Ebika Ne Mirimu Gyaabyo Mu Buganda

  • This topic has 34 replies, 7 voices, and was last updated 2 months ago by Omumbejja.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 35 total)
  • Author
    Posts
  • #19177
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant


      Buli kika kirina omulimu gwaakyo omukulu ate nga gukolebwa oyo yekka ava mu kika ekyo mu Buganda .

      Wano tujja kusaba buli alina omulimu gwamanyi ogukolebwa ekika gundi aleme kulonzalonza kuba kati tugezaako okukunganya, ensonga zaffe wamu okusobola okujjukiza abazerabira , nokuzisomesa abatazimanyi naddala abaana baffe abazalibwa ku mawanga abatali kumpi nabakulu eka okusobola okumanya ebyafaayo bya nnyaffe Buganda.

      OMUSU
      Bebalabirira Buyonjo Kabaka mwagenda

      ENGEYE
      Be basawo ba Kabaka era bebakulira ababumbi ababumbira Obuganda

      EKIBE
      Bamuyiyiza nseke Kabaka zanyweesa nga bamaze okuyiisa omwenge

      EMBOGO
      Bebakongojja Kabaka

      ENGO

      Abe Ngo bebazimba ennyumba

      ENVUMA

      Abe Nvuma bebalunzi ba Kabaka

      EKKOBE
      Bano bebaweesa amafumu,

      EMBWA

      Abembwa bebakulembera Kabaka nga genda okuyigga

      AKAYOZI

      Abakayozi bakubi ba mbuutu eziyitibwa Kanabba

      OLUGAVE
      Abo Lugave bebajjawo olubugo Nnamulondo kwetuula

      ENDIGA
      Abendiga bakuuma KIGGWA tebakibuuka

      EMPEEWO
      AbeMpeewo bebayiggira Kabaka enkwaale

      ENKIMA
      Abe Nkima be ba Jjajja Ba Buganda Abtuwabula

      EFFUMBE
      Be balimira Kabaka Etooke

      ENJOVU
      Ogwaabwe omulimu gwa Buweesi bebaweseza Obuganda

      ENGONGE
      Omulimu gwaabwe gwa kukomaga era baali basaale okwambaza Obuganda bwonna

      EMAMBA
      AbeMamba bebasumikira Kabaka nga naalya Obuganda

      EMPOLOGOMA
      Abe Mpologoma bebalezi be ngoma eza MUJAGUZO

      ENGABI ENSAMBA
      Abe Ngabi Ensamba bebayunzi ba Kabaka nga funye awakyuuse

      Alina Emirimu gyamanyi ku bika ebitamenyeddwa wano ayanirizibwa okwongerako oba alina akatabo akogera ku mirimu gino naye tujja kumusanyukira okutumalirayo, nooyo alina omukulu asobola okugimutegeeza nagiwandiika wansi naye tujja kumwaniriza nassanyu.

      #24952
      Alex KigongoAlex Kigongo
      Keymaster

        Webale omulamwa guno ssebo Omumbejja.

        #24983
        BusagwaBusagwa
        Participant

          Abe Kika kye NYONYI Nakinsige..Mpulira Bebaasika Kaawa wa Kabaka
          era omulimu ogwo nga Kafuuma yagukola…Nyamba oba Mpubiddwa!!

          Nkussaamu ekitiibwa Ssebbo Omumbejja..

          #25028
          NamukaabyaNamukaabya
          Participant

            Ngeye
            babeera bambowa era bakazannyirizi ba Kabaka.

            #26013
            OmumbejjaOmumbejja
            Participant

              Some of the responsibilities held by the Kkobe Clan in the Buganda Kingdom

              resp1.jpg

              OMUTAKA NAMWAMA YAGOBERERA LUBAALE MUKASA E SSESE

              1. Omutaka Namwama in the past fetched Mukasa (god of the sea and birth) from Ssese Islands to be honoured and to solve problems for the reigning king and his people.

              2. Ow’essiga Lwabiriza of Katoolingo, performs two rituals:

              a) Digs graves for the dead princes

              b) Used to remove the King’s jaw-bone for preservation and honour (This custom has long ceased).

