Ebyobulambuzi mu Buganda

  • This topic has 3 voices and 3 replies.
Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • Author
    Posts
  • #18126
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

      Ebyobulambuzi mu Buganda

      Bya Joseph Mutebi
      Bukedde/newvision

      BUGANDA ejaguza Amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogw’ekkumi n’etaano, naye abantu ab’enjawulo bassa kimu nti Mmengo ky’esaanye okukolako ensangi zino kwe kwenyweza mu byenfuna.

      Emu ku ngeri mwe bayinza okuyita okufuna ensimbi ya kutumbula bulambuzi. Omwezi oguwedde minisita w’ebyobulambuzi e Mmengo, Muky. Florence Nakiwala Kiyingi, ow’ennono , ebyobuwanga n’Amasiro Haji Nsubuga Nsambu , abakulira amasiro n’ebifo ebirala eby’obwa kabaka bwa Buganda ne balambika ebintu eby’enjawulo Buganda mweyinza okuyita okusikkiriza abalambuzi ne bayiwa ensimbi mu ggwanika.

      “Akakiiko akafuzi aka minisitule kaakutalaaga Buganda yonna nga tunoonyereza ebifo eby’ebyafaayo tubirongoose olwo tubikozese ng’ebyobulambuzi,”Muky. Nakiwala bwe yagambye.

      Ebitunuulirwa mulimu ensozi, emigga, ennyanja, engoye, eng’oma, ebifaananyi n’ebirala.

      Nga July 1, akakiiko akanoonyereza ku bifo n’ebintu ebyobulambuzi akaze emyezi esatu mu Kyaddondo kaayanjulidde omuyima wa kaweefube ono, Nabagereka bye baazudde.

      hutskabaka.jpg
      Amasiro ga Ssekabaka Ssuuna e Wamala galongoosebwe gayingize ssente.

      Ebifo n’ebintu bino biwandiikibwa era gye bujja waliwo n’entegeka okuwandiikamu ekitabo ekinene ekirambika ebyafaayo byabyo.

      Okugeza, omuti oguyitibwa Wankoko ogwasimbibwa mu maaso ga Twekobe ng’ekijjukizo ky’endagaano ya 1955 eyaggya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu buwang’anguse; ekyoto ggombolola ekitazikira ekiri mu maaso ga Twekobe; empuku y’omu Lubiri eyasimibwa Amin n’attiramu abantu abangi; enkulungo eyitibwa Lukomannantawetwa ssekabaka MuteesaII, mwe yayisanga eggaali ye ey’omuti ng’agirinnyira mu maaso ga Twekobe n’akkirira okutuuka ku Lutikko e Namirembe.

      Waliwo enfudu z’e Mmengo ezisussa mu myaka 200, olubugo n’emitendera gye luyitamu okukomagibwa; ebifo abamu ku Bajulizi ba Uganda mwe baasimbula nga babatwala okubatta; oluguudo Kabakanjagala, Bulange n’ennyanja ya Kabaka e Katwe bimu ku bifo eby’obulambuzi.

      Okunoonya ebifo by’obulambuzi mu Mawogola, Kkooki, Buddu ne Kabula bye biddako. Buli we bakolera omukolo gw’okutongoza ebifo bino Mmengo yaakuzimbawo ennyumba ey’ekijjukizo.

      Oluvannyuma akakiiko kaakutuuka e Buvuma, Kyaggwe, Ssese ne Busiro. Mu bukiikakkono bwa Buganda, akakiiko kaakutuuka e Buluuli, Bugerere, Ssingo ne Bulemeezi, era Buweekula , Butambala ne Gomba bye binaasembayo.

      Eng’endo zino zonna zisasulirwa kkampuni esogola bbiya w’ekika kya Bell.
      “ Ezimu ku ngeri mwe tugenda okuyita okufuna ssente mu bulambuzi mulimu okukunga amasomero gatandike okukubiriza abaana okulambula ebifo bino nga basasulayo ssente entonotono.

      Ate okutandika enkya nga August 1 teri mmotoka egenda kukkirizibwa kuyingira mu bifo by’ebyobuwangwa nga tesasudde sitiika ya minisitule y’ebyobulambuzi eri ku 30,000/- omwezi,” Nakiwala bwe yagambye.

      Omumyuka owokusatu owa katikkiro, Hajji Nsubuga Nsambu agamba nti buli kika kyakusomesebwa amakulu agali mu by’obuwangwa byakyo.

      “Ebika nabyo byandituyambye okuzuula ebifo eby’obulambuzi ebyekuusa ku byo ne kiyamba Mmengo okubikulaakulanya.

      Katikkiro w’Amasiro g’e Kasubi, Ssaalongo George Mulumba agamba nti, “Singa ku ttaka lya yiika 64 amasiro kwe gatudde tufunako yiika 12 ne tusobola okuzikulaakulanya nga tuzimbako ebifo ebyobuwangwa tuyinza okufunamu.

      Okugeza tuyinza okuzimbako amaka g’omusajja omuganda bwe galina okufaanana, essasa ly’omuweesi; omuyizzi bw’abeera; amaka g’omusajja omukomazi tusimbemu n’emituba nga Butana, Njule n’emirala.

      Omuntu yansisanyuse okulaba ku bintu ebikola amaka g’omusogozi. Muno nga tusomesezaamu ebika by’omwenge, ebika by’ebitooke ebivaamu omwenge. Bino byonna biyinza okuyamba Amasiro okuvaamu ssente nnyingi,” Ssaalongo Mulumba bwe yagambye.

      Obulambuzi Mmengo eyinza okubufunamu ennyo, naye ekibi abantu bagamba nti esuddeyo gwannaggamba ku bintu bingi.

