Ebyobuwangwa Ebirala Bibino

  • This topic has 5 voices and 7 replies.
Viewing 8 posts - 1 through 8 (of 8 total)
  • Author
    Posts
  • #19082
    MulongoMulongo
    Participant

    Bbanka y’abavubi

    Jjagwe nnamusanze aleese akasiimo ka nte ennume n’endiga bbiri bye yeeyama.
    1221048167flag.jpg
    Bya Joseph Mutebi

    NKIMANYI nti okkiririza mu katonda, naye obadde okimanyi nti naye alina w’akoma, Sitaani n’atandikira awo w’akomye?

    Obadde okimanyi nti oyo gw’otudde naye mu takisi oba oli ava mu kirabo ky’emmere nti ava mu mbuga ya sitaani?

    Oyinza okukikkiriza nti mulirwana wo oyo gw’oyita omulokole ennyo obugagga bwe yabuggya wa musambwa Kookola?

    Nze nno bwe nnagukyalidde ku Lwokubiri nnasanzeeyo abangi abawerako. Singa ssaabakakasizza nti siri waakukuba bifaananyi byabwe osanga n’ebitono bye nnaggyeeyo ssandibifunye.

    Abamu nnabasanze bagenze kusaba bugagga, nzaalo, bufumbo kutereera oba okutta ebyennyanja ebingi mu kaco kano ebibadde bikendeddemu.

    Omu ku bo Hajji Jjagwe eyagaanyi okumbuulira gy’abeera nnamusanze atutteyo sseddume w’ente wamu n’endiga bbiri ze yeeyama emyaka ebiri egiyise okutwalayo ng’akasiimo singa bye yasaba bituukirira.

    Omusomi wange, omanyi kye kitegeeza ‘jjama’ ali mu kisiibo okutwala akasiimo ka sseddume mu mbuga ya sitaano?

    Okutuuka ew’omusamba Kookola olinnya z’e Kiyindi. Mu ppaaka enkadde mweziri nnyo ku 5,000/- Bw’otuuka e Kiyindi ku mwalo awo opangisa bodaboda ku mutwalo ng’oli Kookola.

    Oyita mu nsozi, ekkubo kiringa kisinde kya nte, naye anti ky’oyagala kikuseeza! Wabula weegendereza n’otovaayo ng’okookolima nga sseggwanga. Tolina kubbayo, kuganzikayo bakazi, tenywerwa njaga ate tosalirayo musaayi sikulwa nga bw’oba okomawo emisambwa gisalawo naawe okukusala oyiwe omusaayi!

    Nga waakayingira ew’omusambwa Kookola, osookera ku mbuga ey’amasabo 54. Omukongozzi wa Kookola, Nsubuga Bbanja agamba nti eno y’embuga esibukamu ebika by’Abaganda 54 ebyasooka. Wabula ekibi ebika byeyongerako, kati biri 65 naye 11 ebyaytongerwako bya luno jjuuzi.

    Mu masabo ago 54 bwe kubaako ery’ekika kyo bw’osamira lubaale n’akukwata n’otogendako mu mbuga eyo lubaale wo awunga, atawaanatawaana era kabekasinge olumu ajja kukuddukano!

    Ku mulyango teweerabira okulekawo ekigali, nti kye kikukkiriza okuyingira. Jjajja Kookola ye tagoba ssente, ne bw’oba n’ekinusu ekya 50/- oyingira. Naye naawe oswala wekka, kuba ogenda okulaba nga munno akuli mu maaso ataddemu aka 1000/- n’obuuza muli nti ‘oba nze Kookola anankongooza ebigere bye nnaasaba n’ampaako busammambiro!’, ng’ozitungula ku lwayi!

    Olwo ne bakwetoolooza embuga zonna nga tonnagenda mu kiggwa ekikulu ekya Kookola. Bw’oba oyagala olugendo lwo luleme kuba lwa mwabukirabusa, mu mbuga zonna 54 ossaawo ebigali. Ky’okola kwe kuvungisa ssente zo, n’oba na bitaano bitaano olwo ojja kumalako.

    Nze bwe bantutte mu mbuga ya Kookola baasoose kuntwala mu mbuga ya Nabuzaana abakyala abadibira ku mpya, abatawangaaza bufumbo n’abalina ebisiraani mu maka gye babambululira.

    Ggwe omusajja bw’otuukayo okuma bukumi kyoto. Nsubuga yannyinyonnyodde nti omukka ogwo bwe gukugendamu gukola ng’amazzi agakwambululako ebisiraani.

    Olwo ne muyingira Kookola. Eno mpuku ggaggadde eriko mayiro nnya eri mu jjinja eddene ennyo eriri ku nnyanja kwennyini! Ejjinja lino liwezaako ffuuti 15 mu buwanvu ate obugazi liriko emiryango 46.

    Ejjinja lino lya kalina emu, waggulu eriyo emiryango etaano (5). Nsubuga agamba nti ku kalina esooka esulayo Bammamba bokka kubanga be bakongojja Kookola.

    “Emisana nnyinza okutwalayo abaagala okusaba ebyabwe. Eno y’eri n’embuga ya Muwanga, awanga emikisa gyonna,”Nsubuga bw’agamba.

    Munda mu mpuku eno obanga ayingidde mu kisenge. Wabula mulimu obulikonda bungi obukutte enzikiza be ppo.

    Munda mu mpuku mulimu ekisenge ekinene ddala, mw’oyinza okutuuza abantu abasukka mu 1000. Muno Kookola mw’atuula n’alamula abazzukulu. Kino ky’ekimu ku bifo disitulikiti empya ey’e Buikwe ky’etunuulidde okufuuka ekifo ky’obulambuzi.

    Buli lunaku ku Kookola kugendako abantu abasukka mu 30!

    “Nze ndi mweralikirivu olw’okufuula Buikwe disitulikiti kubanga ennaku zino abakungu bangi bajja wano. Mmanyi bajja kuzimbawo ebintu Kookola by’atakkiriziganya nabyo olwo nze gw’ajja okubonereza,” Nsubuga bw’agamba.

    Omuvubi Richard Kato amaze ku Kookola emyaka nga 10 era ng’asula mu mpuku eno agamba nti bwe buziba, kw’otegeerera nti buzibye ejjinja litandika okuleeta ekitangaala ne gabanga amasannyalaze!

    “Kw’otegeerera nti bukedde, ekitangaala kiggwaawo kyokka, empuku n’ekwata be ppo,” Kato bw’agamba.

    Wabweru w’ejjinja lino liringa eririko enkonge, naye tekwatira. Mu kutunula amangu oyinza okulowooza nti edda baalisimangamu amayinja ag’omuwendo nga zaabu, naye Nsubuga agamba nti si bwekiri.

    Nsubuga agamba nti Kookola musambwa ogukulira emisambwa gyonna mu Buganda. Ekigwawula ku Kookola kwe kuba nti bw’ogenda okusabayo emikisa gukugamba nti ‘genda okole nnyo kubanga omwana w’Omuddugavu k’akola k’alya!’

    Omusambwa guno gulabikira mu ttimba, engo n’omusajja omukadde ennyo. “Bw’omulabako omanya bumanya nti ogaggawadde. Mu biseera bya kampeyini nga zino ezaaliwo mu 2006, bannabyabufuzi ab’emitendera gyonna beekulubeesezanga eno ku Kookola balabe oba bayinza okusisinkana nnamukadde ono, olwo bamanye nti ebyabwe biteredde,” Nsubuga bw’agamba.

    Empuku eno Kookola bagiyita bbanka y’abavubi kubanga bw’oterekamu ssente, omuntu yenna atali nnannyini zo bw’ayingiramu taziraba!

    Steven Mmande, omuvubi w’omu ggombolola y’e Najja agamba nti mu myaka 34 ate nga yatandika okuvuba nga wa myaka 15 taterekangako mu bbanja.

    “Mu Kookola tebabbamu, bw’obbamu ejjinja likuggalirea. Mu 2006 waliwo abasajja abajja okubba eryato lya munnaabwe eyali aligolomodde ku Kookola, naye baagwa mu nnyanja, mita nga 200 nga baakasimbula,” Mmande bw’anyumya.

    Milly Guttabingi (omukwano) ow’e Jjimbo mu Mukono agamba nti ye buli lw’abulwa emirembe mu maka ekiwejjowejjo asibira ku Kookola.

