‘Ettaka lya Kabaka liggwawo’

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #16615
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    ABAAMI ba Kabaka e Kira beemulugunyirizza eri ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso nti, ettaka lya Kabaka eriweza yiika 49 litundibwa ate ku bbeeyi ey’enseko nga kyetaagisa aboobuyinza okubiyingiramu.

    Baategeezezza nti ensonga eno bagezezzaako okugiyingiramu nga balemesebwa.

    Bino biri mu kiwandiiko okuli omukono gw’omwami wa Kabaka atwala eggombolola y’e Kira, Musoke Serwanga n’omuwandiisi we, P.S Kabanda kye baabadde bategese okusomera ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Ian Kyeyune ataalabiseeko ku Lwomukaaga bwe baabadde bamuyise abannyonnyole ddi lw’anaabaddiza ebintu bya Kabaka e Kira.

    Bukedde
    Published on: Wednesday, 30th July, 2008

    Ani alitunda? Lwaki Munnaffe Kyeyune “alina obuyinza ku ttaka lya Kabaka” teyalabiseko kukola mirimu gye?

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.