Ebyo buwangwa

  • This topic has 9 voices and 41 replies.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 42 total)
  • Author
    Posts
  • #19171
    KulabakoKulabako
    Participant

    owe_butonda.jpg

    Butonda: Ekyalo ‘Katonda’ gy’asula

    Omwaliiro gwa Katonda ogugambibwa nti wano Katonda w’asinziira okulamula ensi ku Nnamulondo eyo okutudde Kabona Nswagiro.

    Bya Joseph Mutebi

    MU biseera abakazi we baalayiriranga nga balina kye beekanze wabawuliranga nga balayira nti Katonda e Butonda! Ggwe awulidde wasigalanga weebuuza Katonda oyo ali e Butonda alayiza abakazi nga bakutte ku nkanaga.

    Omwaliiro gwa Katonda e Butonda, kigambibwa nti Lugaba gy’asinziira okulamula ensi! Nga bwe kitali kyangu kukkiriza nti omuntu ayinza okutuuka ewa Katonda ng’akyali mulamu nange kyampitiriddeko nga ntuuse Abaganda we balowooza nti Katonda w’asinziira okulamula.

    Butonda kisangibwa ku mutala Bukule ( ekiggwaayo nti Bukulembeze) ewa Ttonda mu Kyaggwe. Okutuukayo olinnya lyato ku mwalo gw’e Ggaba erikutwala e Bukule 3000/- ng’omaze okusomoka amazzi booda ekuggyako 3000/- n’olyoka olamaga ng’oyambuka akasozi mayiro nnamba okuyingira ewa Ttonda e Butonda.

    Ekifo kino kikulirwa Kabona Kakembo Nswagiro ow ‘Enjovu gwe nasanze ayambadde ekkanzu enjeru ttuku nga yeesumikidde n’olubugo.

    Nswagiro agamba nti “Mu nsi mulimu emitendera ebiri , omuzaale n’omutonde.

    Ssekabaka Kintu yagenda okujja ku nsi nga kuliko abantu mu kifo kino e Butonda ewa Ttonda. Katonda gy’awummulira ku nsi.

    Kigambibwa nti kino ky’ekifo ekikulembeera ebifo byonna ebiri ku nsi Katonda mwe yawumbira obukulembeze.

    Butonda kifo kya buwangwa bwa butonzi, era y ‘ensibuuko y’endyo etaano (5) omwava ebirina obulamu n’ebitalina.

    Olulyo lw’ebinyonyi byonna ebyewalula ku lukalu, Eby’omu nnyanja , Ebimera n ‘ebiwuka byonna wano we bisibuka era mwe muva ebika by’emiziro egyeddirwa.

    E Butonda bakkiriza nti abeddira ebisolo bava mu lulyo lwa bisolo nga lukulirwa Njovu , abeddira ebyennyanja bava mu lulyo lw’eby’omu nnyanja olukulirwa emmamba, abeddira ennyonyi bava mu lwa binyonyi ebikulirwa Muzinge, ab’ebimera bava mu lulyo lwa bimera olukulirwa empindi ab’ebiwuka bakulirwa Nseenene.

    Olusozi Butonda kuliko empuku n’amayinja ag’ebijjukizo .Olusozi luno obuyinza bwalwo buva mu nsozi z ‘e Walusi mu Bulemezi .

    Wabula e Ttonda y’etudde obugabano bw’emigabo gya buli kika kya muziro ogweddirwa.

    Kuno kwe kusangibwa omwaliiro Katonda’ kw’asinzira okulamula ensi.

    Ku Butonda era kwe kusangibwa ebisigalira by’enjazi ebyoleka ebyafaayo bya bajjajjaffe ab’edda.

    Kuliko omutwe gw’eNjovu ekulira olulyo lw’ebisolo, kwe kusangibwa omwaliiro gwa Katonda ne Nnamulondo ye kw’atuula ng’alamula.

