Ebyo buwangwa

  • This topic has 9 voices and 41 replies.
Viewing 12 posts - 31 through 42 (of 42 total)
  • Author
    Posts
  • #26871
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Mukasa, Muwakanya 04, 2010

    Ekibira Kyebango –

    Nalwemaanya ekyabalangira ba Kibooli

    SSEKABIRA A. ZZIWA

    Abalangira bano basibuka butereevu mu Ssekabaka Kikulwe e Kaaliiti era ng’obutaka bwabwe buli Bunyiri mu Kyaggwe. Bano bazzukulu ba Kiggala e Ddambwe, Ssekabaka Ssekamaanya, Ssuuna II e Wamala wamu ne Kibooli e Bunyiri.

    Abalangira bano baasenga ku kyalo Bunyiri ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II eyasaba omwami Kitaamirike eyalina obwaguuga bw’ettaka aweeko abalangira bano n’abambejja yiika abiri era n’akikola.

    Abalangira n’abambejja bano ku ttaka kuno baalinako olubiri era kwe kugalamidde abalangira abakulu okuli Kiggwe Kibooli I, Semiyoni Kibooli II ne M. Junju Kibooli III n’abalala.

    Ku ttaka kuno era kuliko ekibira Kyebango nga kino kye kirimu omusambwa Kyebango nga guno mukazi era nga gutuula mu jjinja eddene erisangibwa mu kibira kino, nga libikkibwako embugo bbiri.

    Kineene-Basinga omusambwa omusajja nagwo gusimbye amakanda mu jjinja eryamerako omuti kungulu wamu n’omusambwa Kyewaggula nga guno gwasimba amakanda mu muti ogusangibwa mu kibira era nga guno Ssekabaka Kikulwe bwe yawaŋŋangusibwa okuva e Bunyiri, gwasiguka ne gugwa wansi we gwali ne wavaayo amayinja asatu.

    Mu kibira muno mulimu engo era nga eno bwe waba nga wanaabaawo omutuuze anaafa etambula ekyalo ng’ekaaba.

    Ku kibanja kye kimu kuliko omuti omukookoowe ogwogerwako nti lumu gwagwa mu luguudo ate ne gusituka gwokka ne guddamu okwesimba n’okutojjera.

    Ekibira kino kirina amateeka abantu b’omu kitundu kino ge balina okugoberera okwewala okunyiiza emisambwa egikirimu okuli; obutatyabamu nku, obutafuuyisaawo musulo, abatali bambejja oba balangira tebakiyingira, omusajja n’omukazi temuyimirirawo wadde okuyitawo nga mwekutte wamu n’obutatwalayo byawongo.

    Ekibira kino tekirina bukwakkulizo bwa maanyi ku abo abagenda okusabayo emikisa anti bw’oba oyingira engatto ozireka ku mulyango, oludda lw’oyingirirako si lw’ofulumirako, ogenda n’okuma ekyoto n’osaba emikisa bw’omala n’osaba ky’oyagala oluvannyuma ng’omaze okufuna kye wasaba ng’oddayo weebaza.

    Okugusanyusa batwala ennyama, omwenge wamu n’okukuba eŋŋoma ne babinuka.
    Mu kiseera kino bbugwe eyali ku mbuga eno tekyaliwo ate nga n’ettaka ezaali yiika abiri kati tezikyawera naye ng’abalangira n’abambejja ekitundu ekyasigalawo baasobola okukisasula ne beegula era nga mu kiseera kye kimu bali mu kugezaako kuzzaawo ennyumba ku biggya by’abalangira abakulu ba Kibooli abaakagalamizibwa mu kifo kino.

    Omu ku baami abalabirira ekifo kino ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza Eddoboozi nti mu kiseera kino obumu ku bulombolombo bw’ekitundu kino abantu bagenze babumenya, ekireetedde n’abambejja b’olulyo luno okulemwa okufuna obufumbo kyokka nga mu biseera biri ng’obulombolombo bukyagobererwa, abambejja baafunanga emikisa mu buli kimu nti era waaliwo n’ekiseera nga balina n’ababakwatirako engoye nga batambula.

