Enkuluze Y’Oluganda Efulumye

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebitabo / Books Enkuluze Y’Oluganda Efulumye

This topic contains 5 replies, has 5 voices, and was last updated by  Musajjalumbwa 8 years, 4 months ago.

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • Author
    Posts
  • #19088

    Musajjalumbwa
    Participant

    Enkuluze y’Oluganda eyamba abasuubuzi, abayizi n’abalambuzi etongozeddwa
    bukedde Wednesday, 17 June 2009
    BW’OBA oli Muganda oba ng’omanyi Oluganda naye ng’okaluubirirwa okuyiga Olungereza, oba ng’omanyi Olungereza naye ng’Oluganda tukutawaanya ekibiina ky’olulimi Oluganda kikukubye enkata.

    Kiwandiise enkuluze y’ebigambo, ewa ebigambo by’Oluganda, amakulu gaabyo ate ne kibivvuunula mu Lungereza.

    Ekitabo kino ekyakubiddwa aba Fountain Publishers kati kitundibwa mu matundiro g’ebitabo wonna mu ggwanga.

    Ekitabo kino ekituumiddwa A Concise Luganda-English Dictionary oba Enkuluze y’Oluganda n’Olungereza Enfunze kiriko emiko 362, kinnyonnyola ebigambo ebisoba mu 15,000 ebisinga okukozesebwa mu lulimi Oluganda n’Olungereza olwa bulijjo.

    Kyakuyamba nnyo abalambuzi abajja mu Uganda abaagala okukwatagana ne bannansi; olw’okuba Oluganda lwe lulimi lw’obusuubuzi mu ggwanga, kijja kuyamba abasuubuzi okuwuliziganya obulungi ne bakasitoma baabwe abatamanyi bulungi Luganda.

    N’olwekyo bw’oba okola mu katale nga Owino oba Shauriyako oba naawe atagwa butale bwa mubuulo enkuluze eno ogyetaaga nnyo.

    Ate era olw’okuba mu Buganda musenzeemu abantu ab’amawanga gonna, olw’okwagala okugonza obulamu ku kyalo kw’obeera kwe basinga okukozesa Oluganda, naawe weetabe bulungi mu nkiiko z’ekyalo era owe ebirowoozo byo bitegeerekeke bulungi, ekitabo kino okyetaaga nnyo.

    Abawandiisi baakyo omuli Arthur Bagunywa, Stephen Kyakulumbye, Sam Muwonge ne Wilson Ssentoogo bagamba nti baalabawo obwetaavu bw’abantu okuyiga n’okumanya ennimi zombi (Oluganda n’Olungereza) y’ensonga lwaki baakiwandiika.

    Bagamba nti ekitabo okusinga bakiwandiikidde masomero, wabula engeri gye kitegekeddwaamu esikiriza n’omuntu omulala yenna okukisoma, ye ate essomero liri buli wamu okutandikira mu maka gy’ova, mu kkubo gy’oyita, mu sineema n’awalala!

    Ate engeri ensangi zino abayizi ba pulayimale gye basomesebwa mu Luganda naddala mu masomero ga Buganda, n’okuba ng’Oluganda lufuuse olulimi olw’ettunzi kubanga alusoma ayanguwa n’okwanguyirwa okufuna emirimu mu busuubuzi, ebyenjigiriza, mu mikutu gy’ebyempuliziganya n’awalala, kyetaagisa buli ssomero okugula ekitabo nga kino.

    Ekitabo kyawuddwaamu ebitundu bibiri, ekisooka kiwa ebigambo by’Oluganda olwo ne kibivvuunula mu Lungereza. Mu kitundu ekyokubiri, abawandiisi basooka kuwa bigambo bya Lungereza ne balyoka babivvuunula mu Luganda.

    Ekisinga okusanyusa kwe kuba nti bw’okisoma n’obwegendereza kikuyigiriza empandiika y’Oluganda, ng’ogoberera amateeka gaalwo nga bwe galambikiddwa okuva mu 1947.

    Kikuyigiriza enjatula y’ebigambo, ennyingo z’ebigambo n’okuzigatta naawe ofunemu ekigambo ekikyo, na lwaki ekigambo ekimu okiwandiika oba okisoma mu ngeri gy’okisomamu.