    Empuku Nnaalongo Nalwanga mwe yamaamirira eggi omwava buli kiramu ku nsi, kuliko ekifo Ssenjuba Kiwanuka awasibuka amaanyi agawa abantu obugagga n’ebirala.

    Ku Nnamulondo egambibwa nti ya Katonda kutuulako musajja yekka Katonda mw’ayogerera, era kati kuliko Kabona Kakembo Nswagiro. N ‘ekirala ku mwaliiro gwa Katonda tegenda ngatto.

    Published on: Saturday, 23rd August, 2008

    #19436
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Munnaffe ono yebale okutubuliirako engeri omuntu gyatuuka mu kifo kino. Lwennaagenda e Buganda ngenda kugendayokko ndabe ku biriyo. Ku kifo kya Katonda we Butonda E Buganda.

    #22483
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant


    Bbemba Musota
    Friday, 06 March 2009 16:17

    aaambo.jpg

    [Omuzaala Ssekyoya Nalubega akuuma Olubiri luno.]

    Omuzaala Ssekyoya Nalubega akuuma Olubiri luno.
    WALI olabyeko lubaale n’amayembe nga galwana n’owemmundu? Obadde okimanyi nti amayembe gatya emmundu? Kino nnakikakasizza wiiki eno, abemmundu bwe baasaanyizzaawo Olubiri lwa Ssekabaka Bbemba Musota e Namung’oona.
    Wakati mu kwaziirana, tewali ku bantu bano abaabadde baswakidde yatidde kutambaala kifo kyabuwangwa okukkakkana nga bakimenye n’ebimu ku bintu byamwo ne babikumako omuliro!
    Omuzaana Ssekyoya Nalubega akuuma Olubiri luno namusanze mu nnaku mpitirivu, ng’atudde wansi ku kakeeka. Ku bbali ng’abantu be bafumbira bweru mu bitiititi, ng’eno empewo bw’ekunta ey’okumukumu.

    Yakoloddemu gumu n’alaamiriza nti ‘Obuganda buzaaye, Bbemba Musota Ssekabaka w’emisambwa eyasembayo azindiddwa!”
    Olwo kwe kutandika okusiita ng’eno bw’afuuwa oluwa, olwo n’agamba nti, ‘Abakikoze jjajja bakoleko, Obuganda n’ebyobuwangwa lwaki babitta batyo!”

    Nalubega ennaku gy’alimu n’abantu be yabalese tebalina we beegeka luba. Mwattu kati alinga agudde eddalu, era bwe yannengedde n’aloma, “Muyambe Obuganda kubanga buggwaawo, abatabwagala kubaawo bangi, bavudde mu birala kati bazze ne wansi mu mbiri n’embuga z’emisambwa egikuuma Buganda. Olwo Obuganda bunaasigalawo?,” bwe yabuuzizza.

    Tewali kubuusabuuza abantu bangi babadde bawa ekitiibwa Olubiri lwa Ssekabaka Bbemba. Era wadde amasabo n’ennyumba zaakwo zaakooneddwa, naye bangi obwedda bavaayo n’ettaka, nga bw’olaba Abalokole bwe batwala amazzi g’omukisa okuva mu makanisa gaabwe.

    Nalubega agamba nti Olubiri luno lumazeewo emyaka egisoba mu 800 era nga lwabeerawo okuviira ddala mu mirembe gya Ssekabaka Bbemba Musota Kato gw’agamba nti ye yasembayo mu lubu lw’emisambwa okufuga Buganda.

    “Mu Lubiri luno mwe muva obwakabaka bwonna mu Uganda,” Nalubega bw’annyonnyola. Apollo Kaggwa mu kitabo kye Bassekabaka b’e Buganda ayogera ku Ssekabaka Bbemba Musota nti ye yasembayo ng’Ebika tebinneegatta mabega wa Ssekabaka Kintu, okulwanyisa Bbemba eyali omukambwe ennyo ng’omusota.
    Agamba nti yadde Olubiri lwa Bbemba lwabeeranga Naggalabi – Buddo, naye ng’ekiggwa kye ekikulu kibeera awo e Namung’oona ku Lubigi.

