Ebika Ne Mirimu Gyaabyo Mu Buganda

Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 35 total)
 • Author
  Posts
 • #26860
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Ekika ky’ente

  37Q_2.jpg

  Ente erina ebbala mu kyenyi

  Ab’ekika kino obutaka bwabwe buli Mulema, ekisangibwa e bugwanjuba bw’ennyanja Nalubaale mu ssaza ly’e Buddu, mu disitulikiti y’e Rakai, era ng’omukulu w’ekika ye Katongole. Akabbiro ye ŋŋaali ng’omubala gugamba nti, “ Ekyuma nkiridde n’omukimba ngulidde.

  Ekika kino kirina emituba agiwerako naye nga mukaaga ge gasinga okumanyika omuli; eryente ey’enkunku (eno eba terina mukira), ente ya lubombwe, eya kaasa (ebeera n’ebbala eryeru mu kyenyi), erya Busito, ente ya kayinda n’eryente erina ekinuulo ng’oludda lumu luddugavu ate ng’olula lweru era ng’abantu bonna mu masiga gano bali wansi wa Katongole.

  Amasiga agali mu kika kino kwe kuli erya Lukyamuzi e Mulema Buddu, Lwegaba e Mulema Buddu, Kajojo e Kikukumbi Buddu, Ddungu e Kazinga Buddu, Kagayo e Bukwale Buddu, Mbiriire e Kasago Buddu, Lwera e Nabugabo Buddu, Lwera e Kyamabaale Buddu, Kalibata e Kagaba Ssingo, Namuyira e Bugabo Buddu, Nakaddu e Lusiba Ssingo, Namutale e Nsiisi Ssingo, Bugala e Kyamiiru Buddu, Lubowa e Mugombe Buddu, Kiwaanyizi e Mulengeka Buddu, Mugenyi e Ndoddo Gomba, Muganji e Mubende Buweekula, Ssebyayi e Kitama Buweekula, Njuki e Kasago Buddu, Luwondera e Kiyumba Buddu, Kituzi e Nankwale Ssingo n’erya Mutagubya e Nkenge Buddu.

  Ebyafaayo biraga nti ekika kino kyatandikira ku Katongole
  eyali omulangira w’e Bunyoro

  kyokka oluvannyuma n’afuna obutakkaanya ne mugenda we oluvannyuma lwa Katongole okumwagalira mukazi we gwe yali asinga okwagala. Olwekikolwa kino, Kabaka yalagira Katongole, abaana be wamu n’abalangira n’abambejja abamukkiririzaamu battibwe.

  Olwawulira bino, baasalawo beetegule era ne batambula nga badda e Buganda, bw’atyo Kabaka wa Buganda n’abaaniriza era n’abawa ettaka e Ssingo naye era Katongole yakimanya nti Kabaka wa Bunyoro ayinza okusigala ng’abalondoola era baasalawo beekukume mu kibira kye Teero.

  Oluvannyuma lwa bino, Kabaka yabawa omulimu gw’okuweesa amafumu n’ebyokulwanyisa ebirala kuba mu kiseera kino, Buganda yali eri mu kulwanyisa Bunyoro. Bwe baava mu bibira by’e Teero, baasalawo beeyongereyo e Buddu basobole okufuna amatale (amayinja agaweesebwamu ebyokulwanyisa) era ne batuula e Bijja kati awayitibwa Biikira.

  Wano we baavanga ne bagenda ku nnyanja Nalubaale okunoonya amatale era nga baagasanganga mangi e Mulema ku mabbali g’ennyanja Nalubaale. Mu kiseera kino Katongole yali atandise okukaddiwa era nga takyasobola kwetikka mayinja, bwe batyo batabani be baamusaba asengere ddala e Mulema era n’akkiriza.

  Katongole yafa n’aziikibwa e Mulema era mu nsangi zino, waakazibwako ewa Katongole. Kigambibwa nti we yaziikibwa waliwo omuti wansi waagwo awaaziikibwa effumu n’ensinjo (ekyuma kye yakozesanga okusala ebyuma).

  #26861
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Ekika ky’endiga

  33U_3.jpg

  Ab’endiga babeera bazzukulu ba Lwomwa era ng’akabbiro kaabwe Mpologoma era ng’obutaka buli Mbaale, Mawokota. Omubala gw’abendiga guvuga nti, “Nnyabo Nabbosa, mpaawo alimuliisa endiga”.

  Endiga nga bwefaanana

  Ekika kino kirina amasiga kkuminamusanvu, gonna agali wansi wa Lwomwa nga mu gano mulimu erya Buvi e Bunnamweri Mawokota, Kaggwe e Bukaggwe Mawokota, Kibeevu e Ssi Bukunja e Kyaggwe, Kiguli e Sseenene Mawokota, Lutalo e Buyijja Mawokota, Luwanga e Mpami Mawokota, Mpungu e Bweya Butambala, Nakabaale e Mmembe Mawokota, Nakiyenje e Bugiri Busiro, Namusota e Maziba Mawokota, Ndalu e Mpanga Mawokota, Ssekanoni e Bussi Busiro, Ssekkoba e Busanga Kkoome mu Kyaggwe, Ssemiti e Buyanga Mawokota, Ssentumbwe e Nakabiso Mawokota, Sserunkuuma e Mpami Mawokota, Wakikunga e Mutungo Kyaddondo.

  Ab’endiga be bakuba eŋŋoma

  ya Tadde, Nantakiika ne Entenga era be balabirira ekiggwa kya Kibuuka.

  Ebyafaayo biraga nti kisibuka Mbaale, eyajja e Buganda ne Kintu bwe baasisinkana ku lusozi Masaba era bw’atyo ne yeegatta ku balwanyi ba Kintu. Bwe yatuuka e Magonga, abalwanyi be abaali basinga obuvumu yasalawo okubawa ekitundu ky’e Mbaale babeere eyo. Mbaale yatambulanga n’endiga gye yatwala nga munywanyi we asinga era bw’atyo yakazibwako erinnya lya “musajja ow’endiga”.