              3. Kkobe men from muwanzi fix the King’s spears and for that matter are referred to as ‘Abawanzi’.

              4. Ow’essiga Wanda, plays for the King a flute known as ‘Mwokoola’. Wanda does this with Makanga of Mmamba clan who blows a flute called Kawunde.

              5. Ow’essiga Kakinda (manufactures and sews the bark-cloth which the king to-be adorns for the coronation ceremony.

              6. Kkobe clans-men are the King’s hunters headed by Owesigga Namukangula.

              7. Omutaka Kutulako is responsible for the cultural and ceremonial opening of the road to Naggalabi at a place called Kasenge. This is a road through which a crowning prince of Buganda passes through on his way to his coronation at Naggalabi – Buddo, Busiro county.

              #26014
              OmumbejjaOmumbejja
              Participant

                Ow’essiga Lwabiriza of Katoolingo

                YE AKOLA EMIKOLO EBIRI

                OGWOKUSIMA ENTAANA ZA BALANGIRA

                NOKUJJA AKABA KU NJOLE YA KABAKA (NAYE KATI KINO BAKIDIBYA) resp2.jpg

                #26442
                NamukaabyaNamukaabya
                Participant

                  Omuzaana wa Kabaka Mirembe twesimmye nnyo omulimu guno gwotukoledde okutuyiggira naye olwokuba guno omulamwa gwaali gwaggulwaawo okukunganyiza wano ebyo byennyini byoleese bibeere wamu kyenvudde mbireeta wano

                  Aboolugave basumikira Kabaka

                  EKIKA ky’Olugave kimu ku bika by’Abaganda binnansangwa. Ekika nnansangwa kitegeeza nti Kintu yagenda okujja mu Buganda ekika kino yasanga weekiri. Bino biri mukaaga. Ebika ebirala byajja ne Kintu n’ebirala ne bijja ne Kimera. Owaakasolya ye Ndugwa atuula e Ssekiwunga Katende mu Mawokota.

                  Akabbiro kaabwe Maleere.
                  Emibala gyabwe givuga nti, ‘Lwa Ndugwa lwa Katende
                  Sseruku lulengejja, simanyi lulingwira’ n’ebisoko ebirala ebigenderako.

                  Gino gy’emirimu gyabwe ku Kabaka;

                  Batuuza; be baalirira ekiwu kya Kabaka.

                  Baweesi;
                  be baweesa empiima ‘Naluwan-gula’ Kabaka gy’alwanyisa.

                  Bakubi
                  era bakuumi ba Mujaguzo. Abakulira ku mulimu ogwo ye Ntenga. Okusumikira n’okusalira Abalangira emisango.

                  Kasujju Lubinga
                  y’asumikira Abalangira wamu n’okubasalira emisango. Kabaka bw’aggya omukono mu ngabo,
                  Kasujju Lubinga aleeta Omulangira anaalya Obwakabaka n’amukwasa Katikkiro ku Wankaaki nga bw’agamba nti,

                  ‘Ono ye Kabaka.’

                  Mugema bw’amala okusumikira Kabaka ku ddyo, Kasujju Lubinga naye asumikira Kabaka eddiba ly’engo n’olubugo ng’ebifundikwa ebibye biri ku ddyo nga bw’alaamiriza nti,

                  ‘Okolanga bulungi emirimu gyo gyonna era ofuganga bulungi abantu bo bonna.
                  Oluvannyuma n’amukwasa mu mukono gwe ogwa kkono empiima eyitibwa Naluwangula nga bw’alaamiriza nti,

                  ‘Kwata empiima eno kabe kabonero akategeeza nti abantu bonna onoobasaliranga emisango gyabwe ng’ogoberera amazima gennyini awatali kusaliriza.

                  Omulimu omukulu ogwa Kasujju edda kwabanga kukuuma Balangira bonna abakulu mu kkomera okuggyako Kiweewa
                  (omwana wa Kabaka ow’obulenzi asooka) nga batya nti bayinza okwagala okuwamba Kabaka aliko.

                  Obumbowa; omulimu gw’obumbowa baagutandika ku Ssekabaka Kimera bwe yaggya Kaweekwa ku bulunzi n’amuwa obumbowa.

                  Era be baasamiriranga balubaale; Nagawonye, Mukasa, Kiwanuka ne Ddungu.

