EKYOKUZAAWO AMASIRO LUFUUSE LUYIMBA

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Agafa e Mengo / News from Mengo EKYOKUZAAWO AMASIRO LUFUUSE LUYIMBA

  • This topic has 4 voices and 3 replies.
Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • Author
    Posts
  • #19034
    BasajjamivuleAnonymous

    Amasiro g’e Kasubi, Emyaka ebiri bukya gaggya tekunnassibwako yadde olumuli olumu!

    Mar 15, 2012

    Awaali Muzibwazaalampanga bwe wafaanana kati Tebannazimba era Bassekabaka enkuba ebaggweerako.

    Kampala
    Bya EDWARD SSERINNYA

    ENKYA nga March 16, lwe giwera emyaka ebiri bukya Masiro g’e Kasubi gakwata omuliro mu ngeri ey’ekyewuunyo. Amasiro gaakwata omuliro mu kawungeezi ka March 16 2010 naye ne gye buli eno, kalittima eyagookya tazuulibwanga yadde Gavumenti yassaawo akakiiko kalamba kabuulirize!

    Ekikulu Poliisi kye yakolawo ye muduumizi waayo, Maj. Gen. Kale Kayihura okukakasa nti Joseph Musoke, omutuuze w’e Makindye Ssaabagabo ye yayokya Amasiro gano. Omusajja ono ye yeetwala ku poliisi ya CPS era n’alagibwa mu lujjudde, wabula oluvannyuma kyazuulwa nti yali mulalu, ate ne mukyala we n’alaga obujulizi obukakasa nti yali tasobola kuba nga ye yayokya Amasiro.

    Na buli kati eyagookya talabibwanga; tewali kikoleddwa kuzzaawo Masiro ago ne lipoota eyava mu kakiiko ka Gavumenti n’aka poliisi tezifulumanga!

    Akakiiko akassibwawo Gavumenti akaali kakulirwa omulamuzi Stephen George Engwau, lipoota yaako kaagikwasa Ministule y’ebyemirimu n’ekikula ky’abantu mu Febraury wa 2011, naye tefulumizibwanga mu butongole, ne be baagiwa batono abamanyi ebigirimu!

    Ani atuulidde lipoota eno? Lwaki buli omu atya okugiwaayo? Biki ebyazuulibwa ebifuuse eby’enkiso ng’ate okubuuza abantu kwakolebwa mu lujjudde? Wabula weebuuze nti oluvannyuma lw’emyaka ebiri, lwaki Mmengo eremereddwa okuzzaawo Amasiro? Ssente ezikung’aanyizibwa zidda wa?

    SSENTE EZAASONDEBWA

    Amasiro nga gaakakwata omuliro, kaweefube yakolebwa okusonda ssente ezinaagazzaawo. Sso Maj. Kakooza Mutale, omuwabuzi wa Pulezidenti yali aleese ekiteeso okukunga Abaganda basombe essubi n’emiti okugazzaawo, kyokka Katikkiro n’agamba nti guno mulembe Mutebi, Amasiro galina okuzimbibwa ku pulaani. Pulaani zo weeziri? Ani azirina? Lwaki tegazimbibwa?

    Katikkiro Ying. J.B Walusimbi yang’ambye nti, gavumenti ya Uganda yawaayo obuwumbi bubiri; abantu n’ebitongole eby’enjawulo ne basonda obukadde 750 ate ekitongole kya UNESCO ne kiwaayo emitwalo 50 egya doola, mu za Uganda 1,240,000,000/-.

    “Tewakyali kyekwaso kya ssente, wabula kati ekisigalidde kutandika mulimu. Wadde nga waliwo abamu abakiraba obubi nga balowooza nti osanga oli awo waliwo ensonga eri emabega eremesezza omulimu guno okugenda mu maaso naye si bwe kiri,” Katikkiro bwe yang’ambye.

    Newankubadde nga ssente zaasondebwa, era nga kyali kyetaagisa obuwumbi bubiri n’ekitundu okuzzaawo Amasiro gano, okugazimba gaafuuka gannyana. Kisoboka okuba ng’enkayaana eziri mu lulyo Olulangira ze zivuddeko omulimu okuzing’ama? Omwaka omulamba Katikkiro gw’amaze bukya atongoza omulimu gw’okuzzaawo Amasiro abadde akola ki?

