Empandiika y’Oluganda

  • This topic has 6 voices and 20 replies.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 21 total)
  • Author
    Posts
  • #19163
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Empandiika y’Oluganda

    AKAGAMBO si bwe kakulembera ebigambo ebirala ebitali bikolwa kawandiikibwa kokka.

    Ebyokulabirako:

    Entegeka ye si nnungi.

    Kikwabanga si mwami.

    By’ong’amba si bituufu.

    Gy’ontwala si waffe.

    Essowaani gy’ompa si yange.

    Oyo si mwannyinaze.

    Gundi si mulungi mulwadde.

    Ekitabo kino si kyange.

    Okujja nga buyise si musango.

    Nedda si bwe guli.

    Ebyo si bibyo.

    Ebigambo ebiraga eng’anda z’abantu biwandiikibwa

    ng’ekigambo ekyemaliridde.

    Kitange, mmange, ssenga/ sseng’ange, mwannyinaze, jjajjange, kojja/ kojjange, baze, babaze, kitammwe, nnyammwe, ssengammwe, mwannyinammwe, jjajjammwe, kojjammwe, bbammwe, kitaffe, nnyaffe, ssengaffe, mwannyinaffe, jjajjaffe, kojjaffe, bbaffe, bajjajjammwe, bakitange, bammange, bassenga, bassenga / basseng’ange, bannyinaze, bakojjange, bakitammwe, bannyammwe, bassengammwe, bannyinammwe, bakojjammwe, babbammwe, bakitaffe, bannyaffe, bajjajjaffe, bakojjaffe, babbaffe.

    #22495
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Ennono y’ennukuta eza nnabansasaana

    ENNUKUTA zonna mu Luganda okuggyako l, w ne y ziyinza okuwangaalwako oba obutawangaalwako.

    Ennukuta bw’ewangaalwako tugiwandiika emirundi ebiri.

    Bwe tugiwandiika emirundi ebiri tugiyita eya nnabansasaana.

    Ennukuta okuwangaalwako eba n’ensonga kw’eva.

    Ensonga eyo gye tuyita ennono oba ensibuko y’okuwangaala kw’ennukuta oba ennukuta eya nnabansasaana.

    Ennukuta ewangaala oba ewangaalwako bw’otogiwandiika nga ya nnabansasaana, amakulu g’ekigambo gayinza okukyuka nga bwe tunaalaba oluvannyuma.

    Ennono y’ennukuta eza nnabansasaana tujja kugyekebejja nga tutandika n’empeerezi.

    Ennono y’ennukuta empeerezi eza nnabansasaana:

    Ennukuta empeerezi zonna ziyinza okuwangaalwako era bwe ziwangaala oba bwe ziwangaalwako, tuziwandiika nga za nnabansasaana.

    (a) (b)
    a: Abana abaana

    e: okusera okuseera

    i: okusita okusiita

    o: okubola okuboola

    u: okutula okutuula

    Ebigambo ebiri mu (a) tebiriimu kuwangaala era empeerezi tuwandiise emu emu.

    Naye ebigambo ebiri mu (b) birinamu ennyingo eziwangaala oba eziwangaalwako, era ennyingo ezo ziwandiikiddwako n’empeerezi bbiri bbiri oba eza nnabansasaana.

    Ebigambo ebiri mu (b) bw’obiwandiika n’empeerezi emu ofuna makulu gali agali mu (a) era bw’owandiika nti;

    (i) njagala abana bajje, mu kifo kya

    (i) njagala abaana bajje,

    asoma amanya nti oyagala abantu abali abana (4) so nga ggwe obadde oyagala baana.

    Published on: Saturday, 7th March, 2009

    #25539
    KulabakoKulabako
    Participant

    Ebivaako empeerezi okuwangaala

    OKUWANGAALA kw’empeerezi kuleetebwa ensonga ezisukka mu kkumi era ze zino:Ebikolo ebitandika n’empeerezi

    Ekikolo y’ennyingo oba z’ennyingo z’ekigambo ezitakyukakyuka ekigambo ekyo bwe kiba kiyungiddwaako endala. Okugeza ekigambo baana kirimu ebitundu bibiri. Ekitundu ekisooka y’ennyingo ba eraga olubu lw’erinnya oba obungi bw’abaana. Ekitundu ekyokubiri ye ana era kino ky’ekikolo ky’ekigambo ekyo baana.

    Olwokuba ennyingo eyo esooka ba erina empeerezi a ng’ate n’ekikolo kitandika na a, ebitundu by’ekigambo ekyo bwe byegatta tufuna empeerezi bbiri wamu ezifaanagana.

