EBIFO BYAFFE EBYOBUWANGWA EBYOKEDDWA

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Olulimi Oluganda / Luganda Language EBIFO BYAFFE EBYOBUWANGWA EBYOKEDDWA

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18592
    NdibassaNdibassa
    Participant

    OBUGANDA BWAZIBUKA DDA AMAASO
    Bino ebyokusanyaawo obuwangwa bwaffe birmu nabaganda bennyini abalowoleza kumbuto zaabwe era abatalaba wala ba mmere yareero ba mumpeemu ezange nziruke naye waleme kubaawo yeyibaala nebwaliba ani agenda kusasulira omusaayi gwabaganda ogumwetimbye ku ngalo ze abeere oyo yenna akulembeza ediini okusanyaawo identity ye gwanga Katonda lye yatonda nalissa mu Buganda
    Yesu yennyini yeyagamba nti sizze kujjawo bya buwanga naye ate omuntu obuntu lwaaki yeewa obuvunanyizibwa ye okukikola ? Bino byebimu kubikolimo ebijja okugoberera omusayi gwooyo yenna ebyetambadde abaganda abakyenyigeddemu bebagenda okusooka okusalira omusangao nokubonerezebwa babeere ekyokulabirako , kubanga ababakozesa bino bo ewaabwe tebayononanayo naye omulugube ogubali temumala kusooka ekyo kukilowozaako

    Ekifo ky‘ebyobuwangwa ekirala bakyokyezza e Buddu

    Abantu b’omu ssaza ly’e Buddu bali mu kiyongobero olwekifo ky’ebyobuwangwa ekiyitibwa Nkokonjeru awakuumirwa ebyafaayo by’essaza ly’e Buddu era nga we wasibuka erinnya ly’ekibuga Masaka okwokyebwa, ebibaddemu byonna ne bibengeya.
    Kyayokyeddwa ku lwokubiri ekiro ku ssaawa nga mwenda.
    Abatuuze abaliraanye ekifo kino balina abantu be baasonzeeko nga balumiriza nti balina kye bamanyi ku kkobaane ly’okwokya ekifo kino era nga beekubidde enduulu ku poliisi naye tewali yaakwatiddwa.
    Ku bano kuliko; omukuumi w’akanaala akali okumpi n’ekifo kino, omukungu wa poliisi eyategeerekeseeko erya Alikaazaani n’omusumba aliraanye ekifo kino (amannya gasirikiddwa).

    Wabula aduumira poliisi y’e Masaka, Eddy Sserunjogi yagambye nti tebakutte muntu yenna, bakyakaluubiriddwa mu kunoonyereza olwenkaayana eziri ku kifo kino wakati wa Mengo n’aba Masaka Municipal Council.
    “Mengo egamba kyayo n’aba munisipaali bagamba kyabwe, tukyanoonya nannyiniwo omutuufu era enjuyi zombi twazisabye ebiwandiiko tulabe akirinako obuyinza tumanye wetutandikira.”
    Ba Pookino nga bakulemberwamu Hajji Bulu Katale ne Muguluma bavumiridde ekikolwa kino ne beewuunya okubeera mu kiseera kye kimu ng’ennyumba Bwanika e Naggalabi yaakasaanyizibwawo kyokka nga n’alipoota y’amasiro g’e Kasubi agaasooka okwokyebwa tennafulumizibwa
    Ekifo kino mu byafaayo bya Buganda, Ssekabaka Jjunju ne Ssemakookiro we baasinziira okuwangula essaza ly’e Buddu ku Bunyoro era ne balekawo ebisigalira byabwe omuli; ennyumba y’abalongo eyasaanyeewo.
    Era we wasangibwa ejjinja eryazimbibwa nga bbanka omuterekebwa ebyafaayo bya Buddu ne Buganda n’ennyumba emanyiddwa nga Buddukiro okwava erinnya ly’essaza.

    JAMIRUH KALANZI

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.