Kabaka Teyandigobye Baganda Ku Ttaka Kati

 • This topic has 4 voices and 12 replies.
Viewing 13 posts - 1 through 13 (of 13 total)
 • Author
  Posts
 • #19066
  MulongoMulongo
  Participant

  600 bagobwa ku ttaka lya Kabaka e Bwaise
  bwaise_project.jpg
  Pulaani y’akatale ke baagala okuzimba e Bwaise bw’efaanana.

  Bya Anthony ssempereza
  ne Sarah Zawedde

  ABATUUZE 600 bagenda kusengulwa ku ttaka lya Kabaka erisangibwa e Bwaise Kimombasa. Ekitundu ekigenda okusengulwako abantu kigatta zooni ssatu; Katale, Jambula ne Lufula byonna nga biri ku luguudo olwa Bwaise- Nabweru.

  Mmengo yawa kkampuni ya Global Star Uganda Limited olukusa okukulaakulanya ekitundu kino, nga mw’otalidde n’akatale akasangibwa mu kitundu kino bituukane n’omulembe.

  Mu bbaluwa Mmengo gye yawandiikira abakulembeze b’omu kitundu kino esomeddwa eri abatuuze mu lukung’aana olwatudde ku Lwokuna, Mmengo yategeezezza nti: “ Twawa kkampuni ya Global Star Uganda limited omukisa gw’okukulaakulanya, ekitundu ky’e Bwaise n’okuzimba ebizimbe eby’omulembe omunaateekebwa akatale “

  Ate ebbaluwa endala eyawandiikiddwa aba Nkuluze, yabadde yeebaza kkampuni ya Global Star Uganda limited olw’ekkubo ly’ekutte ery’okulaba ng’ettaka lya Kabaka limuddira.

  Abatuuze baatuuzizza olukiiko olw’amangu mwe baasimbidde nnakakongo nti, tebagenda kuva mu poloti zaabwe nti kubanga bagudde mu lukwe lw’okubabbako ettaka .

  Abamu ku bantu abagenda okugobwa ku ttaka lino Bukedde ku Ssande be yayogeddeko nabo bino bye boogera:

  Abdallah Bbongole (akulira ebyokwerinda mu Jjambula Zooni: Abatuuze ffennyini ffe twandisoose okuweebwa omukisa okwekulaakulanya era tusobola okukikola nga twenoonyeza abantu be tulaba nga balambulukufu okutukung’aanyamu ssente ne twekulaakulanyiza ekitundu.

  Nagujja Namukasa Maric (81): Nze nasenga mu kitundu kino emyaka kati 60 egiyise nalabidde awo ng’abantu bajja nga bang’amba nti, Kabaka abasindise bapime ettaka lyange, ko nze oba Kabaka yabasindise sisobola kugaana bwe baamala okulipima ne bagamba nti nteeke erinnya lyange ku bipapula byabwe era nange ne nkikola. kyokka bwe nagenze okwebuuzaako abatuuze bang’ambye nti bayinza okuba nga bansalidde lukujjukujju lwa kungoba ku ttaka.

  Nannyonjo Sarah: Nze ndi nzaalwa ya mu kitundu kino era mmange yafa naye yandeka mu Kimombasa wabula mmwe abakulembeze mbasaba babeere balambulukufu muleme kutulyamu lukwe. Billy Ssemakula : Nze nzaaliddwa kuno era nzaalidde kuno abaana era twafuna liizi nga tuwa n’obusuulu e Mmengo kati olwo ongoba ndage wa? Kati mpulira nti bagenda kuleeta enkulaakulana ya byabusuubuzi ffe abasula mu kitundu tunaasula mu maduuka?.

  Zakali Bisaso:

  Okuggyako nga Mmengo evuddeyo n’etutegeeza ekigenda okukolebwa wano tetujja kuvaawo. Kimbowa Baker Bakusekamajja: Nze ndi musajja muganda ggereggere, wabula nneewuunya Abaganda okugobaganya Abaganda ku ttaka olwo tulage wa? olwo ate Kabaka ayagala tufuuke mmomboze mu Buganda?