    Yagasseeko nti waliwo n’abo abaagala okusaanyaawo ekibira kino nga bagezaako okugula ettaka kwe kiri naye mbu buli akyesimbako alemererwa n’adduka olwamaanyi g’emisambwa egiri mu kitundu kino.
    Muwakanya 3, 2010

    #26961
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Ekivve ky’amawemuukirano
    Bya Alex Lubwama

    kuno_kwe_200_153.jpg

    Ekikolwa kyonna ekikolebwa nga kiswaza enju oba ekika kyonna gaba mawemuukirano! Omulenzi bw’asooberera nnyazaala we, omusajja bwe yeerigomba n’omwana gw’azaala n’ebikolwa ebiringa ebyo, gaba mawemuukirano.

    Ebikolwa ng’ebyo byabanga bya bbalirirwe. Amawemuukirano

    agaasinganga okulabika gaabanga ga muwala asobye n’azaalira ku luggya.

    Omwana owoobulenzi yasobolanga okuzaalira ku luggya era gano tegaabanga mawemuukirano, naye kyabanga kivve omwana omuwala okwemakula ng’ali ku luggya, n’atuuka n’okuzaala. Yasuubirwanga okufumbirwa nga mbeerera.

    Afunye olubuto yabanga mu buzibu, yayisibwanga ng’ekyonziira ng’alagibwa obukambwe obw’ekitalo, naddala okuva eri kitaawe. Ne nnyina naye yabanga amutadde mu buzibu, anti kyalowoozebwanga nti nnyina mugayaavu, takuzizza mwana we bulungi era yayisibwangamu amaaso ku kyalo ne mu kika gye yazaala omwana oyo.

    Abazadde baayinzanga okumugoba awaka n’agenda atyo oba baayinzanga okumuzimbira akasiisira ekibanja gye kikoma mwe yasulanga yekka. Omulyango gw’akasiisira gwatunulanga bbali ku nsiko era n’emmere yafumbanga yiye yekka nga takkirizibwa kuyingira mu nju ya bazadde be wadde okusala mu luggya.

    Ate oyo eyagobwanga awaka yasobolanga okugenda wa jjajja we azaala kitaawe oba nnyina n’abeera eyo. Kyabanga kizira bakadde be okuddmu okumulaba ng’emikolo gy’okumala amawemuukirano teginnaggwa.


    Okumala Amawemuukirano

    Waabangawo omukolo ogukolebwa ogwamalangawo amawemuukirano gano. Omulenzi eyabanga asobezza omuwala ono, yasitukanga ng’awererwako baganda be oba jjajja we, ne bagenda mu maka gye bazaala omuwala.

    Baatwalanga embuzi enkazi n’ekita ky’omwenge ne beeyanjula mu bakadde b’omuwala. Omukolo gwabanga mutonotono, nga kubaako bakojja,

    bamaama, bassenga, bataata ne bajjajja. Embuzi ereeteddwa bagisalirawo era eriibwa ba mu nju bokka, nga temuli munnyo. Bafumbirako obutiko obubaala, nga bulimu omuzigo omuganda. Bafumbirako ettooke erya nakabululu. Omulenzi yayinzanga okuwasa omuwala oba obutamuwasa.

    Omuwala bwe yazaalanga ng’amawemuukirano tebannagamala, nnyina ne kitaawe, tebaakwatanga ku mwana, okutuusa nga giwedde. Baganda b’omuwala bakkirizibwanga okukwata ku mwana. Singa omuwala yafanga ng’emikolo teginnaggwa, teyaziikibwanga ku biggya, baamuziikanga bbali ku kibanja kya kitaawe.

    Olw’okuboolwa n’obuswavu obwavanga mu mawemuukirano, abaana aboobuwala beewalanga obwenzi, era ne bakuzibwa nga beesimbu ne bwe baafumbirwanga tebaabanga beemakuze nga bwe guli ennaku zino.

    #27644
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Nakku y’awa Kabaka effumu okutabaala

    Bya Mariam Kyabangi

    SSEKABAKA Kimera ye Kabaka wa Buganda owookusatu. Mutabani w’omulangira Kalemeera ne Wannyana Owenseenene. Oluvannyuma lwa Chwa Nabakka okubula,

    Obuganda bwamala emyaka 17 nga tebulina Kabaka nga Ssebwana y’akuuma Nnamulondo.

