E Kasese bannangidde okubeera Omuganda

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Kintabuli / Salmagundi E Kasese bannangidde okubeera Omuganda

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Basajjamivule Anonymous 7 years, 1 month ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18056
    Basajjamivule
    Anonymous

    E Kasese bannangidde okubeera Omuganda

    Bwe waba waali wabaddewo obusosoze

    nensonyi okuzifuula obusuungu kati kola ensobi wesange wabweeru wa Buganda, ensonga eri nti bonna abakunganira mu Uganda bakyeewa nti batweekwa kugweera mu Buganda okwenyagira ku byendola kuba bo tebakwatira bagwiira biso namafumu nga bwekiri mu bitundu ebirala byonna , ekirala balaba abaganda bwebayisibwa nokuttibwa okutulugunyizibwa naye ani gwe mwaali muwulidde avaayo nabuuza oba nanenya abakola okutulugunya eri abaganda , buli omu asirika busirisi agamba gyebakoma okubajjawo naye wafunira akakisa okuleeta ekyaalo nakyo kyeliire nokwetwalira ebyejjenjeero ebiri e Buganda naye nga okuva edda lyonna Abaganda bebabadde bawaayo obulamu bwaabwe okukuuma ensi nga balala entalo bwezibandukawo nga babulira mu thin air mpozzi nga luli waabwe ngebyaabwe byebikwatibwaako , ekyewunyisa kituufu omuganda nandibadde abonyebonye ebbanga lino lyonna naye era abadde addukirira enduulu yabalala wakiri nakyogerako

    BUNO OBUKYAAYI OKUBUVUMULA NGA BULI MBUZI EZZE KU NKONDO YAAYO BULI AYAGALA OKUBBA ABBE GYAZAALWA NAYAGALA OKUTTA AGENDE ATTE ABEWAABWE , TUKOOYE ABABBI ATE NGA BATEMU

    Nabadde siri mweteefuteefu kuddamu kuwandiika ku byakulonda by’e Kasese naddala ekyantutteyo nga kiwedde. Mwenna kati mukimanyi bulungi nti owa FDC eyawanguddeyo ye Muky. Winnie Kiiza Nyabahasa.
    Erinnya lye erisembayo Nyabahasa litegeeza Nnaalongo n’olwekyo omukyala ono ye ssewasswa kazaala baana ssewasswa kazaala balongo.
    Ensonga eyookubiri lwaki mbadde ssaagala kuddamu by’e Kasese kwekuba nga nabadde ndi eyo abasajja ne bookya ekifo kyaffe ekyobuwangwa ekirala e Naggalabi.
    Mbayise basajja kubanga ebyo ebikolobero tebikolwa bakazi; bamaama bateekwa kubeera bagonvu era bamuzzanganda, mpozzi ono ng’eyeewaana okubawakankula emmanju ye yatuleetera obuzibu. Anti mwenna mukimanyi nti obuwangwa bwawukana.
    ngenda kukunyumiza eby’e Kasese weeyongere okumanya obuwangwa nga bwe byawukana. Omulembe guno gwe nsookeddeko okulaba nga n’abakazi babba ebizito, abakazi wandibasuubidde kubba mmere singa bannyaabwe baba tebaabookya ngalo.
    Naye luno lwasukkiridde, omukazi ate nga mumbejja w’e Bunyoro, Masiko Kabakumba Labwoni bwe yayimukidde mu byuma ebiyamba leediyo ne ttivvi okuweereza ku mpewo. Kabbira omukazi nga tanyuma, naye ate nze ngambye nti obuwangwa bwawukana. Teebereza ng’abbye ebyuma mumbejja wa wano e Mengo, wamma gwalijabagidde.
    N’olwekyo nze nno nkugamba nti abaayokezza Naggalabi bateekwa kubeera basajja bano. Mulimu be mpulidde bagamba nti osanga nkaayana za mu lubiri.
    Kale ekyo nakyo kisoboka okubeera ekituufu naye olubiri lwali lubuzeemu ddi enkaayana? Edda zaaviirangako ddala n’okufa, ng’Abalangira battinganira ddala naye tezaavaamu kwokya masiro oba Naggalabi.

    Naye munkooyeza ki? Mmwe abakuma mu baana b’engoma ogutaaka temubamanyi? Omuntu yajjirwa obusajja buno. Ndowooza obutayambala mpale mu buto kye kyabulobera okuba n’obuntu bulamu;
    n’oyokya n’abafu abali emagombe bw’omala n’olumba ekifo ky’ebyobuwangwa bya banno?! Naye nga Ssaabasajja bw’agamba ekikutte obudde kijja kubuta.
    Ggwe olaba n’abazungu abamaanyuuka obute nabo obuwangwa bwabwe babuwa ekitiibwa era nga banaajaganya ku olwo bonna bassaamu n’empale, temwabalaba ng’Omulangira William awasa. Naye omuntu atayina buwangwa bannange ng’abeera wa ttima!
    E Kasese gye nneeyongeredde okumanya nti abantu bangi baboola era bw’obasanga ewaabwe baboggola. Nga bwe mumanyi eteeberezebwa okusinga akavuyo gye bankwasizza. Maj. Gen. Gregory Mugisha Muntu Oyera ssaako omubaka wa palamenti akiikirira abakyala b’e Kaberamaido, Florence Ibi Ekwau, be nakoze nabo mu kitundu Kiyonga ky’akiikirira ekiyitibwa Bukonze West.
    Omulimu omukulu ogwatuweereddwa kwe kulaba ng’abaamagye we balondera teri kubbirayo bululu n’okulaba nga minisita w’ebyokwerinda, Dr. Crispus Kiyonga tatiisatiisa balonzi.
    Nagenze ggulolimu ne nteekateeka era ne nnambula ne ku banaakuuma akalulu, naye nabadde nvaayo ekimotoka kya poliisi ne kigguka. OC we Bwera akatawuni akaliraanye ensalo ne Congo n’ambuuza lwaki nabadde nkola kampeyini.

    Ono mwami Mugisha byatubugumye ng’abatuuze bwe bakuba enduulu eya kasaakirizo. Oluvannyuma omupoliisi ono yeemuludde era emmotoka ey’okulawuna buli gye ndaga ne kye nkola yateekeddwawo.
    Kumakya abakuumi b’obubokisi abamu nze nabeetwalidde awalondebwa naddala mu bifo ebyekusifu. Era eno gye nasangidde mutabani wa minisita Kiyonga, bwe nabuuzizza abaabadde balondesa lwaki amateeka baabadde tebagagoberera, mutabani wa Kiyonga eyabadde mu lunyiriri lw’abagenda okulonda kwe kumbakira.
    Bakira anvuma mu Luswayiri ne mu Lungereza; yannangidde okubeera Omuganda era nambuuza ne kye nnonye ewaabwe gye sisobola na kumumunya lulimu lwe boogera.
    Oluvannyuma yansemberedde n’akuba ekipapula kye nabadde nnyambadde ekinjogerako mu bulago oluyi nga bw’angamba okuzza olugezigezi lw’Abaganda e Kampala.
    Ekintu kino nno kyannumye byansusso okulaba obusajja obukulidde ku mmere yaffe nga bwe butuuka omwabwo ate bwo bufuula bigere. Abo olowooza basobola n’okukuguza akabanja? Kino nno kyakuyiga eri mmwe abasagambiza nabo, bwe batyo bwe baatuyisizza era bwe batulaba.
    Ssaabasajja awangaale.
    SSEMUJJU IBRAHIM NGANDA

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.