ETTAKA LYO BUWANGWA

 • This topic has 2 voices and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
 • Author
  Posts
 • #16940
  KulabakoKulabako
  Participant

  Katikkiro alabudde abaafuna liizi ku ttaka ly’obuwangwa

  Bya Robert Masengere

  KATIKKIRO Ying. J.B Walusimbi alabudde abaaweebwa liizi ku ttaka okuli ebifo by’obuwangwa n’ennono za Buganda nti zaakusazibwamu.

  “Bwe wabaawo ensobi eyakolebwa aba Buganda Land Borad BLB okugaba liizi ku ttaka erigwa mu kiti kino, zaakusasibwamu kuba kino kikontana n’enkola egobererwa e Mmengo,” Katikkiro bwe yagambye ng’asisinkanye Bazzukulu ba Walusimbi abeddira Effumbe mu Bulange.

  Baaguze satifikeeti ya Buganda ya 1,400,000/- ne bawaayo 400,000/- okuwagira eggwanika.

  Kino kyaddiridde Abeffumbe okumuloopera nti ettaka ly’ekika erisangibwa e Lunnyo, Ntebe ne ku mbuga ya Nakku mu Kitooke linyagiddwa.

  #19230
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Ensonga eno Katikkiro gikutte bulungi ddala. Abantu bonna abagula ettaka lya Buganda nga baguyita omunyago kati bakitegeere nti ffe ebyo tetugenda kubitunulamu. Abaganda mwegatte wamu mu kuwuliriza emitendera emituufu egyokufuna ettaka nga muwuliriza agafa e Mengo. Waleme kubaawo akikira nsingo nga embeera ekyuuse,kubanga ekikakafu kiri nti yyo egenderera.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.