  Nabagesera Hawa Muwanga: Kitange ye yatandikawo akatale kano era n’atemako ettaka erimu nazimbako ennyumba ye, kati yafa olwo omuntu atandikira wa okungobanganya mu kitundu kitange we yandeka?

  Peter Mukasa: Kkampuni eno nkizudde nti ya kicupuli kubanga teyise mu mitendera mituufu bwe twabuuzizza Kaggo Tofir Malokweza yatugambye nti ye tabimanyiiko ate ne ku ggombolola tebagimanyi.

  John Mugerwa: Nkaddiyidde ku ttaka lino era kwe nkolera sirina gye ndaga anansengula ajja kumala kunzita

  Isaiah Kabuubi : Abamu ku bakulembeze b’ekitundubeenyigidde mu kutugobaganya ku ttaka batusaba ebyapa oba ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lyaffe ng’ekigendererwa kyabwe kya kukettera bali bajje nga bamanyi ebikwata ku batuuze b’omu kitundu.

  Akulira kkampuni ya Global Star Uganda limited Henry , Ssekyondwa Muwonge agambye nti, kkampuni yaffe yayita mu mitendera, era yavuganya ne kkampuni endala 15 n’ezimegga. Tetuzze kusengula bantu wabula tuzze kukola nkulaakulana nga tukwatiza wamu n’abatuuze b’ekitundu.

  Ye omukungu wa Kabaka Kiwalabye Male omuwandiisi w’ekitongole ky’ettaka agambye nti; “ Kabaka bw’aba aleese enkulaakulana mu kitndu ate ku ttaka lye ani asobola okugiremesa” Omukungu omulala akola ku by’akatale k’e Bwaise yagambye nti “Pulojekiti y’okukulaakulanya akatale k’e Bwaise yatandika mu 2008 era tewali muntu yenna gwe tugenda kugobaganya, abantu bonna abali mu kitundu kino tugenda kukulaakulana nabo okuggyako omuntu bw’anaaba ayagala okusasulwa oyo ajja kusasulwa alabe w’agenda. Buli muntu ali mu kitundu kino ajja kupimirwa w’ali ayingire butereevu mu nkulaakulana egenda okuleetebwa mu kitundu”, bwe yagambye.

  Bukedde
  Published on: Saturday, 6th September, 2008

  #19540
  MulongoMulongo
  Participant

  Bannange kino kibuzabuza abantu. Banalwanirira batya ettaka lyebatalina? Banawagira batya entegeka ezibalese ku makubo? Yye ku ludda lwabakola ku ttaka lya Kabaka, okulakulanya otya kyotalina? Eno ettaka lya Buganda liri mu lusuubo, eno mbu Mengo ayagala kulikulakulanya. Owulira abagala okutematema mu masiro, abaatematema edda ebiggwa, nabagoba Abaganda mu bifo byaabwe. Lwaki tetusookako kimu? Kubanga bwetuba twetegese abantu bateekebwateekebwa nobwegendereza nebasengulibwa Obuganda nebulyooka bukoleera webwagala emirimu. Naye kino ekikolebwa kati kyongera kukutula kutula mu Baganda. Ensonga eno eyagala kwegendereza, bagira baleka okwagala enyo okukulakulanya, wasooke wabeewo obwegaffu, abantu bamanye omukyaamu natali. Ggwe ate abatali Baganda bagoba Abaganda ku ttaka, ne Kabaka agoba Abaganda ku ttaka. Abantu besige ani? Baddukire wa? Oba nze nabatuuze nga bano waggulu nga ffe abatategedde bulungi wabeewo atuwabula mbegayiridde!!!

  #19541
  MulongoMulongo
  Participant

  Soma bino ombulire enjawulo weeri. Abamanyi mujje mutunyonyole, twekunge nga tutegeera kyetukola. Oba olyaawo singa ebintu byonna abikwata ku ttaka Abaganda bakungibwa okubiyimiriza, netumala okutereeza ensonga zino?