                  Be bakima amazzi ga Kabaka g’anywa.
                  Kalali y’akola omulimu ogwo era mu kusumika alaga Kabaka olwendo lw’amazzi nga bw’amugamba nti,
                  ‘Nze nkukimira amazzi g’onywa.

                  Be baleeta omuzaana wa Nanzigu. Obwananzigu buliibwa bakazi ba Mbogo era bwansikirano.

                  Be bakubira Kabaka empafu n’okumulimira emmere y’omwaka.

                  Omugave akola omulimu ogwo ye Masiko. Ono era y’alima omuddo mu Namuziga y’Olubiri lwa Kabaka ey’omunda.

                  #26467
                  KulabakoKulabako
                  Participant

                    Abengeye be bakalindaluzzi

                    Bya Mariam Kyabangi

                    EMU ku nsonga ezaasikiriza Abaganda okuba n’ebika kwe kuweereza Kabaka. Bwe batyo baayawulibwamu ebika, buli kika ne kiweebwa omulimu gwe kikola ewa Kabaka.

                    Ekika ky’engeye:
                    Owaakasolya ye Kasujja atuula e Busujja.

                    Akabbiro kaabwe kkunguvvu.

                    Omubala gwabwe guvuga nti,

                    ‘Tatuula asuulumba busuulumbi
                    Ttutu lifumita likyali tto
                    Essenke lisala busazi’

                    Emirimu gyabwe ku Kabaka:
                    Be bakalindaluzzi. Kalindaluzzi y’awa Kabaka amazzi ag’okunywa era y’akuuma oluzzi Kabaka mw’anywa amazzi.
                    Oluzzi olwo luyitibwa ‘Kanywabalangira’. Terunywebwamu muntu mulala era edda nga ne Kabaka tatuuka we luli.

                    Obwakalindaluzzi bwa nsikirano mu Bengeye era Kalindaluzzi bw’afa, Kabaka tanywa mazzi kuva mu Kanywabalangira okutuusa nga bataddeko omusika.

                    Be babumbi ba Kabaka abakulu. Sseddagala omubumbi wa Kabaka omukulu ava mu kika kya Ngeye.

                    Be baseresi b’enju ya Kabaka abakulu.
                    Akola omulimu guno ayitibwa Wabulaakayole.

                    Be bakabona ba Walumbe e Ttanda
                    . Omuzirangeye akola omulimu guno ye Nakabaale e Ttanda.

                    Mpoza mu Ggwaatiro ye Ssaabaddu mu Ssenero lya Kabaka.
                    Y’akulira abaddu bonna mu Ssenero lya Kabaka.

                    Published on: Saturday, 29th May, 2010

                    #26511
                    NdibassaNdibassa
                    Participant

                      Abennyonyi be bakuma Ggombolola

                      Bya Mariam Kyabangi

                      BULI kika wano mu Buganda kirina emirimu gye kiweereza Ssaabasajja.

                      Omulimu ogukolebwa ekika ekimu agukola alina kuva mu kika ekyo so si mu kirala kyonna.

                      Ekika ky’Ennyonyi:
                      Omukulu w’akasolya ye Kakoto Mbaziira.

                      Akabbiro kaabwe kkunguvvu.
                      Emibala gyabwe givuga nti,

                      1. ‘Bampe omuggo nneewerekeze Mu Kyambadde mulimu engo (ogwo gwe gwa Mbaziira n’amasiga ge)

                      2. Si mwana kijjolooto
                      Bw’ali wa Nnyonyi abuuse’ (ogwo gwe gwa Kyeyune n’amasiga ge).

                      Emirimu gyabwe ewa Kabaka;

                      1. Obwa Musolooza bukolebwa wa Nnyonyi.

                      Musolooza y’akumira Kabaka omuliro era ava mu ssiga lya Kyeyune e Mirembe.

                      Omulimu ogwo Abennyonyi baagutandika ku Ssekabaka Kintu era eyasooka okugukola yali Ssekituba.
                      Oluvannyuma erinnya eryo lyamuggyibwako n’atuumibwa Kyasanku Kakumirizi ate oluvannyuma n’ayitibwa Musolooza.
                      Erinnya eryo lyava ku kikolwa ky’okusolooza enku ezaakumiranga Kabaka omuliro.