    Published on: Saturday, 26th September, 2009

    #25894
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Nnampawengwa bwe zikulemberwa ensirifu teziwangaala

    MU Luganda tulina ennukuta eza nnampawengwa bbiri; w ne y. Ziyitibwa nnampawengwa kubanga oluusi ziba mpeerezi ate olulala nsirifu.

    Twalaba nga u bw’eba eddiriddwa empeerezi efuuka w ate i mu ngeri y’emu n’efuuka y nga wano;

    Mu -ana – mwana

    Ki -oya – kyoya

    Naye ate waliwo ebigambo ebirimu w oba y nga teziva mu mpeerezi, naye nga nsirifu ddala.

    Ebyokulabirako

    Oluwaawo, obuweewo, okuwalana, okuyita, okuyiga, okuyomba, oluyiira n’ebirala.

    Okukakasa ng’ennukuta ezo w ne y nsirifu ddala mu bigambo ebyo waggulu, ozirabira ku kufuuka bwe ziba nga zikulembeddwa ensirifu ey’ekinnyindwa nga wano;

    Oluwaawo – empaawo

    Okuyita – mpita

    Oluyiira – empiira

    Okuyiga – njige

    Okuyomba – nnyomba.

    W efuuse p ate y n’efuuka j, p ne ny.

    W ne y bwe ziba zikulembeddwa ensirifu endala, empeerezi eziddirira tuwandiika emu.

    Published on: Saturday, 16th January, 2010

    #26113
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant


    Okuluma kwa bika bitaano

    Bya Mariam Kyabangi

    OLUGANDA lulimi lugagga olw’ebigambo enkumu bye lulina. Kyokka ebigambo ebimu birina amakulu agasukka ku limu:

    Okuluma: 
    Omuntu bw’alya ennyama, emiyembe, ebikajjo n’ebirala ebirumibwa aba aluma birume okusobola okubaako ky’alyako.

    Omuntu bw’alwala tugamba nti obulwadde bumuluma.

    Omuntu bw’azza omusango, obujulizi ne buvaayo okumulumiriza, bwe gumusinga tugamba nti baleese obujulizi obumuluma.

    Ebiro bino mu bavubuka, bwe wabaawo alyazaamaanyizza munne, amwogerako nti amulumye oba yamuluma.

    Okwera:
    Omuntu bw’akwata olweyo n’atandika okulongoosa, tugamba nti ayera.

    Omuntu bw’abba oba bw’anyaga munne obutamulekera kantu tugamba nti amweze bwezi.

    Omuntu bw’atwala ebintu byonna ebimuweereddwa n’ebitamuweereddwa tugamba nti ayeze buli kantu.

    Omuntu bw’agoba abakozi abangi ku mulimu omulundi ogumu, ayogerwako ng’abeeze obwezi.

    Oli bw’awangula ebirabo ebingi ku mukolo gumu ayogerwako ng’ayeze ebirabo byonna.

    Omuntu bw’afuna obubonero bwonna mu bibuuzo oba mu muzannyo ayogerwako nti ayeze bwere.

    Published on: Saturday, 20th February, 2010

    #26114

    Nsaba mbeereko kye mbuuza oba kye nnyanjula eri abo abafaayo ennyo okukuuma n’okukulaakulanya Olulimi lwaffe Oluganda. Buli lulimi wonna we luli lukula. Abazungu bwe baali tebannaba kujja mu Buganda kuleeta sayansi wa kuwandiika, tetwalina mateeka ga mpandiika ya lulimi lwaffe (Luganda Orthography).

    Bwe twayiga okuwandiika, era baali Bangereza abatuyamba okuteekawo amateeka g’empandiika y’Olulimi luno. Mu myaka egigenze gyekulungula, Abaganda bangi naddala abo abagwa mu kibinja ky’Abaazaalibwa okuva mu myaka gya 1960 okudda waggulu bagenze bavaamu Abaganda abaagala okukyusa empandiika y’Oluganda naddala mu bigambo ebimu gamba ng’ebyo ebivugira mu ddoboozi ly’ennukuta “c” oba “kya” oba “cu”; okugeza nga bino wansi bye beebuuza nga baagala bikyusibwe:

    * “ekyaayi” lwaki tekiwandiikibwa “ecaayi”?
    * “kyange” lwaki tekiwandiikibwa “cange”?
    * “Kyuuka” lwaki tekiwandiikibwa “cuuka”?
    * “kyandibadde” lwaki tekiwandiikibwa “”candibadde”?