  Mbaale olwomukwano gwe
  yalina eri endiga yagamba abagoberezi be bonna nti tewabanga muntu yenna mu kitundu ekyo atta endiga olwokwagala okugiryako ennyama, era kuno kwe kwava enjogera egamba nti,

  “olangazze ng’eyakasibira e Mbale” kuba abantu abasingayo tebalya nnyama ya ndiga.

  Mbaale yalina abaana basatu okwali; Ssekkoba, Kaggwe ne Bbosa eyali asinga obuto. Kigambibwa nti Ssekkoba yatambula n’ava e Mbaale bw’atyo n’adda e Buganda ng’ayita mu bizinga by’e Ssese era n’atuula mu Kyaggwe mu bizinga by’e Kkoome era oluvannyuma n’afiira e Busanga. Kaggwe

  (Kaggweensonyi ng’omukazi azaala emisana)

  olwokuba yazaalibwa misana yagobebwa mu kitundu kino awamu ne nnyina era bwe batyo ne bagenda basenga e Nakabiso nga bayitira mu kibira ky’e Kkoba era bwe yakula n’afuuka ow’essiga mu kitundu kino.

  Bbosa eyali asinga obuto ye yasigalayo e Mbaale ku kyalo Bunnamweri era abaana baabwe be baazaala be baafuuka ab’amasiga. Wadde ng’abendiga basaasaanidde eggwanga lyonna oba ensi yona, waliwo ebitundu bye basinga okutwala ng’ebikulu kuba abamu ku b’amasiga gye batuula, nga mu bino mulimu; Sseenene, Maziba, Lungala, Nakabiso, Mpanga, Mpami, Ggala, Bunnamweri, Kakoola, Kitavujja wamu ne Kisozi, okutuukira ddala mu bisenyi by’e Kkoba, era nga Mawokota ly’essaza ekkulu lye baamaamira newankubadde nga ne mu Butambala, Busiro ne Kyaggwe nayo gyebali mu bungi.

  Abendiga be bakuuma eng’oma z’Obwakabaka

  Bazzukulu ba Lwomwa nga bawaga bwe baali ku mpaka z’emipiira gy’ebika omwaka oguwedde.

  Bya Mariam Kyabangi

  OMUKULU w’ekika ky’Endiga Owaakasolya ayitibwa Lwomwa atuula e Mbale mu ssaza ly’e Mawokota. Akabbiro kaabwe mpologoma. Omubala gwabwe guvuga nti,

  ‘Nnyabo Nabbosa,
  Mpaawo alimuliisa ndiga’

  Gino gy’emirimu gyabwe ku Kabaka:

  1. Be bakuuma eng’oma z’Obwakabaka okuli; Tadde, Entenga ne Nantakiika. Eng’oma ‘Tadde tadde’ Ssekabaka Muteesa I yagiwa Kamacca e kijebejebe mu Bulemeezi.

  Eng’oma entenga zaakubibwanga bataka b’e Kyaggwe. Omugoma w’Entenga omukulu yayitibwanga Kikambi.

  Eng’oma ezaakolanga eng’oma Entenga ze zino; enjongo, nnamunjoloba
  n’enkulu emu. Eng’oma Nnantakiika yayitibwanga Nnantakiikambuga (nti eby’Embuga biriibwa baganzi).

  Eng’oma eyo oluusi yayitibwanga ‘Balyabamanyi’. Eyo Ssekabaka Muteesa I yagiwa Kyawamala ow’e Bulemeezi.

  2. Abendiga be baanonanga Kibuuka e Ssese.

  Kibuuka yayatiikirira nnyo mu ntalo za Buganda ne Bunyoro era yali wa maanyi nnyo mu kulwanira Abaganda ne bawangula.

  Published on: Saturday, 4th December, 2010

  #26862
  NdibassaNdibassa
  Participant


  Ekika ky’enseenene

  31W.jpg

  Ekika kino kyatandikibwawo ekibinja ky’abasajja abalunzi b’ente abaabeeranga wansi w’olusozi Mugamba mu ssaza ly’e Busongola mu bwakabaka bw’e Tooro era nga kigambibwa nti ekika kino kitandikira ku mwami gwe baayitanga Kiroboozi.
  Ono yalina abaana abawerako omwali; Buyonga, Kalibbala, Nandawula wamu n’abalala kyokka oluvannyuma lwa kitaabwe okufa, abaana bano baatandika okulwanaga

  na nga buli omu ayagala y’aba adda mu bigere bya kitaawe wabula Buyonga, Kalibbala ne mwannyinaabwe Nandawula baasalawo okuva e Busongola ne bagenda wamu n’ente zaabwe e Bwera mu ssaza ly’e Buddu.

  Bwe baava eno, beeyongerayo mu ssaza ly’e Gomba ku kyalo Nakanoni ekisangibwa e Kakubansiri kyokka nga bali eyo, Kalibbala ne munne Buyonga baafuna obutakkaanya, bw’atyo Kalibbala n’asengukira e Nsiisi mu ssaza ly’e Busujju era eno Ssekabaka Kintu gye yamuweera obwami. Ate ye Buyonga yatambula adda mu ssaza ly’e Kyaddondo era bw’atyo n’atuula e Kisozi.

  Ab’enseenene bano bazzukulu ba Mugalula era ng’akabbiro Nabangogoma.

  Omubala gwabwe gugamba nti, ‘Ggwe mpagi, ggwe luwaga” oba “Nakimera muka Ssuuna bw’asa bw’anegula”.