    Nnamulondo bwe yali tennaba kutandika kukuumibwa Ssebwana, omukyala ow’e Gganda mu Busiro, Nakku Oweffumbe yali mukyala muzira era nga mumalirivu. Kimera bwe yava e Bunyoro okujja okulya Obuganda, Nakku ye yamwaniriza era ye yasala n’amagezi agaagoba Ssebwana ku ntebe y’Obwakabaka gye yali alemeddeko.

    Nakku ne Najjuma baasala olukujjukujju nga buli gwe bafuna okuleetera Kimera obugenyi tadda. Bwe batyo mu kulaga obwetoowaze n’okweraliikirira, basaba Ssebwana agende alabe, sikulwa nga gye bagenda waaliyo obulabe, teyali mubi n’agenda.

    Mu kugenda, Nakku teyamulinda kudda nga batuuza omulangira Kimera ku ntebe y’Obwakabaka ng’atandika okulamula Obuganda nga n’eng’oma z’Obwakabaka zirawa. Ssebwana olwawulira eng’oma, ng’agwa mu lukwe era bwe yadduka teyadda.

    Awo we waava n’olugero, “Omugenyi omusulize yagoba Ssebwana ku ntebe.”

    Okuva ku kikolwa kya Nakku okugoba Ssebwana ku ntebe y’Obwakabaka yafuna ekitiibwa kinene mu Buganda ky’alina n’okutuusa kati. Obutaka bwa Nakku buli Ttanda mu Busiro.

    Ekitiibwa kya Nakku okumanya kinene, oluwanga lwe baaluzimbira ennyumba e Gganda.

    Nakku mu kwabya olumbe lwa Kabaka y’asooka okutema enkumbi mu mbuga, okwoleka Obuganda nti olumbe luwedde okwabya era abantu olwo ne badda ku mirimu gyabwe. Abamu bagamba nti ekitiibwa kino kyatandikira ku Kabaka Kintu. Kintu ng’atuuse mu Buganda, yasisinkana Walusimbi, gwe yakwasa omulimu gw’okukulira ebika wabula nti Kintu yali muwuulu. Walusimbi yasalawo okuwa Kintu omukazi.

    Yaweebwayo kyama bwatyo n’atandika okuba ow’omuzizo buli Kabaka gw’abeera naye. Tafumbirwa era asigala mbeerera.

    Ewa Nakku, Kabaka agendayo buli luboneka lwa mwezi ne mu nnaku ez’obwerende.

    Amalayo ennaku ssatu. Nakku y’akwasa Kabaka effumu ng’agenda okutabaala.

    Nakku wa kitiibwa mu Buganda era buli Kabaka ateekwa okuba ne Nakku.
    Published on: Saturday, 14th May, 2011

    #27673
    BasajjamivuleAnonymous

    [attachment=2510]Abayizzi-ku-tale.jpg[/attachment]

    Okuyigga mu Buganda

    Written by Administrator
    Tuesday, 21 June 2011 05:45
    •Abamu baakinyumirwanga ng’omuzannyo kyokka nga kyabuwangwa
    •Kati kyafuuka lugero anti ebibira byonna gavumenti n’abantu ba bulijjo babisaanyizzaawo.
    Nazzikuno nga bajjajjaffe beenyigira mu mulimu gw’okuyigga era ng’emu ku nsonga ebakozesa kino kwe kulwanyisa amaluma.

    Kyokka wadde ng’abamu baakikolanga kufuna nva, waliwo abaanyumirwanga obunyumirwa okugukola.

    Abandi baabeerangako empewo ezibasindika okuyigga, kwe kugamba nga bakongojja lubaale Ddungu.

    Ezimu ku nsolo abayizzi ze bettaniranga ennyo okuyigga mwalingamu; engabi, embizzi z’omu nsiko, ensama, empeewo, emisu, kuno kwe bassanga ensolo endala zonna ezaaboonooneranga ebirime wamu n’okubaliira ensolo ez’awaka nga; enkoko, embuzi n’endiga.

