Empandiika y’Oluganda

This topic contains 20 replies, has 6 voices, and was last updated by  Omumbejja 8 years, 8 months ago.

Viewing 6 posts - 16 through 21 (of 21 total)
  • Author
    Posts
  • #28057

    Omumbejja
    Participant

    ‎”GGY” Ekozesebwa:
    1. Nga tulaga obupya bw’ekintu.
    2. Nga tulaga ekintu ekyokeddwa oba ekiyidde omuliro…Tokwata ku ssiga, ojja KUGGYA, mwanguwe bannage, ennyumba EGGYA (omuliro).
    3. Tugikozesa nga mu mboozi tulina amakulu gokusenvuza ekintu okukitwala ewalala (to remove). Okugeza: GGYawo entebe eyo, GGYamu essaati, tuGGYEEko akajanja…
    4. Tugikozesa okulaga:enge, effitina oba obukyayi (obuGGYa)…Oyo omwana alina obuGGYa ku munne kubanga amusinga mu kibiina, oyo muGGYa wange..Tugikozesa okulaga embuga eriraanye ennyumba (OLUGGYA) mu lufuutifuuti kyemuyita (courtyard).
    5. Nga tuwandiika akatundu akava ku nsuwa eyamenyeka (oluGGYo). Ate ennyingi ziyitibwa “NGYO”

    “JJ” tugikozesa nga tulina amakulu (to come)
    1. MuJJe wano, nze mbayise.
    2. MuJJe baana bange nnina kyembabuulira.
    3. MuJJa ku makya, mu ttuntu ssiriiwo.
    2. Nga tulaga okwekubagiza olwekyo ekibaddewo (okweJJusa)
    Okulabirako: Nva wa munnaddiini kweJJusa.

    Biwandikiddwa Kibirige Guevara

    #28095

    Ndibassa
    Participant

    ENSIGALIRA
    =====================================
    Nga tetunatandika ssomo lyaffe erikwata ku linnya n’embu zaalyo, ka tusooke tuggyeyo obutonotono obwasigalira mu mpandiika y’olulimi Oluganda entongole.

    ENNUKUTA NY – Soma nnya.

    Eno y’ennukuta esembayo mu walifu y’olulimi Oluganda ng’era ya njawulo nnyo ku nnukuta endala zonna.
    • Etwalibwa okuba ennukuta emu wadde ng’ekolebwa ennukuta bbiri n ne y.
    • Teggumira nga zinnaazo dd, gg,jj,…nyny. Bw’eggumira oyongerako n yokka – nny.
    • Egwa mu kiti kya nakinnyidwa olw’okuba teyatuka ng’okutte ennyindo!
    • Tefugibwa mateeka gafuga nakinnyindwa oba nampawengwa.

    Ekyokulabirako;
    • Okunyiiga – etteeka ligamba nti nakinnyindwa bwe yeegatta n’ensirifu ey’ekinywi tekulembera mpeerezi bbiri wabula ny ezikulembera.
    • Ennyaanya – etteeka ligamba nti nakinnyindwa bwe yeegatta n’ensirifu ey’ekinywi tekulemberwa mpeerezi bbiri wabula ny ezikulemberwa.
    Weetegereze; Buli lw’osanga ennukuta ny mu nyingo y’ekigambo kimanye nti nnukuta emu era ogoberere amateeka ago gokka agafuga okugiwandiika, okujjako ng’ogigasse n’ensirifu endala ey’ekinywi.
    Okug. Mu bigambo kunywanywagala n’okunyweza ennyingo eziwangaala zifugibwa etteeka erifuga

    Wu ne Yi
    Ennyingo zino bwe zigattibwako ensirifu endala ey’ekinywi zifa ne zivaamu ennukuta u ne i.
    Ekyokulabirako;

    Nkya Nkye NKI Nkyo Nkyu.

    Ndya Ndye NDI Ndyo Ndyu.

    Mbwa Mbwe Mbwi Mbwo MBU.

    Mwa Mwe Mwi Mwo MU.