  Ettaka Mbabazi lye yatunze lya mayiro ya bazzukulu ba Mugema
  ttemangalo.jpg
  Eddwaaliro ly’e Ttemangalo eryazimbibwa okuyamba abakyala n’abalina siriimu ku ttaka lya Nzeyi lye yatunze.

  MINISITA w’ebyokwerinda Amama Mbabazi n’omusuubuzi Amos Nzeyi bali mu kattu olw’okuguza ekitongole ekitereka ssente z’abakozi ekya NSSF yiika 462 e Ttemangalo ku bukadde 24 buli yiika ne bafuna obuwumbi 11. Anthony Ssempeereza agenze e Ttemangalo okumanya eby’ettaka lino we biyimiridde n’azuula bino:

  Minisita Mbabazi afuna atya yiika e Ttemangalo?

  NNAALONGO Mulima ye Nnamwandu wa Ssaalongo, Mulima eyali omutuuze w’e Ttemangalo. Alina ekibanja ku ttaka lya Minista Mbabazi lye yaguzizza ekitongole kya NSSF. Akeera kulima mmere era tannaba kumanya nti, ettaka kw’alimira lyagulwa dda. Mulima agamba nti, “Nafumbirwa omugezi Ssaalongo Mulima mu 1964 era namusanga yagula ekibanja wano mu 1950. Okuva 1964 nnimira wano sivangawo. Yakigula ku Yekoyada Kibuuka era twamuwanga obusuulu. Kibuuka ettaka lye yaliguza Mohammed Bbaale n’atandika okutuggyako obusuulu mpozzi naye n’aguza Mbabazi kubanga abadde talina ky’atuggyako.”

  Abasenze bangi bafudde naye bannamwandu n’abaana bakyaliwo. Kuliko abataka bataano be nasanga ku kyalo kino nga nfumbirwa Simon Kibirige, John Ssekayonjo, Paul Mpagi, Bumali Sserunjogi ne baze Mulima.

  NSSF okutugula mbiwulira mu mawulire sinnaba kulaba muntu ajja kututegeeza ng’abatuuze, abaasenga ku ttaka lino.

  Minisita Mbabazi, ensonga z’ettaka azimanyi nga bwe zitambula bw’aba nga ye nnannyini omutuufu, yandibadde atutuukirira n’atuwa omukisa ogusooka nga nnyini ttaka twegule naye takikolanga era tewali n’omu gwe yali atuukiridde. Aba NSSF bwe baleeta ekifuba, tugenda kubaddamu na muliro.”

  Ssentebe wa LC1 e Ttemangalo Mw. Edward Mukasa agamba nti, “Ettaka lya Minisita Mbabazi kuliko abasenze bataano bokka naye tebalina kye bamanyi nti baagulibwa NSSF. Ku ttaka lya Mbabazi e Ttemangalo alundirako nte naye mu kiseera kino kuliko ente nga kkumi endala yazitwala ku faamu ya Amos Nzeyi era e Ttemangalo.

  Mw. Kasugga Timothy 70, nga y’akulira eddwaaliro erisangibwa ku ttaka lya Amos Nzeyi,e Ttemangalo agamba nti, Mw. Nzeyi yatuwa ekitundu ku ttaka ly’ e Ttemangalo kya yiika 2 ne tuzimbako eddwaaliro lya ‘Wakiso Women Epicentre’ erijjanjaba abakyala n’abalina siriimu. Mu kifo awazimbwa eddwaaliro waali wa Mulangira Kimera naye twesondamu ssente ne tumusasula n’agenda asenga awalala. Ekyapa ky’ettaka mu kifo we twazimba eddwaaliro lyaffe Mw. Nzeyi takituwanga, wadde ng’ekifo twakiteekamu ssente zaffe nnyingi ng’abatuuze tufune obujjanjabi ku kyalo. Bwe kiba nti lyonna baaligasse ne batutunda mu NSSF tugenda kwegugunga.