    Ebimu ku bintu abayizzi bye bataalekanga mabega nga bagenda okukola omulimu guno mwe mwalinga; amafumu, entuula, engoye, ebitimba, amalenge, eŋŋwanyu wamu n’emiguwa.

    Okuyigga kwatandikanga n’omuzizi eyakeeranga n’agenda agoberera ebigere by’ensolo okutuusa lwe bimusuula ku muwazi oba omulyango oguyingira mu kisaka ensolo we yawummulidde oba we yasuze.

    Okusinziira ku bumanyirivu bwe baalinanga, abayizzi baasobolanga okumanya nti bino ebigere bya nsolo nnene oba bya kasolo katono.

    Bwe yatuukanga wano ng’afuba okwetegereza okukakasa nti ddala ensolo bwe yayingidde ekisaka teyafulumye era nsinga baba bagizinduukirizza, eyinza kuddukira oba kufulumira ku ludda ki.

    Bino byonna nga biwedde, omuzizi addaayo mu bayizzi banne ne balagaana essaawa entuufu ey’okugenda okuyiggirako era bw’etuuka nga babagalira ebitimba,` emiguwa, amafumu, madongo nazo nga zigoberera, obulenzi obuto obwakubiriranga ensiko.

    Buli agendera mu kibinja okuyigga abeera alina omulimu ogwenjawulo gw’agenderedde okukola, nga muno mubeeramu aduumira embwa era nga yakwata n’ebide wamu n’abemiguwa era nga mu lugendo luno, omuzizi ye yakulemberanga okubatuusa ku kizigo.

    Olwabatuusangawo ng’abalaga oludda olutuufu olwokutegako ebitimba era baafubanga nnyo okulaba nga babitega bulungi obutalekaamu mpungu ensolo w’eyinza okuwaguliza n’ebaddukako.

    Nga bamaze okwetegeka obulungi, baatandikanga okwasira embwa era omugoberezi baamulagiranga nti “ta embwa” era nga bino byonna bigenda okumulagirwa ng’amaze okuzisibamu ebidde, n’aziwereekerezaako ebigambo nti “ayi lya, kwata omulye, kafe kabule, omusulo w’eyise gutonnya, abaana mukube nnyo” n’ebirala lutotto.

    Okuleekaana kw’abayizzi wamu n’ebidde by’embwa bwe biyitirira okuvuga, ensolo efuna okutaataaganyizibwa era ekiddirira kwagala kudduka kuva mu kisaka, ng’edda awali akasiriikiriro. Eno ye yabeeranga ekitimba ekyagikwatanga ng’egezaako okwemulula edduke.

    Ensolo bwe yafulumanga ekisaka n’etagwa butereevu mu kitimba, ng’omuyizzi agiri okumpi agikasukira ejjinja gamba okugibaguliza era bwe yayoolanga ekitimba, ng’akiri okumpi agifumita effumu ng’alayira nti, “Ku lwa Kabaka” ate owookubiri ng’alayira nti, “ku lw’ebikya” ate agifumita eryokusatu omussi alayira nti “ku lw’amayiŋŋanyi”.

    Abasigadde babeera “bagoba” era mu kugabana ennyama bafuna ntono ddala.

    Bino byonna nga biwedde, abayizzi baabaaganga ensolo ne bagigabana era eyasookanga okugifumita ng’agabana omukono n’okugulu singa y’abeera nannyini kitimba.

    Wabula bw’aba si ye nannyini kitimba, yatwalanga mukono nannyini kitimba n’atwala okugulu. Owookubiri okugifumita baamuwanga ensikya yonna ate owookusatu yatwalanga embiriizi z’oludda ate endala ne ziweebwa ow’embwa.

    Okugulu okulala kwabanga kwa muzizi, okulala kwa bagoba ate nga nannyini ttaka okwayiggiddwa ensolo afuna kigongo.