    Ekyokukola;
    Funa olupapula n’ekkalaamu owandiike ennukuta zonna eziri mu walifu y’olulimi Oluganda ozigatteko wu ne yi otubuulire ky’olabye.
    Essomo lyaffe olwaleero awo we likomye.
    Katonda ne Buganda omwoyo gumu n’emmeeme emu,…
    Kalemakansinjo wangaala.

    #28096

    Ndibassa
    Participant

    ENSIGALIRA
    =====================================
    Nga tetunatandika ssomo lyaffe erikwata ku linnya n’embu zaalyo, ka tusooke tuggyeyo obutonotono obwasigalira mu mpandiika y’olulimi Oluganda entongole.

    ENNUKUTA NY – Soma nnya.

    Eno y’ennukuta esembayo mu walifu y’olulimi Oluganda ng’era ya njawulo nnyo ku nnukuta endala zonna.
    • Etwalibwa okuba ennukuta emu wadde ng’ekolebwa ennukuta bbiri n ne y.
    • Teggumira nga zinnaazo dd, gg,jj,…nyny. Bw’eggumira oyongerako n yokka – nny.
    • Egwa mu kiti kya nakinnyidwa olw’okuba teyatuka ng’okutte ennyindo!
    • Tefugibwa mateeka gafuga nakinnyindwa oba nampawengwa.

    Ekyokulabirako;
    • Okunyiiga – etteeka ligamba nti nakinnyindwa bwe yeegatta n’ensirifu ey’ekinywi tekulembera mpeerezi bbiri wabula ny ezikulembera.
    • Ennyaanya – etteeka ligamba nti nakinnyindwa bwe yeegatta n’ensirifu ey’ekinywi tekulemberwa mpeerezi bbiri wabula ny ezikulemberwa.
    Weetegereze; Buli lw’osanga ennukuta ny mu nyingo y’ekigambo kimanye nti nnukuta emu era ogoberere amateeka ago gokka agafuga okugiwandiika, okujjako ng’ogigasse n’ensirifu endala ey’ekinywi.
    Okug. Mu bigambo kunywanywagala n’okunyweza ennyingo eziwangaala zifugibwa etteeka erifuga

    Wu ne Yi
    Ennyingo zino bwe zigattibwako ensirifu endala ey’ekinywi zifa ne zivaamu ennukuta u ne i.
    Ekyokulabirako;

    Nkya Nkye NKI Nkyo Nkyu.

    Ndya Ndye NDI Ndyo Ndyu.

    Mbwa Mbwe Mbwi Mbwo MBU.

    Mwa Mwe Mwi Mwo MU.

    Ekyokukola;
    Funa olupapula n’ekkalaamu owandiike ennukuta zonna eziri mu walifu y’olulimi Oluganda ozigatteko wu ne yi otubuulire ky’olabye.
    Essomo lyaffe olwaleero awo we likomye.
    Katonda ne Buganda omwoyo gumu n’emmeeme emu,…
    Kalemakansinjo wangaala.

    #28104

    Basajjamivule
    Participant

    Bibawandikirwa: Ssentamu Ssewandagi

    EMPANDIIKA Y’OLULIMI OLUGANDA ENTONGOLE
    ================================
    Mu ssomo lyaffe OKWAWULA EBIGAMBO twalaba ekiti eky’okubiri — ebigambo ebigattibwa n’ebitagattibwa. Ekikolwa n’obugambo obuyunzi/nakataba, entabaluganda ne nakasiba.
    Olulimi Oluganda yatuwa emisomo ena okunnyonnyola; Ekikolwa, nakataba, nakasiba n’entabaluganda.

    Mu musomo ogwasooka gwali ku kikolwa — ekikolwa kye kintu ekituukibwako embeera y’okukola. Ebikola bya biti bibiri;
    1 – Ebikolwa ebyemala.
    2 – N’ebikolwa ebiteemala.

    Mu gw’okubiri twayiga amakulu g’entabaluganda. Eno ye nakasigirwa etabaganya erinnya n’ekikolwa oba erinnya n’erinnya ebibeera mu mboozi.
    Twayiga ne nakasiba — eno ye nakasigirwa ekakasa ekibeera kyogerwako.

