Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Ebyobulamu n Ebyenjigiriza / Health and Education › HEALTHY TIP
- This topic has 11 replies, 7 voices, and was last updated 2 months ago by Omumbejja.
-
AuthorPosts
-
August 1, 2008 at 1:17 am #19110
ALLEGIES
Eri abo abatawanyizibwa allergies nga va ku pollen , ava kumiti bimuli oba muddo eddagala liri mumubisi gwanjuki. Noonya omubisi gwenjuki ogukunganyizibwa mukitundu wobeera oba okumpi newobeera kuba enjuki bweziba zikungaanya omubisi gwenjuki ziyita mu pollen ali mukitundu kyo nolweeko bwoolya oba okunywa omubisi gwenjuki .
pollen akuyingira mumubiri nooba ngomubiri gwo tegukyamulwanyisa ngotandise okumussa okuva mumpewo katugambe ngofulumye. Wetaaga ekijiiko kya tablespoon kiramba okinuune mpola, oyinza okunywerako amazzi naye kyandibadde kirungi nolindako ngomaze okumalawo omubisi gwenjuki.
Kino kikole buli lwofuna okutawanyizibwa, oba oyinza nomubisi gwenjuki okuguliiranga ku migaati naye ngotandise okwasimula kiba kirungi notwaala kijiiko ekya ssupu(tablespoon) ekyo mubisi gwa njuki .
Okulabula: ngatonagezaako lino oba eddagala lyonna sooka webuuze kumusawo woAugust 14, 2008 at 8:07 pm #19342Olususu olusiiwa
Bya Christine Nakubulwa
ABALINA ensusu ezisiiwa, ezikala oba ezitaggwaako mabwa kozesa moringa.Dr. Emmanuel Rekeraho owa Biyinzika Clinic agamba nti ebikoola bya moringa, ebbombo, omwetango, olunyereketo, akatakula biyengere mu ttampeko y’amazzi weegiige lujja kuwona.
Amapeera galongoosa olususuBya Elijah Kibirango
Dr. Ruth Balyogera, nnannyini Agape Herbal Research Clinic e Kayanja agamba nti amapeera galimu ekiriisa kya Vitamin C alongoosa olususu.Amapeera era galimu amazzi agayamba omubiri. Ggwe atayagala kunywa mazzi waakiri lya ku ppeera buli lunaku. Amapeera era gayamba okukola amazzi gomu kalulwe ag’omugaso ennyo eri omubiri.
Amapeera gatta ebiwuka by’omu lubuto era gayamba okuzza omwoyo ogwagala okulya. Omulwadde muwe ku ppeera buli lunaku asobole okulya ku mmere n’okufuna amazzi mu mubiri.
Omulwadde wa ssennyiga naawe lya ku mapeera amabisi ojja kuba bulungi. Amapeera gayamba omubiri okukola n’okugogola omusaayi anti galimu ekiriisa ekya Iron eyeeyambisibwa okukola omusaayi mu mubiri.
Published on: Thursday, 8th May, 2008
Emmere y’abeeraliikirira
EMMERE y’abantu abeeraliikirira ennyo ye ovakedo, emboga, emmere yonna ey’empeke n’endala eyitibwa Broccoli.
Mulimu eddagala erireeta emirembe n’essanyu mu mubiri.
Obummonde obutokose, obutiko, enniimu mu mubisi gw’enjuki nabo bikuyamba.
Emmere togikkiriza kuvundira mu lubutobya Everist Mubuuke
OKUSIIBA n’otolya mmere kirongoosa embeera y’obulamu bwo. Kiyamba okuddaabiriza omubiri n’okulongoosa omusaayi.Oyinza okuyita mu kusiiba okuwona endwadde nnyingi. Okunoonyereza kuzudde nti emmere gye tulya ebeeramu ebikyafu n’obutwa.
Bwe byetuuma mu mubiri kirwaza omuntu. Ggwe teweebuuza essowaani y’emmere eyo gye weepiika buli lunaku okumalako wiiki wa gy’eraga?
Bw’oba kaliira ne doozi y’obutwa gye yeeyongera obungi n’okulwalalwala.Okusiiba kiwa omukisa ebitundu ebisunsula n’okufulumya obujama mu mubiri okubifulumya mu bungi ne bitwaliramu n’ebyo ebiba biruddemu.
Olususu, amawuggwe, ensigo, ebyenda n’ebirala bikola omubiri. Bw’olya buli lunaku, ebitundu bino tebisobola kuyoola bujama bwonna kubumala mu mubiri.