    Ennaku zino abaana bangi bakulidde mu mizigo, ate mu mawanga amatabule. Kale ebigambo n’empisa ezimu ez’obuwangwa zigenda zifa. Naye ekitabo kikuyamba bw’oba muzadde okuyigiriza omwana wo olulimi lwe ng’ageraageranyiza ku bintu by’alaba bulijjo.

    Okugeza mu kifo ky’okwogera ku bbaasi eya kalina kati ajja kusobola okugiyita kabandole, ebintu by’omu nnyumba tajja kukoma kubimanya mu Lungereza lwonna, naye kati alina w’ajja okuggya amannya gaabyo mu Luganda.

    Ajja kumanya ebifa ku buwangwa bwe, okugeza nti Kiyini y’abamba amaliba ga Kabaka; endwadde ez’amangu ezituluma katugambe ekizimba ; ebitundu by’omubiri nga essaabiro ate abiyige ne mu Lungereza, n’ebirala.

    Ebigambo byonna tebiriimu, kuba engeri Oluganda gye lukula ennyo, lulina ebigambo ebisoba mu 50,000.Wabula ekitabo kikubuulira wa oba mu lulimi ki ebigambo ebimu gye byava. Kikuyambako n’okukulaga engeri gy’oyinza okubikozesa mu mboozi osobole okubitegeera amangu.

    Wadde waliwo ebimu ebyasobye, okugeza omulogo n’omusezi bombi okubayita ‘witch doctor’ oba ebigambo ebimu nga akakulwe (tadpole) okubulamu, naye eno ntandikwa nnungi.

    Aba Fountain Publishers era bafulumizza ekitabo ekirala, nga nayo nkuluze ennyonnyola ebigambo mu Luganda nga bw’ebikyusa mu Lungereza. Ekitabo kino kituumiddwa Standard Luganda – English Dictionary.
    Kino kyo kyawandiikiddwa Austin Bukenya ne Leonard Kamoga. Bw’oba oyagala okukebera amangu ekigambo ky’Olungereza oba Oluganda, omanye amakulu gaakyo oba ne kye kitegeeza mu lulimi olulala osoma kitabo kino.

    Kirungi nnyo eri abayizi ba haaya ne yunivasite naddala bw’oba oyagala okumanya ggulaama w’olulimi, enkola y’ebigambo by’Oluganda, lwaki enzirugaze gundi ogissa mu kifo gundi.

    Kijja na kukuyamba okumanya enkozesa y’obubonero mu mboozi z’Oluganda, wamu n’amakulu g’ebigambo by’okozesa mu bukyamu, by’oludde okuwulira oba by’otowulirangako.

    Ebitabo bino byombi ntandikwa nnungi mu kunyweza olulimi Oluganda. Kati amatendekero aga waggulu gayinza okukolayo amasomo agayigiriza ebyabizinensi, okuvuga ebidduka, okuvuba, okutunga, okubajja oba okukanika ne gasomebwa mu Luganda nga gakimanyi nti waliwo enkuluze z’olulimi abayizi ze bayinza okugoberera.

    #24005

    Ndibassa
    Participant

    Buganda eno yesaawa yo okuva mu ddubi gyebagenze bakuziika babeere abantu bo ddalaabeyita abaganda ate abamala nebakwekyusiza olwensonga zaabwe zebaba bakulembezza oba babeere bagwiira bokkiriza okusenza nebefuula mukoko oba olukokobe , eno saawa yakuzaayo Buganda ku map tetubonaboneredde bwereere tujja kwenunura, kyetwetaaga kwegatta netukulembeza , obwakabaka bwaffe ebyobuwangwa ne egwanga lyaffe bingi byetujja okutukako
    ddembe lyetwetaaga

    #24030

    Mulongo
    Participant

    Bannaffe mwebale omulimu guno, era mukulike nnyo. Nkuluze tekoleka, mwebale kubaako kyemukoleera eggwanga lyammwe.

    #24035

    Omumbejja
    Participant

    Tuyozayoza abaami bano, nebonna ababayambyeeko okwefiriza obudde okulaba nti bakola omulimu ogunayamba Obuganda wamu nokuwa abaana baffe ekitabo nga kino okubayamba mu lulimi, naddala abesanga nga tebakulidde ka
    Tubebaza okutuzaamu amaanyi ngatulaba nga Nyaffe Buganda buli lukya ekubibwa abantu ababi , temujjanga okwo omulimu gwammwe gusimibwa , mwebalege.