      Okugeza embuga z’amasaza nnyingi ziri mu mbeera mbi nga muno mwe muli n’eya Kaggo e Lubaga, eya Ssekiboobo e Kyaggwe n’endala nnyingi.

      E Ntebe, Olubiri lwa Ssekabaka Buganda e Lunnyo luli mu mbeera mbi ddala, sso nga nalwo luyinza okufuulibwa eky’obulambuzi. Ssekabaka Buganda n’erinnya Buganda kwe lyava. Ettaka kwe liri libbiddwa naye ng’abe Mmengo tebafuddeeyo.

      Mu Busiro, Amasiro ga ssekabaka Ssuuna e Wamala gabulako katono okugwamu, sso nga mwe muli oluwanga lwe. Abagalabirira bagamba nti kyetaagisa obukadde bw’ensimbi 900 okugassa ku mulembe olwo abalambuzi batandike okugakyalira.

      Tewali kigaana Mmengo kutegeka mpaka z’amaato ku nnyanja ya Kabaka e Katwe, okuzimbako wooteeri n’eggyamu ssente eziyinza okutambuza ensonga za Buganda.

      #19516
      MulongoMulongo
      Participant

        Nja kudda okwongera okuteesa ku nsonga eno. Naye esaawa eno nnebuuza, nga obukadde 900 tetunnabufuna, tetuyinza kufuna ssubi na mmuli nga obwedda, netujira nga tutereeza tereeza okusinga ekiggwa kyaffe bwekitunula bwekiti?

        #19524
        KulabakoKulabako
        Participant

          Mulongo kyobuuza kyennyini nange nakyonayogerako nzijukira oba nakati ekintu kyekimu ekikolebwa mu masomero nebatuma abaana buli omu ekintu katugambe kati mpulira babatuma busawo bwa seminti naye nzijukira batutumanga ebintu katugambe nga tugenda okukola ebyemikono buli mwaana nebamutuma oba obukeedo oba nebatwaala abaana okunona ebitoogo awantu .

          Naye kati bwokunga Obuganda no saba ebintu okusinziira mu kitundu ekyo okugeza group yebyaalo ebimu neleeta essubi, endala nereeta emmuli, kati ebika nebyeyawulamu buli kimu nekikola omulimu okusinziira ku bulombo lombo bwaffe nti ekika gundi kye kisereka singa ebintu bino tusobola okubizaawo.

          Kati abakoze entegeka eno nebatekawo nengeri yekijjulo nga bamala okukola emirimu balisibwa bulungi ojja kulaba abantu bwebaddamu amaanyi okukola ebintu bino nge dda.

          Ate ngojeeko ssente eziba zikuganyiziddwa okugenda okusomba ebintu ebyo gyebiba bikunganyiziddwa , wamu nokusaawo eri abasobola buli omu okuletayo kyaleese oba nkota ya tooke oba nnyama oba nkoko oba mazzi gakunywa byonna nebabigatta wamu.

          Bino ebintu nga bwebikolebwa ne mu buwangwa bwaffe ngo kwaabya enyimbe , mukozesa ebyobutonde byammwe Katonda byeyabawa
          Ekikulu ekiriwo ago amakampuni bwegaba nga ga Baganda mumanya nti oyo akola ekyo ku lwa bulungi bwansi ye , naye bwe mubiyingizaamu abatabagaliza mumanya nti waliwo , walinda okusasulibwaamu kyeyabakolera.

          Ate nga kampuni ezo zowulira ezitawa Baganda mirimu nti zagala muziguleko ebyamaguzi nga zigagawaza bewaabwe naye nga zo tozikolamu nga toli wewaabwe. nolweekyo waliwo wano okwekenneenya.

          #19581
          MulongoMulongo
          Participant

            Anaalongoosa Amasiro

            Bya Ahmed Kateregga

            OMUMBEJJA Diana Kigga, mwannyina Kabaka Mutebi ll era muwala wa Ssekabaka Edward Muteesa ll alangiridde nga bw’alina enteekateeka y’okufuula Amasiro g’e Kibulala mu Singo ekifo eky’obulambuzi.

            Mu bubaka bwe eri Abalangira n’Abambejja abaakung’anidde mu masiro gano wiiki ewedde, obwamusomeddwa Omulangira Haruna Mawanda, Omumbejja Kigga, yagambye nti, ga byafaayo nnyo agasaanidde okubeerako ekigango eky’omulembe n’okukuuma ebifo byakyo ebirala eby’ennono bisikirize abalambuzi. Omumbejja Kigga ye Nnaalinnya wa Ssekabaka Winyi, nnyini masiro omwakulira Omulangira Kimera asibukamu olulyo olulamula Obuganda.

            Bukedde
            Published on: Monday, 8th September, 2008

            Kino ffenna kyetutweeka okukolerera, okwekulakulanya ffe ffekka, ffe ffenyini. Kati tukyaali mu migozobano gya bantu kugaanira ku ttaka lyaffe nakwagala kulibba mbu lwakuba balinanko akazimbe kamu bubiri bu gonna mayumba, nga ate muleeta ba nnamawanga balala? Tweyanzizza nnyo ssebo omumbejja, okusingira ddala olwokulaga ekyokulabirako ekye kkubo ettuufu eritekwa okukwatibwa.

            Awo nebwemuvaamu sente ezamagoba mu bulambuzi, nga zisooka okuddako eri Omuganda oba Abaganda abetabye mu kulongoosa. Obwo bwebayita obwetwaaze, nokwetongola, ebyannamaddala ebitali bikolwa bukolwa.

          Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
          • You must be logged in to reply to this topic.

          Comments are closed.