Enkungubaga Ya Baganda

  • This topic has 6 voices and 5 replies.
Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • Author
    Posts
  • #18779
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Ebisera ebyedda omuntu bweyafanga , nga emikolo gyonna emirala giyimirira mu family. Nga kukyaalo tewali alima wadde okukola omulimu omunene mu week eyo wadde okukola ekivvulu. Naye kati bwembadde e Buganda nga ku kufa kwenyini kwekuli e bidongo. Olwo ettamiro neliyitirira, amazina negabera mu kidaala. Nga ayita mu kubo tamanya nti waayita waliwo afudde, nakyama nga alowooza nti waliwo kukyakala so si nnaku yakufiirwa. Edda twalabanga Abalulu nAbalugbara nga bebazina nga bafiiriddwa nga bwebabukirabukira ku malaalo. Eyo nga ye mpisa yabwe, yadde nga ffe tetwagitegeera. Nga tulabanga ebisesa nokusesa, omuntu ateekwa okuba omunaku ate okuzina ngaali mu ssanyu. Oluusi tugamba nti abeeru tebalina nnono, naye nze bemanyi bembuzizakko bagamba kya bukyaayi omuntu okuzinira ku ntaana ya munne nga afudde. Ebya Abaganda byebakola kati bitegeeza ki? Kubanga eyo ssi ye nnono yaffe.

    #22077
    MulongoMulongo
    Participant

    Nze ndowooza Abaganda engeri gyebafudde ennyo mu nsangi zino, emyooyo gyaabwe gyatendewererwa. Ngenda nengamba nti oba bakoowa okwebbika mu nnaku? Njagala okulowooza nti bwebassaako enyimba mu kufiirwa nokwaabya enyimbe, tegaba masanyu wabula okugezaako obutabbira mu buyinike obwafuuka obwa buli lunaku.

    #22078
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Ekikola obubi nemirimu mu nnyimbe abantu tebakyakola, tekyali biri ebyedda ebya bako abaavu abaasa enku. Kati bonna bajja nga bagenyi. Wali nno abakyaala, ate ddala mu nyimbe ezaaba, bajja banekanekanye mu ngoye zaabwe eze bbeyi nga ne nviiri bazikoledde mu saloon. Nebalyoka babawa obutebe nebalinda okugabulwa. Abafumbi bapangisa bapangise, wamu nabagabuzi. Ne band oba abebyuuma ebidongo naabo babeera bapangise. Era abantu olumala okulya nokusanyuka nga bejjawo, tewakyaali bya kwooza masowani. Tuli kumpi nakwerabira lwaki Abaganda twaabya ennyimbe.

    #22195
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Abafirwa benyini basawo enyimba mbu ku lwa bantu naye nga bino ebintu byebibaga ekubo eligenda okutwawula nga oboluganda, nenga Abaganda. Kuba mu lumbe abamu bagenda kunakuwala ate nga abalala bagenda kuwulira muziki nakulya life.si birungi.

    #22299
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Ekintabuli kiyitiridde ate kuba ffe Abaganda tukkirizza buli kimu nekitali mu bulombolombo bwaffe okukiyingiza, kyoova olaba nti oli olumubikira nga booking-A saluni nga mala kwezigula nga genda nga yekoppa nolugoye olusingayo ebbeeyi wano womugambira nti ogenda kumukolo mukyaamu eno tufiriddwa muntu agenze takyadda sosi mbaga nakuzalibwa ate bosanga abo kumbaga nga basiwuufu people are so messed up

    #27958
    MachatiMachati
    Participant

    OKWABYA ENNYIMBE: Abantu bakukyusizza, kati bakubayo bidongo bya mbaga
    Jun 14, 2012
    [attachment=2566]Okwaabya.jpg[/attachment]

    Omukulu w’Ekika ng’asumikira nnamukadde

    Bya ANGEL LUBOWA

    WAKOMA ddi okwabya olumbe? Ggwe eyalubaddeko byatambudde bitya? Nze lwe nasuzeemu e Bulwanyi wiiki eri abantu baasuze mu ngatto nga disiko ekoona, abantu ne bazina “Bolingo” okukeesa obudde!

    Ekyukakyuka n’enkulaakulana ebizze mu ggwanga mu myaka 50 gye twefuze tebikyusizza nnyambala yokka wabula bitwaliddemu n’obuwangwa.

    Omulaguzi ayinza okugamba nti mu Buganda, okwabya ennyimbe bw’aba mulwadde asigaddeko kikuba mukono! Emikolo egisinga egyakolebwanga mu kwabya ennyimbe abamu bagidibizza, kati liba bbinu lyennyini, endongo esindogoma abantu ne bacakala obudde kukya; abantu tebakyabamwa mitwe kumalako nviiri era omukulu w’oluggya gye twabadde e Bulwanyi yayombye ne bawala b’omugenzi Lafayiri ‘ng’abaleetako olugezigezi!’

    Olukiiko lw’Abekika olusookawo akawungeezi basobole okumanyagana, abavubuka baaluzize nga bagamba nti baabadde basanga obuzibu okutuula mu nsiisira y’omukulu w’Ekika ng’amagulu geefunye ate nga naye yabadde ayogeza kkaaze ng’abanenya obutatambuza bulungi lumbe mu mitendera era yabaweesezza engassi ya mukono gwa nte!

    Ekirala ekyalemesezza abaana n’abazzukulu okwetaba mu lukiiko lw’okumanyigana lwakuba lwatandise kikeerezi ng’abasinga omwenge gwabalinye dda ku mitwe ate ng’abalala bakwataganyeeko n’abawala, bakuba ndongo awatali kutya nti abamu ku be baabadde batiguka nabo babalinako oluganda!

    Eyo y’enjabya y’ennyimbe empya eriwo ennaku zino! Abayitibwaabakulu b’Ebika, abavubuka babalengezza nnyo, ndowooza n’abasinga engeri gye bali abakadde ate abaavu oluusi abajja basotta obugaali oba okusooka okusaba ssente ezinaabapakira mu takisi osanga ye kanaaluzaala.

    ENSI EKYUSE OBA BANTU BE BOONOONESE?

    Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda era Minisita avunaanyizibwa ku byobuwangwa , Hajji Mohamood Ssekimpi Ssemambo yategeezezza nti y’omu ku batakula emitwe olw’ekyukakyuka ezitabudde obuwangwa bw’okwabya ennyimbe mu Buganda.

    Yategeezezza nti buli lumbe lwe yeetabako ennaku zino alaba luvudde ku nnono n’obuwangwa bwa Buganda ate ng’awo obeera otandise okunaabuula ekitibwa kya Buganda.

    Yanokoddeyo ebinnonoggo by’okwabya olumbe nadala; engoma kubanga zino teziteekeddwa kubula ku lumbe. Zirimu obubaka bw’okulaga obuwangwa n’olwekyo mwe abakuba ebidomola nga mutuuse mu nnyimbe muli ku byammwe.

    Omubala: Omubbala by’ebigambo by’oyinza okuyita eng’ombo eya buli Kika era abasumikira aboogera ebyafaayo by’Ekika n’omulamwa gwakyo n’ebigendererwa kwe bafundikirira. Minisita Ssemambo agamba nti abatabyogera ku nnyimbe bakola nsobi.

    Okumanyagana: Mw. Ssekimpi yategeezezza nti olw’okuba abooluganda tebabeera mu kifo kimu, Abaganda bakiraba nti mu biseera by’ennyimbe abenganda bangi bakung’aana okumaliriza emikolo egitakolebwanga wamu n’okumanyagana akawungeezi olumbe lwe lusulwamu.

    Agamba nti kino kiyamba okumanya abooluganda lwo ne kitaasa n’abanyumya obutanyumya bitajja n’abantu ababazira. Okufulumya olumbe: Mw. Ssekimpi agamba nti n’ebintu ebirala

    OKWABYA ENNYIMBE:

    Abantu bakukyusizza, kati bakubayo bidongo bya mbaga! ng’okufulumya olumbe ku maliiri si kwejalabya, kaba ng’akabonero okwerabiza abafi irwa ennaku baddemu obulamu obupya era kye kimu n’okumwa enviiri ekiraga okukomya okunyolwa bamulekwa kwe babaddemu.

    Kyokka Ssekimpiyakwataganye n’omutaka Steven Good Ggambobbi Ssenyomo ow’e Lungujja eyategeezezza nti ennyimbe ezigoberera obuwangwa ze zandisinze kubanga ziggyayo obuwanga, ziyigiriza era temubeera kuyitira ng’ezennaku zino ezibeerako disiko abantu ne babeera ng’abazze ku tabbulu.

    KIKI MMENGO KY’EKOZEEWO

    Bombi bategeezezza nti ekimu ku bireesewo enkyukakyuka be bantu abamu abalowooleza mu ddiini z’Abazungu, ebyabwe eby’Ekiganda ne babitwala ng’ebya sitaani.

    “Waliwo olumbe kwe nabadde omusika n’agaana okumwambaza ekifundikwa ky’olubugo,” bwatyo Mw. Ssekimpi bwe yategeezezza n’agamba nti omusika yabadde atya bannaddiini abamubadde mu maaso.

    N’embeera y’ebyenfuna etabuddetabudde eby’ennyimbe ng’abamu bakola za kiyita mu luggya okwewala okwonoonassente.

    Omuntu olumala okumuziika nga bassaako omusika nga tebayise mu mitendera nga n’olwo luggwa. Minisita Ssekimpi yategeezezza nti atandise kaweefube w’okuzzaawo ekitiibwa n’obuwangwa by’olumbe ngategeka emisomo ku leediyo za

    FM n’okutokota abakulu b’Ebika n’Abataka abalala okwagazisa abavubuka obuwangwa bwabwe.

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.