sso si kubiva waggulu nga tukka wano we tuli kubanga eri waggulu gye twava tetukyaliwo sso tetusobola kusinziirayo kubinoonyayo. Ssebo oba Nnyabo Kulabako leka kutulimba na kubuzaabuza bantu ba Mukama. Eddiini gy’ojuliza etugamba nti ekyatuleesa ku nsi bintu biri bina:

          • Okumanya Mukama
          • Okwagala Mukama
          • Okuweereza Mukama
          • Okusinza n’okutendereza Mukama ku nsi ne mu ggulu.

          Ebyonna byonna ebina (4) waggulu nga bwe mbisengese okubikola tulina kubikolera wano wetuli nga we tusinziira. Buli yenna eyali anoonyezza Mukama yatandikira wano w’ali ku nsi n’alyoka azuula akakutu akamutwala eri Mukama nga atandikira mu kwerongoosa omwoyo gwe Mukama n’amuwa enneema okukikola. Jjukira nti, “Lubaale mbeera nga n’embiro kw’otadde.” Okulafuubana okwerongoosa omwoyo kutandikira wano w’oba oli kaakano kasita otegeera nti oli mwana, oli muzzukulu wa Ggulu kubanga oli mwana wa Nambi muwala wa Ggulu mutabani wa Katonda.

          Okwerowooza mbu tujja kumanya Mukama nga tuyita mu kukyogerako bwogezi, oba mu kukirowoozaako bulowooza tekimala sso tekituwa kumutuukako nga tetusoose kwerongoosa myoyo gyaffe. Gye tukomye okukulembeza ebya wano ku nsi eby’ekiseera obuseera gye tukomye okweyonoona n’okwonoona abalala; bwe tutyo gye tukomye n’okwonoona ensi Mukama kwe yatussa tukoleko ebirungi; ensi tugikolemu ebirungi tugifuule eggulu – ekintu kye tutaamanya sso kye tutaategeera.

          Eby’obufuzi n’Ebyobuwangwa okubigattika si kibi naye ate era si kirungi okusinziira ku mulembe gwe tuliko. Okubigattika kye kimu kw’ebyo ebyaviirako obwakabaka mu mawanga agatali gamu okuwerwa ne bubikkibwako wano mu Buganda, Bunyoro, Toro, Ankore era ne mu mawanga amalala gamba nga mu Ethiopia, mu Libya, mu Cambodia n’awalala gyebwali. Naye ng’ekyasinga obukulu kwekubeera ng’obwakabaka, Bakabaka, abalangira n’abambejja baawaba ne bava ku Nnono ez’Obutukuvu; ne badda mu kkunywa omwenge, ne badda mu bikolwa eby’obwenzi, mu badda mu kulwaana entalo n’okusosola mu baana ba Mukama Katonda. Mu ngeri eyo ne beerabira omulim gwabwe omukulu ogw’okutuusanga obubaka (kabaka) bwa Mukama-Katonda eri abantu be. Ate ng’ogwo gwe gwabanga omulimu gwabwe omukulu era ogwabaviirangako okwagalwa ennyo abantu wonna mu Bwakabaka. Obwakabaka ku nsi bwe bwabeeranga olutindo olwagattanga emyoyo ku Bwakabaka obw’omu ggulu!

          Abangereza abaategeera kino obulungi Kabaka oba Nnabakyala waabwe baamwawulira ddala okuva mu by’Obufuzi; Nnaabakyala oba Kabaka wa Bungereza ayanjulirwa bwanjulirwa ebikoleddwa n’ebisiyisiddwa olukiiko lwa Gavumenti. Teyeetaba butereevu mu nzirukanya ya gavumenti, mu bya bufuzi bwa Ggwanga lye; bangi mmwe mu Buganda ate ekyo kye mwagala Kabaka waffe akole afuge adde mu by’obufuzi; ekintu ekitali kiyonjo.

          Mu 1966 twakiraba wano ewaffe obwakabaka bwe bwabikkibwako okumala emyaka mingi. Twegendereze nnyo mu nsonga eno. Jehoash Mayanja Nkangi eyali Katikkiro wa Ssekabaka Muteesa II bwe yagezaako okulabula Mmengo obutawa President Obote bbanga lya nnaku musanvu mbu aggye gavumenti ye ku ttaka lya Buganda, Nkangi baamuyookera buyookezi ne bamulangira nti kubanga yasala ddiiro okuva mu UPC okwegatta ku Kabaka Yekka Party!

          Ebyavaamu fenna abaaliwo twabiraba; Ssekabaka waffe omuganzi Muteesa II yalumbwa, naddukira mu mawanga gye yafiira mu 1969 e London ekya Bungereza. Olwo obwakabaka ne buwerwa mu Uganda. Abaganda aboogera era abatuwaga kati okwekutula ku Uganda baali ludda wa mu budde obwo era lwaki tebaakwaata bbunduuki kukuba Obote mu 1966 oba mu myaka egyaddirira? Kati abaagala Buganda okwekutula ku Uganda maanyi ki ge mulina aganaakuba M7 ne Bannayuganda abalala bonna okubagoba mu Buganda, Buganda eryoke yeefuge yokka ng’eggwanga eryetongodde? Mutuwe Marshall Plan oba ya kugenda mu nsiko kukwaata bbunduuki nakyo tukimanye. Kyokka mujjukire nti M7 okugenda mu nsiko teyagendayo na Banyankore banne bokka ng’ate mmwe abakuba eng’oma za Buganda okwekutula ku Uganda temwagala kwegatta na balala mbu abatali Baganda. Abaffe munaakikola mutya mwekka? Mukimanyi nti abalala tebasobola kubeegattako kubanga tebaagala Buganda kwekutula ku Uganda.

          Baali Bajjajjaffe abaagamba nti, “Ew’omuzira bakaaba, ew’omutiitiizi baseka.” Omuntu omuzira omutuufu asaanidde era okubeera omugezi. Omuzira atasobola kwefumiitiriza nsonga n’okwawula ekibi ku kirungi; ekisaanidde ku kitasaanidde oyo taba muzira kubanga aba agenda kukaabya bantu be maziga aga yiriyiri ag’obwereere. Nkakasa nti mwe muli basajja na bakazi bagezi. Kyokka bye njogedde bwe biba nga tebiriimu nsa, nsaba munsaasire busaasizi. Nnandiba omutiitiizi naye go amagezi agamalawo ebizibu bya Buganda ne Uganda awatali musaayi kuyiika tegabulanga mwe mwagaana okugagoberera kasita mwasuula muguluka ebyabawabulwa mu kitabo Ekkula Kalaame Ery’ekitangaala ky’Obwakabaka mu Mulembe gw’Okukyusibwa kw’Ensi. Oyo eyawandiikira Obuganda akatabo ako tassanga mukka gwe muvannyuma akyaliwo mulamu. Lwaki temumwebuzaako?

          Bwe muba mugalina amagezi agategeerekeka agakkirizika kale mugatubuulire tugakwaate tugenyigiremu enkya bbiri tufuuke eggwanga eryetongodde naye ha, ku mulembe ogutwolekedde ogw’Eggwanga erimu erya East African Community, nga ne Africa yonna yeetegekera okufuuka eggwanga limu, tekijja kubeera kyangu nnyo Buganda okwetongola ng’eggwanga (sovereign state or country).