    Omusomo ogw’okusatu guno yagussa ku kisenge ekikye wamu n’ekyange, gwali ku nakasigirwa — ekigambo ekisigira oba ekiyimirirawo mu kifo ky’erinnya.
    Yatandika okutuyigiriza ku bika bya nakasigirwa ng’atandika ne nakasigirwa endazi. Zino ze zi nakasigirwa eziraga erinnya we liri oba welokolerwa — o, no ne li.

    Omusomo ogw’okuna gwabadde ku nakasigirwa ezibuuza(embuuzi). Zino ze zi nakasigirwa eziraga okubuuza kw’erinnya oba ekikolwa we kikolerwa oba kye likola. Nakasigirwa zino zeyolekera mu nnyingo ezibuuza — wa, ddi, ki, ni, tya, meka.
    Ekikulu enyo kye twayize ku nakasigirwa embuuzi lwe Luganda olwogerebwa ensangi zino nga olusinga bwe luli olufu ennyo! Bangi ku boogera n’okuwandiika olulimi Oluganda bateeka nakasigirwa embuuzi mu mboozi so nga zibeera mu bibuuzo mwokka!

    Eby’okulabirako;
    1 – Njagala okumanya ANI yalidde emmere gye twaterese. Mu mbeera yaffe ekyo kye tumanyi, naye kikyamu. Ekituufu kibeera; Ani yalidde emmere gye twaterese?
    2 – Baana mwe mumbuulire ANI yabalagira okuzannyira mu ddiiro lyange. Ekyo nawulira Omuzaana Sserunjogi Betty Muwanguzi akigamba abaana, nsuubira leero ayize ekituufu; ate gwe?

    Eky’okukola;
    Tereeza emboozi ey’okubiri mu ngeri bbiri.

    Ebya nakasigirwa bikyali bingi Olulimi Oluganda ajja kuba ng’abituyigiriza mpola mpola nga Katonda bw’anamusobozesa.
    Leero ffe ka tweyongereyo n’omusomo gwaffe OKWAWULA EBIGAMBO.

    Nakasigirwa ezeemala — Nze, gwe, ye, mwe, ffe, bo. Ziwandiikibwa zokka tezigattikwa na kigambo kyonna mu mbeera yonna.

    Eby’okulabirako;
    • NZE gw’agambye.
    • GWE obadde wano?
    • Omusajja oyo YE yamutumye
    • BO be b’ani?

    Nakasigirwa endazi — ono, oyo, oli. Nazo ziwandiikibwa zokka era tezigattwaako kigambo kirala mu mbeera zonna.

    Eby’okulabirako;
    • Omusajja ono (oyo, oli) aluwa?
    • Emicungwa gino (egyo, giri) giwooma.
    • Ensawo eno (eyo, eri) egudde.

    Nakasigirwa ezibuuza (embuuzi) nazo tezigattikwa na kigambo kirala.
    • ANI oyo?
    • KI kyo?
    • Ogenda WA?

    Nakasigirwa ez’obwanannyini — nazo tezigattikwa mu mbeera yonna.
    • Ekyo KYAFFE ky’otwala.
    • Ensi ZE ziruwa?
    • Akambe KO kasala nnyo.

    Ebyo bye tuyize… Bigambo bikulu…
    Katonda ne Buganda omwoyo gumu, n’emmeeme emu,…

    Gwe Musota. Gwe Ngo. Alimwa]]anga alitulaba! Ayi Ssaabasajja Kabaka wangaala.

    ………………………………………………………………………………

    Ekyokulabirako;
    • KITALO nnyo ssebo!
    • YI nga saamanya!
    • BAMBI ng’olabye!
    N’amaloboozi agalaga okwewunya oba okukungiriza nago gawandiikibwa gokka.

    Ekyokulabirako;
    • Iiiiiii…
    • Eeeee…
    • Oooooo…
    • Woooo…

    Nakalazi;
    Nabwo buwandiikibwa bwokka.

    Ekyokulabirako;
    • Atudde KU ntebe.
    • Abeera eri E Kampala.
    • Bali MU Ddiiro. Abitadde KU kyoto.

    Obugambo obuyunzi;
    Buno nabwo tebugattibwa ku kigambo, okuggyako ng’ennukuta esemba ku Nakataba n’ekulembera ekigambo (ekitali linnya lya nkalakkalira) mpeerezi. Olwo tubigatta nga tweyambisa etteeka ly’akasukkize.

