Empaka zokukongojja zitandika leero. Mubutuufu zitandika kati. Abavubuka ewaffe eyo nga banakulaga ekintu kyotosobole kubajjako nga bakugamba nti nebwokongojja okwa kkono. Nga ekyo kitegeza nti okukongojja okwa kkono kizibu nnyo, mpozzi okujjako nga oli wa nkonokono ndowooza. Naye ate empaka ziba zaaki nga ekiwakanirwaako si kizibu? Nempaka zaffe bwezityo za kukongojja kwa kkono okuva ku kisaawe entebbe okutuuka munda mu taxi park. Ekirabo nte nganda, ekiseera nga kituuse okukwasibwa ekirabo kyo kino, abategesi bagenda kusaba Ssaabasajja ajje akikukwasize e Kayunga mu Bugerere. Wabula olina okutubulira okukongojja bwekugenda era ne wwa wotuuse.
Oluwulira bumu nga otandika. BUMU!!