          Tusaanidde tweyambise gaalubindi ezirengera ewala, tutunulire ensi sso ssi Buganda oba Uganda yokka gy’egenda naye East Africa ne Africa yonna okutwalira awamu, tulyoke tutegeke bye twagala nga tubikwanaganya n’omulembe gwe twolekedde twewale okukola ensobi eziyinza okuviiramu abaana n’abazzukulu ba Buganda okubulwako we balinywanga amazzi. Obuzibu obuliwo be Bamwoyo gwa Ggwanga abamu obutaagala kubabuulirwa Mazima n’okubalengeza ebiri mu maaso nga beesiba kw’ekyo bo kye bamanyi ne kye balowooza awatali kufaayo kwetegereza nsonga zonna ezikwaata ku mulamwa.

          Ssinga Ssekabaka Muteesa II yajjukira era n’assa omulaka ku ddaame lya kitaawe Ssekabaka Daudi Chwa II, osanga (Buganda) teyandifunye bizibu bye yatuukako. Omuzungu alijja omunyazi teyamulaba kubanga yamusuubira kubeera muntu mweeru (Omuzungu Munnabulaaya) sso omuzungu kyali kitegeeza omugwiira ayogera oluzungu oba atali Muganda (Obote) eyamusiba kantuntunu n’atta naye omukago ogw’obulimba (UPC ne KY okutta omukago) okutuusa lwe yamulumba mu lubiri lwe n’amubuzaako emirembe.

          Ekkubo liri limu erigenda okuyamba Buganda ne Uganda okutereera; tuddeyo tunoonye mu mpisa ez’Obutukuvu mu buwangwa bwaffe yeewali ekyama ekigenda okubbulula Obuganda awatali kikwaata mmundu na kuyiwa musaayi. Kabaka waffe alamule Obuganda mu Uganda ey’awamu ng’ate ne Uganda nsi ya mirembe. Essanyu n’okweyagala biryoke bitte abamanyi. Okutegeera kino sooka osome akatabo Ekkula Kalaame Ery’ekitangaala ky’Obwakabaka mu Mulembe gw’Okucuusibwa kw’Ensi.

          #25954

          Mwebale nnyo. Nkitegedde. Eyo y’enkola ey’omulembe; obutagoba bantu bwe mutafaananya ndowooza kituwa fenna okuyiga buli omu okuva ku munne ate ne kituwa okunyumirwa ebirowoozo by’abantu aba buli ngeri. Era nga bw’ogambye okuggyako abo bokka abajjira ku ki baasi ate ne bakiviirako ku siteegi ensobu…

          Mwebalire ddala.

          #25960
          mugeyemugeye
          Participant

            Lubaale si ddini naye nga bwemanyi yamu kungeri mwetwayitanga okusinza nokusaba ,kyentegeza kyekiliwa ,lubaale, Amayembe,emisambwa (malayika)oba abamu gebayita amajini byonna bitonde naye nga bwemumanyi nti omuntu simutukuvu era omuntu tayinza kwogera buterevu nakatonda,katonda yatonda ebitonde ebitugatta ne naye (Mediators)era nga mwetuyina okuyita okutuusa ebyetago byaffe gyali.
            Oyogedde kumanyi agakola ebyamagero, katonda buli muntu yenna yamuwa ebitone ebyenjawulo abamu basobola okwogera nebitonde ebitasobola kulabwa namaaso(banabi) (abalanzi) waliwo abayambisa amanyi ago okuwonya endwadde nokulanga ebinabawo oba nokutangira ebibi ebiyinza okutuuka kumuntu. N’olwekyo Lubaale byebitonde katonda byeyatonda bituyambe okututusa ewakatonda.

            Nga eddini endala zonna bwezili omuganda oba omudugavu tulina eddini ezaffe lwakuba amadiini agajja gaatulowoozesa nti ebyaffe bibi ekitaali kituufu, okugeza Esabo (kiva kukikolwa ekyokusaba)naye batulowoozesa nti esabo bi naye ekanisa nungi! bwoyogera kumusambwa buli omu yesisiwala naye nga (yemalayika)amayembe ,lubaale nebirala bo babyeyitira mwoyo mutukuvu!
            muyinza okwebuuza lwaki babalowoozesa nti amayembe ,emisambwa ne lubaale bibi, njagala buli omu munzikilizaye amanye nti waliwo bamalayika abalungi nababi, kino katonda yakikola nagoba sitani nebamalayika abamugyemera ,era batugamba bulungi buli kintu kyonna ekituuka kumwana womuntu kunsi nti sitani yakileeta, awo wenkugambira nti mumayembe, mulimu amalungi nababi, amajini mulimu amalungi namabi .
            awo wenkusabira wenonye bulungi nga buli kyebagamba kize mumbera yobuzalebwo ojjakulaba nga eddini empya zajja kututabangula natujja kumulamwa omutuufu mwetwali owokuyita okutegera katonda.
            Nanyini nsi yabuganda awangale.

            #25964

            Muganda wange Omugeye omulungi,otabuddetabudde ebintu bingi ebyenawulo byonna n’obiyita Lubaale. Nedda Ssebo; amayembe gaba mayembe tegaba Lubaale. Emisambwa giba misambwa tegibeera Lubaale. Bwe batyo ne bamalayika babeera bamalayika tebabeera Lubaale wadde nga ebitonde ebyo byonna okufaanana naffe abantu tusobola okutambulira mu maanyi oba mu bbanga ly’Olubaale ne tulinnya mu myanjo egya waggulu. Buli bimu ku bitonde ebyo ebitali Balubaale oba Abambaale, birina emirimu egyaabyo ebyagikwasibwa mu Butonzi:

            1. Amayembe. Emirundi egisinga obungi gano gatondebwa bantu abakugu mu byama ebikusike nga bagatonda kubayamba mu nsionga zaabwe ezitali zimu. Abantu bwe baabulwako ennono ez’Obutangaavu nga bamaze okuyingirirwa amaanyi amabi aga Kalinkwe ne batandika okutondanga amayembe gabakolere ebyo bye baagala eby;okwekkusa bokka era ne batandika okugeeyambisanaga okukola abantu abalala obubi oluusi n’okubatta oba okubafiiriza ebyabye. Amayembe agatatondeddwa bantu gabalibwa mu bitonde ebimanyiddwa nga elementals; abantu babituma ne bbakolera emirimu nga bwe baba baagala naye omuntu ateekwa okubeera ngaliko ebyama by;amanyi abitamanyiddwa bantu balala abasinga obungi okusobola okukolagana n’amayembe ago; gamba okuwuliziganya nago nokugatuma by’ayagala gamukolere.
            2. Emisambwa. Sijja kukuwakanya bw’oyita emisambwa nti be Bamalayika. Naye emisambwa tegibeera ate Balubaale sso tegibeera lubaale. Nga bwe nagamba mu kiwandiiko kyange ekimu, ekigambo Lubaale kitegeeza maanyi-bwaanyi ag’Obutonzi agafugirwamu Olubaale lwonna oba embaalebaale zonna (cosmic energy or power), ye Lubaale. Omulubaale Oba Omumbaala y;oyo asobola okufuga amaanyi g’Olubaale lwonna. Abeera muntu nga ggwe oba nze naye nga yayiga ebyama ebikusike eby’Obutonzi n’afuna amaanyi n’obusobozi okulinnya mu maanyi g’Olubaale oba agembaalebaale ezitali zimu.

