FOREIGN (ENGLISH) vs LUGANDA SONGS

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Rediyo ya Baganda / Baganda Radio FOREIGN (ENGLISH) vs LUGANDA SONGS

  • This topic has 3 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #17570
    MulongoMulongo
    Participant

    If you were to be fair, and weigh our Luganda songs against any foreign language ( the languages you know) Or English language songs, what would you have to report?

    #21804
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Nasomako mu mawulire nga omusajja omu yegayirira abayimbi balekerawo okuwana abakazi nabasajja baabwe mu nnyimba. Bayimbeko ne ku bintu ebirala ebiri mu bulamu. Nawewera kubanga nawulira nti neeka eriyo abantu (abatali mu family yange) abakooye enyimba nebyamasanyu ebiri ku mikutu mu biseera bino. Ogenda nowulira radio, nebalyoka baddiringanya enyimba;

    Ani agirina eyammwe ba maama
    Ogwange guli mu gear neene
    Ndi ku ndigi
    Nze mpa tondaaza
    Embo embo
    Enkoko ekokolima, muggulewo erye
    Baagala ndoddo …

    Bagenda okuleeta
    Amagulu manamanage (Ekitandibadde kibi kiri awo)
    Komawo eka kitaawo akulindiridde (Omuli pastor yakutte akaana)

    Maama nga omwooyo gukooye!!!

    Awo nga nze ngenda nteekako ku zoluzungu. I don’t feel them corrupting my mind.

    #21823
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Emirembe gyegikoma okukyuuka abayiiya enyimba nabo bongera okuzambula kyoova olaba nti enyimba zewanditutte ewaffe ngezayimbibwa kumirembe egiyise oli nebweyalinga ayimba kinesisiswaza abantu ngakisabika sabikako ate nga bwooba tomanyi lulimi bulungi ayinza okuyitako nga totegedde kyagambye. nga bantu abakulu ate abamanyi olulimi obulungi nga bebategeera kyayimbyeeko.

    Ennaku zino abayimbi baffe abasinga abe nnaku zino bali ku mbiranye ani analeeta kukisinga kukyamunne okukonera ddala wali wennyini
    kati oli okutuula wansi nayimba embeera eriwo osaba Mukama songa bagamba nti emboozi teba nkadde waliwo enyimba ezitava kumulembe ngekiseera kyonna woziterako otuula noluwuliriza nolumalako ate waliwo nezennaku zino oluwulira lumu nelukutuuka mungeri yokukoyesa
    Nze waliwo oluusi lwenkoyesebwa nebigambo nempuliriza instrumental owekikula kyonna oba jazz

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.