GANO MAJIINI OBA BAYEKEERA?

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #18389
  MulongoMulongo
  Participant

  Ebiyita abantu ekiro ne bafa bisattiza ebyalo bina e Mpigi
  Jul 14, 2012 WAKISO
  Bya ROGERS KIBIRIGE

  BYATANDISE nga eby’olusaago nti waliwo ebintu ebigambibwa okuba amajiini ebiyita abantu ekiro bwe bayitaba nga bibatta. Kati ebyalo bina bisula ku bunkenke era abantu baawaliriziddwa okuyiwa evvu mu ngeri ya kasaalaba mu mpya zaabwe okuziyiza amajiini gano okubalumba.

  Bino biri mu ggombolola y’e Kammengo e Mpigi nga kigambibwa nti byatandikidde wa namukadde Maria Nalubega omutuuze w’e Mayirikiti – Musa bwe yafunye ebimukonkona ekiro n’ayitaba kyokka oluvannyuma n’afa kikutuko nga tatuuse na mu ddwaaliro.

  Muzzukulu w’omugenzi Nalubega ayitibwa Harriet Kanzayire yategeezezza nti: “ Muliraanwa wa jjajja ayitibwa Pantaleo Ssemmanda ye yatuyise n’atutegeeza nga jjajja bw’alumbiddwa olumbe olw’amangu. Bwe twatuuse ewa jjajja ye n’atutegeeza nti yabadde mu nju ekiro n’awulira abamuyita nti abeeno naye n’ayitaba nabyo ne bimuddamu nti mukyaliyo? kale mugira mwegolola naffe katujje. Jjajja yagambye nti teyategedde bintu we byayise kuyingira wabula yawulidde kintu kimukwata mu kiwato era mu bbanga ttono ensimbi ze 40,000/- ze yabadde asibye ku luwuzi mu kiwato nga tazirabako nti kyokka yagenze okukebera oluggi lwe nga lusibe bulungi. Twabadde tumuddusa mu ddwaalio n’afa”, Kanzayire bwe yanyonnyodde.

  Kanzayire yayongedde okunyonnyola nti oluvannyuma lw’ennaku nnya nga bamaze okuziika, abakungubazi abaabadde basigadde mu nju y’omugenzi baawulidde ebintu ebirigitira ku mabaati nga bwe bikaaba ng’endiga nabo ne badduka era kati enju temuli muntu.

  Kati ebyalo bina okuli Buwe, Nsumba, Bukabi ne Mayirikiti – Musa mu ggombolola y’e Kammengo mu disitulikiti y’e Mpigi biri mu kusattira era abantu bawerako abavuddeyo ne bategeeza nga bwe baawulidde ebibayita mu kiro.

  Bagamba nti abamu bibayita mannya gaabwe abalala ne bibayita ga baana baabwe. Bagamba nti awamu bikozesa maloboozi ga kikazi ate awalala ga kisajja. Mu bagamba nti bibayise mwe muli nnyina wa Kanzayire Annet Nakiyimba agamba nti ekyamuyise kyakozesezza ddoboozi lya musajja nti, Maama Kanza?

  Bba, Sirasi Kazungu yalingizza ebweru nga talina gw’alaba era eyayitiddwa bw’ataayitabye tebazzeemu kubiwulira. Mu balala mulimu Rose Namulindwa gwe byayise nti, Maama Nabisambu era ono yadduse ku kyalo.

  Bukedde Ku Ssande we yatuukidde ku byalo bino nga kumpi buli maka gakolobozza emisaalaba gy’evvu mu mpya zaago nga bagamba nti babikira emisambwa gino nti aboomumaka ago baafa dda bireme kukyama.

  Abantu tebakyatambula kiro olw’okutya okusisinkana ebyokoola bino.

  Bano babbi oba bayeekera?
  Ebiyita abantu ekiro we bijjidde ng’ebitundu ebirala ebya Mpigi, omuli Nkozi A ne B byo bikaaba abantu abeeyita abayeekera abasuula ebibaluwa ebibatiisatiisa nti babeegatteko oba si kyo bajja kubatuusaako obulabe okusinziira ku musasi waffe, Andrew Mugonza.
  Ssentebe w’ekyalo ky’e Nkozi A, Erimiya Ssembajja yategeezezza nti y’omu ku gwe baasuulidde ebipapula ebisaba okubeegattako okununula eggwanga n’agamba nti ebipapula byabadde bibatiisa nti singa tebakunga bantu baakubatuusaako obulabe.
  Bo abatuuze b’e Nkozi mu maduuka bategeezezza nti abantu bano abeeyita abayeekera bandiba ababbi abawedde emirimu kubanga bazze bamenya amaduuka gaabwe nga babba emmere okuli obuwunga, kasooli, eng’ano n’omuceere kw’ogatta ne bisikwiti era nga tebatwala bintu bivunda.
  Bino bikwatagana bulungi n’ebyatuuse ku mugenzi Nalubega agambibwa nti agayitibwa amajiini gaasumuludde wuzi mu kiwato kye ne gakuuna ne ssente ze.

  Emisaalaba mu myaka gya 1980
  Enkola ey’okuyiwa obusaalaba okwetangira amajiini agayita abantu tetandise kati. Mu myaka gya 1980 ebyalo bingi wano mu

  Buganda byalumbibwa ebyayitibwanga amajiini ebyayitanga abantu nga bw’oyitaba kigambibwa nti ofa. Abantu baayiwanga evvu okukola omusaalaba nga bagamba nti amajiini gano gatya omusaalaba tegakyama we guli.

  Kyokka oluvannyuma kyazuulwa nti agaayitibwanga amajiini mu butuufu baali bayeekera abaayagalanga okutambula nga tewali abakuba ku mukono kwe kutiisa abantu nga bagamba nti ejjiini ery’eriiso erimu n’omukono n’okugulu okumu lye liyita era bw’oyitaba nga likutta. Kyazuulwa nti abayeekera be baagendanga bayita abantu okubatiisa okutunula ebweru nga tebaagala babalabe nga basimbye lwakasota n’emmundu zaabwe.

  RDC abiyingiddemu
  Akola nga RDC w’e Mpigi, Miriam Nakityo agamba; Eyo ng’enda kusindikayo DISO, GISO ne ssentebe w’eggombolola y’e Kammengo, Fredrick Male beetegereze ensonga eno. Ate e Nkozi gye basuula ebibaluwa, twatuuza olukiiko lw’ebyokwerinda ku disitulikiti naye bye twazuula tetunnatuusa kubitegeeza bantu.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.