    Waliwo n’ebigambo gamba nga “Kyayi oba “Chai” ono ge tunywa. Baagala kiwandiikibwa “Cai” mu kifo kya Kyayi oba Chai kubanga ffe mu Luganda tetulina nvuga eyo eya “ch” kubanga mu ffe evugira mu nnukuta emu eya “c”
    n’ebirala bingi.

    Abo abaagala okukyusaamu bawa ensonga nti Oluganda okuluwandiika mu ngeri eri enkadde eriwo kirufuula luzibu okuwandiika. Nti era kiwanvuya nnyo ebgambo byalwo.

    Abaganda abaagala okukyusaamu mu mpandiika y’Olulimi lwaffe mu ngeri ng’eyo waggulu mubagamba ki?

    Nnaasiima nnyo ng’Abaganda abagwa mu kiti ekyo bafunye okutangaazibwa oba ebirowoozo okukubaganyzibwa ku nsonga eyo. Mwebale nnyo abaweereza abalungi.

    #26115

    Omulungi Nnamukaabya, nkwebaza okwongera okutuyigiriza Olulimi lwaffe oluganzi wabula njagadde nkuwabulemu nti mu Mateeka g’Empandiika y’Oluganda (Luganda Orthography) ebigambo ebimu by’owandiise obiwandiise mu bukyamu:

    * Ekigambo “Okwera” wadde nga kirina ennukuta “kw” ekitegeeza nti envuga yaakyo ewangaala, kyokka ekigambo “Okwera” (nga weeyambisa olweeyo), mu mateeka g’empandiika y’Olulimi luno kyandibadde kiwandiikibwa “okweera.” Kino kye kimu ku bigambo mu Luganda ebitagoberera tteeka lya kuwangaala kwa nnukuta ezigwa mu biti bino: ky, mw, kw, ny, nw, n’ebirala byonna ebibaamu ennukuta ensirifu nga ziddiriddwa ennukuta ensirifu y ne w ebikola eddoboozi eriwangaala gamba nga bino: kyange, kyalibadde, twaliza, mwebaze, kwatirawo, nnwaniridde, nnyombye, okwerabira, emmyanso n’ebirala.

    * Ekigambo “olweyo” nakyo kyandiwandikiddwa “Olweeyo” so si “Olweyo”.

    * Ekigambo “amweze” kyandibadde kiwandiikibwa “amweeze”
    wadde nga mu mateeka ennukuta “mw” ziwangaala.

    * Ekigambo “bwezi” nakyo kyandibadde kiwandiikibwa “Bweezi” (amweeze bweezi).

    * Ekigambo “bwere” kyandiwandiikiddwa “bweere” (ayeze bweere).

    Ononsonyiwa naye okuva lw’owandiikidde mu mukutu oguyigiriza Abaganda Oluganda, kirungi bayigirizibwe empandiika entuufu mu mateeka g’Olulimi baleme ate okubula mu mpandiika yaalwo. Weebale nnyo nnyabo Omuwereza Omulungi. Nsaba nsaasirwe naye mu kino sigenderedde kwolesa kumanya kwange oba okuleeta olugezigezi.

    #26116
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Bya Mariam Kyabangi

    Ebintu byendeese bibadde byooyo waggulu ye yabiwandiika mpozzi sigolodde nsobi ze

    #26893
    KulabakoKulabako
    Participant

    Wandiika emboozi zino mu butuufu

    Polof. L. Walusimbi

    1. abana abo balabika bulungi ndowooza balya nyo amapapali n’enanansi.

    2. Bakade be bamwagala ennyo kyeyava ayononeka atyo.

    3. Embizi enene etude mu mazzi ekaba.
    4. Enviri, amanyo, enyindo n’edobozi lye mbyagala.

    5. Mpulide evumbe ndowooza bokya nnyama.
    6. Sooka ompeereze kasoli oluvannyuma ondetere eng’ano.

    7. Lwaki otambula kadanyuma mukazi wattu!

    8. Mama ne tata babaniliza bulungi lwe bajja.
    9./ Endulu n’okulekana biva luda wa nyabo?

    10. Abana abawala bambade obuteteyi buno bukokonyo ne bakamala.

    Published on: Saturday, 7th August, 2010

    #26894
    KulabakoKulabako
    Participant

    Nze kantereeze ku number 3 ndowooza oyinza okugamba nti embizzi ennene etudde mu mazzi ekabawala

    7 osobola okwogera nti omukazi nti bwaanaaba anasera kimugwanidde atambule kyenyumanyuma oba atambule ngadda kyensuti

    10 wano ogamba bugambi nti abawala bambadde obuteteyi obubakunukidde nebaleka nga nenguudo eziraga e tirinyi ziri kungulu

    sagala kubibamalirawo buli omu ajje abinyonnyole muluganda olutuufu olwangu lwokutegeera

    #27117
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Amateeka agafuga obugambo obugaana

    Polof L. Walusimbi

    EMBOOZI efuuka ey’okugaana singa tuba tukozesezza ennyingo zino: te ne si.