    “Ng’enda okudda eka nga buli kimu kiteredde,” Guttabingi bw’agamba.

    Nsubuga agamba nti yasikira kitaawe Yokaana Nsubuga mu 1992 n’ajja ku Kookola ng’ava e Mpigi. Yasomako ‘bikoozi’ mutonotono, empewo z’ekika ne zimuyita.

    Bagamba nti okuliraana ennyanja si kuliira. Natunuddetunudde ebyalo ebyetoolodde Kookola nga byonna biri mu mbeera mbi. Obuyumba bwa ttaka, bukutte mu mbinabina. Abaana bambala buziina n’obutooke ebiwuka byabulya. Muli ne mbuuza nti mpozzi nnabbi taba na kitiibwa waabwe?
    Bukedde
    Published on: Wednesday, 10th September, 2008

    #19656
    MulongoMulongo
    Participant

    Emboozi eno nze ensesezza nnyo engeri munnamawulire ono gyaginyumyamu. Bintu bikulu nnyo bino. Mukama yamanyi obutonde bwe gyebuva negyebukoma.

    ‘Sseruggulamiryango: Omuti gw’e Zzinga ‘ogwogera’ gwantabudde!’
    1221315679flag.jpg
    Omuti Omukoba Seruggulamiryango oguvaamu eddoboozi nga ery’omuntu.

    Bya Titus Serunjogi

    KYE natuuseeko nga ng’enze okunoonyereza ku bavubi abayitibwa Bwato bwaleeta tekirojjeka. Basangibwa Zzinga okuliraana Buvuma ne Bugaya.

    Ku kizinga kuno kwe nasanze omuti Omukoba ogwakula ne guwola ogwogera nga muntu! Bino byonna byabaddewo misana ttuku mu ttuntu nga nange eriiso nkanudde.

    Omukoba guno gwetooloddwa ba Askari abatalabika wabula owulira maloboozi gokka agoogera Oluganda n’Oluswayiri. Abavubi bankakasizza nti amaloboozi gano gaboggolera buli muntu eyeesaalimbiza ku muti guno nti atyabako enku oba okufulumako ppupu era bw’aba akyesisiggiriza zimupaca empi. Abandi bantegeezezza nti omuti guno gugenda mu nsonga z’abakyala era nti mu biseera ebyo guba guvaamu omusaayi. Bwe nawulidde bino ne nsaba omwami Difas Mawerere, Gabunga w’omwalo guno amperekere ngende nange nneerolere ku kikulejje kino. Yagaanyi. Gabunga ono atya omuti guno nga bw’atya empologoma. Wabula yantegeezezza nti waliwo omulenzi omu yekka, Abudu Malinzi omuti guno gwe guwuliramu. Yagasseeko nti omulenzi ono yabadde agenda kugoba ku mwalo akawungeezi nnange kwe kusalawo okumulinda antwale ku muti. Eryato eryalese Malinzi lyagobye ku mwalo nga mulimu abasajja n’abakazi 20.

    Enkeera ku ssaawa nga nnya twayolekedde ekibira omusangibwa Omukoba guno Sseruggulamiryango. Waliwo we twatuuse buli omu n’aggyamu engatto, nange bwentyo, ne tweyongerayo. Twabadde tugenda ne tuwulira, omuntu ng’atuboggolera “Mmwe kiki ekibaleese wano!” mu ddoboozi essaakaavu ate nga lya mwanguka. Natunudde ndabe aboggola nga simulaba, wabula ng’eddoboozi liva mu maaso gaffe wennyini ng’oyinza okulowooza nti omuntu ayimiridde awo mu kkubo. Nawuliddeyo amaloboozi amalala agoogera mu Luswayiri n’ensattiro ate ng’empeewo enyeeya amatabi g’emiti gyonna egitwetoolodde. Malinzi bwe yategeezezza nti aleese bazzukulu kulaba ku Musajjamukulu Seruggulamiryango, eddoboozi ne lyeyongerayo gy’oli nti omuntu yeesega ne litandika kwogerera ku mabbali nga litutegeeza nti tweyongereyo.

