Ekkanzu ne gomesi bifuuse byambalo bitongole mu Ug

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Wenyirize / Beauty Ekkanzu ne gomesi bifuuse byambalo bitongole mu Ug

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Machati Machati 7 years, 2 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18716
    Machati
    Machati
    Participant

    Ekkanzu ne gomesi bifuuse byambalo bitongole ku mikolo mu Uganda
    Jun 17, 2012
    Bya Margaret Ziribaggwa
    [attachment=2568]Nabagereka.jpg[/attachment]
    Mu kifaananyi waggulu Nnaabagereka Sylvia Nagginda ng’anyumidde mu kyambalo kya gomesi

    EKIMU ku byawula Bannayuganda ku bantu abalala abasangibwa mu bugwanjuba bwa Afrika y’ennyambala. Ekkanzu ne ggomesi kati byafuuka byambalo bitongole ebya Uganda ebyenaanikibwa ku mikolo egy’ekitiibwa.

    Kyokka bino nga tebinajja, Omuganda yayambalanga lubugo ng’abasajja balusumika ne baluyisa ku bibegabega so ng’abakazi baalwesibanga mu ngeri ya ssuuka. Amakanzu n’engoye endala bwe byajja nabyo abantu baabyaniriza kubanga olubugo lwali lizibu okuyonja anti bayotezanga luyoteze. Abalala tebaalujjumbira nnyo engeri gye lwakozesebwanga ennyo mu kuziika gattako okuba nti abakomazi baali baamunyoto so nga n’emitubwa mwezaavanga nga gya kkekwa.

    Ensibuko y’ekkanzu:

    Abawalabu be baaleeta amakanzu mu Buganda ku mulembe gwa Ssekabaka Ssuuna ng’era mu byafaayo ye yasooka okujambala. Kyokka olw’omukwano Abaganda gwe balina eri Kabaka waabwe, bwe baamulaba ng’anekedde mu kkanzu olwo n’efuulibwa ekyambalo kya Buganda ekitongole wabula ng’eyongeddwaako omuleera. Guno no gwe gwaajawula ku kkanzu ez’Abawalabu oba ezeenaniikibwa ab’enzikiriza y’ekiyisiraamu.

    Entunga yaayo ezze ekyuka okutuukana n’omulembe oguliwo. Ekkanzu Eng’anda bagisona mu bulago, emikono mu maaso olwo ne bassaako omuleera. Kyokka ku mulembe Omutebi ekkanzu zoongeddwaako akabonero k’engabo, amafumu n’empologoma olw’okukkaatiriza akabonero k’0bwakabaka. Mu Buganda omutaka Kamadi Kalule ow’e Mende ye yasooka okwenyigira mu kutunga ekkanzu ng’omulimu guno yagukolanga n’abaana be. Olw’okuba ekkanzu zonna zaavanga ku kyalo kino kwe kuzikazaako erya ‘Mende’.

    Kamadi bwe yafa mutabani we, Erias Kirumira ow’e Bandwe mu Busiro n’agenda n’omulimu guno mu maaso.

    Kirumira ayogera ku mulimu gwe:
    ‘Taata yali muyiiya ekitagambika era yagenda okufa nga mumanyifu olw’ensonga y’okutunga amakanzu. Byeyaleka ansomesezza nange kwenatandikira omulimu guno mu 1954 nga nnina emyaka 14. Olumu waategekebwawo empaka z’okutunga ekkanzu eriko engabo zaakomekkereza mbawangudde.

    Kino kyansanyusa kuba ekkanzu yange Omutanda gye yasooka okwambala wamma ne mpulira okujaganya mu mmeeme yange.

    Kitaffe yatuzaala abaana bangi era ffenna tukuguse mu mulimu guno. Nze ekibuga nakyesamba kuba emirimu ginsanga wange era kino nkisomesezza abaana bange 25 be nnina wadde ng’abamu bakyasoma.’

    Okusoomozebwa:
    Akatale k’amakanzu katono ddala so ng’emiwendo gya matiriiyo y’engoye mwe tuzitunga gikyukakyuka buli kiseera. Abaana bwe babeera badda mu masomero abaguzi babeera batono kuba n’emikolo egitegekebwa gyesala. Ekkanzu mu kiseera kino egula wakati wa 25,000/- ne 200,000/- okusinziira ku kika ky’olugoye mwetungiddwa.

