ENNIMIRO Y’OMUGANDA

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Namukaabya Namukaabya 9 years, 7 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18252
    Namukaabya
    Namukaabya
    Participant


    Ennimiro y’omuganda

    SSEKABIRA A. ZZIWA

    Nazzikuno, obulimi nga kye kimu ku mirimu abaganda gye basinga okwenyigiramu era kyatuleeteranga ssente wamu n’okutuyamba okutangira enjala mu maka gaffe. Omuganda buli kintu kye yakozesanga awaka kumping’akiggya mu nnimiro ate era ng’ebiva mu nnimiro bisobola bulungi nnyo n’okulabirira ebisolo awaka ate nga n’ebintu ng’obusa ebiva mu nte, embuzi, embizzi nabyo byeyambisibwa okulabirira ensuku, omuganda n’afuna mu by’akola awatali kussaamu kinene.

    Ennimiro y’omuganda yabangamu ebintu ebitali bimu okugeza olusuku lwabangamu emituba, emmwanyi, ku mituba nga basimbako ebigaaga, ensuusuuti, ebyangwe, endaggu, kyetutumula n’ebirala bingi. Ku lusalosalo okwo baateekangako ebisagazi n’omuddo omulala ogwaliibwanga ente, embuzi n’ebirala. Baateekanga ensalosalo mu nnimiro zaabwe okwewala ettaka okukulukuta wamu n’okusobola okwawula ebibanja byabwe ku bya balirwana okwewala enkaayana.

    Ennima ey’ekika kino yasobozesanga amaka g’omuganda okusobola okuba n’emmere eya buli kika mu buli mbeera ya budde anti waliwo ebigumira omusana, enkuba n’ebibeera awo obubeezi. Emituba n’emiti emirala egyabanga mu nnimiro gyavangako embugo, embaawo wamu n’enku ate emirala gyabanga gya ddagala. Wano omuganda we yasukkulumira ku banne mu by’enfuna n’embeera eza bulijjo era wano ng’ekiyitibwa emmere okubula kiwulikika nga mawulire.

    Ekiriwo ennaku zino ekireetedde abaganda okutuuka okutondoka enjala kivudde ku bantu butayagala kulima, abasomyeko balowooza nti ogwo mulimu gwa bataasoma ate n’abo abagezaako okulima bamala gafuukuula ttaka ekirireetera okukaddiwa amangu ne liremwa okubaza emmere obulungi okwo kw’ogatta n’embeera y’obudde ezze ekyukakyuka ereetedde ebirime okusiriirira mu nnimiro ekinafuyizza ennyo abalimi ne bakuviirako ddala.

    Ekyokukola si kuva ku kulima wabula kukyusa tuddeyo ku nnima ya bajjajjaffe eyassanga essira ku kulima ebintu ebitali bimu omuli emmere, emiti, omuddo bwe tutaakole ekyo bazzukulu ba Nambi tujja kutondoka tuggweewo.

    Ku lwa Katonda n’ensi yange.

    Ssekabira Andrew

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.