    Omuti guno we guli wagazi walinga oluggya oluyonjo, tewali miti mirala era saalabyewo bikoola biggude kuva ku muti waggulu. Wabula kye nasoose okweetegereza ly’eddoboozi essaakaavu nga litwaaniriza. “Bwera, eradde..” Lyabadde liva mu maaso gaffe wennyini we twabadde tufukamidde naye nga omwogezi yennyini tetumulaba. Eddoboozi lino lyatandise okuyita buli muntu eyabaddewo erinnya nga limubuuza ku mubeezi we, abaana, wamu n’emirimu gye era nga bwe lisuubiza okubawa emikisa, wabula nze eddoboozi lyamaze akaseera nga terinnyega. Abamu baabadde baleese enkoko okwebaza, eddobozzi lyabagambye bazisembeze bazisse mu mpompogoma z’ omuti.

    “Owaaye ggwe munnamawulire Kasindula, nange oludde ddaaki n’ojja ombege onkoleko olugambo?” Bagamba ekyekango tekimanya muzira nange omutima nawulidde gunkubira mu bulago, ng’ekyasinze okunneewuunyisa kwe kuba nti gwabadde gumpise erinnya lyange lye sitera kukozesa. Eddoboozi lyagenze mu maaso ne limbuuza oba ndi mumalirivu okulibega era ne lindabula nti bwe mba mutiitiizi nanditeze ne nzirayo ku mwalo. Nange saaseguse ne nditegeeza nti sizze mu bukyamu wabula kulaba ku kyewuunyo ky’omuti ogwogera era nzireyo ntegeezeeko abalala.

    Eddoboozi kwe kung’amba nti tekyetaagisa kutegeeza bantu kubanga nkumu, naddala bannabyabufuzi n’abasuubuzi bagumanyi era batera okugukyalira. Eddakiika eyo nawulidde amaloboozi amalala (ba askari) nga gandagira nveewo mu bwangu. Nange kwe kuddayo ne ntuula gye twabadde tulese engatto. Abalala baagenze banneegattako omu kw’omu nti Musajjamukulu amaze okubalamula.

    Nabadde ndi awo ng’eddoboozi eddala limpita nti ggwe munnamawulire, yitawo ogende ewa Musajjamukulu.” Kyambuuseeko okuddayo ku muti ne nsanga nga waliwo ttimba eyakula ng’akutte Malinzi ebigere ng’amuzingiridde enkata. Amangu ago naggyeeyo kamera nkube ekifaananyi. Wabula n’egaana okukuba yadde okumyansaamu. Nakyuse nteekeko kakokola tondeka nnyuma, nti sifa nga mmale. Wabula eddoboozi ne ling’amba nti “Mwana wange totya, wazze kubega. Begako by’osobola ogende n’ebyo. Kino kifo kya misambwa gya Nnalubaale egisibuka mu bwa Mukasa, totwesimbako. Fukamila awo ombuuze by’o yagala okumanya.” Nabadde nkyasamaaliridde kwe kuwulira eddoboozi ekkangufu emabega wange nga lyogera mu Luswayiri “Wewe! ujasikia ambawo mukubwa amesema? Piga magoti upesi!” (“Ggwe, towulidde musajja mukulu ky’a kugambye? Fukamira wansi mangu!”)

    Nafukamidde wabula Musajjamukulu kwe kuddamu n’ang’amba nti sitya mmubuuze. Yantegeezezza nti bamuyita Sseruggulamiryango omusambwa mu bwa lubaale Mukasanti mulongo gw’omusambwa ogw’oku kazinga Zigunga; Wabula nti wadde Zigunga ye amala bibamba, ye Seruggulamiryango agaba nzaalo na mikisa. Yangambye nti asimba ku muti ogwo kubanga gwamera mu kifo kyennyini awasibuka ensulo ezaavaamu ennyanja eno. Era nti mu kifo ekyo empewo zonna ez’oku nnyanja Nnalubaale we zeetaayiza. Namubuuzizza oba ye talina mukongozzi n’antegeeza nti ye wa maanyi nnyo tasobola kutuula ku mutwe gwa mulyammere n’atafa.

    Nazzeemu ne mbuuza ku basubuuzi ne bannabyabufuzi be yabadde agambye nti bamanyi omuti guno n’antegeeza nti dddala kituufu bagumanyi kubanga awo we baggya amaanyi agabawa enkizo ku bannaabwe mu byobufuzi n’obusuubuzi.