    Ewa Bbemba Musota wabadde wakolerwayo emikolo gy’obuwangwa egiwerako okugumya obufuzi obw’ensikirano n’obuwangwa.
    Ebadde embuga ewezaako yiika ebbiri kati matongo, mpozzi ennyanja ya Bbemba yo weeri.

    Abakozesa oluguudo lwa Hoima Road bulijjo batera okunyumya nti balina omusota gwe baatuuma Bbemba gwe batera okulaba, kati abamu obwedda babuuza oba obubenje tebweyongere ng’Olubiri lwa Bbemba lusaanyiziddwaawo. Naye kasita weetuli, tunaabiraba.

    “Tannaba kutugamba kiddirira naye Bbemba Musota ajja kuwoolera eggwanga, tasaaga ate taseka,” Nalubega bwe yalabudde.
    Omuzaana Nalubega amaze emyaka 27 mu Lubiri luno ng’alukuuma. Agamba nti mu kiseera kino kyonna abadde tafunanga muntu n’omu avaayo kumutegeeza nga bwe bali mu kifo kino mu bukyamu.
    Agattako nti n’abazimba Northern Bypass baagezaako okumusengula kyokka emisambwa gy’abalemesa, olwo n’akubira nti abaasaanyizzaawo Oluburi lwa Bbemba nabo beerinde.

    Nalubega agamba nti ng’oggyeeko okukoona ennyumba mwe babadde basula, embuga omuli eya Ndawula, Wasswa Ggogombe, eya Bbemba Musota, ennyumba Masengere ekira endala zonna era ey’emikolo, eya Kabaka Batenda, eya Kinene n’ennimiro Buganda byonna byayonooneddwa.

    Minisita Maria Mutagamba ow’amazzi n’obutonde bw’ensi ye yakulembeddemu ekikwekweto kino. Agamba nti wadde Olubiri lwakooneddwa, ye yabadde tamanyi nti kifo kikulu.
    Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda, Haji Yusuf Nsubuga Nsambu yasabye Gavumenti ezzeewo ekifo ekyo kubanga kyabuwangwa.

    ‘Nsaba be kikwatako bategeere nti Olubiri lwa Bbemba Musota lukulu mu byobuwangwa bya Buganda,” bwe yawandiise mu bbaluwa gye yaweerezza .
    nasigadde nninda ndabe ekinaatuuka ku Mutagamba, olwo lwe nnaakakasa nti ddala awali ejjembe oleema mmundu!

    #22484
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Tukooye neganamawanga ogajja mu Buganda okutufuga nokutwononera ebintu byaffe, Abaganda gwanga lyaani gyebagenda nebonoona ebyobuwangwa byammwe? Waliwo ebintu byemuzannyirako naye mulekeraawo okussa agagalo gammwe kubyobuwanga bwaffe ate temulowooza nti mujja kugenda namirembe kuba tukooye ejoogo lyammwe ensi yaffe yonna mugidobonnkanyizza .

    Lwaaki nga temunatandika kwonoona butonde bwa Buganda temusooka kwebuuza ku Baganda abali mukifo ekyo era nga lwaaki muleka ewammwe nga eriyo ettaka nebibanja nemujja mu Buganda okutudobonkanirako ,Mwerowooza nti buli kimu munakyookya nokukisenda kuba mweyita bawaggulu lwaaki temusooka kwebuuza babasokawo wa gyebali .

    Tukooye abantu abagayisa gamafunyo abamala gonoona buli kimu , Ffe mu Buganda twakuuma obutonde singa twaali tubwonoona nga mmwe mwandibusanzeewo?