    Ekyokulabirako;
    • Omuwala NE Ssonko (omuntu). • Omuwala N’Essonko (ery’ekkovu).
    • Olwo ATE nze?
    • Ye yavuga NGA Lubyayi yeebase.

    Mu kufundikira;
    Ebigambo byonna mu Luganda biwandiikibwa byokka okuggyako ng’ennukuta esemba ku kagambo n’ekulembera ekigambo ekiddako zombi mpeerezi. Olwo bigattibwa nga tweyambisa etteeka ly’akasukkize. Si ku buli kigambo, naye ebimu.
    Naddala ku;
    • Nakataba.
    • Nakasigirwa.
    • Entabaluganda.
    Ebigambo ebiddirira bitera kuba BIKOLWA (Newankubadde nga n’amannya agatali ga nkalakkalira gakozesa etteeka ly’akasukkize)
    Ekyokulabirako;
    • Omusajja N’Abaana be.
    • Omuyizzi N’Embwa ye.
    • Yali Musajja ngA Attuuludde – ng’attuuludde.
    • Twamuyita nE Atajja – n’atajja.
    Weetegereze;
    Ebigambo ebigattike SSERUGATTIKA naddala amannya. Ebigambo bwe bigattibwa okufuulibwa erinnya olwo biwandiikibwa ng’ekigambo ekimu.

    Ekyokulabirako;
    • Ssanyu lya bazadde bwe bigattibwa okukola erinnya – Ssanyulyabazadde.
    • Ebya okulabirako, lino linnya – Ebyokulabirako.
    Wabula empeerezi esemba ku kigambo ekikulembedde n’esooka ku kigambo ekiddako bwe zibeera tezifaanagana eddoboozi ly’empeerezi esemba lifa ne lisikizibwa ery’ekulembedde ekigambo ekiddako.
    Ekyokulabirako;
    • Enjala gwE OmuwaddE Akatebe bwe tuwandiika erinnya – GwOmuwaddAAkatebe.
    Amasomo amalala mangi agaasooka lino gasangibwa ku kisenge kyange n’ekya mukwano gwange Olulimi Oluganda.
    Katonda ne Buganda omwoyo gumu n’emmeeme emu; laba omwoyo gwa Buganda ogutafa!

    Awangaale Mufumbyagganda Nantabalira Batyabi.

    #28105

    Omumbejja
    Participant

    BANAFFE TUBEBAZA ABAFUBA OKULWANIRIRA OLULIMI LWAFFE OBUTAZIKIRIRA

    Ssentamu Ssewandagi

    November 18 at 7:26am ·
    TUTEREEZE ENJOGERA Y’OLULIMI LWAFFE OLUGANDA (BIKYUSIDDWAMU KATONO).