    Mmengo yalonda Jonathan Nsubuga okukuba pulaani y’Amasiro amaggya ate kkampuni ya Omega Construction ekulirwa Pius Mugerwa Mugalaasi y’evunaanyizibwa okugazimba. Naye olaba n’ekikomera kye baali batandise okuzimba kyalemwa okumalirizibwa! Nsubuga yagamba nti Amasiro gaakuzimbibwa mu myezi ebiri gyokka.

    Endagaano y’okuzimba Amasiro gano eri wakati wa gavumenti eya wakati, ey’e Mmengo n’ekitongole kya UNESCO.

    LWAKI AMASIRO TEGAZIMBIBWA?

    Katikkiro Walusimbi agamba nti okutandika okuzimba Amasiro g’e Kasubi kwakubaawo mu April! Wabula weebuuze nti omwaka mulamba bukya atongoza mulimu guno babadde bakola ki?

    “Kituufu omwaka oguwedde natongoza okuzimba Amasiro gano, naye ne wabaawo ensonga z’ebyobuwangwa n’ebintu ebirala ebisaana okwekeenneenyezebwa era bigenda kuggwa tutandike okuzimba,” bwe yagambye. Wabula yagaanyi okwogera ensonga ezibagaana okuzimba Amasiro!

    Kyokka ensonda mu Masiro g’e Kasubi zaategeezezza nti waliwo emikolo Abalangira n’Abambejja abava mu Bassekabaka abana abagalamidde e Kasubi, gye balina okukola. “Ekibi nti abamu ku balangira n’Abambejja bano, Mmengo yali yabeesamba, bwe yalabye nga tekisoboka kuzzaawo Masiro nga tebakoze mikolo gino kati ekyateesa nabo naye abamu bakyagaanyi,” bwe yang’ambye.

    Ensonga endala esibye enkalu ky’ekitundu ekimu ku ttaka ly’Amasiro, Mmengo ky’eyagala okukulaakulanya ezimbeko amaduuka n’essundiro ly’amafuta. “Abalangira n’Abambejja kino tebakikkiriza, babuuza nti bo oba abazzukulu baabwe bwe balizaama olwo nga bamenya amaduuka okubaziika?!”

    Katikkiro yeegaanyi enkaayaana mu lulyo Olulangira nti ze ziremesezza okugazimba. Kyokka Abalangira abamu bang’ambye nti Katikkiro tafaayo ku Masiro kubanga si Mulangira!

    Abalala bagamba nti endooliito ne gooziriini ali e Mmengo, eyavaako n’okugoba eyali Nnaalinnya w’Amasiro gano, Beatrice Namikka ye kanaaluzaala. Bano be bagamba nti Nnaalinnya oyo ensonga z’Amasiro yali azifaako nnyo, naye ono aliko tabitwala ng’ekikulu!

    #27764
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    [attachment=2539]Muzibu.jpg[/attachment]

    BWEGATYO AMASIRO GAFFE BWEMWASALAWO OKUGATUWA

    Kyogereko buli lukya Katikkiro ajja nakwewoza kupya , olaba tebaswaala nakutugamba nti bagiwa Unesco oba nokutuwoleza gavumenti nga jobeera Unesco ne gav baaliyo nga baganda bazimba Muzibu ne bifo byonna byebagenze bayonoona ku Buganda ennenne buli omu kubbo basalawo kusokera ku bifo bya buwangwa kutunda nakwonoona ekikolimo kijja kubatambulako ne misaayi gyammwe gyonna nga bwemutasobola kukola bintu bino ku biggya byammwe mulina nokussa ekitiibwa ku byabalala oli aba awulira ngo bwa Kabaka tabwagala so simple abwesonyiwe tewali gwebakaka ku bwagala naye tekitegeeza kusanyaawo buli kimu.