Obujama buli lwe bulwa mu mubiri bufuuka obutwa n’olwalalwala.
Naye tolina kusiiba bbanga ddene kuba nakyo kiyinza okuvaako obulwadde. Kiba kirungi okutandika empola, n’osiiba lumu mu mwezi naddala ku muntu atasiibangako.
Omwezi oguddako oyinza okugenda ng’oyongeza ku nnaku z’okusiiba, naye tosussa nnaku musanvu.
Okufuna emigaso egisingawo, buli lw’osiibulukuka lya bulungi emmere erimu ebiriisa byonna ozze amaanyi n’essanyu mu mubiri. Omuntu alumwa ennyo olubuto n’oyo alina ekizibu mu by’okufuluma okusiiba kikuyamba okuvvuunuka obuzibu obwo.
Mu ngeri y’emu n’omulwadde w’ekibumba, ensigo oba endwadde z’ensusu afuna obuweewero bw’asiibayo ennaku.
Wabula bw’oba olina alusa n’akafuba, sooka weebuuze ku musawo wo nga tonnasiiba. Bw’oba osiiba kozesa nnyo omubisi gw’ebibala, sso si mazzi gokka.
August 15, 2008 at 2:58 pm #19344omumbejja wrote:
Quote:ALLEGIESEri abo abatawanyizibwa allergies nga va ku pollen , ava kumiti bimuli oba muddo eddagala liri mumubisi gwanjuki. Noonya omubisi gwenjuki ogukunganyizibwa mukitundu wobeera oba okumpi newobeera kuba enjuki bweziba zikungaanya omubisigwenjuki ziyita mu pollen ali mukitundu kyo nolweeko bwoolya oba okunywa omubisigwenjuki .
pollen akuyingira mumubiri nooba ngomubirigwo tegukyamulwanyisa ngotandise okumussa okuva mumpewo katugambe ngofulumye. Wetaaga ekijiiko kya tablespoon kiramba okinuune mpola, oyinza okunywerako amazzi naye kyandibadde kirungi nolindako ngomaze okumalawo omubisi gwenjuki.
Kino kikole buli lwofuna okutawanyizibwa, oba oyinza nomubisi gwenjuki okuguliiranga ku migaati naye ngotandise okwasimula kiba kirungi notwaala kijiiko ekya ssupu(tablespoon) ekyo mubisi gwa njuki.
Okulabula: ngatonagezaako lino oba eddagala lyonna sooka webuuze kumusawo wo[/quote]Ndowooza abalwadde ba sukaali bbo tebandinywedde oba tebandiridde mubisi gwa njuki. Musawo ekyo okyogerako ki?
August 15, 2008 at 3:05 pm #19345Ssebo Tonto kyoyogerako kituufu yensonga lwaaki abo bonna abalina obuzibu balina kusooka kwebuuza ku musawo waabwe
August 16, 2008 at 12:41 am #19347bya EVERISTI MUBUUKE
WALIWO obulwadde obwa bulijjo, gamba ng’omutwe, ssennyiga, olusujjasujja oba obunafu mu mubiri.
Tekitegeeza nti bwe bukukwata mira amakerenda. Waliwo emmere gy’osobola okukozesa okuziyinza endwadde ng’eno wammanga:
Omubisi gw’enjuki:
Gulimu ebiriisa bingi era gukola nnyo ku ssennyiga n’amabwa mu kamwa oba mu bulago.Gugumya omubiri ne guggwaamu obukoowu n’obunafu. Ekirala guziyiza okweralikirira n’okutya. Bw’ogusiiga ku kiwundu oba ku muliro gutta obuwuka era kikala mangu.
Enniimu:
Erimu ekiriisa ekya Vitamin C ekirwanyisa ssennyiga n’amabwa mu mubiri. Singa omuntu yeesala ku mubiri oba alumibwa ekiwuka oba okwekoona n’azimba bwayisaawo amazzi g’enniimu aterera mangu.
Kaamulali:
Aziyiza ebisujjasujja n’e ssennyiga kuba mulimu Vitamini C.Aziyiza ebika bya kookolo ebimu n’endwadde z’omutima.
Katunguluccumu:
Bw’omusekula n’onywera mu mazzi agabuguma asumulula olubuto n’okulutereeza nga lubadde lugulumba.Amenyaamenya amasavu mu mubiri. Bw’oba oyisaayisa omukka agumala mu lubuto. Atereeza emmeeme esiikuuse ng’oyo ayagala okusesema. Amalamu n’entengereze.