    Eddoboozi lyannyonnyodde nti abasinga emikolo gyabwe bagimalira awo wabula nti abamu abalina ensonga ez’amaanyi abalagirira bagende mu mpuku ya Nnaalongo, n’ababuulira n’emitendera gye bayitamu n’emikolo gye bakolerayo awo emisambwa giryoke gibatwale ku ntobo y’ennyanja bafuneyo amaanyi. Ddala abantu bakka mu nnyanja, ne batabbira kufa? Lyanzizeemu nga bwe linsoomoza nti okukka mu nnyanja kuzannya n’akwagala ne lyongeraako nti nandirinzeeko omwezi ne guboneka ne nsaalimbira mu mpuku y’omusambwa Nnaalongo, ndabe ekinaabaawo. Nalibuuzizza abaali bakikozeeko ndyoke nfune obuvumu ne ligamba nti lyo si lya lugambo nga bannamawulire, era nti lyakozesa abantu abakka mu nnyanja ekirayiro ky’emmizi noolwekyo tasobola kumala gabalaalaasa. “Olwo omuti gweggula ne bayingira munda okukkakana nga bali mu nnyanja oba…?” Olwabuuzizza kino kwe kuwulira omuntu asiiyiza ku maviivi gange. Okutunula wansi nga ndabawo embirango. Nadduse nzire mu kakubo,okusiba nga ndi gye twalese engatto awaabadde abalala. Mu dda eddoboozi lyazzeemu ne lituyita ffenna era ne linzikiriza okukuba ebifaananyi ku muti. Twasanze Malinzi tttimba amutadde era nga ng’agenze wabula nga ye (Malinzi) afukamidde ku bbali w’omuti. Nagenze okukuba nga kamera yange emyansa bulungi, era kwe kukuba ebifaananyi bino n’ebirala ne mbikubira ebweru w’empuku ya Nnaalongo abakka mu nnyanja gye bagenda ne bakolera emikolo nga bavudde ewa Seruggulamiryango. Okutambula kulaba!

    Bukedde
    Published on: Saturday, 13th September, 2008

    #19673
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Munnaffe agira akulikayo ago gemaanyi agalema abazungu okutegeera kuba oli okukubuuza elinnya lyo nekyokola awo ngoova ku nsonga naye nebuuza lwaaki bonna abagendayo tebabuuza lwaaki tebayamba bazzukulu baabwe abaana ba Nkalaama kuva mu buddu mwebabasibidde.

    #19786
    TitusTitus
    Participant

    Mbeebaza nnyo nnyini olwokunnyumirwa ekiwandiiko kyange ekyo ne mukiteeka ne ku mukutu guno ogwensonga ogwa ababaka.com. Byennalaba ku Seruggula Milyango nkyabyewuunya ppaka obudde buno. Wabula yadde kino tukitwaala nga kyabuwangwa, Musajja Mukulu ono yangamba ntinno ye alina ne ssimu amwagala kwasobola okumufunira. Era awo wennyini ku muti yantegeza nti agenda kukuba ku ssimu yange emirundi ebiri ndyooke ntegeere ennamba ye. Twali tetutambudde na masimu nga twoolekera ekibira wabula natuuka mu loogi ne nsaangako “missed calls” bbiri ku ssimu yange nga ziva ku 0754026626. Mbu, ye Seruggula Milyango bwagamba, nti essimu eno yaabo abaagala okumulagaanisa nti bajja kuba bajja okumukyaalirako era okwo basobola okumubuulira ne kyebaaagala abalongoosezemu oba abalagulemu ne basanga nga amaze okubategekera buli kimu. Wabula nze sigikubangako, kubanga yankuutira ne sekukuutira yenna nti essimu ye eyo bagikubako ku ssawa mukaaga mu kiro lwokka ate nga lwa nsonga; ayagala okumubuuzaako obubuuza oba okunnyuma emboozi tatawaana kubanga ajja kufunirako emitawaana gyaataasobole. Ensi eno! Gamba ne misambwa giba ne ssimu ezoolukomo! Wano wabaddewo abantu bangi abajja nga bantuukirira nti baagala okumanya engeri gye bayinza okutuuka ku muti guno ogwekyewwuunyo bweguti. Mbadde mbawa essimu zombi, ey’ooyo musajja mukulu ney’oyo omulenzi asobola okubatusaayo :woohoo: Malinzi 0782789232. Njagala nnyo mpulireko omuntu eyali ayogeddeko n’oyo musajja mukulu ku ssimu.