  Ekika kino kirina amasiga mukaaga okuli erya Kalibbala e Nsiisi Busujju, Kajubi e Bujubi-Busujju, Masembe e Maya-Busiro, Kalanzi e Lugo-Kyaddondo, Mpagi e Ziwungwe-Mawokota ne Malinzi e Mukoni-Buddo.

  Emirimu gyabwe eri Namulondo mulimu; okutema emiti mu lubiri lwa Ssekabaka Kintu e Nnono, nga guno gukolebwa Kajubi era mu kutikkira Kabaka, Kajubi amusiba oluwuzi lw’embira ku Mukono gwe ogwa kkono nga bw’agamba nti, ‘ ggwe kimera.”

  Masembe e Maya ye mulunzi w’ente ya Kabaka eyitibwa Nnamaala era mu kutikkira Kabaka, Masembe amuleetera ekyanzi ky’amata nga bw’agamba nti, “nze nnunda ente yo Nnamaala era mu yo jjajjaawo Kimera mwe yaggyanga amata”.
  Kalibbala ow’enseenene ye yakwatanga engabi eyeeyambisibwa okujjukiza Kabaka eyaakatuula ku Namulondo nti alina okuyigga nga jjajjaawe Kimera.

  #26864
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Ekika ky’olugave

  28I.jpg

  Abaganda okuva edda n’edda nga bamanyaganira mu bibinja ebimanyiddwa ng’ebika era nga bitwalibwa okuba ebibinja by’abantu ebyagunjibwawo, ebirimu abantu abalina ensibuko emu era nga buli kika kirina obubonero bwakyo obukyawula ku kirala. Obubonero buno obukulu buli busatu omuli; omuziro, akabbiro wamu n’omubala era nga mu kitundu kino tugenda kuba nga tutunuulira buli kika, ng’otwaliddemu n’emirimu gyakyo eri Ssaabasajja.

  Kiwanuuzibwa nti abantu okufuula ensolo, ekimera oba ekyennyanja omuziro gwabwe kirina okuba nga kirina akabi ke kyakola ng’okubalwaza oba okubattira owooluganda bwe batyo ne bakikyawa.

  Ekika ky’olugave

  Ekika kino jjajja waakyo ye Mukiibi Ssebuko eyabeeranga ku kasozi Wassozi mu Busiro, eno gye yava ne yeegatta ne Kintu e Magiira ne balwanyisa Bemba. Omukulu w’akasolya ye mutaka Ndugwa atuula e Ssekiwunga – Katende, Mawokota.

  Akabbiro k’omuziro guno maleere (buno buba butiko obumera ku nkonge z’emiti oba we batemye ettabi)

  kyokka kigambibwa nti mu kusooka kaali nfudu naye lwali olwo ne wabaawo omuvule ogwawagukako ettabi kyokka ne lisigala nga lirengejja era bwekityo ne limerako amaleere.

  Mutabani wa Mukiibi eyali ayitibwa Ssemwogerere Mulwangwa bwe yabulaba n’ayita kitaawe n’abulaba era n’asalawo alinnye abunoge kyokka ab’akyalinnya mukyala we n’amugamba nti, “mukama wange oluku olwo olulengejja teruukugwire?” ye n’awalaaza empaka n’amuddamu nti, “bwe lunaaba lungwira nnaalwewoma.” Naye aba yaakakiggya mu kamwa ettabi ne liwogoka ne limugwira n’azirika okumala akaseera era olwadda engulu n’alagira nti tewabanga ow’enda ye alya amaleere era n’alagira ne ku ŋŋoma ye bakubengako ekisoko ekigamba nti,

  “sseruku lulengejja, simanyi lulingwira, bw’ompa akawala ako ng’ebbanja liwedde” era bwe gutyo ne gugattibwa ku mubala ogwasooka ogugamba nti, “lwa Ndugwa lwa Katende.”

  Ab’olugave balina amasiga kkuminamukaaga omuli: erya Kiwanda Natigo e Magala Ssingo, Kasoma Nakatanza e Migadde Kyaddondo, Ssettuba e Ddundu Busiro, Kagolo Ssebugulu e Kanyike Mawokota, Namugwanga e Bubwa Kyaggwe, Ssebiso Myamba e Ndugu Kyaggwe, Kyabasinga Nyombi e Nanvule Busiro, Ssenkusu e Wassozi Busiro, Kakulukuku e Nnono Busujju, Ssebwana e Gganda Busiro, Kigenyi e Lwajje Buvuma, Jjooga e Nsonga Kyaggwe, Kaweekwa e Ggangu Kyaddondo, Ssekiwa e Kangavve Bulemeezi, Ntambi e Ggaba Kyaggwe ne Nswaswa e Naluvule Busiro.

  Emirimu gy’aboolugave mu lubiri mulimu; okwalirira ekiwu kya Kabaka, okukima amazzi ga Kabaka g’anywa, okuweesa empiima Naluwangula Kabaka gy’alwanyisa, Kasujju Lubinga y’asumikira abalangira okubasalira emisango n’okubasimbira emituba n’emiramula, okukuuma n’okukuba mujaguzo, okuleeta omuzaana wa Nanzigu wamu n’okusamirira Nagawonye, Mukasa, Kiwanuka ne Ddungu.

  #26889
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Abeng’onge bakomazi ba Kabaka

  bya mariam kyabangi
  NGA bwe tuzze twogera ku mirimu gy’ebika by’Abaganda ewa Kabaka, leero katukutuuseeko emirimu gy’Abeng’onge n’Aboobutiko:
  Abeng’onge
  Omukulu w’Akasolya ayitibwa Kisolo atuula e Bweza mu Busujju. Akabbiro kaabwe Kaneene. ‘Emibala givuga nti,
  Bakyanjankete
  Lwajjali’

  Emirimu gyabwe:

  1. Be bakomazi ba Kabaka abakulu. Okukomaga kwavumbulwa Omuzirang’onge ayitibwa Wamala mutabani wa Ssenkungu, ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera. Abeng’onge be bakomaga olubugo Luyiira oluweebwa Mugema n’alusumikira Kabaka, Kaboggoza aleeta ensaamu ey’ekikomo n’agiraga Kabaka nga bw’agamba nti,
  ‘Nze mukomazi wo omukulu, akukomagira embugo z’oyambala. Eno y’ensaamu gye nkomaza.