                      Musolooza y’akuma ekyoto Ggombolola ekisangibwa mu Wankaaki w’Olubiri lwa Kabaka ekiraga nti Kabaka waali alamula. Kabaka lw’aggya omukono mu ngabo, omuliro gw’omu kyoto Ggombolola lwe guzikira era mu kubikira Obuganda bagamba nti, ‘Omuliro guzikidde’.

                      Edda ennyo Kabaka bwe yakisanga omukono nga ne Musolooza attibwa agende mangu Kabaka gy’alaze amukumire omuliro nga bw’abadde akola ng’akyali mulamu.

                      2. Basawo ba Kabaka, okufaananako Abeffumbe. Omuzirannyonyi akola omulimu guno ye Mbaziira.
                      Kakoto Mbaziira yali musawo nnyo era lumu yayagala okutuukako mu Kyaggwe bwe yali anaatera okutuuka e Mukono, n’asanga ennyanja, bwe yalaba talina maato gaakumusomosa, yanoga eddagala n’aliyiwa ku nnyanja n’efuuka omugga na kaakaano omugga ogwo guyitibwa Nakiyanja. Oluvannyuma bwe yasanga Kintu e Bulondoganyi n’afuuka omusawo we.

                      3. Be basamirira Lubaale Mirimu e Ndejje mu Kyaddondo.


                      4. Balunzi ba Kabaka.
                      Omu ku batabani ba Kakoto Mbaziira ayitibwa Kabengwa ye yalundanga ente ya Kintu eyayitibwanga Kanywomu.

                      5. Babazzi b’amaato ga Kabaka. Kakoto Mbaziira era yawa Kintu mutabaniwe ayitibwa Muyanja ayambenga musajja we, Mubiru Gabunga okubajja amaato g’empingu (eggye ly’oku mazzi).

                      Muyanja mu mulimu guno ogw’okubajja amaato yeeyambisanga embazzi bbiri; Nnankunga ne Balyamanyama.

                      Published on: Saturday, 5th June, 2010

                      #26565
                      NdibassaNdibassa
                      Participant

                        Abenjaza be bayizzi ba Kabaka

                        Ennyanja ya Kabaka esangibwa mu Ndeeba nga bw’efaanana. Abenjaza be baakulira okusima ennyanja eno.

                        1276355595vuvuzela.jpg

                        NGA bwe tuzze tubategeeza emirimu gy’ebika by’Abaganda mu Lubiri, leero tubatuusaako emirimu gy’Abenjaza n’Entalaganya.

                        Abenjaza
                        Kigambibwa nti Ssekabaka Kintu okujja mu Buganda, yasanga Abenjaza bataka.
                        Jjajjaabwe ye Kayimbyobutezinookulwakkuliza wabula Owaakasolya ye Kitanda.

                        Akabbiro
                        kaabwe Ngujulu.

                        Emibala
                        gyabwe givuga nti,
                        ‘Ow’omugugu aliguta
                        Ssendabanyoro tentama.’

                        Emirimu gyabwe;


                        1. Bayizzi ba Kabaka.
                        Be baayigganga enjovu Kabaka kwe yaggyanga amasanga ge. Enjovu baaziyigganga mu Mabira nga bakozesa effumu eriyitibwa Nakangu.

                        2. Be bakulira okusima ennyanja ya Kabaka. Ndikumulaga Kaggwa ye yali omugabe mu kusima ennyanja eno.

                        3. Bawunguzi ba Kabaka. Be baawungulanga ebintu bya Kabaka okuva e Busoga. Mu mulimu ogwo beeyambisanga eryato lyabwe eriyitibwa Nakitanda.

                        4. Be baasiiganga mu Lubiri lwa Kabaka omukyala ayitibwa Nakalyowa.

                        Bya Mariam Kyabangi

                        #26566
                        NdibassaNdibassa
                        Participant

                          [

                          Entalaganya:

                          Omukulu w’ekika ye Bambaga atuula e Bambaga mu Bulemeezi.

                          Akabbiro kaabwe maleere.

                          Emibala
                          gyabwe givuga nti,
                          ‘Basajja balamaga, bajja balamaga, Kaddu omulamazi.
                          Balamaga, ne jjo ndiramaga nga nteganira obutaka.’

