Guardian Angel by Dr Arnold Bisase …..

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebitabo / Books Guardian Angel by Dr Arnold Bisase …..

This topic contains 24 replies, has 7 voices, and was last updated by Balyokwabwe Balyokwabwe 9 years, 10 months ago.

Viewing 10 posts - 16 through 25 (of 25 total)
  • Author
    Posts
  • #26142
    Machati
    Machati
    Participant

    Museveni = Amin= Obote = thieves= murders=occupation force eri Buganda. Bonna batta Abaganda. Tewali yatta kitono, okujjako Museveni attidde ebbanga ddene. Awolereza abeera alina kyakifunamu, oba nga naye yatta wamu nabo oba noomu kubo.Naye amazima ge mazima, bonna babbi ate batemu.

    #26144
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Kyannaku nnyo okuba nti omuntu baba balina kumala kumuttira muntu we nalyooka amanya obutemu bwomuntu oyo kwegamba bwo obulamu bwabalal tebubalibwa nti bwamuwendo, kino kibaddewo buli mufuzi abadde afugisa effugga bbi bwabadde atta abantu nga mukitundu gyasibuka yo tattayo bantu era nga bamuwaanaekigenda ewala.

    Naye olwokuba Mukama talyazamaanya buli abadde asekera no, okudulira mu bulumi bwabalala naye bwamala okuloza ku bulumi bwabanne nga lyooka ategeera, nti ensi nzibu
    era kyoova wesanga nti buli afuga tayagala kusinziira gyaava , kuba amanyi nti tasobola kubbirayo ,kuttirayo bantu , nakukolerayo ffujjo,
    bonna obugugu babukuba Buganda , kati ebintu bigenda kukyuuka ayagala okutta agenda kutta kubantu be gyasibuka

    nabo bamutende obutemu tulabe ebbanga lye banamukkiriza okubafugayo , kubanga ebyo byebazze bakola mu Buganda nga balalA bonna balaba nti biri normal, kati Abaganda nabo basituse berwaneko tulabewo kko ku njawulo ye ndowooza.
    Teri nsi yali ekulakulanye ngomufuzi ali busy kutta gwanga limu mbu kubanga ligaanye enfuga ye eyekitemu , nokulwaawo Abaganda baluddewo okwetaasa.

    #26148

    I am very surprised to see that Balyokwabwe misunderstood me. In none of my two articles under this title did I at any one time write that “M7 did not involve in mass murder of Baganda during Obote and Amin and in Luweero” as he put it. I do not even know from where Balyokwabwe got this feeling or mis-understanding.

    That being so, during the 1960s I was a pupil in primary school which I ended in 1968 when i completed my primary leaving. In 1969 I started my senior secondary level.

    So, you ar eright, I did not know anything about the person called Museveni during those years. The fact is, I first heard of him during the short-lived era of Prof. Yusuf Kironde Lule. For that I thank you for enlightening me about that specific detail.

    No I have never read that book (The Mustard Seed). I will seek it out if you deem it necessary for me to read it in order to know more about M7.

    One thing is that, I will not shut up simply because I am yet to read that book but more so because none has the right or the power to shut me down; at least not you Balyokwabwe unless if your will cancel my registration with Ababakac.com.

    Otherwise, as a Muganda who loves my nation, I have the birth-right to discuss matters that concern our beloved Buganda and her peoples- the Baganda ba Katonda of whom I am one.

    No one not even you will prevent me from participating in these vital discussions concerning the ongoing lutalo lwe bukatira to safeguard Buganda.

    Let me end by saying that even though I am not a politician, it is my duty as a citizen to play a part in matters that impact Buganda, my nation becuase I am not yet a god. The time will come and is not far when I will attain the status of a god. Gods do not participate in politics- that is, according to Aristotle.

    Ndi musajja wa Kabaka era nnina okumulwamirira mu makowe gonna ge ndaba nga nsobola okugayitamu okumukolera omulimu awamu n’Obuganda.

    Nsiimye nnyo okungigiriza bye mbadde simanyi naye kye ssikkiriziganya nakyo kwe kugezaako okungoba ku lutabaalo ng’ate ssiri mumenyefu wa ggumba wadde erimu.

    Ekisembayo leka nkulabule ssebo mukamwa wange Balyokwabe, gye munaakoma okugoba buli Muganda ayawukanyeeko nammwe ku ndowooza ne bw’eba ntono etya, nga mumukonjera nti oyo si Muganda, mujja kulemererwa
    okutuukiriza ekigendererwa kye tuliko. Mu kifo ky’okutonda emikago mujja kutonda balabe ate ffenna enkomerero mutufiirize.

    Abamerica Abeeru bwe baali balwana olutalo lw’America olw’omu nda (Civil War), baali tebakkiriza Baddugavu kwetaba nabo kukwaata mmundu kulwaala naye bwe baalaba ng’olutalo lunyiinyitidde nnyo, baawalirizibwa okukkiriza Abaddugavu okukwaata emmundu beetabe nabo mu lutalo era ekyo kyawagira nnyo aba Union okuluwangula.

    Si buli Muganda ayogedde ekyawukanyeeko n’ekyammwe nti aba mubi oba nti aba mulabe oba mbega. Oluusi mujja kwesammula abo abandikoze eddimu eddene era abandigasizza ennyo mw’ebyo ebikolebwa.

    Nsaba mw’ekyo mweddemuuko bassebo.

    You asked me to prove you wrong that I am not an ESo agent. How exactly do you want me to do that? To give you some words here or what? To give you my password or what? Sinziira ku bigambo byange bino. Oba oyagala nkuwe essimu yange twogere butereevu, mbuulira. Mu kino nkwoleka nti sirina kye ntya kya kiseera buseera. Ntya ekintu kimu Oli ataliiko kusooka na nkomerero, Ggulu gy’Abeera na buli kati. Mbuulira ky’oyagala nkole okukumatiza nti siri bakyanenseekeezi, nja kukikola.

    Bwe nneeyanjula nga bwe ndi Omuganda era ne ndaga Bajjajjange abawera bataano emabega gye nva mwanjerega bujerezi nti siri Muganda. Nti ssirina na kakwaate n’Omugenzi James Lutaaya eyali Mukwenda!

    Mujjukire nno nti abaawagira Museveni abasinga obungi tebaali Banyankore banne. Kati oba ng’Abanyankore beebatupinga oba n’abalala, ani anaatukwatirako ng’ate na buli Muganda ajja tumugoba nti oyo si Muganda.

    Abaffe Omuganda y’aluwa? Nze ssirowoozo nti y’oyo yenna akuba omubala nti Ssaabasajja Kabaka awangaale? Oba nti y’oyo akuba omubala nti Wooligwa wendigwa Ayi Ssaabasajja?

    Mu kujjukira kwange, n’Obote ebyo yabikolwa. ne mumuwa n’Omukazi Muganda era ne mumuyingiza ne mu Kika ekimu ekya Buganda. Nsaba tucuuseemu bassebo ne bannyabo.

    Awo nno we nsabira mweddeko mu nsonga eyo kubanga mujja kwegobako amayinja agandiwagidde ensonda z’ennyumba gye tugezaako okuzimba.

    Okuggyako nga mwe mwamala dda okutegeka byonna ebyetaagibwa. Naye ate awo nno mba ssiraba na nsonga lwaki mwalafuubana okuteekawo omukutu guno n’okwongera okukubiriza Baganda ba Katonda.

    Bwe kiba bwe kityo mutumanyise kale tubaleka tulibaaniriza n’essanyu nga mutuuka mu kibuga tubasiske mu mikono.

    Leka nkomekkereze na kino: Nnyinza okubeera Akakookoolo kali ke mwetaaga okusobola okubakolera ebibalemeredde okutuukako! Temukolanga ensobi ne mugoba Obukookoolo. Muddeyo ko e mabega mu ngero za Bajjajjaffe mujja kukebuka mutegeere kye mbagambye. Amagezi agatereeza Buganda, Uganda ne Africa yonna tegabulanga naye temufuddeyo kuganoonya. Muleke kutunula ludda lumu. Abamerica bulijjo babeere ne Plan B kye bava bakola ebintu ne biyitamu.

    #26149
    Busagwa
    Busagwa
    Participant

    Bwenzira ku kyebayita “Flat-foot” investigation,ebyo byonna byoddamu bikusiba!!1: Ani yawa Obote omukazi era Obuganda bwe buvaawa?2:Eno site emaze emyaka egissukka mu ebiri lwaaki ozze nga Ababaka radio etandise??3:Mwe baani
    abalinda okutwaniriza nga tutuuse mu kibuga? 4:Plan B kyekki? Balyokwabwe mutuufu 400% oli mbega bicupuli!

    #26150

    Gaalubindizo ezitangaaza ssebo Busagwa ne Balyokwabwe nsobu nnyo kutwala wala. Mwayagala dda okungoba ku mukutu guno.

    Leka nze nfuuke omusiru naye enkya bbiri mulinnoonya ng’Abaganda ab’edda bwe baanoonyanga awali Akakookoolo nga ke kokka akasobola okubaggya mu buzibu…bwe baabanga batubiddemu. Ate mwattu oluusi n’oluusi baabanga basoose kukagobaganya na kukeesammula olw’obutabeerako nnyindo.