  2. Abeng’onge baafiiririra Obuganda ku mulembe gwa Kabaka Nakibinge.
  Nakibinge bwe yayagala okuwangula Abanyoro, yagenda ewa Wannema n’amusaba mutabani we, Kyobe Kibuuka okumuyambako mu kulwana. Eby’embi, Kibuuka olutalo teyalusimattuka. Bw’atyo Oweng’onge Kaganda ow’e Bukasa mu Ssese mutabani wa Muganga e Ffunvu ye yaliyibwa ng’eggozi ewa Wannema olw’okufa kwa mutabani we Kibuuka Kyobe.

  3. Baakola nnyo mu kugaziya Obuganda.

  Kiganda e Birongo Oweng’onge yayamba nnyo mu kuwangula Buddu okuva ku Bunyoro ku mulembe gwa Ssekabaka Jjunju.
  Ekika ky’Obutiko:
  Omukulu w’Akasolya ye Ggunju atuula e Bukalango mu Busiro. Akabbiro Nnamulondo.

  Emibala gyabwe givuga nti,

  ‘Weekirikite, Ggunju ajja.
  Gabolokota teggwa nte
  Ggwe osoose obuliika, ow’omukago talaama.’

  Emirimu gyabwe ku Kabaka:

  1. Bakubi ba mujaguzo (eng’oma z’Obwakabaka).

  Owoobutiko akola omulimu ogwo ayitibwa Kimoomera atuula e Manze mu Busiro. Eng’oma ze ezikubibwa Kimoomera kuliko Namanyonyi ne Timba.

  2. Be baleega eng’oma entenga.
  Eng’oma eyo yaleegebwa Kajugujwe Mmunyi, Kabaka bwe yagiwulira ng’evuga n’agyagala nnyo, n’agitwala n’agifuula eng’oma y’Obwakabaka.

  3. Be balya Obwakawungu.
  Kawungu ow’e Mawokota ye yanonanga Lubaale Mukasa e Ssese ng’ajja okulya Obwakabaka. Omulimu ogwo gwakakata ku Beng’onge ku Chwa II. Nazzikuno ng’omulimu gw’Obwakawungu gukolebwa Baffumbe bokka.

  4. Beetaba mu kutwala entebe Nnamulondo ku Wankaaki ng’omulangira agenda kusikira Obuganda.

  Abantu abakola omulimu ogwo babeera bana era Owoobutiko abeerako ayitibwa Mutagwanya.

  5. Be baatandikawo entebe ya Nnamulondo Kabaka kw’atuula.

  Omulangira Mulondo, mu kusikira kitaawe Ssekabaka Nakibinge, yali muto nnyo bwe batyo bakkojjaabe Aboobutiko ne bamubajjira entebe okutuulangako, abantu basobole okumulaba. Era okuva olwo entebe y’Obwakabaka eyitibwa Nnamulondo.

  6. Aboobutiko basanyusa Kabaka n’amazina Amaggunju.

  Amazina gano gaatandikira ku Kabaka Mulondo nga bakkojjaabe banoonya okumusanyusa engeri gye yalya Obwakabaka nga muto. Okuva ku ye, Aboobutiko bakola omulimu gw’okusanyusa Kabaka nga bamuzinira Amaggunju.

  7. Be bakuuma ekita ‘Mwendanvuma’.

  Owoobutiko akuuma ekita ekyo ayitibwa Luboyera atuula e Busaanyi mu Busiro. Ekita Mwendanvuma kimu ku bintu ebikulu ebiragibwa Kabaka ng’asika.

  8. Be bakabona ba Lubaale Nnende.
  Owoobutiko eyakolanga omulimu ogwo ye Kajugujwe ow’e Bukeerere.

  Published on: Saturday, 7th August, 2010

  #26965
  KulabakoKulabako
  Participant

  obuwangwa

  OMUZIRA NYONYI SEKABIRA

  Ekika ky’enjaza

  44KK.jpg

  Ab’ekika kino babeera bazzukulu ba Kitanda e Kkonko Kyaggwe era

  ng’akabbiro kaabwe Ngujulu.

  Omubala gwabwe guvuga nti

  ow’omugugu aliguta, Ssendabanyoro tentama, akaana k’enjaza alikatta alikalya.

  Ekika kino kirina amasiga amakumi abiri okuli erya;

  Kinaalwa e Nsenge Kyaggw
  e , Kyonga e Nyenga Kyaggwe, Kiddu e Kigoma Kyaggwe ,
  Waguma e Naminya Kyaggwe,
  Mutwalume e Kkonko Kyaggwe,
  Ssekkeba e Malindi Kyaggwe,
  Nakibinga e Gguluma Kyaggwe,
  Genaanya e Nakyessanja Kyaggwe,
  Mawawa e Bugabo Kyaggwe,
  Malevu e Butavujja Kyaggwe,
  Mukongoolo e Kitovu Kyaggwe,
  Kawanda e Wakisi, Kyaggwe,
  Lugwa e Buku Kyaggwe,
  Kasota e Bugoma Kyaggwe,
  Kabaale e Nakiso Kyaggwe,
  Kasasa e Bujaagu Kyaggwe,
  Kambugu e Buziika Kyaggwe,
  Nanyungu e Buwoola Kyaggwe,
  Ssematimba e Najjembe Kyaggwe
  n’erya Mbwabwa e
  Ssendabanyoro, Kyaggwe.