    Byawandikibwa Prof. Dan D. Ntanda Nsereko
    ======================================
    Mu bbanga ttono eryakayita waliwo enjogera
    ezisenseredde olulimi lwaffe Oluganda, kyokka nga
    nkyamu era nga ziwaawaaza amatu. Enjogera zino
    tuyinza okuzigeraageranya n’akawuka ka nnamuginga
    akalumba era ne kasenkenya omuti empolampola
    kimomozo ate ku mbiro; ogenda okwejjuukiriza ng’omuti gusigadde kiwowongole.
    Enjogera zino tuteekwa okuzirwanyisa n’amaanyi, sikulwa ng’olulimi lwaffe lusaanawo nga jjajjaffe M.B. Nsimbi bwe yawanjaga mu 1950 (Olulimi Oluganda), “Tusaanidde okutakabanira olulimi lwaboffe Oluganda luleme kufaafaagana n’okubula akagenderere, so nga Abaganda bannannyinirwo bakyaliwo.
    Wansi ndaga ezimu ku njogera ezo enkyamu awamu
    n’ezo ze nkakasa okuba entuufu.
    1. Enjogera enkyamu Enjogera entuufu
    • Njagala lya mmere. • Njagala kulya mmere
    • Njagala ggenda • Njagala kugenda.
    • Njagala ssoma • Njagala kusoma.
    • Njagala yyiga • Njagala kuyiga.
    2. Nze ali mu kiyungu kikyamu, tugamba nti, NZE NDI MU KIYUNGU.
    • Nze eyabadde avuga kikya, tugamba nti, NZE NABADDE NVUGA.
    • Nze amwagala kiky amu, tugamba nti, NZE MWAGALA.
    • Nze ayimba kikyamu, tugamba nti, NZE NNYIMBA.
    • Ffe abayimba kikyamu, tugamba nti FFE TUYIMBA.
    • Ffe abaasinze kikyamu, tugamba nti FFE TWASINZE.
    • Si ffe abasokoolamu ebintu emboozi eyo nkyamu, tugamba nti, SI FFE TUSOKOOLAMU EBINTU.
    • Gwe asinga kikyamu, tugamba nti GWE OSINGA.
    • Gwe eyatutte ensimbi zange kikyamu, tugamba nti GGWE WATUTTE ENSIMBI ZANGE.
    • Ggwe asabye kikyamu, tugamba nti GGWE OSABYE.
    • Mmwe abaleese emiti kikyamu, tugamba nti MMWE MULEESE EMITI.
    3. Enjogera enkyamu mu bunyukuta obutono. Enjogera entuufu mu nnene.
    • Ndi mu kugenda Kampala. ηηENDA KAMPALA.
    • Tuli mu kusoma bitabo. TUSOMA BITABO.
    • Bali mu kutuula. BATUDDE.
    • Tuli mu kuzuukuka. TUZUUKUSE.
    • Abo abali mu kubba ebikajjo byange. ABO ABABBA EBIKAJJO BYANGE.
    • Ensigo eziri mu kutundibwa mbi. ENSIGO EZITUNDIBWA MBI.
    4. Enjogera enkyamu mu bunyukuta obutono. Enjogera entuufu mu nnene.
    • Waliwo kye sitategedde. WALIWO KYE SITEGEDDE.
    5. Enjogera enkyamu mu bunyukuta obutono. Enjogera entuufu mu nnene.
    • Miriyooni. KAKADDE.
    • Bbiriyooni. KAWUMBI.
    • Katabalika (tuliriyooni). KASE(DDE).
    • Katabalika (tuliriyooni olukumi). KAFUKUNYA.
    6. Enjogera enkyamu mu bunyukuta obutono. Enjogera entuufu mu nnene.
    • Ensonga lwaki nzize. EKINDEESE /ENSONGA ENDEESE OBA KYE NVUDDE NZIJA.
    • Mmanyisa olunaku ddi lw’olijja. MMANYISA OLUNAKU LW’OLIJJA.
    • Mmanyisa ekifo wa gy’ogenda. MBUULIRA GY’OGENDA.
    • Mmanyisa omuntu ani gw’oyagala. MBUULIRA ANI GW’OYAGALA.
    • Mmanyisa ensonga ki ekuleese. MBUULIRA ENSONGA EKULEESE.
    • Mmanyisa langi ki gy’oyagala. MBUULIRA RANGI GY’OYAGALA.
    • Yiga engeri ki ey’okulima katunguluccumu. YIGA ENNIMA YA KATUNGULUCCUMU.
    • Simanyi kiki kinaabaawo. SIMANYI KINAABEERAWO.
    • Omuwendo gw’ente mmeka eziriwo. MBUULIRA OMUWENDO GW’ENTE EZIRIWO.
    Ebiddako bisange mu bbanguliro OLULIMI N’EBYOBUWANGWA.

    Ssaabasajja Kabaka awangaale.

    #28117

    Basajjamivule
    Participant

    by Ssentamu Ssewandagi ‎OLULIMI N’EBYOBUWANGWA
    ·
    TUTEREEZE ENSOBI

    1. “…mu mwaka gwa nkumi bbiri kkumi na bbiri… ; ebyalo lukaaga mu bbiri…”

    2. “…twebaza ba sponsors BAKWANO b’obwakabaka…”

    3. “…enkulungo eyo Kabaka agiyitamu BUKOLOKOLO…”

    4. “…njagala okwebaza omuvubuka oyo kuba mwana muto…”

    5. “…mbakubira omulanga ogutakungula mwongere…”

    6. “…ntwala omukisa guno okukunga…”

    Ensobi zino zonna zaakoleddwa aboogezi ab’enjawulo be saagadde kwatula mannya ku mukolo gw’okutongoza

    OMWETOOLOOLO NTAWETWA bakira gwe bayita ENKULUNGO NANTAWETWA.