            Emisambwa oba bamalayika baatondebwa lwa kukola mirimu emikulu ebiri oba esatu: ogusooka kuyamba bantu nga bamalayika abo oba emisambwa egyo gituweereza mu kowe nga Bamalayika Abakuumi (guardian Angels) baffe. Ogw’okubiri, emisambwa egyo egimu gyo giweereza mu myanjo egy’omu ggulu egitali gimu nga giyamba Abantu Abatuukirivu okubaweereza nga bali nsi ez’omu guulu mu makowe agatali gamu. Wano ntegeeza Abatuukirivu abalamu abakyali ku nsi ate n’abo abaava edda ku nsi. Emisambwa gino (Bamalayika bano) abamu bayamba emyoyo egiva ku nsi nga giyita mw’ekyo ekiyitibwa okufa, okugiragirira eky’okukola naddala nga gituuse mu mwanjo oguyitibwa Nsitulo (Astral Plane) mpozzi ne Mwanjo Mpyola-Misani oguli wagguu wa Nsitulo. Emiambwa egyo era giyamba emyoyo egitwalibwa mu maaso g’Omulamuzi mu ggulu nga gisaba okudda okuzaalibwa ku nsi nate oba okusalirwa emisango okugenda mu nnamengeya (geyeena). Ogw’okusatu, Bamalayika oba emisambwa giweereza mu Myanjo egy’Abaperesona Abasatu (Katonda Patri, Mwana ne Mwoyo Mutuukirivu) oba bajjaffe kye baayitanga Katonda (Creator) Dduunda Nnamugereka (Sustainer/Providence) ne Ssaanya (Destroyer); mu biti by’onsatule ebikola Obutonzi bw’ensi zino n’amagulu agasangibwa mu Myanjo egyo ebiri (Nsitulo ne Mpyola-Misani). Eddiini zonna essatu enkulu ze mumanyi zikkiriza nti Katonda alimu ebiti ebyo ebisatu kubanga n’Abasiraamu nabo bakkiriza nti Katonda y’atonda byonna amakulu nti y’atuwa obulamu, nti era Katonda y’agabira buli bitondebye eby’okulya, n’okunywa, okuzaala n’obugagga ate era Katonda y‘aggwawo obulamu nga ayita mu kufa kw’ebitonde bye yataonda.

            3. Ebitonde ebyo; Amayembe (Elementals) n’Emisambwa (Bamalayika) Katonda tabitondanga kutugatta naye wabula yabitonda n’abiwa omulimu gw;okutuweereza. Omuntu bw’aba ayagala okwegatta ku Katonda oba okutuuka mu bumu bwa Katonda ate era nga ddembe lye okunoonya okwegatta mu bumu ne Katonda kubanga mu butonde bwaffe tuli baana ba Katonda; kiyite nti tuli Baganda ba Katonda ekitegeeza nti tulina eddembe okubeera obumu ne Katonda mu ggulu ate nga ne ku nsi tukyaliko, kubanga kisobokera ddala, omuntu oyo yenna ayagala okwegatta ne Katonda, talina kulinda kumala kufa alyoke anoonya okwegatta naye, nedda. Wabula aba alina okuyiga ebyama by’Obutonzi ebyatubulako oluvannyuma lw’okusobya amateeka g’Obutonzi. Ebyama ebyo abiyiga kuva kw’Ani? Aba alina kubiyiga nga abiggya ku muntu munne eyamala edda okwebbika mu Maanyi g’Olubaale lw’Obutonzi ayitibwa Omutuukirivu Omulamu akyaliwo ku nsi; alya anywa era akola emirimu gye mu bantu. Eky’omukisa omubi gano ge Mazima agabakaayirira mmwe abantu abasinga obungi abaliwo kati ku nsi kuno. Sso nga ate ge Mazima agatalibula. Ku nsi kuno kubeerako abantu Abatuukirivu abalamu ng’omulimu gwabwe kwe kugenda nga batendeka abantu abasobola okubakkiriza, ne babawa ebyama bino; ekisumuluzo ekiggulawo emiryango gy’eggulu nga bakyali balamu.
            4. Ebyetaago byaffe eby’emibiri oba eby’oku nsi gamba ng’okuzaala, obugagga, obulamu obulungi, okugoba endwadde, obuwangaazi, ettutumu, omukwano, obufumbo, obuyinza, amagezi n’ebiringa ebyo byonna, si mulimu gwa bitonde biri okubituwa oba okusabira eri Katonda abituwe. Nedda. Tubifuna nga tuyita mu ntuuyo zaffe, mu kwegomba kwaffe, mu kweyambisa amagezi bwe bwongo Katonda bwe yatuwa, mu kumanya Mukama; mu kumwagala; mu kumuweereza ne mu kumusinza. Mw’ebyo mwe tuyita okubifuna sso ssi mu Lubaale oba mu misambwa oba amayembe. Embeera zonna ze tubeeramu ku nsi kuno oba bwaavu, bagagga, ttutumu, bufumbo obwyegaza oba ennaku, okubonaabona n’obulumi bituviira ku bikolwa byaffe; ku bigambo byaffe ne ku birowoozo byaffe bye twangenda tukola mu nzaalibwa ezaayita bye bijja ne bituddira. Bwe tuba twakola birungi tufuna ebirungi mu bulamu buno. Bwe tuba twakola bibi eri bantu banaffe tufuna bulumi na nnaku mu bulamu buno. Bwe tuba twabbanga ebya bandi, tufuna bwaavu mu bulamu buno era buli ke tufuna nga bakatubbako. Tuleme kunenya Katonda olw’embeera zaffe. Eky’omukisa kye kino nti bwe tumanyi bino, tufaayo kwegendereza ebikolwa byaffe mu bulamu buno tusobole okudda nate ku nsi tubeera bulungi. Kino si kipya Bajjajjaffe kye baayitanga okubbuka (re-incarnation) era mwe baggya ekiyitibwa okubbula abaana nga bababbulamu amannya ga Bajjajjaabwe. Kyali kitegeeza nti omwana oyo abbulwamu amannya ga Jajjaawe, mu butuufu y’oli akomyewo kaakano ng’omwana ono. Kino baakikolanga nga bamaze kwebuuza ku Bassebikuuno Abambaale abaasobolanga okutunula ne bamanya ebyayita, ebiriwo n’ebiribaawo bya buli muntu omulamu, omufu n’oyo alibaawo edda.
            5. Ebyamagero oba ebyewuunyo nze bye njogerako soogera ku bitone ebya mwoyo (gifts of the spirit) nedda. Ebitone eby’omwoyo abantu bantu ababifuna oba ababirina gamba ng’obuvumuzi, okuwuliziganya n’ebitonde ebya wansi, okulanga ebijja mu maaso oba okunnyonnyola ebirooto. Kyokka muganda wange, abantu batono nnyo nnyo ddala b’osobola okusanga nga balina ebitone bya mwoyo byonna mu bujjuvu. Ate ebitone ebya Mwoyo mu bujjuvu bingi nnyo okusinga bw’olowooza. Okusanga omuntu abirina byonna mu bujjuvu bwabyo omanyanga nti oyo muntu mutuukirivu ddala kawewa. Nga n’ekitone ekisembayo kwe kusobola okuzuukiza abafu; ekitegeeza okubaggya mu bufu n’abazza mu bulamu obw’emirembe n’emirembe ate n’okulamula abalamu ekitegeeza okubalaga ekkubo ery’omu ggulu nga bakyali balamu kubanga wadde balamu kyokka bafu lwakuba bo tebakimanyi bumanya. We wava kiri nti “Leka abafu baziike bafu bannaabwe!”

            Bannabbi abasinga obungi be tuwulira mu madiini agatali gamu baabeeranga n’ekitone kimu oba bibiri oba bisatu byokka. Era mu ddiini bakugamba nti buli Nnabbi Katonda gwe yatumanga ku nsi yajjanga n’obuyinza bw’ekitone kino oba kiri naye twali yajja na bitone byonna okuggyako Abatuukirivu (Perfect Saints) be babeera n’ebitone byonna mu bujjuvu bwabyo.
            6. Nzikiriziganya naawe nti eddiini ezaava e bunaayira zaakola kinene okusuuza Abaddugavu eby’obuwangwa byabwe ezaabanagamu ebyama by’omwoyo eby’Ennono. Kyokka njagala tukkiriziganye nti Eddiini ezo ezaava e bunaayira zaagenda okutuuka mu Africa zaasanga abantu obuwangwa baabusobya dda, mabega eri nga n’Abazungu tebannalowooza kujja mu Africa. Jjukira nti okuva edda n’edda Abaganda tebaalyanga nnyama ya nsolo. Yali mutabani wa Kintu gwe baayitanga Mulanga eyayigiriza Abaganda okulya ennyama y’ensolo ze yayigganga mu ttale. Kino kikulaga bulungi era okimanyi nti enva eng’enda tubeera nnyama oba ebyennyanja wadde ebinyonyi oba enswa n’enseenene. Okulya ebitonde ebytambuza byokka gwabanga muziro wonna si mu Buganda mwokka naye mu Baddugavu n’abantu abalala bonna ku nsi kuno. Okutandika okulya ennyama y’ebitonde ebytambuza kyajja ng’ekibi ekyakolebwa mu ngeri y’emu nga bwe batugamba nti awo Kayini n’atta Aberi. Abaffe kati ffenna tutte bantu bannafe kubanga Kayini yakikola? Abantu bwe baayiwa omusaayi ne batta ne balya ennyama ne bakwatibwa ekitambo. Ekitambo kyabalinnya ku mitwe ne kibafugira mu buwoomi bw’ennyama era bw’obagambako nti okulya ennyama teyali mpisa yaffe bajula okukuba amayinja! Sso nga ge Mazima.

            Bamalayika abalungi n’ababi oba emisamba emirungi n’emibi byonna bituufu era siwandiikangako nga nkyogerako bulala. Nedda. Wabula amayembe emirundi egisinga obungi tegakola bibi okufaananako ng’emisambwa naye abantu ababi, naddala Abalogo be bakwata ebitonde ebyo ne babifuga ne babituma okukola ebibi naddala okukola obubi bantu bannaabwe.

            Kye njagala tukkaanyeeko kye kino muganda wange Omugeye nti: Okuva edda n’edda bajjajjaffe Abaddugavu baali bamanyi era nga bayigiriza eby’Obutukuvu, eby’Obutonzi, eby’Obutangaavu era eyo yensonga lwaki Ekkubo ly’Obutuukirivu bo baaliyitanga Ekkubo Eddemeezi lya Bassebikuuno; abaakolanga abikuuno ku nsi ne mu ggulu. Baali bakimanyi si kkubo lyangu nti kunazaako bunaza, naye ng’omuntu alina kulikolerera n’aliwangula. Baali bamanyi bulungi n’emitendera n’amasa gaalyo gonna okutuukira ddala omuntu lwe yatuukanga butereevu mu maaso ga Mukama n’awangula Engule y’Obutuukirivu e Busulengule. Obwakabaka bwabanga bwa Butukuvu era Bakabaka beebatuusanga obubaka bwa Mukama eri abantu mu nsi, kye baavanga bayitibwa Kabaka, baabakanga obubaka bwa Katonda na babutuusa ku bantu be mu nsi. Teba nkadde, tuwaye olundi.

            #25968
            mugeyemugeye
            Participant

              NDOWOOZA OKUNYONYOLA KWESANYIKIZA

              Ssebo mwami Mulaka-Ntanzi Mmilodi , nsoka okweyanza obwenkanidde awo kunsomesayo, mukutandika okuwandiika mumutwe guno sasoose nakamu akedagala okusoma byonna ebibadde bimaze okwogerwako, kyensose okusome yebaluwa gyonzizemu njeyanziza nyo tojanga okwo.
              Mukama wange nga bwonga mbye nti ntabudde ebintu bingi nze ndowooza sikituufu nakamu kubanga sinagata kintu kyona nenkiyita lubaale,nagambye lubaale kyekimu kubitonde, kwekuwayo ebitonde ebirala ebigwa mukowe ly’alubale kw’ekuleeta amayembe ,emisambwa (malayika) aba abamu byebayita amajini.
              bwengenze nsoma onyinyonyodde nti lubaale kitonde naye nga muntu yakitonda ela mukunyonyola olaze nga okutondekya kwalubale kuva kubantu kw’eyagaliza nakwagala kubonyabonya banabwe, naye mukama wange awo siyinza kukiliziganya nawe olwensonga zino.
              1) omuntu talina manyi gayizakutonda lubale , wabula waliwo abalina ebitone okuva ewakatonda nga basobola okwogera nabyo, naye era mungeri yemu waliwo abawebwa amanyi ago naye nebageyambisa bw’eyambisa bubi (abalogo).
              2)Ogandawaza nyo ebigambo ebimu oba nolaga enono yebigambo nekiletera abamu obutafuna ky,otegeza,abantu boyogedeko abalaba ebilina amanyi agalengera ebuziba bantuki abo? Amanyi ago bagajawa?
              3)bwetuba twogera luganda olwabulijjo olubalale kyeki?
              bwononyonyola ebyo ndowooza njakutegera ensonga yo esoose!

              2)Ensonga endala era entakuza omutwe kyonyonyodde kubutukuvu bwomuntu nga tusobola okw’ogera obuterevu nekatonda.nolwensonga eyo nsaba onyinyonyole kubintu bino:
              1)mumaddiini amakulu gonna gemanyi bagenda okutandika okusaba ekintu kyonna ewakatonga balina gwebagamba gwebayitamu.Okugeza Malia,Yesu,Muhamad,Abatukiilivu,nabalala nga bwomanyi, lwaki?
              2)Bwetosoma mubitabo byonna ebitukuvu katonda obubaka bwonna bw’eyawerezanga kunsi nga atuma misambwa (Bamalayika) lwaki wandilowoozeza nti katonda teyetukilanga nagamba abantube kyayagala?
              Mungeri yemu Nabatume (ababaka)oba (abalanzi) obubaka bwebafunanga babujanga wa? ate nga twandilowoozeza nti bo batukuvu okusinga kumuntu obuntu,kubanga balinga balondeddwa katonda.
              3)Era waliwo wogambidde nti emisambwa (malayika) katonda yagitonda kuwereza bantu naye mungeri ki? Era awo wenjagala ombulire omuntu ne misambwa (malayika)kiki ekyasokwa okutondebwa?
              mubitabo ebimu ebyeddini tulaba bulungi nga katonda bweyali atonda omuntu nebitonde ebilala yayambibwako ebitonde ebyo, kati awo wenebuliza yamala kutonda bitonde bigenda kuyamba muntu nga ye tanatondebwa?
              E kisembayo bwoba ezemu nosooma sebo nagambye nti katonda yagaba ebitone ebyenjawulo bweyali agaba ,naye mubitone byeyagaba mwemuli nekyo ekyokwogera ne balubaale, emisimu, amayembe, memisambwa.Era nga mungeri eyo oyinza okulaba omuntu asobola okulaba ekibi ekikuliko naye ate nga tasobola kikujako,alanga ebinajja naye nga tosobola kubiziyiza, Ndowooza ne muddini ezimu bakugamba mwoyo mutukuvu bweyajja buli omu namuwa ekitone ekyenjawulo, abamu kuwonya ,abala kwogera niimi, abalala kuzivunula nebilala.
              Nesimyenyo okusanga kubanga waliwo bingi byegenda okwongera okuyiga naye nga nsaba osooke otagulure obulipo obuwambidde nokusimba amakanda mubwongo bwange nga biva mwebyo byonyonyodde.Naye manyi omusomesa bwasomesa abayizi nebatabuuza kitegeza bategedde nyo oba tebategedde nakamu ntwalira mukiti bwekityo.
              Nindiridde namaddu manyi ssebo,
              omutenza Ggulu agira awembejja.

