Jjajja wa Kabaka Mutebi afiiridde e Bungereza

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Okulanga / Announcements Jjajja wa Kabaka Mutebi afiiridde e Bungereza

 • This topic has 5 voices and 6 replies.
Viewing 7 posts - 1 through 7 (of 7 total)
 • Author
  Posts
 • #18802
  MulongoMulongo
  Participant

  JJAJJA wa Kabaka, Edith Nakazaana, muwala wa Ham Mukasa yafudde.

  Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro e Mmengo, Emmanuel Ssendawula kyagambye nti yafiiridde London mu Bungereza gy’abadde abeera.

  Bukedde
  Published on: Monday, 8th September, 2008

  #19583
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Kitalo nnyo ekya Edith Nakazaana Mukama amuwe ekiwummulo ekyemirembe

  #19585
  MugerekaMugereka
  Participant

  Kitalo nnyo bannange. Mukama asinge okugumya abamubadde okumpi.

  #19595
  JonaJona
  Participant

  Kitalo nnyo eri oBuganda.

  #19598
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Kitalo nnyo Baganda bange. Mukama amuwummuze mirembe.

  #19629
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Jjajja wa Kabaka aziikwa nkya
  1221156495zulu.jpg
  Nakazaana

  Bya Paul Kaddu

  JJAJJA wa Kabaka, Edith Nagujja Nakazaana eyafiiridde e Bungereza, aziikibwa enkya ku biggya bya kitaawe Hamu Mukasa e Nassuuti, Mukono.

  Omugenzi Nagujja Nakazaana ye yalabirira Kabaka ebbanga erisinga obunene ng’ali mu Bungereza.

  Omulambo gwe gujja kusooka kusabirwa mu Lutikko e Namirembe akawungeezi ka leero oluvannyuma gutwalibwe e Nassuu-ti, Mukono gy’anaaziikibwa.

  Nagujja Nakazaana yadduka mu Uganda mu 1966 era n’okutuusa kati abadde abeera Bungereza nga yafudde bulwadde bwa aniya. Mwana wa Hamu Mukasa owoomukaaga.

  Yasooka kusoma busomesa mu Buloba TTC gye yava n’agenda mu Bungereza n’akuguka mu by’okutunga era nga yasomesa abantu bangi okutunga mu Uganda naddala abakyala.

  Yazaala omwana omu mu bba Asanansiyo Kironde gwe yagattibwa naye empeta.
  Bukedde
  Published on: Thursday, 11th September, 2008

  #19653
  MulongoMulongo
  Participant

  Kabaka akungubagidde jjajjaawe Nagujja
  1221311799flag.jpg
  Nnaabagereka Nagginda ng’assa ekimuli ku ssaaduuko e Namirembe.

  Bya Nicholas Kajoba

  KABAKA Ronald Mutebi akungubagidde jjajjaawe Edith Nakazaana Nagujja eyasabiddwa mu Lutikko e Namirembe ku mukolo ogwetabiddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda n’Omulangira Jjunju.

  Nakazaana yafiiridde Bungereza mu ddwaaliro lya Kings College wiiki eno bwe yabadde atwaliddwaayo okulongoosebwa haniya.

  Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi okwakulembeddwa omulabirizi w’e Mityana eyawummula Wilson Mutebi, abakungubazi n’ababaka baabwe baamutenderezza olw’okubeera omukazi atya Katonda era omukozi.

  Katikkiro J.B Walusimbi mu bubaka bwe obwamusomeddwa minisita w’e Mmengo, Nelson Kawalya yatenderezza omugenzi olw’okukuuma Kabaka Mutebi mu biseera by’akanyoolagano ka 1966.

  “Omugenzi yeeyakuuma n’okulabirira Kabaka Mutebi bwe yali mu buwang’anguse e Bungereza. Obuganda n’abantu ffenna tumusiima olw’ekyo” bwatyo Walusimbi bwe yategeezezza.

  Nakazaana yazaalibwa July, 1921 nga kitaawe ye mugenzi Hamu Mukasa (eyali Ssekiboobo). Yasomera Gayaza High, Buloba TTC n’oluvannyuma n’agenda mu Bungereza. Yakomawo oluvannyuma n’afumbirwa Asanansiyo Kironde. Yaziikiddwa eggulo e Nasuti mu Mukono.
  Bukedde
  Published on: Saturday, 13th September, 2008

  Mukama amuwummuze mirembe.

Viewing 7 posts - 1 through 7 (of 7 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.