  Ebyafaayo biraga nti ekika kino kye kimu ku binnansangwa era kyaliwo nga Ssekabaka Kintu tannajja era ng’abeekika kino baasooka kuva Bunyoro ne basenga e Kiwawu mu Busujju. Eno gye baava ne basengukira mu bitundu bya Mabira mu Kaggwe era Ssekabaka Kintu weyajjira mu Buganda nga bataka e Kyaggwe era ky’ova olaba nti ab’amasiga bonna basangibwa mu Kyaggwe.

  Ekitebe kyabwe ekikulu kyasooka kubeera Kirugu kyokka oluvannyuma ne badda e Kkonko era mu kitundu ky’e Kyaggwe. Olwokuba Kyaggwe alinaanye Busoga, ab’enjaza bangi Bakabaka ab’enjawulo baabatumangayo okugeza
  Ssekabaka Kyabaggu yasindika Masanso ow’e Naminya agende akole emirimu gye e Butiki mu Busoga ng’omubaka we era buli muganda eyayagalanga okugenda yo, ng’alina kusooka kuyitira wa Masanso era nabwekityo omusoga yenna eyayagalanga okujja e Buganda, ng’asooka kumutegeeza.
  Olumu Masanso Kabaka yamubuuza nti, ‘Waguma okusigala e Busoga’ Masanso n’amwanukula nti “Naguma” era okuva olwo Masanso n’agattibwako erya Waguma.

  Ng’oggyeeko Masanso, ab’ekika kino abalala bangi nabo baalya emiruka egitali gimu mu Busoga era ne kireetera abantu bangi okulowooza nti Busoga limu ku matwale ga Buganda anti abasoga mu kiseera ekyo baalinanga okuleeta amakula

  embuga.

  Egimu ku mirimu gyabwe mu lubiri mwemuli; okuyiggira Kabaka enjovu anti ezaalinga mu mabira nga zifa tulo, okuleeta amakula ga Kabaka okuva mu Busoga wamu n’okukola ogwobuwooza mu kitundu ky’e Kigungu.

  Agamu ku mannya agatuumibwa ekika kino mulimu; Luyinda, Lukanda, Kafuuma, Masanso, Bbengo, Kibirango, Nkambwe, Nabulo, Bakwanye, Namuggalwa, Nakitanda ne Kanabeesa.

  FROM GGWANGA

  #27007
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Abemmamba be bakakasa Kabaka

  1276355862vuvuzela-20100912.jpg

  Abemmamba Kakoboza nga bayisa ekivvulu mu mpaka z’emipiira gy’ebika by’Abaganda.

  Bya Mariam Kyabangi

  OMUKULU w’ekika ky’Emmamba Owaakasolya ayitibwa Gabunga atuula e Buwaya mu Busiro.

  Akabbiro kaabwe Muguya.

  Omubala gwabwe guvuga nti,
  ‘Akalya kokka, akalya kokka Ke keetenda obulyampola!

  Sirya mmamba, amazzi nnywa!
  Eno si mmamba
  nnamakata
  Gwe ndisanga mu menvu
  N’ebikuta alibirya!’

  Emmamba ziri bbiri; eya Gabunga n’eya Nankere, Kakoboza.

  Emirimu gy’Abemmamba ku Kabaka:

  1. Be bakulira empingu ya Kabaka.

  Empingu ly’eggye ery’oku mazzi. Gabunga Owemmamba y’akulira empingu ya Kabaka. Olubereberye yayitibwanga Mubiru naye bwe yabajja amaato ne gabeera mangi ne gabuna ennyanja Nalubaale, abantu kwe kugamba nti ‘amaato gabunga’ awo Mubiru kwe kufuna erinnya Gabunga.

  2. Be bakakasa Kabaka ku Bwakabaka. Kabaka bwe yabanga tannatuula ku Nnamulondo, yasookanga kugenda Bukeerere ewa Nankere okukula. Nankere olwamalanga okumukolako emikolo gyonna, olwo n’alyoka afuuka Kabaka oluvannyuma lwa Nankere okwogera ebigambo bino; ‘Kaakano ofuuse Kabaka, genda olamule Obuganda.’
  Nankere era yagambanga ne Namasole nti, ‘Kaakano naawe oli Kabaka, genda ozimbe olubiri lwo e Lusaka. Kabaka munno tokyaddamu kumulabako’ era olwo Nankere ne Namasole tebaddangayo kulaba ku Kabaka.

  3. Be bakuuma olusozi Buddo, Kabaka kw’atikkirirwa engule. Owemmamba akola omulimu ogwo ye Ssemanobe mutabani wa Mugula e Ntebe.

  4. Be bawala amaliba g’ekiwu kya Kabaka.

  Owemmamba akola omulimu ogwo ayitibwa Kiyini.

  Kiyini tawala maliba ga kiwu gokka,

  wabula y’awala n’amaliba Omulangira g’ayambala ng’alya Obuganda ko n’amaliba gonna Kabaka g’akozesa.

  Obutaka bwa Kiyini buli Kikondo mu Mawokota.
  Erinnya Kikondo lyava ku miti Kiyini kw’aleega amaliba ng’agawala.

  5. Abemmamba bamu ku bavunaanyizibwa ku kulongoosa ebiyigo bya Kabaka.

  Namukoka ow’e Ggoli yali omu ku bakola omulimu guno.

  6. Be bakabona ba Lubaale Nagaddya.

  Eyakolanga omulimu ogwo ye Kasiga ow’e Bbendegere.

  7. Abemmamba okufaananako n’Aboobutiko,

  nabo bavunaanyizibwa ku kusanyusa Kabaka nga bamufuuyira ekkondeere eriyitibwa ‘Kawunde’.

  Omulimu ogwo gwakolebwanga Mukanga ow’omu Kikanga, Kiwumu.