    Omulimu oba omuzannyo guno bajjajjaffe basobola okugwetabamu obulungi wamu n’okugunyumira kuba amaka g’ebisolo mwe byeyagaliranga, okuzaala wamu n’okukulira gamba ebibira baabikuumanga bulungi awatali kubisaanyaawo, olwo ne babifunamu emigaso kafukunya omuli; okuggyamu eddagala, enku, okukuuma obutonde bw’ensi nga n’okusaggulamu ensolo mw’okutwalidde

    #27684
    BasajjamivuleAnonymous
    #27704
    KulabakoKulabako
    Participant

    Kino kibeere ekyokulabirako awali buli kya buwangwa kyaffe kubanga abantu bagufudde omugano okujjanga mu Buganda okwonoona ate nekitakoma awo wokka abantu bennyini abamanyi ebifo bino naye nabo nebasalawo okubitunda bonna bavunanyizibwa kyenkanyi singa ne bajjajja baffe bwebatyo bwebakola Buaganada tetwandigisanzeewo

    Abaagula ettaka ly’amasiro g’e Masanafu ebyabwe bibi
    Written by Administrator
    Tuesday, 09 August 2011 07:13
    •· Bagenda kusendebwa –baagula mpewo – Ssonko
    Busuulwa Asuman Ssebuliba

    Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka ly’Obwakabaka bwa Buganda ekya Buganda Land Board kiroopedde ssenkulu wa Kampala, Jennifer Musisi ku bantu abeesenzezza ku ttaka ly’amasiro g’e Masanafu, ne kibasaba baleme okukakasa ebizimbe ebizimbiddwako.

    Ensonda enneekusifu zaategeezezza nti Buganda Land Board erudde ng’egezaako okulaba nga baziyiza okutunda amasiro gano kyokka ng’omulangira Ssimbwa Isaac agenda mu maaso n’ekikolwa kino.

    Kigambibwa nti abantu abaagula ebibanja ku ttaka lino omulangira Ssimbwa yababuzaabuza nga bw’ajja okubayambako okubafunira ebyapa bya liizi okuva e Mengo nga bamaze okumusasula, kyokka teyaddamu kubinyegako.

    Omukungu mu kitongole kino avunaanyizibwa ku kugaba ebyapa ebya liizi, Ssonko Lameck yagambye nti waliwo abagezaako okufuna ebyapa kyokka bwe baakizuula nti baagula mpewo kwe kutandika okutunda nga bayambibwako Ssimbwa Isaac.

    Abaaguze bagenda kusendebwawo

    Omukungu yategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda bugenda kusiba bbugwe okwetooloola ettaka ly’amasiro lyonna, wabula ng’ekikyabasibye ye pulaani okuva ku ggombolola y’e Lubaga, egenda okukakasa omulimu guno.

    “Tugenda kuzimba bbugwe okwetooloola amasiro gonna era nga twamaze dda okutegeeza ne ssenkulu wa Kampala, Jennifer Musisi nti abantu abali ku masiro baliwo mu bukyamu era nga y’agenda okutuyambako okubaggyawo. Kati ffe amagezi ge tuwa abaagula, bagende ew’oyo eyabaguza abaddize ssente zaabwe n’abo ababadde bateekateeka okugula babiveeko. Ettaka ly’amasiro lyonna weeriri, terikkirizibwa kusenzebwako yadde okusenzaako omuntu yenna era omuntu aba aguze mpewo era amayumba gonna agazimbiddwako ga kusendebwa,” Ssonko bwe yalabudde.

    Amasiro gano ga Ssekabaka Kiweewa era ng’agavunaanyizibwako ye Nnaalinnya Nalumansi kyokka mu kiseera kino omulangira Ssimbwa n’abantu abamu baageefunza nga beefudde abali mu kugakuuma.

    Ensonda enneekusifu zaategeezezza Eddoboozi nti Ssimbwa yateekayo abantu be b’akozesa okukola effujjo ku muntu agendayo okubalemesa okugatunda.

    Ekitongole kya Buganda Land Board kyamugguddeko omusango ku poliisi ya Old Kampala ku Ref. No 52/07/01/2011, nga bamuvunaana okutunda ebintu by’obuwangwa.

    #27710
    BasajjamivuleAnonymous

    .Okusaanyaawo ebibira kuba kusaanyaawo byabuwangwa

    Written by Administrator

    Tuesday, 30 August 2011 07:33
    Buli kintu Katonda kye yatonda wansi w’enjuba omuli; emigga, ensozi, ennyanja ebibira n’ebirala, omuganda yabisanga nga bya mugaso nnyo gy’ali naddala ku ludda lw’ebyobuwangwa era azze abiwa ekitiibwa ekisaanidde kubanga amanyi bulungi ekyama ekibirimu. Era Abaganda endaba yaabwe ey’ebintu mu ngeri ey’enjawulo mpozzi y’ebawula ku balala ne balabibwa ng’abasukkulumye ku bannaabwe.