    M7 gamba kubalebesi bo nti tukoyesebbwa okugendanga nga mu twononera ebyo buwanga byaffe, bwemuba mwe temubirina ewammwe tubasaba lwakisa musse ekitiibwa mu bintu byaffe kuba biri waffe tetubiretanga wammwe era tetujjanga wammwe kubatyobolanga, mukomye akanyoomonyomo nga temunatuuka ku kyookya ate nga temukyajjukira gyekivudde , kuluno mugenze wala.
    Mugende mwonoone ewammwe musende West mugimalewo for all we care

    Gwoono maria Mutagamba simanyi gwanga lyo naye teri yakuyita mu Buganda kujja kutyoboola bya buwangwa bwaffe busente bumeka obukufuula owe kitalo

    #22486
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant


    Banange bwetunayitiriza okulindanga abe bunayira okutuyamba tujja kwesanga nga batusudde ettale Bano abasajja ekyasinga okubakwaasa obusungu kwekulaba nti Buganda erina ebintu byaayo bwebikola nga bitegeke bulungi nosanga nga bulikimu kiri wekiteekwa okubeera lwakubanga abantu bamala kulowooza nakwebuuza kubaba babasingako okutegeera buli kimu bwekikolebwa .

    Kwekusanga ngatadde ekiyigo kye wala ate nakirabirira nokukinyokeza nokukibikkako so ssi kukizimba mu luggya wakati , nosanga ngayoyoota olusuku lwe nalusalira nosanga nga labirira enzizi nemigga nebibira nabikumirayo mu butonde bwaabyo, natagenda ate mu ntobazzi kuyiwayo ttaka kutandika ntobazzi kujja mu kibuga wakati

    Ebyobuwanga bye nabikuuma mumbeera gyebiteekwa, naye ennaku zino buli mugwiira ajja mu Buganda kyasokerako kwe kwonoona ebyafaayo byaffe nabyookya ,kyemwerabira nti ebyo byemwonoona tetubirina kumpapula zokka singa kyaali bwekityo singa twakoma dda.

    Wano wetukubiriza abaganda wonna wemuli okujjumbira okuyigiriza emiti emito egya Buganda ebintu ebikwaata ku Buganda kuba abalabe baffe bakoze kinene okugezaako okugisanyaawo.

    Naye mu jjukire gyemukomya okutigomya Omuganda gyemukomya okumwagazisa egwanga lye nokwongera okwagala okwekutulako abeere yekka afune obuwerero.

    #22488
    BusagwaBusagwa
    Participant

    Obuganda bumaze emyaaka egisukka mu bikumi bina (400) era ne Henry Morton Stanley bweyajja nga asatuuka yasanga Buganda yensi yokka erina Olukiiko (Parliament) na Ababaka.Kabaka waffe
    mu biseera ebyo yayogeranga ennimi zonna..ekyewuunyisa enyo Stanley,nolweekyo bano ba Sserwajja Okwoota bamala biseera byabwe nga batulugunya abantu baffe.Bwebulimala nebukya,eyabaalula ejja kuwunya..

    #22493
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Abaamenye embuga ya Bemba Musota balaajana

    Bya Robert Mutebi

    ABANTU beekulumulula okugenda ku lubiri lwa Bbemba Musota e Namung’oona ku luguudo lw’e Hoima okwerabirako ku bamu ku bantu abagambibwa okuba nti beetaba mu kumenya olubiri luno abatandise okwetwalayo okusaba okusonyiyibwa.

    Batuuka balaajana era abamu baleetebwa bang’anda zaabwe nga tebategeera ne bakuma ekyoto kya Bbemba n’oluvannyuma ne wabaawo ebintu ebiboogererako nga bwe bibanenya okwekobaana okusaanyaawo ebyobuwangwa.

    Ku Lwokutaano abantu abasoba mu 15 be beetutte mu Lubiri nga bakirako abalwadde era bakira buli atuuka ng’asabirawo kisonyiwo nti ‘Jjajja twasobya, tusonyiwe tetwamanya’.