    Ka nsooke n’ekisembyeyo;

    OKUKULUNGA is to make oval like.

    OKWETOOLOOLA is to go round.

    NANTAWETWA is Kabaka’s name.

    1. Abayizi baffe mu bbanguliro OLULIMI N’EBYOBUWANGWA mujjukira bino twabiyiga wansi w’omutwe;

    ERINNYA N’EMBU ZAALYO. Kikyamu okugamba nti omwaka nkumi bbiri mu kkumi na bbiri.

    • Kituufu omwaka ogwo guli gumu naye nga gwa NKUMI BBIRI MU KKUMI NEEBIRI – emyaka!

    • Hon Betty Nnambooze yabadde mutuufu okugamba nti “…ebyalo lukaaga mu bibiri.” Eyeefudde amuwabula mbu LUKAAGA MU BBIRI yabadde mukyamu. Bwe ziba mbuzi awo obeera mutuufu!

    2. Kikyamu okugamba nti Bakwano ba… ogumu gubeera mukwano. Emingi ne gibeera mikwano.

    Ekituufu kyandibadde MIKWANO GY’OBWAKABAKA… Ensobi ezigwa mu ttuluba lino wadde twalaba eziwerako,

    naye olumu nawulira mukwano gwange ku radio ng’agamba nti MWANNYINAZE WE / WANGE.

    Ekyo twalaba nga kikyamu, owange abeera MWANNYINAZE ow’oli bwe mba mwogerako abeera MWANNYINA.

    3. BUKKOLOKKOLO kikozesebwa ku bintu ebitwalibwa nga biramba n’ekikolo.

    Awo Beene yandiyiseewo MULAMBAALO naye nga bw’atalambaala ayitawo BUTEREEVU. Tukozesenga nnyo “vocabularies” ezo zokka ze twekakasa amakulu.

    4. Omuntu bw’aba akula asooka kuba MUTO, n’afuuka OMUWALA OBA OMULENZI. N’AVUBUKA. N’AKULA, N’AKADDIWA.

    Tasobola KUVUBUKA ng’ate mwana muto! Child youth? No!

    5. Ne 6 ka tubigatte wamu;

    Teriiyo mulanga mulungi. Omulanga ogukungula gwegwo omuntu gwatema awatali kibi kimutuuseeko.

    Okukunga kubeera kubika omufu omukise. Omuntu asobola okufa nga yenyaze ne musirika okutuusa ng’awedde okulongoosa.

    Kati awo omu afuluma n’atema omulanga! Kye bayita okukunga.

    Okukunga era kisobola okutegeeza okukuŋŋanya abantu olw’empaka PANDA GARI n’obatwala okubakozesa ky’oyagala.

    Naye okubayita olw’obulungi ng’oyagala babeeko kye bakola ng’okwetaba mu mbiro KABAKA’s RUN okwo bakuyita KUKUBIRIZA oba KUKUMAAKUMA.

    Ensobi nga zino okuzeewala teekateeka by’ogenda okwogera SPEECH naddala ng’oli mu kiti ekissibwamu ekitiibwa kubanga abayiga okwogera n’olulimi enfunda ezisinga bakoppa gwe.

    Bwe bakuwabula kkiriza, okulemera ku nsobi tekugituufuwaza ate n’okukyusa tekikusiruwaza!

    Eggulo Omukungu Kirwana Ssozi yawabudde ku mwetooloolo NTAWETWA naye era omukulu omu ng’enkola ye bweri yagaanye okukyusa n’asigala ku NANTAWETWA. Okuwabula si KUVUMA!

    Mufube okukuuma Oluganda olwaffe olw’edda olusinga endala empya.

    Katonda kuuma Abaganda n’ebyabwe, otutaaseeko abatuli obubi.

    WANGAALA AYI BEENE.

Viewing 6 posts - 16 through 21 (of 21 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed