Eri Ababaka ba Ssaabasajja Ebweru

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Forum Titles & Rules Eri Ababaka ba Ssaabasajja Ebweru

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Jjuuko Jjuuko 9 years, 6 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18226
    Jjuuko
    Jjuuko
    Participant

    Eri : Ababaka ba Ssaabasajja Ebweru

    Okuva: Amb. E. L. Ssendaula, Omumyuka wa Katikkiro Asooka/Minisita
    w’Ensonga za Buganda Ebweru

    Ensonga: Pulogulaamu ya Wiiki y’Okukunguba mu Buganda Wonna

    Olunaku: 19/03/2010

    Akakiiko Akafuzi aka Gavumenti y”Obwakabaka bwa Buganda kazzeemu okutuula eggulo (18/03/2010) okwongera okuteesa ku nsonga y’okwokebwa kw’Amasiro g’e Kasubi Nabulagala.

    Mu lutuula olwo pulogulaamu ya wiiki y’okukungubaga yakkaanyiziddwako bweti:

    Ku Monday 22/03/2010: Olukiiko lwa Buganda Olukulu lwakutuula okuteesa ku nsonga y’okuzzaawo kw’Amasiro g’e Kasubi Nabulagala. Katikkiro ajja kutegeeza Obuganda mu butongole ku kikangabwa kino na kiki ekikoleddwawo n’enteekateeka eziri mu maaso ku ky’okuzzaawo Amasiro ago. Abasajja baakwambala suuti n’essaati ebiddugavu nga temuli ttaayi, ate abakyala bambale gomesi enzirugavu nga basibyeko ebimyu.

    Ku Wednesday 24/03/2010: Abataka b’Obusolya n’Abazzukulu ba Buganda okukansa n’okulongoosa Amasiro e Kasubi.

    Ku Friday 26/03/2010: Okusabira Obuganda mu butongole e Kasubi nga kukulemberwamu Abakulu b’eddiini ez’enjawulo. Abasajja banaayambala ekkanzu enjeru nga beesibyeko ebimyu ate abakyala gomesi enzirugavu oba endala naye ng’ebunduddwa.

    Oluvanyuma lw’okusaba okwo, Amasiro gaakuggalwa eri abantu ba bulijjo kisobozese obukiiko obwateekeddwawo okukola emirimu gyabwo.

    Ekirala ekyakkaanyiziddwako kyekyokuggulawo Account mu banka Abaganda n’abaagaliza Buganda obulungi kwe banaateeka ensimbi zebasonda.

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.