  Mw. Amos Nzeyi afuna atya e Ttemangalo?

  Mw. Sam Mukalazi mutuuze w’e Ttemangalo era ettaka lye lisalagana n’erya Nzeyi lye yaguzizza NSSF. Agamba nti, “Kamulegeya (Mugema) alina mayiro munaana okuva e Bbira ku lw’e Mityana okudda e Ttemangalo. Ettaka lino lya kika kya Nkima era abazzukulu lwe baliribanja simanyi Mugema ky’agenda kubagamba.

  Enkyukakyuka ku ttaka lino zaatandika na kugaba liizi eri abayindi ya myaka 49. Baalimirako amapaapaali ge baggyangako amasanda naye liizi yaabwe yaggwaako ne baliddiza Kamulegeya era n’omusiri gw’amapaapaali ne guzika.

  Kamulegeya yafuna Omuyindi Partel n’amuwa liizo okulima amajaani ng’essamba ye bagiyita Ttemangalo Tea Estate. Kigambibwa nti erinnya lino ‘Ttemangalo’ lyava ku mupakasi eyeetema engalo ng’ali mu majaani Omuyindi n’amuvujjirira ensimbi aleme kuloopa ekyaddako nga buli mupakasi ayagala yeeteme engalo afune ku ssente. Amin bwe yagoba Abayindi essamba y’amajaani n’efuuka ekibira.

  NRM bw’ezze mu buyinza ettaka lino eriweza yiika nga 360 Dr. Samson Kisekka yatuukirira Kamulegeya ng’amuwa emitwalo 17 buli yiika n’agaana okulitunda.

  Amos Nzeyi yajja n’aligula ng’amuwa ssente eziwerako Kisekka n’agenda ng’atolotooma nti, “Kamulegeya atalina wadde akamotoka mu luggya annyimye ettaka…” n’ebirala olw’obusungu.Wano ettaka we lyafuukira erya Amos Nzeyi. Kyokka n’erya Mbabazi nalyo liri ku butaka bwa Nkima lye baagasse ne baliguza NSSF ku 24,000,000/- buli yiika.

  Kyokka nange nnina ettaka ayagala ajje mmuguze ku bukadde kkumi bwokka ntegekere abaana bange nga nkyali mulamu.

  Bukedde
  Published on: Saturday, 6th September, 2008

  #19548
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  Ebintu ebikwata ku ttaka lya Buganda, birimu kigoye wezinge wa maanyi. Nange negasse kubatategeera bulungi ani agoba ani atunda ani akulakulanya ani. Songa ekyokuba nti etteeka eppya eriteesebwako bbi ekyo nnakimatira. Wabula abatuuze tutangaazibwemu. Kubanga oluusi tuyinza okwesanga nebannaffe abamu, nga bebaba bagobye ku ttaka lya Kabaka, nga mubyobumu bwa Baganda tebajja bulungi. Kirungi twekengere embeera bweziti, tukole kyonna ekisoboka tuzigeme. Obuganda bubeere bunyweevu bwonna wamu. Oba Mengo yandinyonyodde Nambooze nakabiina ke, bbo nebagendanga neboogera nabantu Kabaka babeera ayagala okusengula? Nange ekintu kino kitabudde, kubanga ntebeereza abakadde, bamulekwa, ba Namwandu, abalwadde abaali mu maka 600 luno olugobebwa. Abakiise mukiike ku mulamwa guno.

  #19599
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Kyenkana abantu bonna abasalawo wano ku ttaka lya Buganda lino si Baganda. Abaganda bameka abali eyo mu bitundu ebirala nga bebasalawo kwani agula ani atunda etaaka lyaabwe? Katonda ajjayo ebintu bino Abaganda mubirabe.

