Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Ebyeddiini / Religion › Ddala Lubale ye diini ya Buganda?
Tagged: Cilais LesPaxy
- This topic has 34 replies, 14 voices, and was last updated 6 years, 9 months ago by Musoke.
-
AuthorPosts
-
February 14, 2010 at 2:05 pm #26076
Bannange Munyambe Basajja ba Kabaka!! Wuuyo mbu yye wa Byafaayo
naye ekikwata ku Kanywamusaayi takyogerako ali ku KABAKA waffe yemala ggoga!..Ekinyaambye siri nzekka..Wamma Machati bwagaana okwabuuka muyiseemu Left…Nebwebanakolaki..Tetukyadda mabega
ate tewali Musiru agenda kubabuulira move zaffe..WANGAALA AYI SABASAJJA KABAKA LANDLOODI, NYANJA TEMANYIIRWA..February 14, 2010 at 5:43 pm #26080Ebigambo bya mukulu Muloka ebimu bibadde birungi bya kunyumyaako singa nze mbadde nina akadde. Naye wabula waliwo ensonga ezikwata ku Buganda zakwaata nga 0mulabe ate oweebeeru omusindike. Okutandika okugamba nti Abaganda baganda ba Banyankole oba Nabanyarwanda abatta abantu nokukwaata obwaana obuweere nebabuyuzaamu mu bukaba, okuli okusaddaaka nobubbi ekyo tewali muntu yenna ayinza kukyagala. Era okuwakanya Yesu kyeyagamba nti Muganda wange yooyo awulira nokukola Katonda byayagala nakyo tekikutunuza nga omwooyo omulungi. Bwaaba Katonda Kitaffe womuggulu azalukuka ebitonde bye, ate ffe ababisanga obusanzi ku nsi? Ekyo singa obadde okitegeera bulungi nengeri gyekituulamu mu nnono ya Baganda wandibadde okireka nga bwekiri. Oyinza okubera nga oli mugezi nyo, oba okusinga abantu abali eyo gyooli, naye jjukira nga bwewagambye ebitone Katonda abigabira abantu abaweera. Ebingi ennyo sagala kubigendamu, naye waliwo obutamanya bwa maanyi ddala mpozi bwenyinza nokuyita gaboggola, ku bintu nga ebyo byowandiika mbu Omukakwa yeyazza enjole ya Ssekabaka Muteesa II, jjukira nti nga Musajjalumbwa bweyakugambye, era Omulango nomukakwa oyo ababbi ate nga batemu era bebamugulako olutalo nebamugoba mu Lubiri lwe ate nebamulumba gyeyagenda nebamutta. Oba ddala olimwana wa ssaza ekyo sikimanyi, bangi bogera ebintu bingi amazima bwegatakwatagana omuntu alina ebeetu okubuusabuusa. Wano tolaga nakumanya Omuganda yaani. Naye wandibadde okimanyi nti Abaganda baayagala okutandika olutalo nga Kabaka bamugobye mu Lubiri, wuliriza ku Luyimba lwa Dan Mugula oluyitibwa 1966, ojja kuwulira ebyaaliwo era omanye nnokumanya nti kyaali kyetuyita common knowledge. Ate okugamba nti Omunyankole yeyalwaanirira eddembe lya Baganda lyebatalina, oyonoona biseera, bimanyiddwa bonna Abaganda aba ddala ani eyasooka mu nsiko. Nate ezo ensobi kati Abaganda bazinogera eddagala era tofaayo ggwe genda mu maaso nebyokoleera ensi yo ebisinga rediyo Yabaganda nebirala abantu byebakola oba byebakoze wano gyooba buli alina kyakola alina kusooka kukitegeeza ggwe. Wandisoose oba wa Ssaabasajja nakuwa obwaami obwo nolyooka ojja nga olina ebikwogerako. Ekitali ekyo, kola ebibyo ebigasa Oleke nabalala bakole byebakola. Nga byowandiika wano byolowooza nti bigasa nnyo, ate biyinza okukufuula omulabe wabantu. Kisingako singa ogenda mu maaso ne UN, Mutesa II yeyasookayo naye. Gezaako nokuteesa nokukola byonna byoyagala naba Nyamulenge banno, mutegeragane naye eno abantu bajja kukola byebamanyi era totagala tolina kyonna kyosobola kukyuusaako wadde abakusingako tebalina kyebayinza kukola kuziyiza Ddunda Liso Ddene. Omusaayi gwaayiika, guyiise era gukyayiika. Ggwe linda ogugwo ngowa baana bo, anti ekitta atabadde….ate nesikirabanga …. naye tolina buyinza yadde wano ku nsi yadde okuva mu ggulu bugaana bantu kwelwanaako nga bwebalaba oba bwebalowooza. Eno site eteesa bya Buganda byokka. Ebyo byoyogeera bitwaale nga bwebakikugambyeeko mu bantu abajja okubinyumirwa nokutegeragana naawe. Mpozzi nekisemba, Katonda oyo gwogambye nti omwenkana obutuukirivu, ffe tumumanyi nti wa waggulu nnyo ku bitonde bye byonna era tewali kimwenkana wadde ebiri munsi wadde ebiri mu ggulu. Oyo yatuwa dda ekkubo okwelwaanako, era tukikakasa mu kukkiriza nti ajja kutuwa obuwanguzi ppaka lwetunalinnya ku balabe baffe abalabe ba Buganda. Kale wano byowandiika ate nga bingi byowandiika, bya kumala biseera, tebyeetagisa genda osomese abalala, naddala ndowooza aba Rwanyalitara abakkiriza nti basinga Katonda amaanyi mpozzi nga kyekibabbisa nokutirimbula namungi wa bantu eyenkanidde awo. Ekibi bwodda wano okuvvoola Katonda tuwulira nga ffe abalina omusango okukuleka. Wano tuli bantu ba Katonda kale kisingako nogenda mu basaddaasi abalina omulimu omuneene ogwokusuula Katonda we Butonda. Nze ndowooza eyo amagezi go bayinza okugetaaga, wadde ekikakafu kiri kimu, tewali kijja kubawonya. Wano tetujja kufuna mirembe era tewali kyetutajja kugeezaako okubakomya okukwaata abaana abaweere nabakadde abe myaaka 100 nemubasobyaako, obuseegu, obubbi, okusadaaka, okutabulabula Abaganda ba Katonda, byonna ebinyiiza Katonda waffe. Luno olutalo lutukuvu, lwa good na evil. Ddayo mu camp yo, tulinde Katonda kyanasalawo, anti tewali wadde akakoola akava ku muti nekagwa wansi nga takakkirizza. Byeebyo munnaffe.