    Ebintu ebyo ebyogeddwako waggulu biweebwa ekitiibwa olwokuba nti y’ensibuko era eggwanika ly’ebyobuwangwa n’olwekyo ayagala okusaanyaawo ebibira butereevu abeera atema mpagi za byabuwangwa byaffe.

    Nga tuzze ku bibira, ennaku zino Pulezidenti w’eggwanga akolerera kubisaanyaawo awatali kuwuliriza kuwabulwa kwonna okuva eri abantu abalala. Ebibira nno ng’oggyeeko okuba nti nsonga nkulu nnyo mu by’obuwangwa byaffe naye ne ku ludda lw’obutonde bw’ensi bikola kinene nnyo mu kukola enkuba eyamba ennyo ebirime byaffe okukula obulungi ne tusola okufuna emmere.

    Kuno nno kw’ossa okuyambako okukwata ettaka lireme okukulugguka kugenda mu makubo okutwala ebicaafu mu migga, ensalosalo wamu n’ennyanja zaffe.

    Ffe ng’Abaganda ebibira tubirinako akakwate k’amaanyi nnyo nnyini olwensonga nti bitukuumira ebintu nfaafa by’oyinza okulowoozaako kyokka nga byonna tubikozesa ng’obubonero okutambulizibwa ebyobuwangwa byaffe.

    Nga tutunuuliridde obukulu bw’ebibira nga Mabira ali ku njegoyego z’okusaanyizibwawo, mmwe mutemwa omuggo ogumanyiddwa nga Ddamula, Kabaka gw’akwasa Katikkiro ng’akabonero akalaga nti amukwasizza obuvunaanyizibwa obwokumulamulirako Obuganda.

    Ku ludda olwebika, ebibira g’emaka amakulu ag’emiziro n’obubbiro bwaffe okugeza ebisolo wamu n’omuddo Abaganda bye tweddira era ng’oggyeeko okuba nti ebisolo bino tubyeddira, naye singa ebibira bino bisaanyizibwawo kiba kitegeeza nti ebisolo bino bijja kusenguka oba okujja okulumba abantu ate ng’ebimu bya bulabe, ekiyinza okuvaako okusaanyaawo obulamu bw’abantu n’ebirime.

    Nazzikuno ng’Abazungu tebannaleeta nzijanjaba yaabwe ey’ekizungu, bajjajjaffe eddagala lye beeyambisanga okwejjanjaba endwadde ezitali zimu baaliggyanga mu bikoola, ebikuta wamu n’emirandira gy’emiti egitali gimu era weesanga nga ne lye tuyita ezzungu balitabula kuva mu miti gino egibeera mu bibira.

    Bw’otunuulira ebyobuvubi nabyo byetooloolera ku bibira kuba emiti egiva mu bibira mwe mubajjibwa amaato wamu n’enkasi ebyeyambisibwa mu kuvuba ate nga guno gumu ku mirimu gy’Abaganda egimanyiddwa obulungi mwe baggya enva. Nabwekityo ebibira tusaana tuleme kubitunuulira ng’emiti egiri awamu wabula tusaana tubitunuulire mu ngeri engazi esingako awo.

    Bw’otunuulira ensinza y’Abaganda ey’ennono, weesanga ng’ebintu okwetooloolera ensonga eno omuli; emisambwa, enjazi wamu n’emizimu byonna ensibuko yaabyo eri mu bibira bino.

    N’olwekyo okusaanyaawo ebibira obeera otaataaganya mirembe gya mizimu n’emisambwa ekiyinza okuleeta ebizibu by’otayinza kulowoozaako ggwe akikola olwobutamanya oba ggwe awabulwa kyokka n’ogaana okuwuliriza abalengerera ewala. Mu bitundu ebimu mu Buganda, kizze kiwanuuzibwa nti ebizibu ebibirimu omuli; ekyeya, enjala wamu n’obubenje biva ku nsonga nti ebibira ebibadde mu bisaanyiziddwawo.