              #25979

              Ssebo Mukama wange Mugeye,
              Febulamu nga 03, 2010

              Okusooka nkiwakanyiza ddala nti omuntu tayinza kwogera na Mukama Butereevu. Ekyo kikyamu ddala. Omuntu mu butondebwe asobolera ddala okwogera obutereevu ne Katonda kasita abeera nga ayise mu kwerongoosa omwoyogwe n’atukula bulungi. Ekitugaana okwogera ne Mukama lwakuba emitima gyaffe, gy’emyoyo gyaffe gyabikkibwa ebyonoono, ebibi, amawano, ebivve n’ebikolwa eby’evvume ebisibuka mu balabe b’omwoyo omusanvu bano: Olwetumbu, Obusungu, Obukaba, Omululu, Katakku oba okwesiba ku bantu ne ku bintu, omulugube n’obugayaavu. Ebikolebwa abantu ebibi ebya buli ngeri bisibuka mu mize egyo omusanvu.

              Okuva edda n’edda ng’ensi ekyatambulira mu Mazima ne mu Butukuvu, Katonda yeeyolekanga eri abantu abo be yalabanga nga basaanidde kubanga baalinga batukuvu mu bikolwa, mu bigambo ne mu birowoozo byabwe. Naye ate waliwo abantu ababa bawangudde amadaala agasukkiridde mu by’Omwoyo ne batuuka okwebbika mu maanyi g’Olubaale ne bafuuka bumu nago. Abo abatuuse ku ddaala eryo be nnagamba nti baayitibwanga Abalubaale oba Abambaale (Cosmic Beings).

              Kino okisomye kifuulannenge, Ssinnagambako nti lubaale atondebwa bantu wabula nagambye nti Amayembe agamu gatondebwa bantu ne bagatuma okubakolera ebyo bye baagala okufuna. Oba oyagala okutegeera kino leka nkulage amayembe ag’omulembe agatondeddwa abantu abakugu mu tekinologiya oba sayansi; Radio, cellphones, emmotoka, computer oba ennyonyi ezitambulirwamu ago gonna mayembe agatondeddwa abantu. Amayemba galimu ebika bibiri: waliwo amayembe agatalina bulamu, ate waliwo amayembe agalina obulumu nga galya era gakula era gatuusa ekiseera ne gafa. Ekigambo amayembe kiva kigambo Amayambi, amaanyi amayambi. Ejjembe kiva ku kigambo ejjambi, eryanyi ejjambi, erikuyamba okukola oba okufuna ky’oyagala. Enjawulo eri nti mu Africa, abantu naddala abalogo beebasinga okutonda amayembe amabi ne bagasindika ne gagenda gatigomya abantu oba ne gababbako ebyabwe ne gabitwalira oli eyagatonda oba eyagakola. Essimu liba jjembe erikuyamba okuwuliziganya n’abali ewala. Abazungu bo bwe bakola oba bwe batonda amayembe, bagafuula bizinesi. Bagatunda ne bagafunamu ensimbi ne bagaggawala nnyo. Mu Africa, abatonda amayembe agalina obulamu mu ngeri yaago bagakozesa bo bokka ku lwabwe naddala bagatuma kulumya bantu banaabwe olw’obuggya n’ensaalwa n’omululu gw’ebyokufuna.

              Abafirika abalogo basobola okutonda ejjembe ery’emotoka oba eppikipiki n’ogiwulira ng’ejja kyokka nga togiraba. N’owulira abagivaamu nga bajja boogera kyokka nga tobalaba. Gaba mayembe ge beetondeddewo ne bagatuma gagende ewa gundi gamutte gatwale ebibye eri nnannyinigo. Obwo bwe bulogo obukuula ejjembe mu Africa obugaanye Africa okukulaakulana nga bwe kyandibadde.

              Mu kifo ky’okweyambisa amagezi agatonda amayembe amabi okulumya abalala, Abazungu bo batonda amayembe amalungi ne bagakolamu emirimu egigasa abangi ate bonna ne bagafunamu. Weewawo nabo batonda amayembe amabi gamba nga amasasi, emmundu ne bbomu ezitta abantu.

              Africa bw’eritandika okukola amayembe mu tekinologiya Africa erisinga Bulaaya n’America obugagga kubanga obulogo obw’Africa bwa waggulu nnyo kutwala wala. Abafirika baasobola okutonda amayembe agasukkiridde kubanga tekinologiya gwe bakozesa mu kutonda amayembe n’Abazungu tebannamufuna.

              Omuntu amanyi kaliisoliiso w’okutonda amayembe aba asobola n’okukwaata omuzimu gw’omuntu omulamu. Kino nga kitegeeza nti asobola okukuyita ng’oli bunaayira n’akuleeta wano w’ali n’akubuuza by’ayagala n’omwanukula kyokka ng’omubiri gwo teguliiwo wano w’akubuuliza. Kino abantu kye bayita “okukwata omuzimu ku muntu.” Naye waliwo abantu abatakwatibwa mizimu Omulogo ne bw’aba mukugu atya nga tasobola kubakwatako mizimu. Abantu abo abatakwatibwako mizimu beebo bokka Abandekeddwa mu Kkubo ly’Abatuukirivu; abantu abayitibwa Bassebikuuno (Great Mystics) oba abo abakuguse mu Byama bya sayansi ow’ebikusike (Esoteric Scientists). Abantu nga bano babeerako amaanyi agabakuuma ag’Obutuukirivu, kwe kugamba nti aga Mukama-Katonda.

              Sinnayogerako nti omuntu alina amaanyi agatonda Lubaale. Nagambye nti abantu abamu basobola okutonda amayembe era nkinnyonnyodde bulungi waggulu. Abalogo be bantu abafuna amagezi eg’ebyama ebikusike ne bagakozesa ebibi ebirumya oba ebikosa n’okutta bantu bannaabwe oba okusiba ebitonde ebirala ne babimalako eddembe lyabyo. Oba ne babituma okukola abantu obubi. Abalogo ababi baba batemu; baba bawambi ba bintu by’abalala; basigula bakaabasajja ne babezza nga beeyambisa obulogo bwabwe; bafufuggaza oba ne balemaza abantu olw’obuggya n’ensaalwa; oluusi n’oluusi batta bantu bannaabwe nga beeyambisa amayembe gaabwe ge batonze. Abalogo abamu basobola n’okusindika laddu ne zikuba abantu oba Musisi n’asaanyawo ebibuga n’ebyalo wadde oba okusindika amataba ne gagenda gasaanyawo ebyalo oba eggwanga eddamba.