  8. Nabo baggazi ba Kabaka. Wakkooli y’aggala enzigi ‘Bandabyekiremba’, ‘Kaalaala’ ne ‘Kagerekamu.’

  Published on: Saturday, 11th September, 2010

  #27010
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Ennyonyi ennyange

  nnyange_100_100.jpg

  Ennyange kanyonyi katono, kaagala nnyo okubeera awali ente.

  Omukulu w’ekika ye Mbaziiira,

  atuula Bulimu mu Kyaggwe.

  Omubala gwabwe gwasimbulwa ku bimu ku bintu ebikulu mu butaka bwabwe, ng’ekibira ekiyitibwa Kyambadde.

  Guvuga nti, ‘Bampe omuggo nneewerekezeMu Kyambadde mulimu engo.’
  Omubala ogwo era gukubiriza Abennyonyi okwerinda n’okwerwanako mu kaseera akazibu.

  Kyambadde kibira kikulu nnyo mu butaka bw’Abennyonyi era bakitya nnyo olw’ensolo enkambwe ng’engo ezaakibeerangamu.

  Published on: Saturday, 3rd April, 2010

  #27012
  KulabakoKulabako
  Participant

  Wangu, Mutunda 12, 2010

  OMUZIRA NYONYI SEKABIRA

  Ekika ky’enkima

  47M.jpg

  Ab’ekika kino bazzukulu ba Mugema era ng’obutaka bwabwe obukulu busangibwa Bbira mu Busiro,

  ng’akabbiro byenda.

  Omubala gwabwe guvuga nti, “Talya nkima, ssennya enku twokye ennyama”.

  Ekika kino kirina amasiga munaana okuli erya;

  Jjumba e Bunjakko mu Mawokota,

  Kinyolo e Kisugu mu Kyaddondo,

  Kisambu e Busambu mu Bulemeezi,

  Lujumba e Bulenga mu Busiro,

  Mmande e Kabembe mu Kyaggwe,

  Mwanga e Kyamuwooya mu Bulemeezi,

  Ssebukyu e Malangala mu Busujju

  n’erya Ssemuggala e Buggala mu bizinga by’e Ssese

  era nga bano bonna batuuka butereevu ewa Mugema.

  Ebyafaayo biraga nti enkima kye kimu ku bika ebisinga obukulu wano mu Buganda era nga kyaliwo okuviira ddala ku Ssekabaka Kintu era nga kigambibwa nti ab’enkima baamaamira nnyo ebizinga by’e Ssese, ekyawaliriza Ssekabaka Kintu n’abalala obutalonderayo baami ne balekayo ab’enkima bakulembereyo.

  Kigambibwa nti Ssekabaka Kintu bwe yakuba ekitebe e Bugonga mu ssaza ly’e Busujju, yasenga ne Balasi ow’enkima. Oluvanyuma lwa bino byonna, Balasi yazimba amaka ge e Malangala mu Busujju era bwe yazaala mutabani we Bwoya n’akula, yamuwaayo aweereze Kabaka mu lubiri era Kabaka yasiima n’amuwa obwa Ssaabawaali.

  Bwoya naye bwe yazaala mutabani we Mulegeya, naye n’agoberera kitaawe mu kuweereza Kabaka wamu ne mutabani we omulala eyali ayitibwa Miyingo, oluvannyuma eyafuuka Katumba, eyaweesa ab’enkima ekitiibwa ky’obwajjajja bwa Buganda. Kino kyajjawo oluvannyuma lwa Ssekabaka Chwa okubula kyokka nga yagenda okubula nga mutabani we Kalemeera amugobye mu Buganda ku bigambibwa nti yali ayagadde omu ku bakyala be era bw’atyo n’awaŋŋangukira e Bunyoro.

  Ebyembi Kalemeera bwe yatuuka e Bunyoro nayo n’aganza muka Kabaka Winyi eyali amanyiddwa nga Wannyana, ekintu ekyanyiiza ennyo Kabaka era Kalemeera yasalawo yeemulule adde ku butaka, ebyembi yafiira mu lugendo.

  Bino byonna bigenda okubaawo nga Katumba ali Bunyoro aweereza ng’omubumbi wa Kabaka Winyi.

  Embeera eno yaleetawo obweraliikirivu mu kiseera kino, anti Ssekabaka Chwa yali amaze okubula, mutabani we eyandibadde amuddira mu bigere nga naye afudde. Mu kiseera kino, Katumba we yategeereza abakulu nga Kalemeera bwe yali alese omwana owoobulenzi e Bunyoro era abakulu olwawulira bino ne bamukwasa abantu abalala abakulemberemu bagende banone omwana ono.

  Omulangira ono nnyina olwafuna olubuto n’aggyibwa mu lubiri anti Katumba yamatiza Winyi nti omuganga yamugamba nti singa omu ku bakazi ab’afunye olubuto, amuggyanga mu lubiri n’amuzimbira mu bakopi kyokka nga kino Katumba ye yakyeyiiyiza olwokwagala okutaasa Wanyana aleme kuttibwa na lubuto era Kabaka n’akikkiriza.

  Kimera olwazaalibwa yakukulirwa mu kisenyi Katumba gye yabumbiranga era nga y’ayambako Wanyana mu kumulabirira. Wano we waava erinnya lya Mugema kuba ye yamugema n’atafa wadde ng’embeera teyali nnyangu era kuno ab’enkima kwe bagatta okuyitibwa bajjajja ba Buganda oba bannakazadde ba Buganda.

  #27013
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Abeekibe basenero ba Kabaka

  bya mariam kyabangi
  ABAGANDA kibawa essanyu okuweereza Omutanda era buli kika baakiwa emirimu gye kirina okumuweereza. Leero katubatuuseeko emirimu gy’ekika ky’Ekibe:

  Omukulu w’ekika ky’Ekibe ayitibwa Muyige

  atuula e Wantaayi mu Kyaggwe.

  Akabbiro kaabwe Kassukussuku.

  Omubala gwabwe guvuga nti,

  ]Kambuuze, ekibe kyekubye ensiko?Kyasanku bakuzaala wa? Ku kizinga Wambwa gw’akwana amalirira.

  Muteesa bw’anywa, by’anywa, anywa nvuba. Muyige wa ddalu, wa ddalu!”

  Emirimu gyabwe ku Kabaka gye gino:

  1. Be basenero ba Kabaka. Abeekibe be bakulira essenero ly’omwenge gwa Kabaka. Omutaka akola omulimu guno ayitibwa Sseruti.

  Omulimu guno baagutandikira ku Ssekabaka Ssemakookiro. Olubereberye omulimu ogwo gwali gukolebwa Banvuma.

  Ssemakookiro aba ali e Namwezi mu Kyaggwe, ng’ateekateeka okulumba mugandawe, Jjunju, Kyasanku Oweekibe n’asabibwa Ssemakookiro omwenge.

  Mu kugumutwalira, yatwaliramu oluseke bw’atyo Ssemakookiro n’amubuuza nti, ‘Omwenge gwange gw’osimbyemu oluti gubadde ki? kwe kumuddamu nti oluti lwali lwakumuyambako kugunywa bulungi nga tegumuyiikira era naye n’akizuula nga kituufu ate ne gumuwoomera nnyo.

  Olulala bwe yamutuma omwenge yamugamba nti, ‘Ndeetera ku mwenge nnyweeko ng’otaddemu n’oluti lwe wanteeramu olulala.’

  Okwo Omulangira kwe yasinziira okutuuma Kyasanku erinnya Sseruti. Era bwe yalya Obwakabaka omulimu gw’obusenero yagukwasa musajja we Kyasanku n’agukoleranga e Buikwe mu Kyaggwe.

  Bw’atyo omukulu w’essenero bwe yajja okuyitibwa Sseruti.

  2. Be basenero b’omwenge gwa Nnaalinnya. Omutaka Mbugayamunyoro y’akola omulimu guno.

  3. Abeekibe era bagoma ku Ntamiivu ya Kabaka. Entamiivu emu ku ng’oma za Kabaka eza Mujaguzo.

  Omuzirakibe akola omulimu guno ayitibwa Kalinge.

  4. Bavuzi b’amaato ku mpingu ya Kabaka. Empingu ly’eggye lya Kabaka ery’oku mazzi.

  Published on: Saturday, 17th July, 2010

  #27026
  KulabakoKulabako
  Participant

  Abembogo bakongojja Kabaka

  Bazzukulu ba Kayiira e Mugulu mu
  Ssingo nga bakongozze Kabaka Mutebi bwe yali atikkirwa e Naggalabi mu 1993.

  Bya Mariam Kyabangi

  Omukulu w’ekika ky’Embogo Owaakasolya ye Kayiira, atuula e Mugulu mu Ssingo. Akabbiro kaabwe Ndeerwe. Emibala gyabwe givuga nti;

  (a) ‘Kadagado kaagwa
  Aka Namagembe kaabula akalonda
  Tokwatako ng’olidde embogo
  Zonna mbogo
  (e) Kyana kya mbogo e Ssenge
  Kye ndikwatako Ssenge’ Ogwo gwa Ssekayiba.

  Emirimu gyabwe ku Kabaka:

  1. Bakongozzi. Be bakongojja Kabaka ne Nanzigu. Mu Buganda, olw’ekitiibwa n’obukulu bwa Kabaka, akongojjebwa. Omuzirambogo akongojja Kabaka ye Ssekayiba e Ssenge.

  2. Abembogo baggazi. Emiryango gy’olubiri lwa Kabaka mingi ddala era Abembogo be baggazi b’oluggi Nsigo. Omuzirambogo ayitibwa nsigo ye mumyuka wa Mulamba akulira abaggazi bonna.

  3. Be bakwata engabo n’amafumu ga Kabaka. Engabo ya Kabaka gye bakwata eyitibwa Kaamaanyi.

  4. Be baleeta Lubuga nga Kabaka asikira Obuganda. Kabaka tasika yekka, asika ne Lubuga era Lubuga oyo aleetebwa Bambogo.

  Ekika kya Namung’oona:

  Omukulu w’ekika ye Kajjabuwongwa.

  Akabbiro kaabwe Mutima.

  Omubala gwabwe

  guvuga nti,
  ‘Yajja aseka
  Mu Kyambadde mulimu engo
  Akaana ak’obulenzi tokawa mpindi mu ngalo.

  Emirimu gyabwe ku Kabaka:

  1. Be basitula ensawo omubeera amakula ga Kabaka. Kajjabuwongwa ye yakwatanga ensawo omwabanga amayembe ga Ssekabaka Kintu n’eddagala lye. Era Ssekabaka Kintu bwe yabangako w’alaga, nga Kajjabuwongwa y’amulagula.

  2. Era baakolanga omulimu gw’obukomazi..

  Emikomago gyabwe gyali ebiri;
  Nnaakeera ne Kalibattanya.

  Gyombi gyalinga ku butaka bwabwe e Kasaka. Ensaamo yaabwe enkulu yayitibwanga Bwefunge.

  Published on: Saturday, 18th September, 2010

  #27065
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Abentalaganya be bakuba eng’oma eragira Obuganda okukoma okukungubaga

  1285435961gwanga.jpg

  Abaganda lwe baakungubaga nga bali ku Masiro g’e Kasubi nga gayidde.

  Bya Mariam Kyabangi

  OMUKULU w’ekika ky’Entalaganya ayitibwa Bambaga atuula mu Bulemeezi.

  Akabbiro kaabwe Maleere.

