Emipiira Gy’ebika By’A baganda

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebyemizannyo / Sports Emipiira Gy’ebika By’A baganda

This topic contains 14 replies, has 6 voices, and was last updated by  Kulabako 8 years, 4 months ago.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 15 total)
  • Author
    Posts
  • #19141

    Kulabako
    Participant


    Batabukidde abacuba
    Written by LWANGA KAMERE
    Monday, 15 June 2009 20:00

    AKAKIIKO akaddukanya emipiira gy’ebika by’Abaganda akakulirwa John Ssebaana Kizito kayisizza amateeka amakakali okugenda okuddukanyizibwa empaka z’omwaka guno.

    Ekika ekinaalimbaga oba okubuzaabuza ku buzaale bw’omuzannyi oba ekinaazannyisanga eyakola ekisobyo kyakutanga emitwalo 10.

    Ekika ekinaazannyisa atava mu bika 56 kyakutanga emitwalo 15 era tekikkirizibwenga kwetaba mu mpaka eziddako okutuusa nga kisasudde omutango ogwo.

    Ebyo nga bikyali awo, leero bazzukulu ba Namwama abeddira Ekkobe lwe bazzaayo engabo gye baawangula omwaka oguwedde nga bagiyisa ewa Katikkiro wa Buganda, Ying. J.B Walusimbi.

    #23946

    Mulongo
    Participant

    Hahahah omulabye awo bwagambye mu lu diplomaati, mbu anazanyisa atava mu bika 56, aleme kugamba nti anazanyisa atali Muganda. Okwonno kweluma lulimi!! Gyooba bbo balina akadde mu kutyoboola abya Buganda n’Abaganda.

    #23955

    Musajjalumbwa
    Participant

    Embogo ekitutte
    Written by Moses Nyanzi
    Tuesday, 16 June 2009
    BAZZUKULU ba Kayiira, Abembogo, balinnyiridde bazzukulu ba Gabunga Abemma-mba mu fayinolo y’emipiira gy’ebika bya Buganda egibadde giyindira e Nangabo.

    Embogo yakubye ggoolo 3-0 n’esitukira mu sseddume w’ente abadde awakanirwa. Fayinolo yabadde ku kisaawe e Gayaza. Ekitundu ekisooka kyawedde bali 0-0.
    Ebika 18 bye byetabye mu mpaka z’omwaka guno ng’emipiira gyategekebwa ab’eggombolola y’e Nangabo.

    #24046

    Ndibassa
    Participant

    ‘Tetubatya’
    Friday, 19 June 2009 12:27
    Effumbe liwera kufutiza Ngeye nga Kabaka alaba

    babanakiv.jpg

    Effumbe ligenda kusubwa Kigozi (ku kkono) owa URA.
    Leero e Nakivubo: Engeye – Ffumbe, 10:00
    BAZZUKULU ba Walusimbi (abeffumbe) n’aba Kasujja (abengeye) basuubizza okulaga Kabaka omupiira omunyuvu olwaleero e Nakivubo mu nsiike eggulawo empaka z’ebika by’Abaganda ez’omulundi ogwa 35.

    Ttiimu zombi zisabye Abaganda n’ab’amawanga amalala abanyumirwa omupiira, okubaawo ng’abajulizi nga buli emu ewera nti egenda kuwandula ginnaayo mu mpaka zino ezeetabiddwaamu ebika 41 nga zisasulirwa kkampuni y’amafuta eya Kobil.

    Omutendesi w’Effumbe, Fred Kajoba, agambye nti wadde SC Villa yagaanidde omuzibize we, Godfrey Walusimbi ate nga ne URA emuwaddeko mukwasi wa ggoolo, Eddy Kaweesa n’eremera Ismail Kigozi ne Manko Kaweesa, alina abalala abagenda okuziba amalibu ago bafutize Engeye.

    Wabula owaamawulire wa ttiimu eno, Ben Kasolo, yalabise ng’atidde Engeye bwe yagambye nti bakyayogereza URA ne Villa zite abazannyi abo baleme kuwanduka mu maaso ga Kabaka.