    #27281

    Ndibassa
    Participant

    Tubayozayoza banaffe abalwanirira obuganda mu buli ngeri yonna, kubanga waliwo abatalina kyonna kyebalaga nti kyaabwe nebalowooza nti banajja mu bantu abalala bonoone ebyaabwe .
    Era nga kino tukisaako essira abaana baffe basomesebwe muluganda ngolulimi lwaabwe olusooka nge nsi zonna bwezikola ngojeeko nti ensi zabeeru nennimi endala tebazikozesa nakatono okujjako buli omu okulwesomesa yekka nga liko ensi endala gyayagala okugendamu naye nga abaana baabwe babasomesa okuva wansi okutuuka waggulu mululimi lwaabwe , okusobola okuba nguyiza ate okuletera abaddugavu ennimi zaabwe kubanga baali bagala kweyanguyiza bulamu bwaabwe ,nokugubya wamu nokubuza buza abaana baffe nga wananonyeza because nga ye owuwe amusomesezza mululimi lwe lweyazalirwaamu okutuusa lwamalako amatendekero agawaggulu, ate nasigala nga ne bwaatuuka okukola akolera mululimi lwe kale obulamu obwangu bwebutyo tebayagala nabaddugavu abalina amagezi nabo babeere nabwo
    singa okumanya ennimi engenyi ge magezi singa amawanga ga beeru abakozesaennimi zaabwe zokka singa tebalina nkulakulana yonna

    Enkuluze y’Oluganda empya ewedde, Ssaabasajja agenda kugitongoza

    BYA KAWUMA MASEMBE

    Ekitabo, Enkuluze y’Oluganda olw’Ennono

    (Dictionary y’Oluganda) ekipya, kiwedde, era nga kigenda kutongozebwa mu biseera ebitali by’ewala.
    Enkuluze y’Oluganda eno ennogooseemu (Volume II),

    ewandiikiddwa Ekibiina ky’Olulimi Oluganda,

    mu kaweefube w’okuggyawo ebigambo by’olulimi Oluganda, ebibadde bikozesebwa mu njatula ne mu mpandiika enkyamu.

    Omu ku bali ku kakiiko akafuzi ak’Ekibiina ky’Olulimi Oluganda, oweek. Arthur Bagunywa, ategeezezza Ggwanga, nti Oluganda lubadde luwandiikibwa era nga lwogerwa matankane, ng’ensobi esinga kuva ku kya butabaawo kitabo kya nkuluze ya lulimi luno, awandiika oba ayogera gy’ayinza okujuliza.

    “Ekitabo kino kyamaze okufulumizibwa, era kati kirindiridde lunaku lwokka Sssabasajja Kabaka, era omuyima w’Ekibiina ky’Olulimi Oluganda kukitongoza mu bbanga eritali ly’ewala. Mu kukifulumya twatunuulidde ebintu bingi, naddala mu njatula n’engattulula y’ebigambo, ennukuta mu nsibuko n’empandiika yaazo, ensengeka n’entuuma y’ebigambo. Tuli bamativu nti ekitabo kino, Enkuluze y’Oluganda, kijja kuyamba omuntu yenna anaakyeyambisa okutereeza Oluganda mu nnono yaalwo.” Bw’atyo oweek. Bagunywa bwe yannyonnyodde.
    Yagambye nti enkuluze eno empya (Volume II) ye y’abo abamaze okukakasa nti basobola bulungi okwogera Oluganda,

    okwawukana ku Nkuluze y’Oluganda eyasooka (Volume I) ey’abaakayiga Oluganda era nga nayo nga yawandiikibwa Ekibiina ky’Olulimi Oluganda. Yasabye abo bonna abagenda okukikozesa beekenneenye nnyo enjatula y’ebigambo, naddala abawandiika ebitabo, awamu n’amawulire mu lulimi Oluganda.
    Yagambye nti oluvanyuma lw’ebitabo byombi (Enkuluze y’Olulimi Oluganda Volume I ne II) okufuluma, tewali ajja kwekwasa na kumala gakozesa bigambo oba ennukuta enkyamu mu bigambo by’olulimi Oluganda, wabula ekigendererwa kye nga kya kwonoona lulimi.

    #28044

    Kalibattanya
    Participant

    Awangaale Omutanda.

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed