Home › Forums › Culture, Edutainment and Pure Fun › Mutaayi / Best Buddy › Ebyaali Ebyokusaaga Nga Bifuuse Ebyomukwano.
- This topic has 5 voices and 9 replies.
-
AuthorPosts
-
August 12, 2008 at 6:01 pm #18703
Mulongo
ParticipantWali ogenze ko okukyaala, okuwummula, mu bbaala, ku mizannyo, oba wadde kumulirwano, nosangayo omuntu, olwokwagala okuyisa ebiseera, okutta ekiwubaalo, oba nga tolina nansonga notandikawo ekintu, newesanga oluvanyuma nga fun thing efuuse love thing? Yiiwa wano bwiino.
August 19, 2008 at 3:32 pm #19372Jona
ParticipantEeee, oyo bwiino ye mungi. Naddala mu bbaala. Ebisooka nga fun mu baala bitera nnyo okunviramu “love thing”. Nga natandise kuyiwa wano bwiino, njakwetaaga pages nyingi.
August 20, 2008 at 1:56 am #19381Musajjalumbwa
ParticipantFfe abasajja Abaganda tutera kukwaana mu bya kusaaga. Abamu oluusi kyoova obasanga nga bakaayana nti tewakyaali mukazi gwogambako nagaana. Kubanga ebiseera ebimu tuba tuli ku mboozi. Abasajja abeeru abasinga okukwaana kwaabwe bakutwaala very seriously. Abamu batya nnyo okugaanibwa nti balinda abakazi bebaba babakwana. Nze nnalabako neyakuba emiranga nga bamugaanye.
August 20, 2008 at 5:37 am #19383Omumbejja
ParticipantJona please we have all the time for that juice bwiino so lets get comfortable and start spilling it out,but start from the end of the story
August 20, 2008 at 11:40 am #19397Kalibattanya
ParticipantKandabe… kandabe oba kyaali kintuuseko. Edda nakolanga nnyo emizannyo bwegityo, egyokwefuula ali interested mu bantu okuyisa obudde, oba for the fun of it. Lumu omusajja omweeru yajja ewaffe ssaawa munana ogwe kiro, nayita ne sister wange eyali yebaase ajje ajulire emboozi. Kyaava angamba mubuliire ekiriwo ndeke kumuzanyisa. Nemugamba nti anti munnange nze nnina okuddayo ewaffe. Kyaava agamba nti agenda kuleka mukazi we tugende e Buganda tukole amaka. Mba kyesirikirizza ntebereza ekyokumuddamu, nangamba nti “Naye oteekwa okwebaza mukazi wange. Kubanga jjo nawulidde nga ndi munyiivu nnyo gyooli. Nakutte ekiso nzije nkutte nange nette. Mukazi wange yeyankutte.” Wano ettemu eryekika ekyo ssi ttono. Nnali sinnakimanya bumanya. Ate waliwo abayinza okugambanti kiri romantic, naye mukwano gwo nga tannakutunulira na maaso gali strange nga ayogera ebyo.
Buli lwennalinga ntandika emizannyo, nga bwenzijukira ekyo nga ngamba, “Kaliba, vva ku bigambo. Tuula wansi.” Era wendi kati.
August 20, 2008 at 9:58 pm #19408Omumbejja
ParticipantKalibattanya ntera emboozi zo okuzisoma emirundi egisoba mu ebiri naye leero kanfe kisiiri eno sijja kuddamu kugisoma sigwa ddalu kankada
August 25, 2008 at 6:03 pm #19448Mulongo
ParticipantOkugwa mu mukwano kunyuma era kulungi naye nga toguddemu wekka. Notandika okusaaga nga emboozi ogizza eno gyogwiridde nga eya munno eri eri waggulu gyeyasigadde. Kati nno awo notandika okwekulula nga weseesetula nga owalampa ebisenge okusitukayo. Nga munno bwayimiridde wali akutunirira nga ekyonziira ki fala. Nze amagezi gempa bakasaaga, bwolaba otandikiriza okumwesunga lwanajja ne kyanayogera, bwotandika okumala okwawukana naye ate nodda mu byonna byemwayogedde muli mu mmeeme yo, wetaase mangu. Ddukirawo ekibambulira.
August 26, 2008 at 2:45 am #19454Omumbejja
ParticipantWaliwo ne scenario endala nga muntu gwewegwanyiza katugambe aliko ekidduka buli lwokiwulira nodduka emisinde era akusange mukkuba wayita newefuula naawe abadde atambula amakubo go songa ddala omaze kuwulira kidduka kye ,
Nalina mukwano gwange nga naye omuvubuka eyali amututte omwooyo nga lina pikipiki eza kawasaki naye simanyi oba nomuvubuka yali akitegeddeko nti omuwala yamugwa ddakuba buli lweyatuuka mukifo omuwala wasula nga yongera okugikaabya kati abawaka balabanga muwala afubutuka okugenda ku kkubo wakiri alabe nga munne abulirayo .
Naye olumu omuvubuka ono twamusanga awantu, era ekya sooka okunzijira kyaali kya kumubuuza lwaaki bwaaba ayita omuwala wasula takendeeza muliro oba pikipiki najivaako nagiwalula naawa munne akaseera akokumulabako wakiri obulabi aleme kumenya mukwano gwange magulu nga dduka .
Kko ye nti yali tamanyi,naye gye byagweera nga bagalanye.August 26, 2008 at 10:11 am #19459Musajjalumbwa
ParticipantMulongo jangu eno mwattu twaaze Obuganda. Vva kwaabo abakudaaza. Geeza kwoono Omufumbe ali able and willing. Kati tukoze tutya?
August 28, 2008 at 8:42 am #19471Mulongo
ParticipantMusajja munnange webale kunzizaamu maanyi. Naye wabula, ssiggwe nnalaba wali nga okubye akalango nti baakulekamu lock? Kati nze munnange ebyo nembitandika ntya? Sooka onoonye eyadduka nekisumuluzo ajje ayimbule omutima gwo nange ndyooke ndabe nti eeh ddala wooli osobola okwanganga ekipya. Nange awo wenafunira bwendaba ekigenda mu maaso ne lock eno gyendimu.
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.