    Ye omutendesi w’Engeye, Paul Kiwanuka, agambye nti abazannyi be balamu tteke nga talaba kinaabalemesa kumegga Ffumbe nga Kabaka alaba. Omupiira gugenda kulamulwa Denis Batte.

    Effumbe: Eddy Kawesa, H. Ntege, S. Senoga, A. Mayanja, A. Ssekabira, W. Musazi( M. Kawesa), I . Ntege, A. Nduga, , D. Walusimbi, I. Ntege.

    Engeye: Abu Kalule, O. Kasule, P. Ssenfuka, J. Kibirige, E Kagimu, S Jjingo, I . Jjingo I. Kalule, E. Kalungi, J Kalule, J Bakkabulindi ne J. Kalule.

    #24053

    Musajjalumbwa
    Participant

    Ffumbe triumph

    Bika football tournament
    Ffumbe 2 Ngeye 1

    Tomorrow
    Ababiito v Obutiko
    Ndiisa v Nkerebwe

    BY NORMAN KATENDE

    VETERAN Mathias Kaweesa and Alex Ndugga struck to hand Ffumbe a 2-1 victory over Ngeye in the opening game of the Bika soccer tournament at Nakivubo yesterday.

    Kabaka Ronald Mutebi was the chief guest.

    Published on: Saturday, 20th June, 2009

    #24145

    Omumbejja
    Participant

    Engo eyagala kubwebwena Ngabi Nnyunga

    Bya Lwanga Kamere ne Abdallah Mubiru

    Leero e Wankulukuku:
    Ngo – Ngabi Nnyunga, 10:00

    BAZZUKULU ba Muteesaasira (Abengo), abaawangula engabo y’emipiira gy’ebika by’Abaganda mu 2000, batandika leero kampeyini z’empaka z’omwaka guno.

    Battunka n’Abengabi Ennyunga e Wankulukuku okulabako anaazannya

    n’omuwanguzi wakati w’Enjaza n’Omusu abaabika enkya mu kisaawe e Nakivubo.

    Published on: Saturday, 27th June, 2009

    #24166

    Omumbejja
    Participant

    Engo egobye

    Bya LWANGA KAMERE
    Sunday, 28 June 2009 15:51

    GGOOLO ya kyeteeba ye yatakkuludde Engo ku Ngabi Ennyunga mu mupiira gw’empaka z’ebika by’Abaganda ogwazannyiddwa eggulo mu kisaawe e Wankulukuku.

    Omuzibizi Fred Muwonge, ab’Engabi Ennyunga gwe beevumye okubawandula mu mpaka zino bwe yeeteebye mu ddakiika eya 30 ng’agezaako okuggyamu ggoolo.

    Engo kati ezzaako awangula ku Njaza n’Omusu abaabika leero e Nakivubo.

    Ngo 1 Ngabi Nnyunga 0
    Leero e Nakivubo:

    Njaza – Musu, 10:00

    #24203

    Kulabako
    Participant

    Omusu gukubye Enjaza

    Bya LWANGA KAMERE
    Monday, 29 June 2009 16:28

    BAKODDOMI b’embuga Abo-musu eggulo baalaze Enjaza enkola bwe baagivudde emabega ne bagikuba 2-1 mu mupiira gw’ebika bya Buganda ogwabadde e Nakivubo.

    Ismail Lukooya yateebedde Enjaza mu ddakiika eya 30 kyokka Abdu Lumala n’ateeba peneti ng’ebula eddakiika 12 guggwe.

    Ng’ebula essatu guggwe, Da-vid Mulumba yateebye ey’obu-wanguzi n’aleka Abenjaza nga batudde mu kisaawe tebakkiriza kibatuuseeko.

    Omupiira gwatandise kikeerezi olwa maneja w’Enjaza okulwawo okutuuka ng’ate ye yabadde ne layisinsi z’abazannyi bonna.

    Enjaza (1) Omusu (2)

    Olugave n’Emmamba Kakoboza

    #24256

    Ndibassa
    Participant

    Embogo ewandudde Obutiko mu gy’ebika

    Friday, 03 July 2009 06:02
    Mbogo 1-0 Butiko

    Leero e Wankulukuku:
    Nvubu – Mmamba Gabunga

    ABEDDIRA Embogo eggulo baajereze Aboobutiko nti omupiira gwabagwa kkono, bamanyi kuzina maggunju, oluvannyuma lw’okubawandula mu mpaka z’ebika.