    Ebyokulabirako

    i, Simanyi Lungereza.

    ii, Tomanyi byabufuzi

    iii, Temumanyi kuzannya ggogolo.

    iv, Tamanyi byakusaaga.

    v, Omwana si mulwadde.

    vi, Sinnamulabako.

    vii, Si nze namukubye.

    viii, Si be baamuwambye.

    ix, Lule tannadda.

    Mu mboozi iii, te efuuka to kubanga nnakasigirwa enkozi ey’omuntu owookubiri mu bannamunigina ye o. O eno bw’eddirirwa e, e evaawo ne wasigalawo eyo o.

    Mu ngeri y’emu, mu iv, te efuuka ta kubanga nnakasigirwa ey’omuntu owookusatu mu bumu ye a. A eno bw’eddirira e, e evaawo ne wasigala a.

    Mu kiseera ekyayita n’ekyayise, si efuuka saa. A emu ke kabonero ak’ekiseera ekyayita n’ekiyise. A eno bwe yeegatta n’ensirifu, empeerezi egiddirira ewanvuwa oba efuuka ewangaalwako.

    Naye olwokuba mu Luganda y teddirira s, noolwekyo y eyo evaawo olwo ne wasigala a zombi.

    Published on: Saturday, 2nd October, 2010

    #27256
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Ekiseera ekiriwo okimanyira ku kikolwa ekiri mu mboozi

    Polof Livingstone Walusimbi

    EKISEERA ekiriwo n’ekyabulijjo. Ebiseera bino byombi bifaanagana mu Luganda kuba tebirina kabonero kabiraga. Okutegeera ng’ekikolwa kikolebwa kati oba nga kya bulijjo kisinziira ku mboozi oluusi n’ekikolwa ekiba kikozeseddwa.

    Ebyokulabirako:
    i) Mukama atuwa enkuba
    ii) Mutabani wange akaaba
    iii) Ente yange teraba bulungi
    iv) Taata akola Masala
    v) Byangwa musomesa
    vi) Ali bweru azannya

    Ekiseera ekiriwo kiyinza okukozesebwa okutegeeza ekikolwa ekinaabaawo oba ekiribaawo.

    Bino by’ebyokulabirako:
    i) Enkya ng’enda ku kibuga
    ii) Omwaka ogujja agenda mu yunivasite
    iii) Omusawo omulaba ddi?
    iv) Mmulaba nkya (Nnaamulaba)
    v) Akomawo leero.

    Ebikolwa bingi eby’okutambula oba ebitegeeza okuggya ekintu awantu okukizza awalala bwe bikozesebwa mu kiseera ekiriwo bulijjo tekitegeeza nti ekikolwa ekyo kikolebwa mu kiseera ekyo. Wazira kiyinza okutegeeza nti ekikolwa ekyo kinaabaawo mu bbanga eritali ly’ewala okuva kati.

    Bino by’ebyokulabirako:
    i) N-naa -genda enkya
    ii) Tu-naa-mulaba edda
    iii) O-naa-komawo eggulo (onookomawo)
    iv) Mu-naa-lima enkeera
    v) Ba-naa-musa

    #27282
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Ekiseera ekiyise kiraga ekikolwa ekyakoleddwa essaawa 12 emabega

    Polof L. Walusimbi

    EKISEERA ekyayise kino ky’ekiseera ekiraga ekikolwa ekyabaddewo oba ekyakoleddwa wakati w’essaawa 12 ne 24 okuva omuntu w’ayogerera okudda emabega.

    Kiragibwa n’ennukuta ‘a’ ey’ekiseera ekyayita gattako n’enduli y’ekikolwa okufuuka ku nkomerero.

    Ebyokulabirako:
    i) N –a-somye ekiro
    ii) Tu – a – yimbye akawungeezi
    iii) W – a – koze bulungi
    iv) Mu –a– baze nnyo eggulo
    v) Ba –a- badde bagenze we natuukidde

    Oluusi ekiseera kino kiyinza okukozesebwa newaakubadde ng’ekikolwa kyabaawo dda kasita omuntu ayogera oba ng’awo oba mu kiseera ekyo w’ategeeredde ekintu ekyo.