    Ennyambala y’abakyala:
    Edda abakazi beesibanga mbugo bo abawala abato nga benaaniika bukete. Abato tebaafibwangako nnyo ku byambalo wabula ng’abamu beesiba obuti mu biwato. Abazungu n’Abayindi bwe baaleeta engoye eza pamba ne nayirooni olwo abakazi ne batandika okwesiba essuuka.

    Entandikwa ya gomesi:
    Gomesi eyasooka bagitungira baana mu ssomero ly’e Gayaza wakati wa 1940 ne 1950.

    Omugoowa Gomez:
    Muky. Joyce Mpanga agamba nti abaana ba Gayaza High baalina yunifoomu nga ya ssuuka. Oluvannyuma baagikyusa ne bassaako kabbulawuzi waggulu kyokka nga wansi ssuuka.

    Abazungu abaali batwala essomero lino baasaba Omuyindi Gomez eyali atunga engoye okugatta ekyawaggulu ku kya wansi olwo n’atungamu ekyayitibwa ‘gomesi’ gye tugimanyi leero.

    Okuva essomero ly’e Gayaza bwe lyali ery’ekisulo oluvannyuma olugoye luno kwe kulutuuma ‘boodingi’ abalala ne bagiyita gomesi ng’erinnya baliggya ku Muyindi Gomez eyagitunga.

    Gomesi okugitunga weetaaga olugoye oluweza miita mukaaga ate oyo abeera agyambadde okuggumira obulungi munda ateekeddwa okusibiramu ekikooyi.

    Engeri Nabagereka gy’akyusizza ennyambala:
    Muky. Joyce Sebbuggwawo agamba nti Naabagereka yayambala gomesi eyalimu ekimuli ekinene nga ya langi bbiri ku kasiki ke era abantu baasalawo okulagiriza gomesi ezeefaanaanyirizaako eyiye olwo kwe kugituuma ‘Nagginda.’

    Ye Maama Phina agamba nti emisono gy’engoye bwe gigenze gikyuka, olwo gomesi ey’ebimuli eyasooka okwambalwa maama wa Buganda, Nabagereka ne bagituuma ‘Obama’ olwo eya ‘Royal Silk’ eriwo mu kiseera kino gye batuumye Nagginda.

    Waliwo abamu abatuumye gomesi ey’emikono emiwanvu, ‘Nagginda’ olw’okuba gwe basooka okulaba ng’agyambadde mu byafaayo by’eggwanga lino. Kyokka lino erinnya terinnaba kukala bulungi kuba abazirina baamuswaba.
    Maama Phina atunda

    Gomesi mu Kampala:
    Gomesi ennaku zino zikyuse nnyo era zigula buwanana. Waliwo eyitibwa ‘Mayinja’ ng’eno mu kiseera kino egula wakati wa 800,000/- ne 1,000,000/-, Voliveti oba ‘Volvet’ egula wakati wa 500,000/- ne 600,000/-, ‘Pure silk’ eri wakati wa 160,000/- ne 170,000/-. Gomesi eya ‘Obama’ eri ku 180,000/-.

    Ebyaliwo nga June 17, 1962

    AKULIRA oludda oluvuganya gavumenti D. Batalingaya agambye gavumenti y’Obote y’emu ku gavumenti ezigenda okufuga obubi Bannayuganda nti kuba terina muntu yenna gw’ewuliriza.

    Yayongedddeko nti, wadde abantu bammye Ben Kiwanuka owa DP akalulu naye bajja kwejjusa oluvannyuma kuba Kiwanuka babadde bamaze okulaba ku bukulembeze bwe n’ebirungi by’akoledde eggwanga nga muno mwe muli n’amaanyi amangi ge yateeka mu kuteekateeka eggwanga okutuuka ku bwetwaze obulindirirwa.

    Yayogedde nti ne ku mukago gwa Kabaka Yekka ne UPC bateekewo abiri essaawa yonna gugenda kusasika nti kuba Obote yakwenyakwenya Baganda kubafunamu buwagizi naye ku mutima gwe tabagaalira ddala. Era kino kyatuukirira bwabadde mu bukulembeze

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.