Ennyimba Zewandiyagadde Okuwulira Ku Rediyo Yo Eno

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Rediyo ya Baganda / Baganda Radio Ennyimba Zewandiyagadde Okuwulira Ku Rediyo Yo Eno

 • This topic has 6 voices and 6 replies.
Viewing 7 posts - 1 through 7 (of 7 total)
 • Author
  Posts
 • #18902
  Alex KigongoAlex Kigongo
  Keymaster

  Nnyimba ki zewandiyagadde okuwulira ku Rediyo Y’Abaganda? Ennyimba zaffe zetwagala ziteekwa kuteekebwa mu programe, kubanga mu bano bannaffe abatussa ku mpewo nga ogasseko n’amateeka gokuzannya enyimba z’Olungereza, tetukkirizibwa kuzannya nnyimba zisabiddwa essaawa yennyini kwezisabibwa.

  Sabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II Awangaale.

  #22142
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Kasita totuterako ziwemula noobwo obubina obupaapala. Kisizza nnyo omutindo gwa emikutu gya Radio ne TV mu Buganda. Naye bannaffe mwebalege.

  #22145
  MubiruMubiru
  Participant

  Nzikirizaganya ne Musajjalumbwa. Twewalire ddala enyimba eziwemula. Ziweebuula oBuganda. Enyimba nga “Ogwange guli mu giya nene…”, “Engoma yange”, “Katonda yakola enyukuta eya ‘M'”, “Nkuwadde ebisumuluzo bya motoka yange”, nendala nyingi nnyo.

  Ebyo byebayimba birina ekiseera n’ekifo kyabyo.

  Wano ffe tuzimba Buganda. Nolwekyo tugizimbe mu buntu bulamu.

  Wano abantu webajja okulabira enjawulo ku Radio yaffe ne ndala.

  Tujjukire nti eriyo abaana abato abawuliriza Radio yaffe.

  #22147
  DJ-Omutaka KitakaDJ-Omutaka Kitaka
  Participant

  Nesimye okuba omuwereza wamwe Baganda banange. Era byonna byemuteesa bigenda buterevu mu nkola.

  Awangaale Sabasajja Kabaka wa Buganda.

  #22161
  KulabakoKulabako
  Participant

  Tukusanyukidde mwattu Dj Omutaka Kitaka

  olabika osinziira kubutaka ngolwanirira ettaka lya Buganda . Kati nno omulimu gwolina gwo mukulu kuba nange ngezezaako okugendanga nga nsengejja mu nnyimba zenandyagadde okuwulira nga ddala waliwo obuzibu kuba oluusi mba nnyumirwa oluyimba oli naluyingizaamu mbu ate abebunayira mujje tukyakyankye olwo nendusuula eri nengamba bampe olulala oyo omulala navaayo nga tudde ku ddigi ate natakomaawo nayagala mbu bamukwaate wali wennyini ,njagala kuwulira binaziimba oba oli ambulira embeera gyayiseemu oba obuzibu bwetusanga oba ebintu ebikwaata ku bulombolombo nge nnyimba ze ngoma ezisinga kye ziyimba oba kadongo kamu.

  #22177
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  Dj Omutaka Kitaka webale kuweereza.

  Nze nandisabye oyongere mu program yennyimba zotuzanyira ezakaakati nga Annegaanye, Abalaalo, Nabbubi, Abatuuze. Awo tujja kuba tugenda bulungi ddala. Kubanga ennyimba zino zitulagira ddala ebintu bwebiri e Buganda kaakati.

  #26857
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  DJ Mutaka Kitaka tuzannyire ne ku kayimba kano aka Jon Bon Jovi. Kali ku mulamwa nnyo!

Viewing 7 posts - 1 through 7 (of 7 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.