    Abantu ba Ssaabasajja, ensonga y’okusaanyaawo mabira tegenderedde kuwa Bayindi mukisa kufuna we balimira wamala, wabula nze ndaba ng’egendereddwamu kusaanyaawo buwangwa bwaffe anti etterekero lyabyo bwe lisaanawo nabyo ebikuumirwamu tebiyinza kusigalawo.

    a.sekabira@eddoboozi.co.ug

    #27718
    BasajjamivuleAnonymous

    [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=0m-D5E2DKuA&NR=1[/video]

    #27719
    BasajjamivuleAnonymous

    Teri muntu Muganda ayinza kugenda kulowooza nti asobola okuzimba akatale mu Lubigi amannya bayinza okugetuuma amaganda naye basooke bebuuze ku batuuze bo mukitundu omwo abazimba ewala webifo nga enzizi ebibira emigga , waliwo abalowooza nti bwayingira mu gwanga lyabanne olwokuba abantu be balina emundu nolweekyo ajja kukola efujjo lyonna lyayagala

    Buganda abantu baayo bagitegeka era nebagikuuma nebaleka buli kimu Katonda weyakitondera nga bakirongoosa bulongoosa, nge nzizi, amakubo, emigga, ebibira oyinza otya okuva ebunayira notandika okussa mu migga gya banno ettaka kubanga oyagala kuzimbamu oba entobazzi? balowooza banyinizo singa baali bagala zizimbibweemu simwebandisanze amayumba gaabwe?

    Waliwo obuwutaavu obwekika ekyawaggulu buli omu aleka gyaava nge byaayo biri nga bwabyagala nagenda ewa banne nalyooka ayonoona ebintu byasanze kinakimu Mukama atusasire tuwone olumbe lwekirago, naye kati nga buli omu bwakikoze ndowooza naffe abaganda tweyiwe mumawanga amalala naffe tukole nga nabo byebakoze ewaffe
    Entobazzi zalekebwaawo kusengejja mazzi kyoova olaba nga bajjajjaffe tebesemberezanga nkwenge, kati okitegeera, oyinza okuddira ebifo ebikungunta amazzi mbu ozimbewo sewage ngeera bwebagenze bazimba obuyu, enzizi abantu kwebajja amazzi gyezifubutukira ,

    Mukama kyeyava ayawula mu mawanga kuba yali asobola ensi yonna okugisaamu abantu nga bafanagana naye waliwo beyatonda ndowooza ngakooye nnyo, kuba wewuunya ate bwogenda eka wewunyiza ddala , newebuuza oba omuntu akola ekintu ekyesittaza oba ekyobutemu aba nobwongo bwa muntu.

    Osobola okukola efujjo nomulugube to a certain point kati babadde bayiwa kazambi mu Nalubaale nga ate bwebakaliza ebyenyanja byonna ebirimu, nga sente bazezibika nebabasaako ekkomo kati gyebabitunda bakabatemye nti tebakyabyagala tosobola kugatta bujama namululu

    [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=r9PV9VTouTQ&NR=1[/video]

    #27720
    BasajjamivuleAnonymous

    Bano bennyini ngogenze gyebava tebayinza kukukkiriza kumala gassa sawege wonna wosanze ewaabwe oba okuzimbayo byoyagala ate oba bamala kutuuza kyaalo okukukkiliza okusenga

    [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=FLfMZsR-op4&NR=1[/video]

    Bino byebiritujjukiza Buganda byeyiseemu

    #27721
    BasajjamivuleAnonymous

    [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=7hOT8DqX1iQ&NR=1[/video]

    Ono yemwaami Omuganda ategeera ekigenda mu maaso

    Tukwebaza Mayor wa kawempe mw Munyagwa okulaba amazima Lubigi yaliwo okuva edda , bwebatyo bwebasooka okwonoona ebyobuwangwa ebyalimu Embuga ya Bemba Musota nga bajja mbu bazimbamu , ebyo byonna byebagenda bapatiika buli wamu byonna amataba gajja kubitwaala kuba tebagoberera mateeka ga nsi Buganda bannyini byo bo babimanyi era kyebaava bagiberamu nga tebafuna mataba

    #28037
    KulabakoKulabako
    Participant

    Namungoona; Omuvule ogwebyewuunyo ogwalagula okuzzibwawo kw’Obwakabaka

    Ekyama ekibadde kimanyiddwako abantu abatono ennyo kyayatuddwa Omusenero mu masiro g’e Kasubi, Mw. Katula Makumbi bwe yantegeezezza nti mu 1982 webaamanyira nti Obwakabaka bwa Buganda obwali buggyiddwawo Milton Obote mu 1966 bunaatera okuddawo.