    Abamu ku bantu bano okuli Moses Muwanga, Johan Kemigisha, Rauben Atwire, Haruna Mponga ne Kepher Bwalya bagamba nti baagulwa ne baleetebwa okusenda abaazimba mu ntobazi era baali bakolera ku biragiro bya bakama baabwe.

    Bino okubaawo kiddiridde ab’ekitongole ekikola ku butonde bw’ensi ekya NEMA ne Poliisi nga bakulemberwamu minisita w’amazzi n’obutonde, Maria Mutagamba okuvaayo ne bamenya amayumba gonna agaazimbibwa mu lutobazi lw’omugga Lubigi e Namungoona.

    Mu kikwekweto kino mwe baamenyera n’embuga ya Bemba Musota n’okwonoona ebimu ku bintu byamwo ebyobuwangwa.

    Ku Lwokutaano abantu baakulugguse okugenda okwerabirako abamu ku baamenya ekifo kino nga bavaayo okwetonda wakati mu kuwanjaga.

    Omuzaana Ssekyoya Nalubega yategeezezza nti buli muntu eyeenyigira mu kume-nya olubiri luno waakukolwako kubanga Bbemba munyiivu.

    Published on: Saturday, 7th March, 2009

    #22494
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Keeko akanyoomonyoomo ke twogerako aka kuwanula gyooba akalambidde temusobola kulumba bantu mu nsi yaabwe nemutandika kubononera buli kemukwasizaako engalo nokulaba nga mubatta mubamalawo ate nga mwe mwabalumba tebabayitanga , ate nga nokubasibirawo tebabasibideewo nga muli baddembe okugenda nemubeera naabo be mwagala okusinga okwenyiga kubatabagala olwempaka.

    #22508
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Maria Mutagamba ngomaze okulaba ensobi gyewakoze okwagala okusanyusa mukamaawo, kati okozeewo ki? olina okuzaawo olubiri lwaffe ebyo byonna ebifo byemugenda mwewanikako mukifo kyokutandikira mu bokola nabo ba Nyakaana abazimba gyebatateekwa ogenda oduma mu bya buwanga bya gwanga ddamba, mbadde ngamba nti mwenna muliko amawanga gyemuva, lwaaki temugenda nemuzimba gyemusibuka? , toggya kutulawo mirembe nga tonaddayo kuzaayo bye mwayonoonye ndowooza olaba ekyatuuse kubantu bo bewasindise okwonoona ebintu byaffe, bi ssamanya tebimala olina okuddayo okulaba nga ngolubiri luzzibwaayo eryo ejooge eryekitoolettoole tulikooye tusulirira lumu mwenna mutwamuke tubakooye ekigenda ewala

    #22542
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Tebannaba, gakyali mabaga. Baja kulaba amaanyi ge nsi.

    #22690
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Bazinze aba Bemba Musota
    Written by Robert Mutebi
    Sunday, 22 March 2009 17:30

    WAABADDEWO akasattiro abakozi ba UTODA bwe baazinze

    Olubiri lwa Bbemba Musota e Namungoona ne bagezaako okulemesa abeenyigidde mu kuluzzaawo.

    Bino byabaddewo ku Lwokusatu ekibinja ky’abasajja abaasobye mu 10 nga bambadde amataawo ga UTODA bwe baazinze olubiri luno ne bayimiriza abazimba embuga eyitibwa ‘Masengere’ empya nti kuba baagulawo bazimbewo ppaaka ya takisi.

    Kyategezeddwa nti Abaganda abeegattira mu kibiina ky’Abazzukulu ba Buganda be baabadde ku mulimu gw’okuzimba Olubiri luno.

    Wabula agamba nti y’akongojja Bbemba Musota omuzaana Sekyoya Nalubega yagambye nti abantu bano baabalemeseezza kuba bwe baabasabye ebiwandiiko ebiraga obwannanyini ku ttaka lino nga tebabirina.

