Egy’ebika Gya Kutambulira Mu Masaza

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebyemizannyo / Sports Egy’ebika Gya Kutambulira Mu Masaza

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17985
    KulabakoKulabako
    Participant

    Egy’ebika gya kutambulira mu masaza
    Bya Kalanzi Ivan

    Akakiiko akategesi k’emipiira gy’ebika kasazeewo nga emipiira gy’e bika by’Abaganda bwe gijja okutambulira mu masaza, oluvannyuma lw’okukizuula nti empaka z’omwaka guno ab’omu byalo bazaanirizza nnyo.

    Mu bisaawe ebyakozesebwa omwaka guno, kuliko eky’e Buwama, e ky’eBukalasa, Buyikwe ne by’omu Kampala nga Nakivubo ne Muteesa II stadium Wankulukuku.

    Ebika 7 bye bitaasobola kugenda mubifo mwe byaali birina okuzannyira emipiira gino nga kubino, kwaliko e Mbwa, e Kibe, Ngabi Nyunga, Balangira, Kayozi n’a Babiito ekintu ekitaasanyusa bategesi. Wabula omuwandiisi wa kakiiko akadukannya emipiira gino, yategeezeza nti eno ekyaali ntadikwa.

    Luyimbazi Mugalu yayongedeko nti ekyaali kisuubirwa nti ebika eby’amannyi okuli

    e Mmamba Gabunga eyakatwala egabo emirundi 8,

    Olugave emirundi 7,

    Effumbe ne Ngeye emirundi 3
    buli omu, bona bakoma mu kakungunta ate

    e Ffumbe lyakubwa e Kkobe mu gusooka 2-1.

    Kino kitegeeza nti n’empaka z’omupiira gw’ebika zikute esuula empya era nga e Kika nga eky’e Nte kisobola okuttunka ne zi kirimannyi mu muzannyo guno.

    Wabula waliwo ebika ebyafunye mu mpaka z’omwaka guno 2010 nga e kika ky’e

    Mpologoma ekyamalira mukifo eky’okusatu.

    Omusambi w’e kika ky’e Nkima, Ismail Segawa, ye yasinze okuteeba goolo ennyingi yateeba 4.

    Ye ow’e Nte, Nickson Kaweesi, ye yasinze okuzannya obulungi.

    E kika kye Ngabi Nsamba, kye kyasinze okwambala obulungi

    ate ye Bwabye Ronnie ow’e Mpindi, ye yasinze obukulu ku myaka 37

    ate nga ye Kibirango Saad ye yasinze obuto nga ono wa Mpeewo.

    Eky’e mpisa kyatwalibwa kika kya Njobe

    ate nga ko a Kasimba ke kaatute eky’ekika ekyasinze okusamba omupiira.

    Omwaka guno e Nte yeyatute e Ngabo mu mupiira ogw’ebigere oluvanyuma lw’okuwangula e Kkobe goolo 1-0 eyateebwa Henry Kakooza mu kitundu ekisooka.

    Ate kyo eky’abawala eky’okubaka, mutasubwa e Mmamba Gabunga yeddiza engabo oluvannyuma lw’okuwuttula Olugave 48-37 era guno gwegwali omulundi gwayo ogwa 34 okutwala engabo eno.

    Ssabasajja Kabaka yeyakwasa abawanguzi engabo zabwe wakati mu nnamungi w’omuntu e Nakivubo.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.