    Ne ba Ssekabaka baali basobola bulungi okukwaata Buganda nebagitunda naga balala bonna abomulugube bwebakoze Bonna abantu baffe abawaayo obulamu bwaabwe naye bakuume Obuganda mwe abemitima egyekiwejjere muba mubayisizaamu amaaso nolweekyo temugenda nammwe kuba na mirembe mu Buganda mugenda kumaliriza nebikolimo bye bimu nga bo Obote ba Amin ba M7 kubanga Obuganda bwabasembeza ne basalawo okubusanjaga , nammwe abasazeewo okufuuka ba Yuda ba Buganda peso zemugitunzeemu mujja kuzigulamu bibanja mwe mugenda kwetugira ebikolimo bigenda kubagoberera paka magombe

    #27808
    KulabakoKulabako
    Participant

    [attachment=2541]SANY0029.JPG[/attachment]

    [attachment=2540]SANY0030.JPG[/attachment]

    Eno ye bbugwe gyebaali bazimba okwetoloora
    Abantu abo bazibu nnyo basooka kukwaata bantu baali bazimba bbugwe okutangira ettaka lya Masiro okubbibwa ne bekobaana Katikkiro nabe Mengo nebabaletera abatemu ba M7 abasirikale nebabakuba emiggo nebabasiba era nebatakoma awo nebabba ebintu byonna byebaali bakozesa okuzimba Bbugwe okwetolooza Amasiro , kyokka teyalina nansonyi Katikkiro naleeta abaUnesco nabalaga Bbugwe owabazukkulu ba Buganda nabalangira gwebaali bazimba nti ye yeyali amuzimba nti omulimu agutandiseeko .
    Bwebatyo bwebabadde babalyaako sente nti muleete tukuume ekifo nebazibawa nebazezibika , balaba tekibamaze ne basala mu ttaka lya Masiro nebatandika okulitunda , bwebalaba kijja kubalemesa ne batekera Amasiro omuliro okujjako nti bwebakola nabo deal balaba nga bajja kubefukira ekyo kyebasaawo okubuliriza nga bijja kuvaayo bibalumirize ,

    #27810
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    [attachment=2542]SANY0074 2.JPG[/attachment]

    ABANTU BATANDIKIRAWO OKUSOMBA EBIKOZESEBWA NAYE BYONNA NBABIREKA NEBIVUNDIRA AWO MPOZZI NGA mUZIBU BAGE
    NDA KUGIZIMBISA MABAATI NGA BWEBAKOZE ENSISIRA ZONNA EZALIYO

    kusumisa mu bika byammwe buli gwemulabye nebwaaba wakika kyammwe ebintu byo buwangwa birimu emitendera .
    Mwe musinze okutujuliza Unesco ne M7 , mutubulire eyassa emikono ku bijja byammwe tulyooke tumanye nti Unesco kati evudde kumirimu gyaayo egenda ewamba bifo bya Buwangwa mu nsi .
    Mutubulire oba Nyina wa Nabakyaala abangereza bayinza okuwaayo Unesco , lwaaki mwerowooza nti abo mulembe guno mwemusinga ebizibu , kubantu abeerya enkuta naye nebasigaza obuntu bulamu .
    Ate ekyokuba nti mukimanyi nti Kabaka tajja kuvaayo ku Radio amenyewo buli kyabulimba kyemwogera mwagufuula omugano , tuwulira ne mikono gyemu forgeringa nga mutunda ebintu bya Buganda byonna byemukolera munzikiza bijjakubalumiriza , aabantu bemwayokera obwemage mulowooza bebaseeyo mirembe mujja kubategeera obukambwe temupapa.Okussa ekitiibwa mu bantu baffe ababa basomose mu Buganda tetukikola lwa kutuwaana naye bwebuntu bulamu lwaaki mulowooza ensonga ya Muzibu egaanye okuva mudiiro , ate kyemwerabira nti olwaaleero otunze ekitali kikyo eyo gyonooba wewogomye gyebajja okukusanga bakubanje ebitali bibyo temwamanya bemwazanyirako , mugenda kufuuka ekyokulabirako .
    Muzze ne plana eyokuzimba olubiri lwaffe ngo buyumba bwomu baracks mukyusizza obuwangwa bwaffe mulowooza abasookawo amabaati baali tebagalaba oba amategula Mufubye nnyo okusanyaawo obwakabaka museewo mwebyemulowooza byemuyinza okugaggawaliramu kyokka nga musinziira ku nsi yaffe mutunda , tunabalaba kale.

Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.