    Ssentebe wa Namungoona LC 1 etwala ekitundu kino, David Male yagambye nti takimanyangako nti UTODA erina obwannannyini ku ttaka lino.

    Amyuka ssentebe wa UTODA mu Kampala, Chris Ssengooba yagambye nti kituufu waliwo akatundu kebaagula okuliraana oluguudo lwa Northernbypass bazimbewo ppaaka kyokka neyesammula eby’okusindikayo abantu okutaataaganya ab’embuga eno.

    #22691
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Okusooka tusooka okwebaza Bazzukulu ba Buganda okumanya okyokukola, nokuzaawo ebyo buwangwa byaffe ebitwononerwa abagwiira be twakeera okuleka bo nebasenga, wamu nokwenyiga webasanze nga teri abaggirayo mafumu nabiso nga bo bwebakola ngogeenze ku mawanga gaabwe.

    Teri Muganda yenna alina amagezi mumutwe gwe ayinza okuzisa ebyobuwangwa bya Buganda kuba ayagala okusanyusa bakama be ba sserwajja okwoota kuba oyo yenna aba akikoze akimanya nti ajja kukisasulira.

    Tetujja kukkiriza bamusenze alanda kutubuzaako butuliro ate nabeeyita Abaganda nabo batulinnye kumitwe ate nga basinziira ku bintu byaffe ebikola Obuganda ,
    Era naabo bamataawo gakakano bonna mubetegereze kasita akaseera kalituuka tetugenda kwesembereza , babadde batukaabya kagiri

    #22932
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Gwe ono Muwhezi bwemwaali temunasiba nkutu zammwe kumaamira Buganda Embuga ya Bemba Musota yaliwo era toyinza nakumanya bbanga ki gyeyabeerawo tubakooye mwe basselwajja okwoota okutuletako olunderebu nolumanyiiro mulowooza nti musanyuse mukama wammwe naye mujja kukyevuma. lwaaki temusooka kusenda byewammwe mu West e Bya Buganda mubirekere Abaganda kuba naffe ebyammwe we care less tukimanyi nti bino byonna mubikola kujooga naye mumanye nti mutumazeeko ekisa kyonna ,nammwe ekiribatukako mu genda kukwaasaako ebiri ate mwerabire obubi bwammwe , kale muli bantu babi, negeyeena ekyabeekaanya, naye era tonenya bwaaba onesimuuza yabikulembedde,jjukira nti mu Buganda gwe oliwo mu bukyaamu ebyobuwangwa wabisangawo era webijja okusigala ngokutte endoobe zo ngoddayo ewammwe bwolituuka

    Basanyizzaawo enfo ya Bemba Musota

    Written by Rogers Kibirige, Robert Mutebi ne Eva Naluwagga
    Monday, 06 April 2009 20:15

    POLIISI ng’eri n’abekitongole kya NEMA bazzeemu okuzinda enfo ya Bemba Musota ne bagimenya nga bagamba nti baagizimba mu lutobazzi.

    Okuzinda ekifo kino ekisangibwa ku mugga Lubigi ku lw’e Hoima kiddiridde abakiddukanya okuddamu okukizimba mu kifo kino oluvannyuma lw’ekikadde okumenyebwa ekitongole ky’ekimu mu February.

    “Essaawa zaabadde 11:00 ez’oku makya abaserikale ba poliisi abaabadde n’emmundu nga bali ne NEMA ne batuzinda ne batandika okumenya,” agambibwa okukongojja Bemba, Ssekyoya Nalubega bwe yategeezezza Bukedde.

    Abalabirira ekifo kino bataano nabo baakwatiddwa ne baggalirwa ku poliisi ya Old Kampala.

    Abaakwatiddwa kuliko Ssekyoya Nalubega, Kibuuka Muliraano, Rogers Banaddawa, Elvania Nabukenya ne Ruth Nakagwa abagguddwako omusango gw’okuzimba mu lutobazzi mu bukyamu ku fayiro nnamba SD 09/04/04/009.