February 16, 2010 at 1:54 am #26085Wamma Mulongo ggwe ontangaazizza okusinga bwe mbadde mmanyi. Ekikulu era nga bwe nnagamba, okuva mu mwaka gwa 2000 sibaddeeyo eka (Uganda) n’okutuusa leero. Bingi ebifa eka mu butuufu mbadde sibigoberera nnyo okutuusa lwe nnalaba Ababaka.com ne radio y’Abaganda. Sibadde musomi nnyo wa mawulira g’Eka kubanga empapula nga The New Vision ne Bukedde mpapula za gavumenti kale nnakoma dda okuzisoma emyaka gyekulungudde. Nzisoma bbalirirwe. Eka teriiyo lupapula lwa Buganda olwesigika lwe tusobola okusomera ku ntetenusi(Internet)?
Mu kino kye ntegeeza nti Mulongo ampadde okumanya ebisingako ku bye mbadde mmanyi ebifa eka okusinga ba Busagwa, Machati ne Musajjaalumbwa ababadde bangoba obugobi olw’ebirowoozo byange okuba nga tebikwatagana na kumanya kwabwe. Naye ndowooza kati banaakitegeera nti tubadde tetukwatagana kubanga bye bamanyi ebifa eka bingi nze mbadde sibimanyi.
Mu butuufu bwe mmaze okusoma ebbaluwa ya Muolong ngenze ku Ababaka.Com nneeyongere okuyiga ebifa eka. Nsanzeeko omukutu ogwa Ggwanga Mujje. Ngusosmye ne ngumalako. Gumpadde okumanya bingi ebifa eka ebitali birungi era ebiruma Abaganda. Naddala nsomye ku lukiiko lwa Katikkiro JB Walusimbi n’Abazzukulu ba Buganda, Bye nsomye binsanyusizza nnyo era ne ngiga bingi ebifa eka.
Bwe ng’amba nno binzibudde amaaso ne mmanya lwaki abasajja bali ba Busagwa, ba Machati ne Mugereka babadde bangoba. Kye babadde bangobera mbadde sinnakitegeera naye kati ntegedde lwaki babadde bansunguwalira bwe batyo. Ekituufu ebifa eka birabika bingi ebituusizza abantu baffe okunyiiga ennyo bwe batyo.
Nze kwekugamba bimpaawazizza amatu okuwulira nti bwe bityo ddala bwe biri. nze mbadde mbitwala ng’ebigambo by’abantu abawandiika okwesanyusa oluusi okunyumya obunyumya emboozi naye bye nfunye ku mikutu egitali gimu ku Ababaka.com bimpadde okutangaala.
Ssinga bannange abo baali bawandiika nga bandaga ebifa eka nga Mulongo bw’alafuubanye, nnandibadde nnategeera dda. Abuulira omugezi bagamba teyeeruma lulimi. Kyokka mwenna mbeebaza kubanga Bajjajjaffe baagamba nti Ebivumo oluusi biyamba. Mwebale okunvuma bwe mutyo, Akugoba y’akuwa ekkubo!
Okuva lwe nnava eka mu 2000 wamma bingi nnyo ebitali birungi byeyongedde nnyo era abantu baffe bali ku bugubi ddala.
February 16, 2010 at 9:42 pm #26089Bwemutyo mubuzabuza nga batunzi ba Kamulali nti “byebatunda biwooma” Mulaka-Ntanzi oba olina abaana abato ebyo byooba obanyumiza!! Tulabye Intelligence Systems nyiingi Ku Nsi kuno era waliwo naba Russia lwebaddukanga ewaabwe nebasaba Obutuuze mu Amerika era nebeyongera kukettera nsi yaabwe!!Oba Tomanyi bifa Mu nsi nga Uganda ate nga Omanyi Lubaale genda mumaaso!!!
May 10, 2010 at 9:34 pm #26408 -
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.