    Bazzukulu ba Kayiira (Abembogo) baakubye aba Ggunju ggoolo 1-0, eyateebeddwa James Kabanda mu ddakiika eya 68 e Wankulukuku. Muhammad Kawere ow’Obutiko yagobeddwa mu kisaawe lwa kuzannyisa ttima.

    Leero e Wankulukuku, Emmamba Gabunga ettunka n’Envubu nga wagenda kusookawo okulonda obululu bw’oluzannya lwa ttiimu 16.

    #26930

    Ndibassa
    Participant

    Ente eri ku fayinolo

    Bya LWANGA KAMERE
    Sunday, 15 August 2010 19:14

    GGOOLO ya Bosco Semugenyi mu ddakiika ya 36, yayambye bazzukulu ba Katongole (Abente) okwesogga fayinolo y’Ebika by’Abaganda bwe baakubya Abalangira ggoolo 1-0 mu kisaawe e Wankulukuku.

    Wadde nga abaana b’Eng’oma baabadde beetaaga ggoolo emu okuyitawo oluvannyuma lw’okulemagana 0-0 mu gwasooka e Nakivubo, Ente teyabaganyizza kubaako kye bakola.

    Kyokka Abente baamazeeko bali 10 olwa Charles Ssemanda okuzannyisa ettima ku Mulangira Fred Mutebi, ddiifiri n’awmuwa kaadi emmyuufu.

    Leero e Nakivubo, Ekkobe littunka n’Empologoma

    okulaba akwata Ente kuLwomukaaga ku fayinolo.

    Nte 1-0 Balangira

    Leero e Nakivubo;
    Mpologoma – Kkobe,

    #27726

    Ndibassa
    Participant

    [attachment=2518]Magulunyondo.jpg[/attachment]
    Ssaabasajja enkya lwaggalawo egyebika
    Thursday, 22 September 2011 14:15
    Enkya

    Mbogo V Mmamba Gabunga ssaawa 10 ez’olweggulo.
    Okuyingira 3000 eza Uganda.

    KAYINGO ANDREW

    Olunaku lw’enkya kyakutokota nga sikisaanikire mu kisaawe e Nakivubo, Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II bw’anaaboneka eri Obuganda okuggalawo empaka z’omupiira ez’ebika by’Abaganda ez’omwaka guno.

    Bazzukulu ba Kayiira ab’e Mbogo be bagenda okugwisa obwenyi ne bazzukulu ba Gabunga abeddira emmamba ku luzannya olwakamalirizo mu mupiira ogusuubirwaokusigula enkonge.

    Omutendesi w’emmamba Gabunga, Cyrus Nsubuga yeerayiridde nga bw’agenda okusitukira mu ngabo y’omwaka guno era ng’essuubi ly’obuwanguzi limuli mu muzannyi we Eric Ssebuguzi.

    Wabula ne Frank Video Anyau atendeka eb’ekika ky’embogo naye agamba nti bw’ogoba musajja munno olekamu aganadda n’olwekyo ab’emmamba tebasaanye kweyibaala, engabo yandibayita mu myagaanya gy’engalo.

    Ekika ky’emmamba Gabunga okutuuka ku luzannya luno, kyasooka kuwandulamu ebika omuli; engabi ennyunga, enkima, engabi ensamba n’ennyonyi Nakinsige.

    Yo embogo yawandulamu ebika omuli; embwa, endiga n’effumbe.

    Okuva empaka z’omwaka guno lwe zaggulwawo ng’ennaku z’omwezi 23 omwezi gwomusavu, ekika ky’embogo kye kikyasinze okutimpula ekika kinnaakyo ggoolo ennyingi, nga kyakuba ekika ky’embwa, ggoolo 7-0 nga 13 omwezi oguwedde.

    Emiryango ginaggulwawo ku ssaawa 4 ez’okumakya.

    Ebika ebizze biwangula engabo okuva mu 1990.

    1990-LUGAVE

    1991-NGEYE

    1992-NGEYE

    1993-NKIMA

    1994-MMAMBA

    1995-LUGAVE

    1996-MPINDI

    1997-NNYONYI NYANGE

    1998-LUGAVE

    1999-LUGAVE

    2000-NGO

    2001-LUGAVE

    2002-MPOLOGOMA

    2003-MMAMBA

    2004-LUGAVE

    2005-FFUMBE

    2006-MPINDI

    2007-NGABIMPINDI

    2008-KKOBE

    2009-FFUMBE

    2010-ENTE

    2011-?

    #27727

    Omumbejja
    Participant

    [attachment=2521]1316891566kabak.gif[/attachment]
    Emmamba esitukidde mu Ngabo eyomusanvu
    Kabaka ng’akwasa kapiteeni w’Emmamba Engabo.

    Bya Lwanga Kamere

    HASSAN Mubiru yateebedde Emmamba Gabunga peneti yaayo ey’obuwanguzi eggulo n’emegga Embogo ku fayinolo y’emipiira gy’Ebika by’Abaganda mu kisaawe e Nakivubo wakati mu nnamungi w’omuntu eyabuugaanye essanyu mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi.

    Emmamba eyawangudde Engabo omulundi ogwomusanvu, yalemeddwa okuzannya omupiira ogunyumira abawagazi mu ddakiika 90 kyokka obwedda Embogo esinga okuzannya ogw’akawoowo, emikisa gyayo n’egyonoona bwonoonyi ekyayiyeeyo omutendesi waayo, Frank ‘Vedio’ Anyau eyasoose okuwera nga bw’agenda okukaabya Emmamba aga jjulujjulu.

    Bazzukulu ba Kayiira (Abembogo), abaafulumye ekisaawe nga bawooteevu, baagenze beevuma muzannyi waabwe Robert Kabanda eyakubye peneti ebweru n’abasubya okuwangula Engabo omulundi ogwokubiri okuba mu 1950 lwe baasooka okugiwangula empaka zino lwe zaggulawo. Emmamba Gabunga yawangudde ku peneti 11 – 10 oluvannyuma lw’okulemagana.

    Mu kubaka, Engabi Ensamba yawangudde Enkima ku bugoba 39-36 n’esituira mu Ngabo y’omwaka guno.

    Abateebedde Emmamba: K. Nsubuga, E. Ssebuguzi, E. Mubiru, B. Bwete, S. Mubiru, E. Mubiru, S. Nsubuga, J. Mubiru, T. Seruwawu, G. Bunjo ne H. Mubiru.

    Abembogo: H. Nyanzi, E. Kabanda, J. Kasibante, N. Makumbi, E. Sekisambu, N. Ssenkaatuuka, R. Mayanja, M. Kabanda ne S. Ssentamu.

    Published on: Saturday, 24th September, 2011

    ABENGABI MUGIRA MUKULIKA

    #28023

    Ndibassa
    Participant

    Nakivubo waakuwuuma Enkya ku lwomukaaga

    [attachment=2583]1342730897.jpg[/attachment]

    MENGOka
    Ekisaawe kya Nakivubo War Memorial kyakuwuuma enkya ku lwomukaaga,
    Nnamuswa Fredrick Ronald Muwenda Mutebi II, bw’anaaba aggulawo emipiira gy’ebika by’Abaganda egyomulundi ogwa 39.
    Empaka zino zaatandikibwawo mu 1950 ng’ekika ky’embogo kye kyasooka okuwangula engabo eno.
    Olunaku lw’enkya bazzukulu ba Mugema ab’Enkima abaakawangula engabo eno emirundi ebiri, bagenda kuba bakwekwetuka ne bazzukulu ba Kasujja ab’Engeye abaakawangula engabo eno emirundi esatu mu mupiira ogusuubirwa okuyumirwa abaagazi b’endiba mu Uganda.
    Ku ludda lw’ekika ky’Enkima, agitendeka Shafik Bisaso ategeezezza nti newankubadde enkya tagenda kubeera na muyizzitasubwa we, Robert Ssentongo ali ne URA mu mpaka za CECAFA Kagame Club Championship e Tanzania, mugumu nti abazannyi abaliwo bajja kusobola okumufunira obuwanguzi mu maaso ga Beene.
    Ebika 42 bye byamaze okukakasa nga bwe bigenda okwetaba mu mpaka z’omulundi guno. Engabo eno, ekika ky’Emmamba Gabunga kye kigirina ng’omwaka oguwedde ku luzannya olwakamalirizo kyawangula ekika ky’Embogo, ggoolo 11-10 mu kakodyo k’okusimula obunnya nga mu ddakiika 90 gwaggweera mu maliri nga teri alengedde katimba ka munne.