    Atamanyi Byama bikusike bw’awulira Akakookoolo alowooleza mu mulwadde wa kookoolo (cancer) eyakutukako ennyindo sso baali bategeeza kintu kirala nnyo baabuwa!

    Mpozzi okwanukula ebibuuzobyo leka nkuyambe:

    1. Ani eyawa Obote omukazi? Olulimi lwe nnayogereddemu lwakulemye okutegeera bw’oba nga tosobodde na kutegeera ekyo. Gwe tewakimanya nga Obote yalina Omukyala Muganda.

    Nyinza okuba nga nnali mwana muto naye nze nnawuliranga nti mukyalawe yali Mukazi Muganda nga asibuka Bwaise awo. Oba tekyali kituufu ggwe amanyi ennyo Abaganda nsaba ompabule ssebo.

    Naye ssaagala ogambe bugambi nti olw’okuba Miria yafumbirwa Omulango n’olwekyo teyali Muganda era olwo otandike okumuyita Omunyoro oba Omunywarwanda sinakindi omuyite Omuhima.

    Tekirina nsonga. Naye kye nnabadde ntegeeza kiri nti, “Abaganda tutwalirizibwa nnyo obusongasonga ng’obwo ne twesiga mangu abantu olw’okubanga bakwanye abakazi Abaganda. Ate bwe bamala okutukola ensobi olwo ne tubeegaana nti ne bakazi baabwe tebaali Baganda! Tulituusaawa bassebo?

    Mu kino sigamba nti Abakazi Abaganda tebasaanye kufumbirwa basajja batali Baganda; nedda si ekyo kyeng’amba.

    Kye ntegeeza nti twekkaanyenga nnyo nga tetunneekakasa. Mukoze bulungi okungobaganya kuba nkimanyi munoonya kwekakasa ono y’ani?

    Nange ssinga mbadde mmwe nnandikoze ekintu kye kimu. Naye ate mu kukikola nze ssandikutte kkubo lya ngeri eyo. Nandyeyambisa magezi malala okuzuula ani oyo?

    2. Obuganda bw’Obote bwaava wa? Era nakyo tewasobodde kukitegeera ssebo. Kye nnabadde nkugamba mw’ekyo nti Abaganda tulekerera Baganda bannaffe ne tugenda n’abo abatukwenyakwenya n’ebigambo ebitunyumira okuwulira; oba abatugulidde eccupa ya bbiya mu ngeri y’emu nga Obote bwe yatukwenyakwenya ne tutuuka n’okumuyingiza mu kika kya Buganda. Naye laba bye yatukola.

    Kyokka ate Baganda bannaffe bwe twawukanye ku ndowooza ku busonga obutono ng’obwo abo ne tugobera ebweeru nti abo Si Baganda!

    Nze sirowooza nti Ssaabasajja Kabaka Magulunnyondo asinga kwagala abo abawoza “Ye ssebo” Oyogedde Ssebo Ssaabasajja” “Ye ssebo gusinze” okusinga abo abamutegeeza amazima bo nga bwe baba bagalabye ku lw’Obulungi bwa Buganda. Nze nno sijja kubeera “Yes Man,” nga bwe mwagala mbeere ng’ate mbaddeko ne we ndabye ensobi oba ekicaamu.

    Nabategeera bubi ndowooza kubanga nnlowooza nti ntuuse we tusobola okukubaganyiza ebirowoozo ebizimba Obuganda n’Obwakabaka bwaffe.

    Oba mungobye kale nnaagenda ku Community Radio e Munich mu Germany nnaawulirizanga eyo ggwe ate ekkumi anti tericaawa omu.

    Oba mwe mulaba si nsobi nga nze ndaba nsobi, muntegeeze mugindage ngiyige nneme okugiddamu. Naye so si kungobaganya bugobaganya bwe mutyo.

    3. Site eno kale oba emaze emyaka ebiri sigaanye. Naye abaffe gwe oyagala kung’amba nti buli site yonna eri ku internet ogimanyi era zonna ezisukka mu kakadde akalamba wazituukako dda ozimanyi? Bwe yaggulwawo wampandiikirako ebbakuwa ngontegeeza nga bwe wali ogiguddewo ssebo? Mu kifo ky’okunsiima okulaba nga nnazuula site eno ate munvuvuba buvuvubi na kungoba.

    Olw’okubeera omupya nga naakazuula site eno ekyo kitegeeza nti ssiri Muganda? Oyagala kung’amba nti buli Muganda yenna amanyi site eno?