              Ebigambo bitono bye ng’andawaza. Ebisinga biba bigambo byennyini ebitakyamanyiddwa Baganda abaliwo ku nsi kaakano naye nga bigambo bya Luganda ddala olw’ekimmemmette. Bwoba wali osomyeko ku kitabo Nketta mu Bizinga by’e Yugoyugo ekyatuwandiikirwa Omugenzi Edward K.N. Kawere ojja kusangamu ebigambo bingi abaliwo kati bye batakyamanyi sso bye batakyakozesa.

              Olulimi luno lwe twogera lwe lumu ku nnimi ezisingira ddala okubeera engagga mu nsi yonna naye lwakubeera nga abaliwo kati tetulumanyi Nnono oba obuvo n’obuddo bwalwo. Buli kigambo kye nkozesa mba nkinnyonnyoledde mu mboozi ze mba mpandiise. Nja kugezaako okwongera okubirung’amya okusingawo ssebo mukama wange.

              Olubaale kitegeeza ebbanga eri wakati w’ensi n’eggulu oba wakati w’ensensimbe (planet) n’ensensimbe endala. Kati gamba ssinga oyagadde okuva wano ku nsensimbe eno mukasansi (earth) okugenda ku nsensimbe Mmanzo (Mars), ebbanga ly’oyitamu okutuuka ku Mmanzo lwelubeera Olubaale lw’oyiseemu okutuuka ku Mmanzo. Okuva e Uganda ng’oyita mu nnyonyi n’ogenda e Bungereza, oba oyisa mu maanyi g’olubaale oba ebbanga eriri wakati awo. Olubaale era kiyinza okutegeeza eggulu. Mu Lungereza kiyinza okutegeeza atmosphere, sky, oba cosmos or heavens.

              Naye amaanyi ag’Olubaale tegaliiko kkomo kubanga okuva ku buli Mwanjo ogumu okugenda ku Mwanjo omulala oyita mu Maanyi ag’Olubaale oluli wakati w’Emyanjo egyo. Mu byama by’Obutonzi, Olubaale era kitegeeza Omukka gw’ossa; bw’oyiga okussa omukka mu ngeri y’ebyama ebikusike, omubiri guno osobola okugweyambula n’oguleka wali kati n’osigala mu mubiri omulala ogutalabika na maaso gano era ogutali muzito nga mubiri guno ogw’ennyama n’omusaayi namagumba, n’ogenda olambula mu Myanjo emirala egy’omu ggulu ate n’odda n’oyambala omubiri gwo gwe walese ku kitanda oba ku ntebe. Omukka guno ogw’obulamu gusibuka mu maanyi ag’Olubaale era amaanyi ago tegayitikamu omuntu ng’abadde avudde ku nsi nga tamanyi byama bya butukuvu oba eby’abatuukirivu. Agoyebwa nnyo amaanyi. Olubaale olwo liyitibwa Nnalubaale, terukoma. Ky’ova olaba bali abaamanya ebyama bino Ennyanja eyobaagituuma Nnalubaale kubanga eri mu nsi ey’omu nda eriyo Ennyanja eyo ey’Amaanyi ag’Olubaale gye tuyita nga tuvudde ku nsi okugenda mu ggulu.

              Ky’ogamba kituufu. Wonna mu nzikiriza ne mu madiini gaffe abantu tusaba Mukama nga tuyita mu batuukirivube, oba mu Bannabbi oba mu bantu abaakulaakulanya mu by’omwoyo ne batuuka ku madaala oba mu myanjo egitali gimu. Buli yenna atannaba kwetuukira, ntegeeza okutuukirira Mukama maaso ku maaso, kiba kimwetaagisa okweyambisa Erinnya ly’Omulala eyatuuka mu myanjo gy’Obutonzi egitali gimu naddala oyo gw’aba akkiririzaamu oba gw’asinza mu ddiini ye. Naye ekyo tekitegeeza nti mu butonde bwaffe ng’Abantu tetusobola kutuukirira Mukama Kitaffe ne twogera naye butereevu.

              Abantu tusobolera ddala ssinga twerongoosa emyoyo gyaffe, kubanga n’Abo be tusaba, Bannabbi Muhammad, ba Yezu Kristu, ba Buddha, ba Krishna oba ba Mukasa ne ba Ryang’ombe bonna baazaalibwa ku nsi nga bantu nga ggwe nange. Abantu abaamanya ebyama bino ne babitendekebwamu ne bakola nnyo ne batuuka ku buwanguzi ne Mukama n’alaba okutuuyana kwabwe n’abasiima n’abafuula okuba Abatume be, okuba Bannabbibe, oba okubeera Abalokozi oba Abanunuzi b’abalala. Oba nga nabo baali bantu ekitegeeza nti naawe nange tusobola okwerongoosa emyoyo gyaffe ne tutukula enkya bbiri Mukama n’Atufuula okuba Abatuukirivube. Abantu abaliddawo emyaka bikumi bitaano oba lukumi egijja ate beebagenda okutukoowoolanga batusinze nga ffe twagenda dda! Tebalimanya nti ffe twatuuka ku ddala eryogerwa obutereevu ne Katonda. Omuntu yenna Omutuukirivu aba asobola okuwuliziganya butereevu ne Mukama-Katonda.

              Okusooka byonna nsaba tusooke tuyige enjawulo eriwo wakati w’Abantu Abalanzi, Ababaka oba Abatume oba Bannabbi byonsatule bitegeeza ekintu kye kimu. Kino okiwulira ne mu Bayisiraamu nga bagamba nti Nnabbi Mutume Muhammada SAW. Nnabbi abeera mutume era abeera mubaka wa Katonda. Kyokka Omulanzi ate ye tabeera Nnabbi sso tabeera mubaka wa Katonda mu ngeri yemu eyo, nedda. Eddaala ery’Obutume oba Obunnabbi libeera waggulu wa Bulanzi sso ng’ate Omutume oba Nnabbi abeeramu amaanyi g’ekitone eky’obulanzi era Bannabbi bangi balanga oba baalanganga ebijja mu maaso. So ng’ate ku ludda olulala, Omulanzi tabeera Mutume oba Omubaka wa Katonda. Ago madaala ga njawulo. Bannabbi oba Ababaka (bayite Abatume) baafunanga era bafuna obubaka bwa Katonda nga buyisibwa mu Bamalayika. Kituufu. Lwaki tebaatuukirira butereevu Katonda ne boogera naye? Kubanga eryo eddaala baali tebannalituukako. Tebaali Batuukirivu. Omutuukirivu kitegeeza oyo atuukiridde Mukama n’amulaba n’aoyegera naye butereevu era wakati we ne Mukama waba tewakyaliwo mikugiro gimugaana kwetuukira. Okuggyako mu Ddiini Enkristu oba abakulistaayo oba abagoberezi ba Yezu Kristu, mu bo Abatume tebabeera Bannabbi, Abatume be bali ekkumi n’ababiri Yezu be yalonda okubeera Abayigirizwa be. Ndowooza babayita Abatume kubanga Yezu yeyabalonda ate nga Yezu bamutwalira mu ddaala lya Katonda.