    Makumbi agamba nti waliwo omuntu eyajja n’ababbirako nti ku muvule ogumanyiddwa nga Namungoona ogusangibwa ku mayiro nnya ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima, waali wasibuseewo omuti ogwa kirundu, nga kino kyali kitegeeza nti “Obwakabaka busibuse omulundi ogwokubiri.”

    [attachment=2591]1340654120.jpg[/attachment]

    Agamba nti ekyama kino baatya okukisaasaanya olwabalabe b’Obwakabaka abaali bayinza okujja ne bakuula omuti guno ogwali gukyali omuto ddala era bwebatyo ne baguleka ne gukula mu kyama, nga tewali agutaataaganyizza era nga mu kiseera kino gukulidde ddala.
    Ebintu bino ebyali bitwalibwa ng’ebyolusaago, mu 1986 Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bwe yawangula olutalo lw’omu nsiko n’ajja mu buyinza, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yakomawo ku butaka era oluvannyuma n’atikkirwa engule mu Kasambula wa 1993.
    Makumbi agamba nti ebyafaayo by’omuvule guno bitankanibwa, ng’abamu bagamba nti Namungoona yali mumbowa wa Ssekabaka Ttembo (1404 -1434) eyaziikibwa mu kifo kino n’oluvannyuma n’ameramu omuvule guno. So nga ate abamu bagamba nti gwamerawo mu kiseera kya Ssekabaka Kimera we yaviira e Bunyoro n’ajja okulya Obwakabaka.

    Kyokka ate Muky. Nassim Namawejje agamba nti kiwanuuzibwa nti jjajjaawe Katanyooleka ow’olugave, nga yali mugalagala wa Ssekabaka Muteesa I ate nga yali muyizzi kkungwa, ye yali avunaanyizibwa ku muvule guno. Nti wadde nga yali afudde, ebiseera ebyedda omuzimu gwe gwayitanga ng’ayamira embwa n’okufuuwa engombe z’abayizzi.

    Agamba nti ab’ekika kye ekyolugave batera okujja n’embugo ne bawongerera omuti guno.
    Makumbi agamba nti omuvule guno gwa kyewuunyo kuba mu myaka gy’ataano Abazungu bwe baali bakola oluguudo lw’e Hoima, baagezaako okugutema kyokka ne gulemerawo ne baguvaako bukumbu.
    Agamba nti ky’ova olaba nga n’okutuusa kati wadde ng’amatabi gaagwo galengejjera wakati mu luguudo, tewali yeetantala kugutemawo. Ne mu myaka gy’ensanvu ettabi ne bwe lyawanuka ku muti guno ne likuba omwana w’essomero n’afa nga kigambibwa nti yagwogereramu ebyobuwemu era tewali yeetantala kugutemawo.
    Ye Lamula Nabbanja agamba nti Bakabaka baateranga okujja ne bawummulirako mu muti guno bwe baali tebannatema luguudo olulaga e Hoima. Agamba nti ne Ssekabaka Muteesa I yasinziira wano okulagira omuzikiti ogwasooka mu kitundu kino okuzimbibwa. Kati ekifo kino kyatwalibwa Abatabuliki ne wazimbibwawo n’essomero eriyitibwa Namungoona Salaf Primary School.
    Wadde ng’omuvule guno gwa byafaayo nnyo naye bangi ku baguliraanye tebalina kye bagumanyiiko okuggyako okwewuunya lwaki amatabi gaagwo galengejjera wakati mu luguudo nga tewali agafaako.
    TIMOTHY NTANDA LUKABI

Viewing 12 posts - 31 through 42 (of 42 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.