Ekigaji:
Amazzi gaakyo bw’ogayisa ku mubiri oguzimbye gutoowolokoka. Kirimu eddagala erinaaza, eritta obuwuka era erikkakkanya .Kirongoosa olususu ate kiziyiza n’okuwonya omusujja.Ennyaanya:
Mulimu ebiriisa omubiri gwe byetaaga nga Potassium, Vitamin A ne C. Mulimu n’eddagala erimala obutalavvu mu mubiri naddala mu nnyingo ssaako okuziyiza amagumba okwemeketa.Obutungulu obubisi:
Omuntu aziyidde bw’anywa amazzi g’obutungulu ennyindo zita n’assa bulungi. Butereeza olubuto olugulumba.Yogati:
Mulungi nnyo ng’omazze okulya emmere kuba ayamba okugitambuza n’okugimenyaamenya amangu. Atta n’okuziyiza obuwuka mu lubuto.Mubuuke mukugu mu kujjanjaba endwadde ng’akozesa emmere.
Published on: Thursday, 14th February, 2008
August 28, 2008 at 5:12 am #19470BLACK HEADS
Before going to bed , rub lemon juice over the blackheads.
Wait until morning to wash off the juice with cool water.
repeat this procedure several evening s in a a row , and you will see
a big improvement in the skin.ACNE SCARS
To help remove acne scars , combine 1 teaspoon of powdered nutmeg with 1 teaspoon of honey and apply it to the scarred area.
After 20 minutes , wash it off with cool water.
Do this twice a week and hopefully within a couple of months you will see
an improvement.July 27, 2010 at 7:38 pm #26826Quote:Bya Ahmed Kateregga
Monday, 26 July 2010 17:30BAPULEZIDENTI; Yoweri Museveni owa Uganda ne Jakaya Kikwete owa Tanzania basabye gavumenti za Afirika zonna okuggya omusolo ku ddagala ne ku butimba bw’ensiri ng’omu ku kaweefube w’okumalawo omusujja.
Nga boogerera mu lukiiko lw’omukago gwa Afrika olw’omulundi ogwa 15 olubumbujjira mu Speke Reasort Beach Hotel e Munyonyo eggulo, abakulembeze bombi baagambye nti okusinziira ku bumanyirivu bwe balina mu mawanga gaabwe, omusujja gw’ensiri gujja kufumwa, singa eddagala eriguvumula linaabeera lya bbeeyi ya wansi ate nga buli muntu asula mu katimba k’ensiri.Abakulu bombi baagambye nti kimalamu amaanyi, ekitongole kya Global Fund ne Banka y’ensi yonna okussaawo ensawo ey’okulwanyisa omusujja, siriimu n’akafuba mu Afirika ne biwaayo obuyambi bw’eddagala n’obw’obutimba bw’ensiri, kyokka emmeeri ezibuleeta bwe zigoba ku myalo, amawanga gannannyinibyo, ne gatandika okusolooza emisolo, olwo eddagala n’obutimba bigenda okutuuka ku muntu waabulijjo, nga biri ku beeyi buwananana.
Eggulo abakulembeze abawerako baasiibye boogerera mu lukiiko olwawamu era Katikkiro Melez Zenawi owa Ethiopia yagambye nti ekisibye endwadde mu bantu bwavu nti era bwe buggwaawo n’obulwadde bwa kuggwaawo.
Ate Pulezidenti Jacob Zuma owa South Africa yagambye nti ewaabwe okugema abakazi ab’embuto n’okutendeka abazaalisa kwa bwereere. Pulezidenti Bingu wa Muthalika era nga ye ssentebe wa AU yasabye amawanga agagaba obuyambi okuyamba ku baddugavu mu nsonga eno.
Wabula mu biseera eby’enkya omukungu w’ekitongole ky’amawanga amagatte ekirwanyisa Siriimu UNAIDS, Mw.Michel Sidibe yabadde amaze okute-geeza nti ensimbi z’okulwanmyisa siriimu zikendedde nga kati zisasiseeko obuwu-mbi bwa Doola 10.bukedde
November 4, 2010 at 1:44 am #27219PREVENT GARLIC BREATH
Garlic can lower your risk of heart attack and certain cancers , help the body to absorb iron and zinc and even award off colds! Unfortunately , it also leads to stinky breath that can drag on for hours.