              Okulondebwa okubeera Omubaka oba Nnabbi tekitegeeza nti ggwe gw’oba osinga okubeera Omutukuvu ku nsi. Ku nsi bulijjo kubeerako abantu Abatukuvu ddala n’Abatuukirivu naye Katonda n’atabalonda ate kubeera Bannabbi oba Abatume kubanga bo baba baliko emirimu emirala gye bakola ffe abantu abalala gye tutamanya na kumanya. Nnabbi omu gwe sijja kwatula linnya wano yagenda ne yeerowooza nti ye wakitalo nnyo kubanga Katonda yali amulonze okubeera Nnabbi oba Omubakawe. Katonda bwe yalaba ekyo kwe kumusindika agende eri Omutuukirivu gwe baayitanga Khizri atambule naye. Kyokka teyamubikkulira nti Khizri muntu Mutuukirivuwe. Bwe yatambula ne Khizri, yatuuka okuzuula nti ddala Khizri Mutuukirivu wa Mukama era yali ku ddaala lya waggulu nnyo okusinga erirye ey’Obunabbi! Kyokka yali takimanyi nti ate ku nsi kwaliko omulala amusinga mu budde obwo!

              Awo we njagala otegeerere ddala obulungi. Omutuukirivu yennyini owannamaddala ateekwa okubeera nga atuukiridde Mukama n’amulaba n’ayogera naye n’abeera bumu naye. Kyokka Abatuukrivu abasinga be mumanyi mu madiini eryo eddaala tebalituukako ery’okutuukirira Mukama. Baalondebwa bulondebwa bantu bannaabwe ne bateekebwa ku lukalala lw’obwesiimi ate ne baggibwa ku bwesiimi ne balangirirwa nti batuukirivu kyokka nga mu bbanga ly;obulamu bwabwe ku nsi tebaali Batuukirivu era tebaatuukirirako Mukama maaso ku maaso. Tebaamanyako nti balirangirirwa okuba Abatuukirivu. Ndowooza ontegeera bulungi wano? Amawulire amalungi ge nnina gatugamba nti buli mutonde yenna ggwe nange tulina obusobozi okutuukirira Mukama ssinga tusanga Omutuukirivu Omulamu natutendeka mu Nnono ez’Obutuukirivu era ne twewaayo okwerongoosa emyoyo gayffe nga tugoberera by’atutendeseemu. Ekitugaana kwekubeera nti Obutuukirivu tubugabira bantu abaava edda ku nsi tetukkiriza nti naffe tusobola okutuukako kaakano nga tukyali balamu. Abatuukirivu tumanyi bafu sso ng’Abalamu abaliwo ku nsi tetubakkiriza nti ddala Batuukirivu.

              Kozzi oli Musajja Muganda ssebo? Ne gw’ozadde akukubira eng’oma nozina kitegeeza ki? Kitubikkulira kyama ki? Okusooka okutondebwa tekitegeeza ggwe gw’oba osinga abalala bonna ekitiibwa mu maaso ga Mukama-Katonda. Abatondeddwa oluvannyuma bayinza okubeera nga bali wagguluwo. Adam oba Kintu baabaddewo ku nsi luvannyuma nnyo ng’Obutinzi bwabaawo dda. Eno ensi kwetuli y’emu kw’ezo ezikyali ento mu Butonzi. Kyokka ku nsensimbe (planets) endala ezaakula edda kuliko ebitonde ebirala ebitali bantu ngaffe. Bamalayika basangibwa wonna mu Butonzi naye abantu tetusangibwa ku buli nsensimbe(planet) eri mu Butonzi. N’olwekyo ekibuuzo kirowoozeeko nnyo oba kikyagasa oba nedda. Baibuli oba Koran bitabo byawandiikirwa wano ku nsi kuno era tebimanyiddwa sso tebisomwa era tebigobererwa mu planets oba ku nsensimbe endala eziri wonna mu Butonzi. Jjukira nti ensi eziri mu Butonzi tezimanyidda na muwendo gwa bungi bwaazo. Kale bw’ovaayo n’oyogera ku bitabo Ebitukuvu ebiri wano ku nsi eno eyaffe obeera nga azannyira obuzannyuzi ku Butonzi….

              Mw’ekyo sinnakuwakanyanako n’akamu ssebo Omugeye. Nkimanyi nti naawe Omugeye olina ekitone oba ebitone bye wajja nabyo sso nange nga nnyinza okuba n’ebyange bye yampa Mukama. Bw’atyo buli muntu alina ekitone ekikye Wewaawo ng’abasinga obungi tetufaayo kukulaakulanya bitone ebyo oba okubyeyambisa ku lwaffe oba ku lw’obulungi bw’abatonde abalala. Ekikulu si kwe kubeera n’ekitone naye ekikulu kwe kukyeyambisa okuyamba abalala oba okwekulaakulanya naddala mu kulongoosa omwoyo gwo. Ekigendererwa ky’okuzaalibwa ng’omuntu kwe kukung’aanya ebitone Ebitukuvu byonna bijjule mu ffe, tulyoke tubeera abatuukiridde; amakulu abalina ebitone Ebitukuvu mu bujjuvu bwabyo nga Mukama bwe yategeka. Nnagambye nti Omuntu Omutuukirivu abeera n’ebitone byonna ebya mwoyo ate aba atuukiridde mu bitone Ebitukuvu byonna. Eyo y’emu ku nsonga emuyisa Omutuukirivu. Waliwo ensonga endala enkulu ezimutuusa ku ddaala ly’Obutuukirivu. Tulibyogerako oluvannyuma. Weebale nnyo ssebo Omugeye, okumpa akakisa okukuyigirako n’okweyongera okumanya okuva gy’oli ssebo. Mulaka-Ntanzi-Mmilodi.

              #25982
              MusajjalumbwaMusajjalumbwa
              Participant

                Musajja wa Kabaka Mulaka Ntanzi nkulamusizza. Mukama wange emboozi yo etabankanya obwongo nga emmeere engwiira engattike gattike bwetabankanya olubuto. Ekirungi obwongo bwebutabankana bubanga obukola doyiro, era bugenda okuvaawo nga bweyongedde amaanyi gokulowooza. Mpa ekiteeso ebintu bino obisse mu katabo, abantu baffe basomeko balabe ku ndowooza endala bweziri. Ku bwange, sagala nyo kugattika ndowooza za mawanga malala mu zaffe eza Baganda. Mmala kulaba nga byendeeta birina webija, era kasita biseetukamu nga bisagalira wembitadde nga mbisokolayo nga nkanyuga eri, nga nsigaza abya Buganda yattu nga ba jjajja bwebabitulekera.

                Wabula Mukulu Mulaka Ntanzi webale omulimu ogwo.
                Awangaale Ssaabasajja Kabaka Wa Baganda.

                #26006
                mugeyemugeye
                Participant

                  Mukama wange kweyanziza nyo ndowooza neyongeddeko kukyembadde manyi,newankubadde ebimu ngabwogambye byetaga kutegerwa balungamiziddwa ndowooza netagamu okulungamizibwa kubyomwoyo nobutukilivu ndyoke mbitegere bulungi!Naye nga gw’omulimu ogukoledde ddala ndowoza lwakuba ensigo wozitadde obutaka bwakuwama buwami.naye nga okumeruka zijja kumeruka.
                  Wangala nanyini Nsi yabuganda

                  #26008
                  BusagwaBusagwa
                  Participant

                    Nga nyongera kukya Musajjalumbwa,Mwami Mulaka-Ntanzi totujja ku mulamwa gwa kununula Nyaffe Buganda ne Lubaalewo..Omanyi abatayagaliza Buganda bekweese bu biti biingi abamu beyita ba Mzeeyi Zedde abaandi beyita Babyafaayo! Ekigendererwa kyaabwe kwekutujja ku mulamwa nga bayita mu “Dirty Tricks Squad” Wandiika ekitabo okiteeke ku Amazon..Or else give us a Break!

                    #26039

                    Ssebo Mwami oba Nnyabo Busagwa era ddala wandibeera obusagwa obuyinza okusanyawo Obuganda ne Kabaka waffe kasita obeera nga bw’osoma ebiwandiiko ku mukutu gwaffe omulungi obisoma kafuulannenge. Nze tewaliiwo we nnali ng’ambidde nti nsamira lubaale oba nti ndi musamize. Ekyo nno kyoleka nti bye wasoma mu bye nnawandiika byonna tolina kye waggyamu wadde ekimu bwe kiti okuggyako okutwala mu mutwe gwo ekyo ggwe ky’osinga okwettanira; okuyiwa omusaayi gw’Abaganda n’ogwabalala nga okuba engoma z’olutalo olwomunda lw’omanyidde ddala nti si lutalo lwangu kuwangula. Njagala nnyo Buganda era ne Kabaka waffe kyokka sisobola kuwagira kintu oba entegeka yonna gye ndabira ddala nga egenda kutusuula mu ddubi mwe tutalisobola kweggya mangu, okuggyako olw’Ekisa n’Obusaasisi bwa Mukama Sseggulumanda.

                    Bangi aboogera ebigambo wamma eby’obusagwa ng’ebyo by’oyogedde kyokka nga tebamanyi busagwa bwenkana wa bwe bayiye mu mitima, mu mmeeme ne mu myoyo gy’abantu. Kale ggwe okunjogerera nti ndi omu kw’abo b’ogamba abeeyanbisa “Dirty Tricks Squad” n’ombalira mw’abo muli ndabira ddala nga wamma ddala Abaganda bwe tunaakulemberwa abantu abali fanatical oba bamwoyo-gwa-ggwanga abatasooka kulowooza na kwefumiitiriza nnyo kigenda wala, Obuganda tujja kufuma bufume mpozzi bunaasigala mu mitima gyaffe. Babadde bantu Baganda ddala abazze balya mu Bakabaka baffe enkwe, naddala abo ababuubuuka obubuusi nga mu bye boogera temuli mulamwa guzimba Bwakabaka bwaffe.

                    Nnindaako ssebo/nnyabo Busagwa lwe ndiwandiika ku by’Obufuzi olwo olinkwagula naye kati okusinga njogera ku bya Buwangwa bwaffe n’engeri gye bwatawaana ne bubula ne buva ku mulamwa Omutukuvu ate ng’okubula okwo kwekutuusizza Buganda mu ssa lino kati lye tutawaanamu.

                    Kyandibadde kirungi n’osomako ku bawandiisi abalala abawandiise ku bye nzize mpandiika ku mutwe guno, olabe oba abasinga bakkiriziganya naawe mu by’onnyanukudde oba nedda.

                    Nange nnandisobodde okukugamba nti leka kutubuzaabuza na kutuzza mu nsiko mbu tulwanirira Obuganda kyokka nga tetulina bye tutegese ddala ebikuza Obuganda, naye sijja kukikugamba ekyo. Sooka otulage Marshall Plan ya Myaka amakumi abiri mu etaano gy’okoze eyo gy’oyagala Obuganda butambulireko ssinga olutalo tululinnyako nga bw’olutegese. Abaffe era mukyalowooza nti Abaganda bakyatwalirwa mu bisero nga luli edda mbu kubanga tebalowooza; mbu kubanga olunaayogera ku Bwakabaka ne Kabaka ng’osaakaanya olwo nga ffenna tukuba mu ngalo. Nedda. Okusaakiriza obusaakiriza nga ne bwe kubeera kugenda mu nsiko tojja kulinnyayo, tekibaamu makulu. Ffe tunoonya makubo gaggyawo kigoyeweezinge ekizzeewo ekiyinza okuviiramu Kabaka waffe ate okudda mu kudduka embiro ng’anoonya obubudamo ate mmwe mwongera kuyiwa mafuta mu kyoto. Olwo tukole tutya? Ne M7 okugenda mu nsiko yamala kuteekawo nsonga ezaali ez’okuleetawo encuukacuuka mu Uganda. Kati oba tumanyi ebibi M7 by’akoze Kabaka waffe, tetwetaaga kubikulembeza wabula kye twetaaga kwe kukulembeza biki bye tutegese okukola okukuuma Obuganda ne Kabaka waffe.

                    You are asking me to give you and your cronies a break; what kind of break do you seek? A breat to break the hearts of the Baganda and the dear heart of our Kabaka because you can beat drums of a civil war? Now let us know what your plans are regarding the impending take over of Bulange? What are you planning to do about it? What plans do you have if any day our Kabaka is attacked because men like you go on beating drums of a civil war in Buganda? Show us concrete and viable plans, please. You will say that you cannot outline your secret plans on a public forum like this. I know that but I am not asking for your war plans my dear. I am asking you for your political minifesto for Buganda’s growth and development. A manifesto that we can look at and invest our trust in. Most of all, the points and steps that you have taken to safeguard the life of our Kabaka and the Baganda. Steps to prevent the Government from going rougue against Buganda any more. I have not yet seen one such a vital document outlining such steps by or from any one of those who are beating drums of war. Are you going to host and support the Kabaka if he were to run into exile once again because of men like you who advocate for Buganda to secede? We want our Kabaka in his kingdom not somewhere in a foreign country once again. One thing many of us dislike is negative history repeating itself at the detriment of Buganda, our king and poeples.

                    We are not going to let our kingdom and our country be destroyed by those whose personal selfish agendas are fostered without a viable plan that we can follow for peace, growth and development of Buganda and Uganda at large.

                    If you have nothing to write just do not write. Let those with nation-building ideas and thought-provoking material do the writing. It was the Greek Philosopher Aristotle who said that a man who does not participate in politics is either a beast or a god. Of the two, I want to be a god! Indeed a better One.

                    #26074
                    MachatiMachati
                    Participant

                      Ono Malaka yaani agenda avuma buli mukiise? Lwaki alina akamanyiro bwekatyo, yefudde nti yekka yategeera abalala bonna basiru. Afaayo ki oba tulwanirira ensi yaffe nemundu, waliwo mugambye ye azitunonyeze? Alowooza nebwetuba ne plan zaffe tugenda kuzimugamba ono bilaka? Kigongo jangu ogobe ono omusajja wano mbega wa kanywa musaayi. Twabakoowa dda ddayo e Rwakitula tetwagala magezi yadde obuyambi bwo.

                    Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 35 total)
                    • You must be logged in to reply to this topic.

                    Comments are closed.