    Avunaanyizibwa ku kulambula entobazzi mu NEMA,
    Onesimus Muhwezi yategeezezza nti okusaanyaawo ekifo kino y’omu ku kaweefube waabwe ow’okutaasa entobazzi obutayonoonebwa bantu bazimbamu mu bukyamu.

    #23375
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Amyuka Katikkiro agenze kipayoppayo e Nangabo

    alook.jpg

    Sunday, 10 May 2009 15:43
    [Nakayenga (ku ddyo) ng’aliko by’alaga Nsambu (owookubiri ku kkono).]

    Nakayenga (ku ddyo) ng’aliko by’alaga Nsambu (owookubiri ku kkono).

    OMUMYUKA owookubiri owa Katikkiro e Mmengo nga y’avunaanyizibwa ku buwangwa, embiri n’Amasiro, Haji Nsubuga Nsambu agenze kipayoppayo ku kyalo Bulamu mu ggombolola y’e Nangabo n’alambula ekifo Mmengo w’eyagala okugoba abatuuze ezimbewo amasabo.

    Nsambu yatuuse mu kifo wiiki ewedde olw’eggulo n’ayanirizibwa omumyuka wa Ssaabalangira w’embiri n’Amasiro mu Buganda, Omulangira Gobango Ssegamwenge n’ayingira mu mbuga y’Olubiri Bulamu n’akola omukolo ogusooka ogw’okusinza n’okusaba emikisa n’oluvannyuma n’ategeezebwa ebyafaayo by’ekifo kino n’okulambuzibwa embuga.

    Kino kiddiridde Nsambu okuwandiika ekiwandiiko ng’alaga nga Buganda Land Board bwe yalambika yiika 30 ezirina okwawulwa ku ttaka lya Kaggo nga ze zirina okubeerako olubiri lw’omusambwa Bulamu era n’alaga ng’Omumbejja Naava Nakayenga Kisirisa bw’alina obuvunaanyizibwa ku yiika zino ku lwa Mmengo.

    Kino kyatabudde abatuuze ne bayita Kaggo Tofiri Malokweza abannyonnyole lwaki abagoba ku ttaka.

    Kaggo olw’obukosefu, yabasindikidde omumyuka we Haji Badru Bunkeddeko eyabagumizza nti tewali ajja kubagoba ku ttaka kuba ekyapa (Kaggo) y’akirina kyokka n’abawa magezi okufuna liizi e Mmengo.

    Kino kye kyatutte Nsambu ekipayoppayo alabe ekigenda mu maaso. Omumbejja Nakayenga yamuloopedde ssentebe wa LC, Paul Nsobya nti ayagala kusaanyaawo lubiri luno ng’agenda alufunza ate n’ekkanisa ya Life Gospel Power Bulamu eriraanyeewo eyagala olubiri luno luveewo.

    Ssegamwenge yamusabye abafunire ekyapa ky’ettaka lino basobola okubeera abagumu nti tewali asobola kusaanyaawo.
    Nsambu yasuubizza okwongera okwetegereza ensonga z’olubiri luno.

    #23376
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Nsobya tusasire oddeyo ewammwe gyooba osenda ebyewammwe.
    neezo ekkanisa zaani asinga okuwaayo yasabirwa nazo tuzisabye zigende zizimbe awateekwa Abaganda tebagendanga waabwe kuyingirira bya nsi yaabwe , Nammwe Abaganda abaefudde mukoko okwenyigira mu buvuyo mwenyigirize mu byobuwangwa byaffe mu bisaanyeewo mujja ku temeza mabega wa mbuzi ekogga ate nabaana bammwe nabazzukkulu ekisiraani kibagendereko ebyo buwangwa bya Buganda ssi byakuzannyiramu mwe mulinde.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 42 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.