    Ekyokulabirako:
    i) Omulenze omusono yagukoze bulungi ddala nti yabadde waakubiri.

    Omulenzi oyo ayogerwako bw’atyo lwa kuba yakomyewo ggulo, so nga yabuuzibwa dda (mu ssaawa ezisukka 24). Naye mukadde we ye yategedde ng’amaze kudda okuva ku ssomero.

    Ekiseera ekyayita oba ekiyise:

    Ekiseera kino kikozesebwa ng’ekikolwa kyakamala essaawa nga mukaaga okubaawo. Tekirina kabonero ka lwatu akakiraga okuggyako enkomerero y’ekikolwa okukyukako nga wano:
    i) Nzize ombuliire
    ii) Tuzze tunyumyemu
    iii) Okomyewo amangwago?
    iv) Mumulabye?
    v) Adduse ekibabu

    Oluusi ekiseera kino kiyinza okukozesebwa ku kikolwa ekibaddewo okumala ebbanga era oboolyawo nga kikyakolebwa.

    Ebyokulabirako

    i) Omwaka guno nsomye bulungi
    ii) Abagwira batukoze bubi nnyo ebiseera bino
    iii) Omwaka guno kasooli abaze nnyo
    iv) Abantu bafudde mukenenya okukamala
    v) Obulamu buzibuwadde ennaku zino.

    Era ekiseera kino kisoboka okukikozesa bwe tuba nga twogera ku kikolwa ekibaddewo mu mwaka guno, mu mwezi guno, mu wiiki eno oba mu lunaku luno newaakubadde nga kisussa essaawa 6.
    Ebyokulabirako:
    i) E Makerere azzeeyo mwaka guno
    ii) Atandise mwezi guno okusoma

    #27661
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Empeerezi esooka ku kigambo esinziira ku nnyingo y’olubu

    Bya Polof. L. Walusimbi

    EMPEEREZI ezisooka ku kigambo mu Luganda ziri ssatu era ze zino; a, e, o.

    Kyokka zino zisobola okubaako ku kigambo oba obutabaako.

    Kyokka empeerezi eno esinziira ku mpeerezi y’ennyingo y’olubu lw’erinnya eryo.

    Empeerezi y’ennyingo y’olubu bw’eba a n’empeerezi esooka eba a. Okugeza;

    A – ba – kazi
    A – ba – ana
    a – ba – samize
    a – ba – lubaale
    a – ba – suubuzi
    a – ba – kazi
    a – ka – mbe
    a – ga – wala
    a – ba – sawo
    a – ka – saawe
    a – ga -sota
    a – ma – gi
    a – ma – yembe
    a – ga – sajja
    n’ebirala.

    Mu mboozi ezo mulimu ennyingo z’olubu zino; ba, ga, ka, ma.
    Published on: Saturday, 22nd January, 2011

    #27730
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Ekikolwa ekiwedde eky’ekiseera ekiyise
    Bya Polof. Walusimbi

    NA kino kiringa ekiseera ekyayise. Ebikolwa byombi ekiyambi n’ekyemala bifaanagana ku nkomerero.
    Ebyokulabirako:
    – Mbadde nsomye
    ebitabo bina.
    – Tubadde tusomye nnyo.
    – Babadde basomyeko katono.
    – Obadde osomye ki?
    – Mubadde musomye kutuuka wa?
    – Abadde akomyewo w’otuukidde.

    Ekikolwa ekiwedde eky’ekiseera ekijja:
    Ekikolwa ekinaaba kiwedde, ekintu ekirala we kinaabeererawo nakyo tukiraga mu ngeri y’emu nga bwe tulabye waggulu.

    Akabonero k’ekiseera ekijja ‘-naa-’ kateekebwa ku kikolwa ekiyambi, ekikolwa ekiwedde ne kiteekebwa ku kikolwa ekyemala.

    Ebyokulabirako:
    – Nnaaba nsomyeko ebitabo bina.
    – Tunaaba tusomye nnyo.
    – Banaaba basomyeko katono.
    – Onooba osomye ki?
    – Munaaba musomye kutuuka wa?
    – Anaaba akomyewo w’onootuukira.
    – Banaaba bagenze we munajjira.
    – Onooba olidde we bunaazibira.

    Published on: Saturday, 24th September, 2011

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 21 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.