    4. Ffe Abaganda be mugobaganya kubanga temwagala twetabe nammwe ffe tujja okubalinda nga mutuuse mu kibuga tulyoke tubajjukize nga bwe mwatugoba ate olwo tulyoke tutuule wamu twejjukanye ebyayita tuzimbe ensi yattu. Kyokka temutunenyanga nga mutuuse nga muwoza twabalekera akatuuyo kuba mwe mutugobye.

    5. Kale oba nga tomanyi na kiyitibwa Plan B, kati nkugambe ki ate nze mbega ow’ebicupuli?

    #26151
    Busagwa
    Busagwa
    Participant

    Tolaba nti oli mbega bicupuli!! hahahaa olwokuba owulira Busagwa akuba amasimu ali Germany kati oleeta Community radio e Munich eya Aloysious Bbaale akolagana obuteerevu ne State-House lwaaki tojjira ddala ne Kiyiso nokinkuba anti nange ndi Munich..teeka kuno e-mail yo ne Ssimu nkuwe Endagiriro yange..Obuganda tebweguya babulyaake!!

    #26153

    Leka naawe Sseruganda munnange kung’aba bw’otyo. Nkukube ekiyisso nkutte nga nnali nzise ani? Leka leka twala eri tondeetera buzibu enkya bbiri ofe bagambe nti nze nakutta! Twala twalira ddala eri. Ebyo bye byanzigya mu by’obufuzi nga sisobola kuzannya mizannyo gya ngeri eyo. Naye era kale nkwebaza kubanga laba ommanyisizza nga radio eyo bw’eri enkyamu; ate nkyaddayo okugiwuliriza. Ogingobyeko bulungi kubanga nze nnanoonya bantu abali kw’ekyo kye tuliko bwe tusobola okukwatagana ne tuzimba Obuganda.

    Kale olabye! ye nga weebale okuntegeeza radio eyo nga bw’eri eya Aloysious Bbaale gwe ssimanyi na kumanya sso gwe ssirabangako mu buntu. Mbadde nnaakagitegako omulundi gumu wiiki ewedde kyokka ssaawulirako bintu bya magezi wadde ebikwaata ku Buganda nga Buganda wabula ennyimba zokka ez’oluganda. Tebalinaako na w’oyinza kuwandiikira kukubaganya birowoozo.

    Nze ekyabadde kintuusizza awo gwe kungobaganya naye kati laba bw’onfuniddemu ekirungi okutegeera kye mbadde simanyi. Nkwebaza sisaaga baaba omulungi.

    Radio eyo nnagigwako bugwi wiiki ewedde naye olw’okuba saawulirako nsonga za mulamwa mbadde sinnaddayo kugiwuliriza ate nga ssiri nnyo mwagazi wa nnyimba eziriko.

    Nze ssiri Bulaaya oba e Germany sssbo Busagwa. Naye nkusaba obusagwabwo oleme kubumpeereza mu ngeri eyo. Ssirina bwendi sseesobolera lema kugenda mu maaso ng’onjiira obusagwa obwo.

    Nsaba onziriremu tuwuliziganye tukkaanye ate tukole ebiriyamba abaana n’abazzukulu ba Nnambi.

    Ekirala ssajja ku mukutu guno kuyomberako, kuba okuyomba si mpisa yange. nsuubidde nti tuyinza okukkaanya. Weebale nnyo ssebo.

    #26154
    Busagwa
    Busagwa
    Participant

    Nze nange siri muyombi wabula kyessaagala yemuntu okujja nga abuuza ebibuuzo ebyekigwenyufu..Bwoba olaba ebiri e Rwanda abo benyini abaakulira ewaffe mu Uganda kati babiyo
    mberamu..era bbomu zitandise okwabika nga zitta ba Saaluma
    nya!!Jjo ettaka bwelyasse abantu Ssababbi Museveni yagenze
    ne AK 47 mu yinifoomu okukuba ettaka amasasi!HAHAHAHAAA..

    #26179
    Balyokwabwe
    Balyokwabwe
    Participant

    Join us on Ngomaradio to listen to this interview
    with Dr Bisase about his book Guardian Angel.
    Time 3pm uk time Sat. 13 2010.
    wwww.ngomaradio.com
    Awangaale Ssabasajja Kabaka Muwenda Mutebi.

    #26183
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Balyokwaabwe omulimu gwokola ngusiima naye naawe bwobeera eyo tewerabira okugamba Abaganda bonna bolabyeeko nebowulizza okuwuliriza buli lwa mukaaga ne ku sande ku radio yaffe eri ku site eno radio yabaganda okuva ku saawa bbiri eza Buganda okutuuka ku saawa musanvu . anti olya nga nange bwendya ye mmere egwaawo manyanga ewooma,
    obubaka tewerabira okubutuusa bagamba nti atunma omukulu tamagamaga .

Viewing 10 posts - 16 through 25 (of 25 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.