Elly Wamala
EKIBIINA ekigatta abayimbi ne bannakatemba, ekya National Cultural Center kitegekese omusomo okujjukira Omugenzi Elly Wamala oluvannyuma lw’okuweza emyaka ena ng’afudde.
Omukulembeze w’ekibiina kino, Joseph Walugembe yagambye nti baasalawo okujjukira Elly wamala kubanga ye muyimbi abantu bonna abali mu kisaawe kya katemba n’okuyimba gwe bakkiririzaamu.
“Wamala ye muntu fenna gwe twali twewuunya. Yayagalanga okulaba ku buli kintu nga tekinnatwalibwa ku siteegi bantu kukiraba kubanga yatyanga nnyo okuswala”, Walugembe bw’agamba.
Bukedde
Published on: Thursday, 21st August, 2008