Simply drinking milk prior to or with a garlicky meal blocks the compound that causes garlic breath!June 12, 2011 at 7:04 pm #27666NNAMUKADDE Veneranda Nakayobe y’omu ku bantu abasinze okuwangaala mu Uganda.wafiiridde ng’awezza emyaka 118. Alabye ku bazzukulu abookuna era ng’ayavula nga mwana.
Nakayobe abadde abeera ku kyalo Kifukamiza mu ggombolola y’e Kasaali mu disitulikiti ey’e Rakai. yazaalibwa mu 1893.
Ku baana 11 be yazaala 6 bawala 5 balenzi kyokka wafiiridde ng’abalenzi bonna baafa nga wasigadde abawala babiri.Omu ye Nakabugo Sitefania (70) abeera e Nsambya- Kalisizo ne Nakasumba Passy (58) abadde amujjanjaba.
Bazzukulu be babadde baamukazaako lya ‘’PPAAPAALI’ kubanga mu kibanja kye mujjudde amapaapaali. Buli yamukyaliranga ng’alagira bazzukulu be okukuwaatira eppaapaali olyeko.Buli kadde abadde asoma essaala era ng’ayagala nnyo eddiini y’ekikatoliki.
Emyaka etaano egiyise nnamukadde yafuuka eky’obulambuzi mu kitundu. Abantu bajjanga okumulabako olw’emyaka gy’alina. Abadde abanyumiza ebyafaayo bya Uganda.Sitefania Nakabugo agamba nti nnyaabwe baakula talya bintu bisiike. Awaka babadde balya nva ndiirwa.
“Maama yayisibwanga bubi buli bwe yalowooza ku baana be abaafa. Ekikubagizo ng’akizza ku bazzukulu be ababadde bamulabirira n’okumuzanyiikiriza.”Ate Passy Nakasumba agamba nti nnyina abadde ayagala nnyo okunywa amata ng’aliirako emmere enkalu n’enva endiirwa.
Omu ku bazzukulu nnamba satu Immaculate Nakamanya agamba nti “Jjaja abadde atwagala nnyo, ow’ekisa ,omuntu mulamu. tubadde tukyamwagaliza okubeera ku nsi.Abamu ku bazzukulu kuliko Jane Mbabazi, Beatrice Irungu, Doreen Kyasiimire, Prossy Nakiwala, Kitone Isha n’abalala
Nakayobe yaziikiddwa ku lwokusatu ku kyalo Kifukamiza mu ggombolola y’e Kasaali .BYA JOHNBOSCO MULYOWA[ bukedde:woohoo:
December 4, 2013 at 5:31 am #28066Try these before resorting to Pills :
Watermelon is rich with Citrulline, an amino acid that helps improve blood flow to the heart and genitalia and actually produces an effect similar to drugs like Viagra.
Cheese is a good source of mineral Zinc which is essential for Testosterone production. Testosterone levels control both male and female libido and sex drive.
Nutmeg has been used since ancient times in Indian medicine to boost libido and is known to have the same effect as Viagra. Nutmeg helps the brain relax and helps males respond better to sexual stimuli.
A steak is packed with Protein, Iron, Magnesium, and Zinc or nutrients that boost testosterone levels. Protein foods are a good source of dopamine and norepinephrine which help heighten sensitivity during sex.
Consuming ordinary drinking water by the right method purifies human body. It renders the colon more effective by forming new fresh blood, known in medical terms as “Haematopoiesis”. That the mucosal folds of the colon and intestines are activated by this method, is an undisputed fact, just as the theory that new fresh blood is produced by the mucosal fold.
If the colon is cleansed then the nutrients of the food taken several times a day will be absorbed and by the action of the mucosal folds they are turned into fresh blood. The blood is all important in curing ailments and restoring health and for this water should be consumed as suggested.
The way bathing cleans the external body parts, same way water therapy cleans the internal body parts.
Some Naturopaths advise to use edible castor oil in the initial stage of water therapy, to clean colon even better. Drink 20 ml of edible castor oil, around 4am in the morning at following frequency.
Every day in the first week.
Alternate days in the second week.
Twice a week in the third week.
Once a week from the fourth week on wards.January 29, 2014 at 3:05 pm #28077Ne maama wange omu nga yasimba amapaapaali mangi – nga buli lwetugendayo tuvaayo ne nsaawo ya mapaapaali, ate kale wano Bulange!
January 29, 2014 at 3:07 pm #28078Watya nga obigasse, Watermelon, Cheese, ne Nutmeg ne steak? Nze ngamba tulina okwegendereza byetulya, olaba mbeera kukyuuka nebakukwatira ewa mulirwaana,
nga tomanyi byewalidde! -
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.