    #19788
    MulongoMulongo
    Participant

    Titus munnaffe tukusanyukidde. Emboozi eyo waginyumya bulungi nnyo, era kulikayo nnyo. Wabula zino essimu ha, erudda eno mpuliddeyo abagaala okuzegezamu. Naye nange nyongedde okubalabula obutatakuba bya kajanja. Ate nensonga endala, kaakati eno tulina esaawa ndala olwo ababeera balina ensonga bakuba ssaawa ki? Omukaaga ogweeno oba ogweeyo? Ahaaa, kikaaaaaaa.

    #19791
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Mwami Titus tulaba kwaani, naye omuntu bwomugaana ekintu omwongera curiosity, kati engalo zitutolokako zitandise okutufuyirira , naye nze ebyobuwangwa, sibizannyiramu , naye nyinza okuletayo ku kiki kyendowooza ekiyinza okuberawo ngo gaanye okuwuliriza embulirire.
    Katugambe essimu okubuuka mu ngalo neyetimba kukisenge nekwaata mumbinabina nekubuuze nti ka nkikinale mbuuze, onkubidde oyagala ki? , notandika okugyegayirira nti tokikinala buuza – bubuuza, nolyooka odduka mukisenge weeri speed ekikumi. Sagala kwongera kukirowoozaako nze awo awali essimu ssijja kusomawo, nange abalala bwebakubangayo munnyumizanga .
    Kati olwo toddeyo for update.

    #23428
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Ekiggwa kya Mirimu kiyidde ne kisaanawo
    Written by Joseph Mutebi
    Bukedde Friday, 15 May 2009
    EKIGGWA kya ‘Kabaka Mirimu’ ekisangibwa e Ndejje – Namasuba ekikaayanirwa abakyala ababiri kyokeddwa. Mu November wa 2008 waabalukawo obutakkaanya wakati wa Prossy Nabagesera abadde mu kifo kino emyaka 23 ne Nandawula eyereetamu ng’agamba nti omusambwa Mirimu gwali gumuwasizza.

    Bombi baawaaba mu kkooti y’akulira abasawo b’ekinnansi, Maama Fiina n’asalawo nti Na-bagesera ye yali omukyala w’Omusambwa guno omutuufu.

    Kyokka wiiki ewedde omu ku bavubuka abeera mu kifo kino, Sam Kiguli yagambye nti yabadde ne munne mu ssabo ne balaba ekimyanso, baagenze okufuluma ng’omuliro gutuntumuka ne bayita poliisi eyaleese abaaguzikirizza naye ng’essabo n’ebintu bisirisse.

    #23462
    KulabakoKulabako
    Participant

    Kyewunyisa okuba nti ebintu mu Buganda byonna biri muntegeka zimu era biddiringana kati nga obutale namasomero bisirisidwa okwokebwa bya buwangwa bye bibaluseewo kisoboka okuba nti ku gavumenti eno eya museveni ebintu bya Buganda byonna byebyononebwa nga tetuwulirayo byamu West bwebyokebwa kisoboka okuba nti ebyobuwangwa of all a sudden bifunyiseewo ababikayanira bwebatazikula bantu baliwo ekigwa baki suula ate si gumu si ebiri oba bakyookya .

    GUNO OMUTIMA GWAKKO ERA BWEMUBA MULOWOOZA NTI MUNAFUNAYO EMBAKI EZEYITA ENGANDA OKUGENDA OKWONONAANGA EBINTU BYAFFE EBYOBUWANGWA MUKIMANYE NTI MUSIBA NAZO, KUBA TEZIGGYA KUSIGALA MU BUGANDA ,
    BULI MUNTU AKWATIBWA NGA YONOONA EBYOBUWANGWA BWAFFE TEMUMUKWAASA KISA

Viewing 8 posts - 1 through 8 (of 8 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.