Ekkobe litutte engabo y’ebika

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebyemizannyo / Sports Ekkobe litutte engabo y’ebika

Tagged: 

  • This topic has 5 voices and 5 replies.
Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • Author
    Posts
  • #17442
    JonaJona
    Participant

    Ekkobe litutte engabo y’ebika

    Bya Lwanga Kamere

    BAZZUKULU ba Namwama e Buwama abeddira Ekkobe eggulo beewandiise mu byafaayo by’omupiira gw’ebika by’Abaganda bwe baakubye Endiga ggoolo 1-0 mu kisaawe e Nakivubo.

    Mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka ne nnamungi w’omuntu eyeeyiye mu kisaawe, Ekkobe lyatutte eddakiika 13 zokka okulengera akatimba ka bazzukulu ba Lwomwa, abaaleeta ekirowoozo ky’okutegeka emipiira gino.

    Emmanuel Nsereko, omu ku baasinze okutigomya Endiga, ye yateebye ggoolo eyawadde Ekkobe engabo omulundi ogusoose mu byafaayo byayo mu ddakiika ey’e 13 ekisaawe ne kisaanuuka.

    Endiga, eyabuzeemu omuteebi waayo Geoffrey Sserunkuuma owa Nalubaale FC yalabise ng’omupiira guno gugizitooweredde okusinga gy’ezze ewuuta obuva mu nzannya ezikulembedde fayinolo.

    Mu kubaka, Emmamba yakubye Enkima mu gwasooseewo ate ababaka ba palamenti ne baminisita ba Kabaka baalemaganye 0-0.

    0BUNNAMWAYA FC, eya pulezidenti wa FUFA, Lawrence Mulindwa, olwaleero egenda kuzannya omupiira ogusooka oluvannyuma lw’okukeculwako obubonero mukaaga ng’erangibwa okuzannyisa Hakim Ssenkuma eyali akyali ku kkoligo lya kaadi mmyuufu.

    Published on: Saturday, 23rd August, 2008

    #19434
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Ha wabula mpozzi ekyensaalwa…ezange nabadde nzitadde ku ndiga,Serunkuuma onzise!! Naye kale kasita byonna byaffe. Abe kkobe muyogeyoge. Tukwatagane nate omwaaka ogujja.

    #19441
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Abewaffe abe Kkobe mutubulire gye zinasindogomera tuyite n’agutunda nga tubayozayoza omuzannyo omuwoomu gwe mwazannye , Kandabe ye ani gweninayo mu Kkobe, bo abe Ndiga nja kulindako okubetambala bamale okuddamu amaanyi nga betegekera omwaaka omuggya .
    Banaffe mutuzaamu amaanyi okuwulira nti emipiira gyaffe egyebika giddamu okuwagirwa, Buganda tugikomyeewo ku Map ngedda

    Awangaale omutanda

    #19446
    MulongoMulongo
    Participant

    Oli mukwerarikiirira abe Ndiga ababadde abokubiri? Abo lulyo Olulangira baviiramu wwa? Hahahahahah, simanyi nabo bazannya? Tonzisa nseko!! Nze njogera bintono tono.

    Bannaffe abe Kkobe muyogeyoge.
    Sabasajja Wangaale.

    #19450
    KulabakoKulabako
    Participant

    Mulongo ositutudde enkuuli lwaaki oleeta olutalo, oba abolulyo olulangira bebaali ba difiri onomanya otya , Wamma tubulire Mumbejja oba bo tebakkirizibwa kusamba mipiira kuba oyinza okuba ngolina okubegendereza obutabakuba makuuuli.

    #19451
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kati Mulongo lwaaki okuba evvu bwootyo? Wamma aba bimanyiiko mujje muntaase naye nze Maama wange kye yangambako nti nga Muteesa yali akuba akapiira nosigala ngoyagala nga kyasoma e Buddo, nalina ne cousin wange eyakasamba nga, nga naye atebesa ffujjo, kale kyendowooza nti na bolulyo olulangira nabo nga bakoze team bagusamba nebaleka nga bakyaala bawunikiridde , nebabasubiza nokubanyiga nakanyama gwebaba bafunye nga basala abalala , ate bwebatuuka okuteeba goolo egaziwa magically neenywa kagenderere, Njakwongera okubinonyerezaako bino.

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.