Emboozi Z’Obulamu Ne Byaabwo

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #18073
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  ‘Mukazi wange yatta muggya we ate naye n’afiira mu kkomera’
  1285431631abafumb.jpg
  Margaret Mukasa ng’awembejja omwami we Stanley Mukasa Mugula mu maka gaabwe e Kasengejje.

  Bya Edward Kalumba

  MUSAJJAMUKUKULU Stanley Mukasa Mugula, 99, omutuuze w’e Kasengejje okuliraana ekibuga ky’e Wakiso olunaku mukazi we omukulu lwe yatta muggyawe omugole alifa alunyumya olw’ensisi gy’agamba eyamubuutikira mu kiseera ekyo.

  Agamba nti ku bye yayitamu yatuuka okukyawa abakazi ababiri mu ddya erimu. Abinyumya bwati;
  Obulamu bwange tebubadde bwangu okuva lwe nazaalibwa emyaka 99 egiyise.

  Kitange omugenzi Asanasiyo Wamala yafa nga sinnategeera bwentyo ne nsigala ne nnyabo. Mmange oluvannyuma yafumbirwa kitange omuto n’ayongera okuzaala.

  Olwokuba nze nali nzaaliddwa omu, baganda bange be baali abaana era nze saafuna mukisa kusoma kusukka P.5. Nagenda nneerandiza nzekka okutuusa lwe nagula ekibanja e Kasengejje mu Busiro ne mpasa n’omukazi.

  Omukyala ono yazaala omwana wa buwala kyokka n’alemwa okumuzzaako. Muwala waffe ono yatuuka n’okufumbirwa nga tetufunye mwana mulala. Abeng’anda n’abantu abalala ku kyalo banziza mu kyama ne bampa amagezi mpase omukazi omulala ananzaalira omusika.

  Oluvannyuma nange nakiraba nga kyalimu eggumba bwentyo ne nfuna kyanakiwala ne nkireeta mu maka gange bwentyo ne mbeera mu bakazi babiri. Omugole yafuna olubuto n’azaala.

  Lumu bakyala bange baagenda okukima amazzi nga bwe baakolanga. Nze bandeka waka. Bwe baatuuka eyo, mukyala mukulu kwe kusindika munne mu luzzi mwe yafiira.

  Nga mukyala mukulu akomyewo namubuuza omugole gy’amulese n’atandika okupalapalanya., Nneesitula ne nserengeta ku luzzi ndabe munne kye yaliko. Nafa ensisi kubanga namusanga mu luzzi nga mufu wa jjo. Siba kuba musajja nali nange nneesuula mu luzzi mu kiseera ekyo. Nakuba enduulu eyasomboola abantu.

  Mu bano ne poliisi mwe yajjira n’ekwata mukyala mukulu n’emuggalira era gye byaggweera nga kkooti emusingisizza ogw’okutta omuntu.

  Ekibonerezo ekyamuweebwa kyali kya kusibwa myaka 20 wabula gy’ali teginnaggwaako n’afiirayo. Bampita okumpa omulambo gwa mukyala wange nguziike kyokka ne ng’aana olw’ensonga nti nange mu mutima gwange nali mmusalidde ogw’obutemu era nga sikyalina nkolagana naye.

  Laba omusajja eyali mu bakazi
  ababiri bwe nsigalirawo n’obuvunaanyizibwa bw’okulabirira abaana ababiri omugenzi be yali alese.

  Olw’embeera gye nayitamu, nali ng’aanyi n’okuddamu okuwasa era namala ebbanga ddene mu mbeera eno.

  Wabula ekiseera kyatuuka ne ndaba nga sikyasobola bulamu bw’omu bwentyo ne ntandika okusuula enkessi. Amaaso gansuula ku mwanamuwala Margaret eyali abeera mu Lubiri e Mmengo era ono gwe natwala eka n’afuuka omukyala.

  Oluvannyuma lw’ebbanga twagattibwa mu bufumbo obutukuvu era kati omugatte tugenda mu myaka 50 era tufuniddemu ezzadde lya baana 14.

  Ekimu ku byokuyiga bye nafuna mu bye nayitamu, bwe buzibu obuli mu bakazi baggya anti boogerwako ng’akabugo akakadde akataggwaamu nsekere. Abakazi tebayinza kuba wamu ne batafuna kwerumaaluma oluusi okuva mu busonga obutono.

  Nneebaza Katonda ampisizza mu mbeera ezo ate n’ankubagiza ne Margaret andabirira. Mukazi mukkakkamu, anjagala, mmuyita maama kubanga singa si ye osanga singa siriiwo.

  Okusabira awamu buli nkya na ggulo n’okusoma ebyawandiikibwa bituyambye nnyo okutukuumira awamu. Zabbuli eya 23 wamu n’oluyimba olugamba nti,’Yesu Mukama wange, nneesiga amaanyi go’ byafuuka bitundu ku bulamu bwaffe kubanga bikwatagana bulungi n’obulamu bwaffe.

  Published on: Saturday, 25th September, 2010

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.