EKITIIBWA / BUGANDA NATIONAL ANTHEM

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Wakitimba Ono / This Website EKITIIBWA / BUGANDA NATIONAL ANTHEM

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17430
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Ekitiibwa/The Buganda National Anthem

    Ekiddibwamu:

    Twesiimye nnyo, twesiimye nnyo
    Olwa Buganda yaffe
    Ekitiibwa kya Buganda kyava dda
    Naffe tukikuumenga

    1.
    Okuva edda n’edda eryo lyonna
    Eryo eggwanga Buganda
    Nti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe
    Okwetoloola ensi yonna

    2.
    Abazira ennyo abatusooka
    Baalwana nnyo mu ntalo
    Ne balyagala nnyo eggwanga lyaffe
    Naffe tulyagalenga

    3.
    Ffe abaana ba leero ka tulwane
    Okukuza Buganda
    Nga tujjukira nnyo bajjajja baffe
    Baafirira ensi yaffe

    4.
    Nze naayimba ntya ne sitenda
    Ssaabasajja Kabaka
    Asaanira afuge Obuganda bwonna
    Naffe nga tumwesiga

    5.
    Katonda omulungi ow’ekisa
    Otubeere Mukama
    Otubundugguleko emikisa gyo era
    Bbaffe omukuumenga

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.