  Emibala gyabwe givuga nti,
  ‘Basajja balamaga, bajja balamaga,
  Kaddu omulamazi
  Balamaga, ne jjo ndiramaga nga nteganira obutaka.

  Emirimu gy’Abentalaganya mu lubiri gye gino:

  1. Be basimba oluwaanyi ku biggya by’abalangira okubiramba.

  2. Bayizzi: Nalumenya ow’e Nsolo mu Busiro ye Mukangula (omuyizzi) wa Kabaka.
  Abentalaganya era be baakuumanga embwa ‘Mukooza’ era nga be bakuuma ekide kyayo ekiyitibwa ‘ssirirwamagumba.’

  3. Be bakuuma n’okukuba eng’oma ‘Nakawanguzi’, eragira abantu okukomya okukungubaga mu Buganda. Wano mu Buganda, okukungubaga kwonna kwabanga n’ekiseera ekigere kye kulina okumala. Ekiseera ekyo bwe kyaggwangako, Obuganda bwategeereranga ku kuvuga kwa ng’oma eyo Nakawanguzi’.

  Eng’oma eyo ya kitiibwa nnyo mu Buganda era buli muntu eyabanga agenda okuttibwa, bwe yaddukanga n’atuuka awali eng’oma eyo, nga tattibwa.

  Bwe gutyo bwe gwabanga ne ku nsolo eyabanga egenda okuttibwa. Omuntu oyo yasigalanga awo ng’aweereza eng’oma eyo.

  Eng’oma eyo tevuga nteera, ewerekerwako endala ssatu okuli; Namigaya, Kiwaggu ne Namutebi.

  4. Be basamirira Lubaale Mukasa.

  5. Be batereka ejjembe Lugala. Ejjembe eryo likuumibwa Kazaala e Bambaga.

  #27068
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Wangu, Mutunda 26, 2010 Awasooka Ekirowoozo Alipoota
  Ebyobuwangwa
  OMUZIRA NYONYI SEKABIRA

  Ekika ky’engabi

  Engabi

  50N_2.jpg

  Ab’ekika kino bazzukulu ba Mugema era ng’obutaka bwabwe obukulu busangibwa Bbira mu Busiro, ng’akabbiro byenda.

  Omubala gwabwe guvuga nti, “Talya nkima, ssennya enku twokye ennyama”.

  Ekika kino kirina amasiga munaana okuli erya;
  Jjumba e Bunjakko mu Mawokota, Kinyolo e Kisugu mu Kyaddondo, Kisambu e Busambu mu Bulemeezi, Lujumba e Bulenga mu Busiro, Mmande e Kabembe mu Kyaggwe, Mwanga e Kyamuwooya mu Bulemeezi, Ssebukyu e Malangala mu Busujju n’erya Ssemuggala e Buggala mu bizinga by’e Ssese era nga bano bonna batuuka butereevu ewa Mugema.

  #27259
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Abanamung’oona be bakomazi ba Ssaabasajja
  [attachment=2413]1289667594ndege.jpg[/attachment]
  Bya Mariam Kyabangi

  Omukulu w’ekika ow’Akasolya ayitibwa Kajjabuwongwa. Akabbiro kaabwe mutima ate omubala gwabwe guvuga nti, “Yajja aseka, mu Kyambadde mulimu engo. Akaana ak’obulenzi tokawa mpindi mu ngalo.”

  Abeddira Namung’oona be basitula ensawo omubeera amakula ga Kabaka.
  Ku mulembe gwa Ssekabaka Kintu,
  Kajjabuwongwa ye yakwatanga ensawo omwabanga amayembe ga Ssekabaka Kintu n’eddagala lye. Kintu bwe yabanga anaatambula, Kajjabawungwa nga y’amulagula.

  Aba Namung’oona era baakomaganga. Emikomago gyabwe emikulu gyali ebiri.
  Ogumu guyitibwa Nnaakeera omulala Kalibattanya. Gyombi giri ku butaka bwabwe e Kasaka ate ensaamo yaabwe enkulu yayitibwanga Bwetunge.

  Published on: Saturday, 13th November, 2010

  #27255
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Abaakayozi bagoma era bayizzi ba Kabaka

  [attachment=2417]1290282360kukule.jpg[/attachment]
  Bya Mariam Kyabangi

  Ekika ky’Akayozi omukulu waakyo ye Magambo. Atuula Kyango e Mawokota ate akabbiro kaabwe Nsombyabyuma. Omubala gwabwe guvuga nti, “Ggwe Mukigi, ggwe Nsasa.”

  Abaakayozi bayitibwa, Bakyango abalumikattaka. Emirimu gy’Abaakayozi ku Kabaka gye gino: Bagoma ku ng’oma za Kabaka eziyitibwa Kanabba nga eno y’engoma y’Obwakabaka evugira abalangira ababeera baseeseetuse ku lubu olulya Obwakabaka.

  Abalangira abali mu lubu olwo kye bava bayitibwa abalangira ba Kanabba. Olubu lwa Bakanabba lwe lubu lw’abazzukulu b’abaana ba Kabaka abalala.

  Eng’oma Kanabba ebavugira mu bitiibwa byabwe eby’enjawulo, naye buli lwe bagenda nga basemberayo mu kuzaaliganwa, nga nayo erekeraawo okubavugira. Abalangira ba Kabanbba tebasikira Bwakabaka okuggyako mu mbeera nga tewali mulangira wa lulyo lwa Olw’engoma.

  Abaakayozi be bavunaanyizibwa okunona lubaale Mukasa e Ssese era abaakayozi baakolanga n’omulimu gw’obukanguzi (obuyizzi) ku Kabaka. Omulimu gwakolebwanga Ssewannyaga ow’e Mmanja mu Busiro.

  Published on: Saturday, 20th November, 2010

Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 35 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.