Emisango egiyuuguumizza Kkooti y’emipiira gy’Ebika

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebyemizannyo / Sports Emisango egiyuuguumizza Kkooti y’emipiira gy’Ebika

  • This topic has 2 voices and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #18249
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Ekkobe lyazannyisa Omutanzania eyeddira Enkobe
    Bukedde Thursday, 19 August 2010

    Emisango 12 egiyuuguumizza Kkooti y’emipiira gy’Ebika
    seater.jpg
    Maneja w’Olugave, Majid Sserunjogi ng’ayombesa Kabunga, omuwandiisi wa Kkooti e Nakivubo.
    FAYINOLO y’emipiira gy’ebika by’Abaganda ya nkya (Lwamukaaga) wakati wa bazzukulu ba Namwama (Abekkobe) n’aba Katongole (Abente).
    LWANGA KAMERE akuleetedde egimu ku misango egiroopeddwa omuli ebika okuzannyisa abatali Baganda;

    KKOOTI eno etuulwamu abantu mukaaga; ssentebe ye Joseph Kiwanuka, omumyuka we Joseph Musiitwa ssaako Joseph Mwanje, Peter Kayima Magoba, Joseph Kabunga Ddumba ne Ibrahim Ssematimba.

    Kkooti eno eringa ya LCI, tegendwamu looya era ewozesa emisango mu Luganda lwokka. Yassibwawo mu 1987 empaka zino lwe zaddamu.

    Emmamba ezannyisa Omulangira
    Omusango ogwasooka mu kkooti eno mu 1987 gwali wakati w’Olugave n’Emmamba Gabunga. Olugave lwavunaana Emmamba okuzannyisa Omulangira Kyaguba era Aboolugave omusango baagusinga.

    Ekkobe lizannyisa Omutanzania
    Mu 1990, Ekkobe lyawuttula Omusu ggoolo 3-0. Wabula bazzukulu ba Muyingo (Aboomusu) baakuba aba Namwama mu mbuga nga babalanga okuzannyisa Ben ‘Male’ Magala gwe baalumiriza okuba Omutanzania. Omusango gwasinga Abekkobe oluvannyuma lwa Magala okutegeeza kkooti nti, “Amannya agange nze Bin Maale era nneddira Enkobe.”

    Emmamba ezira engalo za Kabaka
    Ekika ekisinze okusiiwuuka empisa kya Mmamba Gabunga. Mu 1997, Emmamba yakubwa Ennyonyi Ennyange ku fayinolo e Bukesa. Abemmamba baazira okukwata mu ngalo za Ssaabasajja nga bwe kiteekeddwa okuba. Kkooti yatuula mangu n’ebawera okwetaba mu mpaka zino okumala emyaka ebiri.

    Enjovu evunaana Empologoma
    Mu 1997, Enjovu yavunaana Empologoma okuzannyisa Musa Kiwanuka Kisekka atali wa kika ekyo naye omujulizi omukulu (nnyina) gwe baaleeta mu kkooti waliwo eyamutiisatiisa n’adduka nga tawadde bujulizi Abempologoma ne bejjeerera.

    Olugave luzira Engabo
    Mu 2002 Aboolugave baazira engabo olw’okuba yali ewandiikiddwaako ‘Baggrey Trading Co. Ltd’ ey’omuggaga Godfrey Kirumira, eyawaayo akakadde k’ensimbi okugigula. Omukulu w’ekika ky’Olugave, omutaka Grace Ndugwa yagamba nti okwo kwewaanira ku Kabaka. Amangu ago Kkooti yatuula erinnya ne liggyibwako.

    Owa Nakinsige asibwa ‘mayisa’
    Mu 2004, aba Nakisinge baaloopa Ennyonyi Ennyange okuzannyisa muganda waabwe Peter Makanga. Makanga yeegaana kitaawe mu kkooti eyo era ne yeegaana n’omusika wa nnyina nti ye yeddira Nnyonyi. Kkooti yamukunya nti weddira Nnyonyi ki? Ko ye nti, “Nze nneddira Nnyonyi.” Kkooti yazuula nga Makanga abuzaabuza obuzaale bwe n’emuwera okuzannya emipiira gy’ebika okutuusa okufa.

    Emmamba ewawaabira EngabiMu 2005, Emmamba Gabunga yawawaabira Engabi Ensamba okuzannyisa Hussein Kato nti yali muganda waabwe kyokka obujulizi bwagibula Engabi n’egulya.

    Engabi eroopa Abalangira
    Mu 2008, Engabi Ensamba yawawaabira Abalangira okuzannyisa abooluganda Vincent Kayizzi ne Frank Mulindwa Muwonge nti nabo bazzukulu ba Nsamba. Ssentebe wa kkooti, Joseph Kiwanuka yategeeza ng’omusango bwe gutayinza kuwulirwa nti kizibu okusalira ‘Beene’ omusango. Kw’olwo, Abalangira baasitula kitaawe wa Ssaabasajja, David Simbwa ate Abengabi baali baleese abajulizi abalumiriza abazannyi abo.

    Empologoma eroopa Olugave
    Omwaka oguwedde Empologoma yawawaabira Olugave okukwasa Sulait Luyimanti yali yeddira Nte. Nnyina Luyima yategeeza kkooti nti yajja n’olubuto lwa Luyima ewa Juma Kamala. Luyima yakiwakanya ng’agamba nti yajja ewa Kamala nga wa myaka ena oluvanyuma lwa kitaawe, Sulaiman Katende okufa mu 1997.
    Kamala yategeeza kkooti nti, “Luyima aviira ddala mu ntumbwe zange era leero lwe ntegedde nti aliko amukaayanira.” Kkooti yagenda ku ffoomu ejjuzibwa omuzannyi nga Luyima mu 2008 yalaga nti kitaawe mulamu. Nnyina yakakasa bba (Kamala) nti Luyima si wuwe.
    Kkooti yagaana Luyima obutadda mu mipiira gya bika obulamu bwe bwonna naye ekyewuunyisa yakwatidde Olugave omupiira ogwaguddewo empaka zino Eng’onge n’ebawangulira mu peneti. Oba ani yamusumuludde!

    Olugave lusonga ku ‘Mugisu’
    Omwaka guno, Olugave lwawabidde Eng’onge okuzannyisa Richard Ssonko nti Mugisu. Kkooti yejjeerezza Eng’onge oluvannyuma lw’Olugave okunona obujulizi n’efuukirayo musu gw’e Kanyanya. Aboolugave baatiisizza obutadda mu mipiira gya bika.

    Emmamba nayo esonga ku ‘Mukakwa’
    Emmamba Gabunga nayo yawawaabidde Engo okuzannyisa Ismail Kintu nti Mukakwa. Wabula obujulizi bwabuze Emmamba n’etanzibwa emitwalo 50.

    Abazannyi b’Ensuma bawerebwa
    Enseenene yaloopye Ensuma okuzannyisa abatali ba kika kyayo okwabadde Ivan Lubbo, David Musoma, Samson Ntambi, Edward Bakabawala ne Enock Basenga. Omusango Enseenene yagusinze bwe yaleese bakadde baabwe nga si ba Nsuma. Abazannyi baagaaniddwa obutaddayo kuzannyira kika ekyo.

    #26962
    KulabakoKulabako
    Participant

    Kino kyennyini kyetwetaaga nga baganda besalira emisango gyaabwe , wamu nokwemalira enkayaana zaabwe nga tewali musaayi guyiise wadde gwebaguliridde yeeno Buganda gyetwetaaga.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.