                          Emirimu gyabwe;

                          1. Be basimba oluwaanyi
                          ku biggya by’Abalangira okubiramba.

                          2. Bayizzi. Nalumenya ow’e Nsolo mu Busiro ye Mukangula (omuyizzi) wa Kabaka.

                          Era be baalundanga embwa ‘Mukooza’ era nga be bakuuma ekide kyayo ekiyitibwa ‘Ssirirwamagumba’.

                          3. Be bakuuma n’okukuba eng’oma ‘Nakawanguzi’ eragira abantu okukomya okukungubaga mu Buganda.

                          Mu Buganda, ku buli nsonga okukungubaga kwabangako ekiseera ekigere era ekiseera ekyo bwe kyabanga kiweddeko, Obuganda bwkuvuga
                          kwa ng’oma eyo Nakawanguzi.ategeereranga ku

                          Eng’oma eyo ya kitiibwa nnyo mu Buganda era buli muntu eyabanga agenda okuttibwa bwe yaddukanga n’atuuka w’eri, nga tattibwa.
                          Yasigalanga awo n’aweereza eng’oma eyo.
                          Bwe gutyo bwe gwabanga ne ku nsolo egenda okuttibwa.

                          Eng’oma eyo tevuga nteera, ewerekerwako endala ssatu okuli; Namigaya, Kiwaggu ne Namutebi.

                          4. Be basamirira Lubaale Mukasa n’okutereka ejjembe Lugala. Ejjembe eryo likuumibwa Kazaala e Bambaga.

                          Published on: Saturday, 12th June, 2010

                          #26632
                          OmumbejjaOmumbejja
                          Participant

                            Abenkima be bakuuma Kabaka

                            1276964292luking.jpg

                            Bya Mariam Kyabangi

                            NGA bwe twalabye nti Abenjaza be babazzi ba Kabaka, leero katutunuulire emirimu gy’Abenkima mu Lubiri. Omukulu w’Akasolya ye Mugema atuula e Wambaale, Bbira mu Busiro.

                            Akabbiro kaabwe akaasooka ye Kaamukuukulu wabula

                            Owoomutuba Luyinda ewa Jjumba e Bunjakko yakakyusa ne kafuuka byenda.

                            Emibala gyabwe givuga nti,

                            ‘Talya nkima, sennya enku twokye ennyama.’
                            Gino gy’emirimu gyabwe ku Kabaka:

                            1. Be batereka n’okukuba ebibuga omukuumirwa empanga za Bassekabaka. Edda Kabaka bwe yakisanga omukono, baamuggyangako oluwanga ne baluwa Kinyolo n’alutwala mu binyomo ne biryako ennyama oluvannyuma n’aluwa Abagirinya okuluwunda. Bwe baamalanga okuluwunda, nga balumuddiza ye n’aluwa Ssentongo ow’e Kaababbi era ng’oyo ye Mugema ow’omu Masiro.

                            Olwo nga Ssentongo akuba ekibuga awookukuumirwa oluwanga olwo.

                            2. Be bakuuma Kabaka. Akola omulimu guno ayitibwa Mugema. Baagutandikira ku Ssekabaka Kimera nga kiva ku mulimu Katumba gwe yali akoze okutangira Winyi (ow’e Bunyoro) okutta Omulangira Kalemeera Omutikkizankumbi eyali aganzizza Wannyana (muka Winyi) ne bazaala Kimera oluvannyuma eyafuuka Kabaka. Olw’okutangira (okugema) okuttibwa kw’Omulangira, yafuna erinnya Mugema bw’atyo Ssekabaka Kimera n’amukkiriza amukuumenga.

                            Mu ddaame lya Sekabaka Kimera, Mugema kwe yaggya ekitiibwa n’obukulu by’alina mu Buganda. Lyagamba nti,

                            ‘Bakabaka b’e Buganda bonna, Mugema bamussangamu ekitiibwa ng’omuzadde waabwe, bamwesiganga okubakuuma n’okukuuma abaana baabwe nga nze bwe yankuuma okuva mu buto.’

                            Era olw’okuba Mugema ye yakuumanga abaana ba Kabaka, omukyala bwe yabanga olubuto lwa Kabaka nga bagamba nti ‘Alina ettu lya Mugema.

                            3. Mugema Owenkima y’aweereza bamulerwa Nabikande ne Bayomba mu kuzaalisa Abalangira n’Abambejja.

                            4. Be baleeta Kirera alera n’okuzannyisa abaana b’eng’oma.

                            Omulimu ogwo nagwo gukolebwa Mugema.

                            5. Jjumba Owenkima ye yali omumyuka wa Gabunga ku mpingu y’amaato.

                            6. Be basumisi mu kutikkira Kabaka. Owenkima y’asumika olubugo ‘Bigwawotebiraga

                            Kakinda Owekkobe lw’aleeta nga batikkira.

                            7. Mugema y’atuuza Kabaka ku Nnamulondo era y’agikuuma.

                            8. Be basamirira Lubaale Musisi. Akola omulimu ogwo ye Maaso.

                            9. Be baziika Kabaka.

                            #26659
                            NamukaabyaNamukaabya
                            Participant

                              Abeffumbe basawo ba Kabaka

                              29N-20100801.jpg

                              Bya Mariam Kyabangi

                              BULI kika wano mu Buganda kirina emirimu gye kikola mu Lubiri lwa Kabaka. Emirimu egyo giba gikolebwa omuntu ava mu kika ekigivunaanyizibwako era atava mu kyo teyeetantala.

                              Okutandika leero tukutuusaako emirimu gy’ebika by’Abaganda mu Lubiri:

                              Ekika ky’Effumbe;

                              Kino kimu ku bika by’Abaganda binnansangwa.

                              Owaakasolya ye Walusimbi atuula e Bakka,

                              akabbiro kaabwe kikere.
                              Emibala gyabwe givuga nti,

                              Galinnya e Bakka
                              E Bakka basengejja
                              Kakozaakoza anaakoza mu lw’Effumbe.

                              Emirimu gy’Abeffumbe ewa Kabaka:

                              Be basawo ba Kabaka.
                              Omutaka Magunda yali musawo wa Kabaka omukulu era ye yanoganga omukuduulu ogwavumulanga Kabaka.

                              Okunona emmandwa ya Mukasa e Ssese. Omulimu guno gwakolebwanga ab’essiga lya Magunda e Lwanga nga bayambibwako Aboobutiko.

                              Abantu abaakolanga omulimu guno baayitibwanga ‘Bakawungu’ era

                              embuga
                              yaabwe yabeeranga Buwungu mu Mawokota.

                              Balamuzi
                              Omusango bwe gulema ku mitendera gy’obukulembeze egy’enjawulo okugeza;

                              ew’omukulu w’oluggya, Owoomutuba, Owessiga n’Owaakasolya, atamatidde nsala yaagwo yajuliranga ewa Kabaka.

                              Kyokka oluusi ne Kabaka yalemererwanga era eyajulidde n’ayongerwayo ow’omutaka w’Effumbe ayitibwa Magunda;

                              Ono ye yabanga omulamuzi ow’enkomeredde. Mu kusala emisango, Magunda yakozesanga maduudu ge yayenganga n’agateeka mu ndeku n’awa omuwaabi n’omuwawaabirwa mu bipimo ebyenkanankana.

                              Amaduudu gatamiiza okukira omwenge era be yagawanga baatamiiranga ne boogera ebitakwatagana.

                              Mu bye baayogeranga mwe yaggyanga bye yasinziirangako okusala omusango. Omuntu gwe gwasinganga ewa Magunda, nga gumusse mu vvi era nga tajulira.

                              Okukuuma Nnamulondo; be bamu ku bataka abakuuma Nnamulondo.
                              Omufumbe akola omulimu ogwo ayitibwa Kiwukyeru.
                              Okukuuma Amasiro ga Ssekabaka Ntege Nalusiri Buganda e Lunnyo.

                              Oyo ye jjajja w’Abeffumbe omukulu era Amasiro ge gakuumibwa abaziraffumbe.

                              Okufundikira omukolo gw’okwabya olumbe lwa Kabaka.
                              Olumbe lwa Kabaka bwe luggwa,

                              omukyala Oweffumbe ayitibwa Nakku atema enkumbi mu mbuga okutegeeza Abaganda okuddayo ku mirimu gyabwe.

                              Published on: Saturday, 15th May, 2010
                              Ekika ky’effumbe

                              Ekika kino kibalibwa ku bika bya Buganda ebina binnansangwa era ng’akabbiro k’ekika kino Kikere era omubala gwabwe guvuga nti, “galinnya e Bakka, e Bakka basengejja, kakozaakoza alikoza mu lw’effumbe.”

                              Effumbe nga bwe lifaanana

                              Jjajja w’ekika kino ye Buganda Ntege Walusimbi e Bakka mu Busiro, ekisangibwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima wabula ng’olubereberye yayitibwanga Buganda

                              Lyokka, ate ng’olusozi Bakka lwo luyitibwa Kisiri-kikadde. Erinnya Bakka lyatuumibwa olusozi luno oluvannyuma lw’abalangira; Kikulwe ne Mawanda okukkirako bwe baali balumba Kabaka Kagulu Tebucwereke era abantu bwe
                              baabalaba ne bagamba Kabaka nti, ‘baabo bakka’.

                              Walusimbi yazaala abaana bana era abasatu abasooka be b’amasiga agali mu kika ky’effumbe okuli; Magunda e Lwanga Mawokota, Nagaya e Bakka Busiro n’erya Ssempala e Bulamba Bulemeezi.

                              Emirimu gy’abeffumbe mu lubiri mulimu obusawo eri Kabaka, okunonanga emmandwa ya Mukasa e Ssese, Kiwukyeru y’omu ku bataka abakuuma Namulondo, mu kwabya olumbe lwa Kabaka, Nakku y’atema enkumbi mu mbuga okutegeeza Obuganda nti buddeyo ku mirimu gyabwo. Ab’effumbe era be baazaala Ssekabaka Ssekamaanya.

                              Kigambibwa nti olwali olwo, Mugema n’akuba eŋŋoma ye egamba nti sennya enku twokye ennyama. Walusimbi bwe yawulira eŋŋoma eno n’agamba nti okulya kutuuse kyokka agenda okutuuka ewa Mugema nga teri yadde akanyooka. Ekintu kino kyanyiiza Mugema era naye olwadda e Bakka oluvannyuma lw’ennaku ntono naye n’abaka eŋŋoma ye n’akuba ekisoko ekigamba nti, “e Bakka basengejja”.

                              Munywanyi we Mugema naye olwawulira bino n’abaka endeku ye n’oluseke n’ayolekera e Bakka kyokka okutuukayo nga teri yadde enkanja olwo olugero olugamba nti,

                              “Akufumbira ey’omutwe omufumbira ya bigere’ ne lutuukira ku Mugema era e Bakka basengejja ne gukakasibwa ng’omubala gw’abeffumbe.

                              #26683
                              OmumbejjaOmumbejja
                              Participant

                                Abempindi be batereeza Namulondo nga Kabaka abuze

                                Bya Mariam Kyabangi

                                NGA bwe tumaze ebbanga nga tutunuulira emirimu gy’ebika by’Abaganda mu Lubiri, leero tukutuusaako ekika ky’Empindi.

                                Omukulu w’Akasolya ye Mazige atuula e Muyenje mu Busiro.

                                Akabbiro kaabwe Kiyindiru. Emibala gyabwe givuga nti,

                                1. Tungulako emu (enkejje)

                                2. Kaababembe cca, kaababembe, nkejje zattu cca.

                                3. Samba engotto.
                                Abempindi balina emirimu egiwerako ku Kabaka, era gye gino;

                                1. Balunzi ba Kabaka. Ssekabaka Kintu yalina ente ye ‘Kasowerasowera’
                                Abempindi gye baalundanga e Nalugambe – Magonga mu Busujju.
                                Kimera bwe yalya Obwakabaka, ente eyo yagituuma ‘Mbulidde’ ng’ategeeza Obwakabaka.
                                Mazige aleeta ekyanzi ky’amata n’akimulaga nga bw’alaamiriza nti, ‘Nze musumba wo, eyawa jjajjaawo Kimera amata. Nze nnunda ente yo Mbulidde.’ Olwo Kabaka bw’amala okukirasaako, Mazige n’akiggyawo.

                                2. Be bakomaga embugo za Namasole n’abambejja. Be bakomaga n’ebitengetenge ebitimbibwa mu mayumba g’abazaana mu Lubiri.

                                3. Bakuumi b’abakyala bonna mu Lubiri.
                                Be bakuuma olubiri lw’omuzaana Kabejja olw’ebweru. Omuzirampindi akola omulimu gw’okukuuma Olubiri olwo ye Mukusu ow’e Nakisunga.

                                4. Be baaniriza abagenyi abakyala mu Lubiri.

                                5. Be bazimba enju ‘Kasanga’, Kabaka mw’asooka okuyingira nga tannayingira mu Lubiri.

                                6. Be bamu ku bavunaanyizibwa ku kusanyusa Kabaka.

                                Aboobutiko bamuzinira Maggunju
                                kyokka Abempindi be bavunaanyizibwa ku kumufuuyira amakondeere n’endere.

                                7. Kabaka bw’akisa omukono, Abempindi nga bali wamu n’Abenkejje be batereeza Namulondo ku Wankaaki nga bali wamu n’abatuuza.

                                Omuganda bw’atunula ku Nnamulondo, amanya nti Obuganda buladde, bulina Kabaka.

                                Published on: Saturday, 3rd July, 2010

                                #26712
                                NamukaabyaNamukaabya
                                Participant

                                  Abengabi be bayunzi ba Kabaka

                                  1278787883coo.jpg

                                  Abengabi ennyunga (nga bano be bayunga Kabaka ng’amenyese) lwe baayisa ekivvulu nga bagenda okusamba omupiira.

                                  Bya Mariam Kyabangi

                                  OMUKULU w’ekika ky’Engabi Owaakasolya ayitibwa Nsamba,
                                  atuula e Buwanda mu Mawokota.

                                  Akabbiro
                                  kaabwe Jjerengesa.

                                  Emibala gyabwe givuga nti,

                                  ‘Tadde kakku’ ‘Kalikuta, kalikutanda ne kakutwala mu Bengabi abasambaganyi.’

                                  Emirimu gyabwe ku Kabaka gye gino;

                                  1. Abengabi balunzi ba Kabaka.

                                  Okufaananako ebika ebirala ng’Enseenene, Abengabi balunzi ba nte.

                                  Mutaawe ye yali omulunzi wa Kaabaka Kintu era ng’ente gy’alunda eyitibwa ‘Nsigonke’.

                                  Olw’omulimu gwabwe guno ogw’obusumba,

                                  Omulangira bw’aba alya Obwakabaka Mutaawe aleeta ekyanzi ky’amata eky’ekikomo ekya lwera

                                  n’akikwasa Mpinga Owoolugave era oyo y’amwanjula eri Kabaka nti, ‘Ono ye musumba wo omukulu, alunda ente yo jjajjaawo Kintu eyitibwa Nsigonke.

                                  2. Abengabi bayunzi
                                  . Mutaawe Ssekyondwa ow’e Nandwagudde ye muyunzi wa Kabaka omukulu.

                                  Abava mu ssiga lye be bayitibwa Abakyondwa era bayunzi.

                                  3. Baggazi. Mu kika ky’Engabi mwe mwava omuggazi ayitibwa Mulamba

                                  ku mulembe gwa Ssekabaka Chwa II, newankubadde edda bwalinga bwa nsikirano era nga buliibwa Baabutiko.

                                  Mulamba ye mukulu w’abaggazi b’Olubiri lwa Kabaka bonna era ye mukuumi wa Kabaka atamuvaako.

                                  Abalangira n’abambejja abaayagalanga okufuluma nga y’abaggulira era ne mu kuyingira nga y’abaggulira.

                                  Abantu abalala abaayagalanga okutwalira Kabaka amakula, nabo nga Mulamba y’abaggulira. Abo nno baamuwanga ebintu bingi asobole okubakkiriza okuyingira. Abantu bwe baalaba batyo, ne bagamba nti omuggazi Kabaka mulamba’ awo we waava erinnya Mulamba.

                                  4. Abengabi baali basenero ba Kabaka. Omugabi eyali akola omulimu ogwo ye Muwonge ow’e Jjalamba. Ku Bengabi obusenero kwe bwava ne budda ku Benvuma ne bulyoka budda ku Beekibe.

                                  Published on: Saturday, 10th July, 2010

                                Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 35 total)
                                • You must be logged in to reply to this topic.

                                Comments are closed.