    Enkima Vs Engeye
    Omupiira gutandika ssaawa 10 ez’olwegguulo.
    Okuyingira 3,000/= eza Uganda.
    KAYINGO ANDREW

    Ebika ebizze biwangula engabo eno okuva empaka zino lwe zaatandikibwawo;
    1950 Mbogo
    1951 Ngabi
    1952 Mmamba
    1955 Kkobe
    1956 Mmamba
    1957 Nnyonyi
    1958 Ngeye
    1959 Mmamba
    1960 Ffumbe
    1961 Balangira ne Kkobe (baagigabana)
    1962 Nkima
    1963 Tezaaliwo
    1964 Mmamba
    1965 Mmamba
    1966-86 Tegyaliwo
    1987 Ngabi
    1988 Lugave
    1989 Mmamba
    1990 Lugave
    1991 Ngeye
    1992 Ngeye
    1993 Nkima
    1994 Mmamba
    1995 Lugave
    1996 Mpindi
    1997 Nnyange
    1998 Lugave
    1999 Lugave
    2000 Lugave
    2001 Ngo
    2002 Mpologoma
    2003 Mmamba
    2004 Lugave
    2005 Ffumbe
    2006 Mpindi
    2007 Mpindi
    2008 Kkobe
    2009 Ffumbe
    2010 Ente
    2011 Mmamba Gabunga
    2012?

    #28034

    Kulabako
    Participant

    Empologoma eteeze Engabi

    LUBIRI

    Emipiira gy’ebika by’Abaganda giddamu okubumbujja enkya ku lwokusatu ng’ekika ky’empologoma ekyasembayo okuwangula engabo eno mu 2002, kigenda kuba kittunka n’engabi ensamba, kino nga kyasemba okuwangula engabo eno mu 2007 nga kyagigabana n’empindi. Omupiira guno gwakunyumira mu Nakivubo War Memorial. Ku lwokuna, ekika ky’Abalangira kijja kulya matereke n’ekyendiga mu mupiira ogusuubirwa okubaako n’obugombe mu Nakivubo War Memorial. Emipiira gijja kuggyibwako akawuuwo essaawa 10 n’ekitundu ez’olweggulo.

    Enkya mu mipiira gy’ebika

    Engabi Nsamba Vs Empologoma e Nakivubo

    Balangira Vs Ndiga e Nakivubo

    KAYINGO ANDREW

    #28041

    Basajjamivule
    Participant

    Engabi ‘eridde’ Empologoma

    Bya Lwanga Kamere

    Mu gy’Ebika eggulo:

    Ngabi Nsamba (3)0-0 (0) Mpologoma

    Leero e Nakivubo:

    Balangira – Ndiga, 10:00

    BAZZUKULU ba Nsamba (Abengabi) eggulo baafulumye ekisaawe e Nakivubo nga basanyufu bya nsusso oluvannyuma lw’okumegga aba Namuguzi (Abempologoma) ku peneti 3-0.

    Empologoma bakira eyeewulira eryanyi, lyakomye mu ddakiika 90 olw’ennumba obwedda z’ekola kyokka ng’omukwasi wa ggoolo y’Engabi, Hamza Muwonge abaka mbake. Gwawedde 0-0.

    Mu peneti, Ronald Kisekka, Majid Sserwadda ne Joachim Golola (Abempologoma) ezaabalemenye okunywesa ate Moses Lubega, Juma Lubega ne Moses Ndaula ne bateebera Engabi.

    Engabi yaakuttunka n’Emmamba Gabunga.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 15 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed