Kabaka asimattuse akabenje

This topic contains 2 replies, has 1 voice, and was last updated by Alex Kigongo Alex Kigongo 5 years, 8 months ago.

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #18251
    Alex Kigongo
    Alex Kigongo
    Keymaster

    Kabaka asimattuse akabenje
    Jan 30, 2014

    Bya BENJAMIN SSEBAGGALA, STEVEN MUSOKE, SAUL WOKULIRA, LILIAN NALUBEGA NE AMON MUKASA

    SSAABASAJJA Kabaka eggulo yakedde kukola dduyiro e Bugerere. Yavudde mu Lubiri e Ntenjeru n’adduka ng’ayolekedde oluguudo olugenda e Kayunga. Ku ssaawa nga 12:30 bwe yabadde addayo mu lubiri, ng’abaserikale be bamugoberera beesudde mmita nga kkumi, emmotoka ya poliisi n’ejja ng’edduka nnyo.

    Abaserikale ba Kabaka baagiyimirizza kyokka omuserikale eyabadde agivuga n’atayimirira wabula n’agisiba omulundi gumu nga yeekanze Kabaka.

    Ssaabasajja yeekanze emmotoka emutuseeko n’abuuka omufulejje n’adda ebbali w’oluguudo.

    Ekkubo lyabadde likwatiridde enfuufu kubanga libadde lyakalimwa olw’okwetegekera okulambula kwa Kabaka. Omuserikale yakwatiddwa era akuumirwa ku poliisi e Kayunga.

    Omutanda teyalumiziddwa era yazze ku luguudo n’agenda mu maaso ne dduyiro okutuuka mu lubiri gye yavudde okugenda mu maaso n’emikolo gy’okukomekkereza okulambula kwe e Bugerere.

    Bino okubaawo, Kabaka yabadde ayambadde engoye z’Ebyemizannyo nga mu matu ataddemu obuwuliriza leediyo nga kiteeberezebwa nti y’ensonga lwaki emmotoka yamutuuseeko nga tawulidde.

    Abaserikale ba Kabaka baakutte Owapoliisi ne bamukubamu ensambaggere n’oluvannyuma ne bakolagana ne poliisi eyazze n’emutwala ku poliisi e Kayunga.

    Ne ku Lwokubiri Kabaka yakedde kukola dduyiro era amawulire bwe gaasaasaanye abantu ne banguwa okukung’aana ebbali n’ebbali w’oluguudo olwo Beene n’atta ku bigere okubawuubira.

    Omwogezi wa poliisi, Judith Nabakooba yategeezezza nti okutwalira awamu okulambula kwa Kabaka kwagenze bulungi era tewaabaddewo ffujjo.

    N’agamba nti omuserikale waabwe yakedde kunona banne abaasuze ku mulimu era teyagenderedde kukola ffujjo.
    Olw’okuba obudde bwabadde ku makya ng’ekkubo temuli batambula, yavuze sipiidi era teyategedde nti Kabaka yabadde akola dduyiro.

    Wabula teyayatuukirizza mannya ga muserikale ono n’agamba nti bamutadde mu kaduukulu bongere okwetegereza ensonga zino.

    N’agattako nti enjuyi zombi olwa Poliisi n’abakulira ebyokwerinda bya Kabaka bajja kutuula basalewo eky’okukolera omuserikale ono.

    Kabaka oluvannyuma yeegattiddwako Nabagereka ne bagenda e Bukolooto okuggulawo ekkanisa ya Abadiventi. Wano we yavudde okukomawo e Ntenjeru awaabadde olukung’aana lwa bonna era we yakomekkererezza okulambula Bugerere.

    Ebikonge mu Buganda okuli Omumyuka wa pulezidenti Edward Ssekandi, Abalangira, ababaka ba palamenti n’abeebitiibwa abalala baabaddeyo okwaniriza Omutanda.

    #28079
    Alex Kigongo
    Alex Kigongo
    Keymaster
    #28080
    Alex Kigongo
    Alex Kigongo
    Keymaster

    Akulira abaserikale ba Kabaka annyonnyodde ku by’akabenje k’e Bugerere
    Jan 31, 2014

    Bya LILIAN NALUBEGA

    AKULIRA abajaasi abakuuma Kabaka, Lt. Stanley Lutwama Musaazi annyonnyodde ebyabaddewo ku kabenje omusirikale wa poliisi ke yabadde agenda okutuusa ku Kabaka mu kulambula kwe e Bugerere era abinnyonnyola bwati:

    Obudde bwabadde bunaatera okukya, Ssaabasajja n’afuluma mu Lubiri lwe e Ntenjeru n’atandika okukola dduyiro nga bulijjo.

    Yadduseeko akabanga okuva ku Lubiri n’aweta mu kakubo akamu akayingira mu kyalo ekimu ku biriraanye Olubiri.

    Oluvannyuma lw’ekiseera, Kabaka yakomyewo ng’ava mu kakubo kano akagatta ku kkubo eddene eriva e Kayunga okugenda e Bbaale.

    Yabadde atuuka bw’ati mu kkubo eddene, ne zireeta omuserikale wa poliisi ng’ali ku misinde gya yiriyiri. Twamuyimirizza kyokka n’asooka agaana nga ndowooza tamanyi kye tumugamba.

    Mu kiseera kino, Kabaka yabadde amaze okubuuka okuva mu kkubo okuviira emmotoka eno.

    Omutawaana we gwabadde gujjidde, ye musirikale wa poliisi okutuuka mu maaso n’asiba mmotoka n’adda emabega okuwulira kye bamugamba ate olwo ne Kabaka yabadde azze mu luguudo ng’avudde mu lukonko gye yabadde abuukidde okuviira mmotoka era wano akabenje we kaabadde kagenda okugwira.

    Abasirikale ffenna abaabaddewo twakookinze emmundu okwetegekera ekyabadde kigenda okuddirira era wano twakubye essimu mu bantu ab’enjawulo okwabadde n’aba poliisi abatwala omusirikale ono okubannyonnyola.

    Ekituufu kyabadde nti omusirikale ono teyagenderedde kukola kikolwa kino wabula yavugisizza kimama ate n’agaana okulabulwa mu kusooka bwe twamuyimirizza n’atatufaako kubanga twabadde tumutegeeza butegeeza aleme kuvuga ndiima.

    Katikkiro Charles Peter Mayiga yeevumbye akafubo n’omwogezi wa poliisi, Judith Nabakooba era oluvannyuma omusirikale yakwatiddwa n’aggyibwako sitetimenti era n’abakuumi ba Kabaka baakoze sitetimenti ku byabaddewo.

    Aduumira poliisi e Kayunga, Bob Kagarura yategeezezza nti omusirikale ono yaggyiddwa e Kayunga n’aleetebwa e Kampala okwongera okwetegereza ensonga ze. Nabakooba yannyonnyodde ku Lwokusatu nti kano kaabadde kabenje akatali kagenderere era bagenda kwongera okwetegereza ensonga eno.
    http://www.bukedde.co.ug/news/76461-akulira-abaserikale-ba-kabaka-annyonnyodde-ku-by-akabenje-k-e-bugerere.html

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.