  ‘NSSF baamenya mateeka okugula ettaka ly’eTtemangalo’

  Bya Ahmed Mukiibi

  OMUWABUZI omukulu owa gavumenti mu by’amateeka Billy Kainamura ategeezezza ababaka ba palamenti nti abakulira ekitongole kya NSSF baamenya amateeka nga bagula ettaka ly’e Ttemangalo ku Minisita Amama Mbabazi.

  Kainamura yagambte nti aba NSSF baalina okwebuuza ku mubalirizi wa gavumenti omukulu ne ku b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutunda n’okugula ebintu bya gavumenti kyokka tebaakikola.

  Yabadde mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku bitongole bya gavumenti akali mu kubuuliriza ku ngeri aba NSSF gye baagulamu yiika z’ettaka ezisoba mu 400 ku Minisita Amama Mbabazi ne nnaggagga Amos Nzeyi ku buwumbi 11.

  Kainamura yeegaanyi nti ofiisi ye tekkirizingako ba NSSF kumenya mateeka nga bwe baategeezeza akakiiko wiiki ewedde n’agamba nti baalina okwebuuza ku mubalirizi wa gavumenti okufuna ekifaananyi ku bbeeyi y’ettaka nga tebannateesa na mutunzi.

  Wabula ababaka abaakuliddwa John Odit bwe baamulaze ebbaluwa gye yawandiika mu March 2008 ng’akkiriza aba NSSF okukutula ddiiro y’ettaka ly’e Tamangalo, Bainamura yategeezeza nti aba NSSF baabwebuuzaako luvannyuma nga kumpi enteeseganya ziwedde.

  Ababaka omuli Abdul Katuntu, Sanjay Tanna, Johnson Malinga, Barnabas Tinkasimire, Sauda Mugerwa baamusalidde omusango nti yalemwa okukola omulimu gwe ogw’okuwabula NSSF mu by’amateeka n’atuusa abakozi okufiirwa obuwumbi 11.

  Bukedde
  Published on: Tuesday, 9th September, 2008

  #19613
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Omujaasi asimattuse okuttibwa abasuubuzi mu Kisenyi
  ebyettaka.jpg
  Omujaasi Brig. Waswa (ayimiridde) ng’ali mu lukiiko lwa LC

  Bya Hannington Nkalubo

  ABAKOLERA ku ttaka erikaayanirwa mu Kisenyi bazingizza omujaasi wa UPDF Brig. Wasswa Balikalege n’abapunta ababadde balirambula ne babakwata nga kigambibwa nti baasindikiddwa eyali omulamuzi Guster Mugoya abagoba.

  Brig. Wasswa yatuuse mu kitundu ku ssaawa 3:00 ez’oku makya mu mmotoka ye ey’amagye ng’ali n’omukuumi n’abapunta babiri. Yatandise okulambuzibwa ettaka omu ku basuubuzi Hassan Mukyadandwa ng’ali n’abapunta nga bwe bapima.

  Kyokka omu ku basuubuzi olwabalabye n’atemya ku banne ne bayiika. Baamukazizza ne bamubuuza amutumye era ne kyayagala ku ttaka lyabwe. Akaseera ako abavubuka beeyawuddemu ebibinja bibiri ekimu ne kimwebulungulula ate ekirala ne kigenda ku mmotoka kigikumeko omuliro.

  Bino byabaddewo Lwakutaano mu zooni ya Buwanika awali ettaka lya Kabaka erigambibwa okugulibwa eyali omulamuzi Guster Mugoya.

  Abasuubuzi balemeddeko ne batwala omujaasi mu kkooti ya LC1 Tibamwenda buli ludda gye lwayanjulidde okwemulugunya kwalwo.

  Brig. Wasswa yabategeezezza nti ye Hassan Mukyadandwa ne banne baamugambye nti balina ettaka eriweza yiika lye batunda mu Kisenyi kwe kugenda balimulambuze aligule kubanga ayagala kuzimbako sitoowa.

  Omudduumizi wa Poliisi e Kampala mukadde Moses Mwanga yalagidde ebiwayi ebikaayana bigende e Mmengo ebasalirewo.
  bukedde
  Published on: Saturday, 6th September, 2008

  #19654
  MulongoMulongo
  Participant

  Mengo tesaanidde kisirika nakamu ku nsonga nga zino. Abakungu bano bennyini bakole omulimu gwaabwe awatali kujuliza balala. Mengo eveeyo atutegeeze, wamu nabakiise be Bwaise, kiki ddala ekigenda mu maaso.

  Bakubaganye empawa ku kusengula ab’e Bwaise

  Bya Anthony Ssempereza
  ne Sarah zawedde

  KAMPALA city Council n’akulira kkampuni ya Global Star Uganda bakubaganye empawa ku ky’okusengula abantu mu Kimombasa e Bwaise .

  Akulira kkampuni ya Global Henry Ssekyondwa agambye nti entegeka zonna ziwedde ez’okukulaakulanya Bwaise nti era tebagenda kusengula muntu yenna mu kifo kino nti abantu bagenda kukulaakulana nabo. “Abantu bajja kufuna emidaala mu katale akagenda okuzimbibwa okuggyako oli bw’aba ayagala okugenda awalala olwo tujja kufuna omuntu ayagala ekifo atuwe ssente olwo tumusasule”, bwe yagambye.

  Kyokka omwogezi wa KCC, Mw. Simon Muhumuza yagambye nti KCC yafuna okusaba okwava e Mmengo nga baagala okukulaakulanya ekifo kya Bwaise Kimombasa nti era okusaba kwabwe mwalimu eby’okukulaakulanya akatale n’okusengula abatuuze mu kifo kino.

  Bo abatuuze bakyesaze akajegere nga bagamba nti beewola ssente mu banka tebalina bwe banaazisasula nga bagobeddwa.

  John Mukasa: Enkulaakulana eno tetwandigigaanyi kuba ffenna tugyetaaga naye batuleke ffe abantu b’omu kitundu ffe twekulakulanyize ekifo kyaffe.

  Peter Mukasa: Abantu abamu tulina amabanja ga banka, nze nnaakeewola obukadde 20 ffe abamu ssente zino twasingayo maka gaffe ate nga wano we tubadde tuggya ssente okusasula, kino kiba kitegeeza nti abamu bagenda kutusiba n’okufiirwa amaka gaffe. Ssente zonna banaazitusasula n’amagoba ga banka?

  Margaret Nangabane: Mmengo emala kutugulira bibanja walala ate mu Kampala nga wenkana omuwendo ne Bwaise tulyoke tuve ku ttaka lya Kabaka lino. Haji Abdu Mutebi: Mmengo eveeyo ejje esomese abantu ku kiki ky’egenda okukola waakiri omukungu wa Kabaka yenna ajje atutegeeze oyo tujja kumuwuliriza okusinga abantu abalala abajja wano nti batusengula.

  Wabula ssentebe wa basuubuzi mu Katale ka Kabaka e Bwaise John Musisi agambye nti kye baayagaliza embazzi kibuyaga asudde . “Twayagala dda akatale kano kazimbibwe kabeere ku mulembe era kino bwe kibeera nga kireeteddwa mu kitundu tukyaniriza .
  Bukedde
  Published on: Saturday, 13th September, 2008

  #19665
  MulongoMulongo
  Participant

  Abatali Baganda bave mu bintu ebikwata ku ttaaka lya Buganda. Bogerere ku bye ttaka lyewaabwe, kubanga Abaganda bwetulitandika okuyingira mu bye ttaka lyaabwe, tebagenda kukyagala nakamu. Yye Mengo wano ekiraba bulungi endowooza ya bantu, nga bwebasobeddwa eka ne mu kibira. Abakungu be Mengo mwekkaanye byemukola.

  ‘Poliisi tesobola kukuuma babibanja ng’abamagye ne kkooti be babasengula’
  Looya Housein Tebuweeke

  KU pulogulaamu ‘Ttabamiruka’ ebaawo buli Lwamukaaga ku Bukedde Fa-Ma, abantu abamu abaakubaganyizza ebirowoozo balowooza nti poliisi eyenjawulo eyassiddwaawo okukuuma abebibanja tejja kuba na kyanjawulo ky’ereetawo. Semei Wessaali akutuusaako abantu nga bwe baateesezza.

  Stella Tumuhairwe owa NRM:
  Tufunye amawulire nti abamagye be bakulembeddemu okugoba abantu ku ttaka. Kati eno poliisi eneesobola okubang’anga? Waliwo n’okulya enguzi okususse mu poliisi n’olwekyo, Gavumenti yabadde esaana kuleeta bamiritale naye ekisaana okumanyibwa nti Abaganda be basinze okutundira bannaabwe ku ttaka.

  Robert Mugyenyi:
  Tosobola kusindika mbwa kukwata ngo. Nze omulimu gwange gwa kunoonyereza naye bye nzudde biraga nti Pulezidenti Museveni n’omuduumizi wa poliisi Maj. Gen. Kale Kayihura be bakulembeddemu okugula n’okugoba abantu ku ttaka. Kati bano Poliisi eyateereddwaawo b’eneekwata?

  Didas Byarugaba ow’e Wandegeya:
  Basooke bayise etteeka ly’ettaka erikyalemedde mu Palamenti olwo ne poliisi etandike ogwayo. Naye poliisi erina kulinda tteeka lino olwo egende mu bantu ng’erina we yeesigamye.

  Johero Nuwagaba owa FDC:
  Buno bulimba bwennyini obutawaanya gavumenti eno. Gavumenti ezze essaawo obukiiko ku ttaka byonna ne bigirema kati kwe bagasse Poliisi. Okwo kuzannyira ku bantu naye gavumenti eneetera okugwa bw’etyo bw’ebeera.

  Asiimwe Mulekwa Frank owa NRM e Lubaga:
  Bano b’owulira balwanyisa poliisi eno ezze okukuuma abebibanja be bamu abaali balwanyisa ekikwekweto kya Wembley, ekyafufuggaza ababbi mu ggwanga. Oluvanyuma bakkiriza nti ddala Wembley yakola omulimu n’olwekyo, bano be bamu bajja kukyuka.

  Simon Kuteesa:
  Pulezidenti teyaloose buloosi okussaawo poliisi eno, wabula amaze ebbanga ng’anoonyereza ku nsonga y’abantu abasengulwa ku bibanja byabwe. Temuyingiza byabufuzi mu nsonga eno.

  Daniel Kiirya ow’ e Busoga:
  Ensonga y’okujingirira ebiwandiiko tetandise leero. Abatali baganda be bafudde ettaka lyaffe okugula obusanga eddala ne balibbiramu. Bino eby’okussaawo poliisi eyenjawulo kumalira bantu biseera na ssente.

  RDC Edward Sekabanja:
  Poliisi eno nze ngiwagira kuba ejja kutuyamba ku bakiwagi ababadde tebagambwako nga basengula abantu ku ttaka. Naye kye nneebuuza, ssinga kkooti enEEyisa ekiragiro ekigoba abasenze, Poliisi embeera eno enEEgikola etya?

  Sserwadda Bosco:
  Olutalo lw’ettaka lunene okusinga mmwe bwe mululowooza. Era Pulezidenti Museveni akoze nnyo okussaawo akakiiko kano ne Poliisi okuwonya abebibanja. Ensonga lwaki ab’e Mmengo bakalwanyisa lwakubabwa nabo bennyini beenyigidde mu kutunda ettaka lya Kabaka n’okugoba abantu ku ttaka.

  Lutwama Africa ow’e Masaka:
  Abantu abagoba abalala ku ttaka mbaawulamu emitendera esatu. Waliwo abajaasi ba Museveni ab’amadaala aga waggulu; abaami ba Kabaka n’abagagga. Engeri y’okwewala kino yaakufuna miritale ekuume abebibanja okusinga Poliisi kuba tejja kubasobola.

  Kigozi Kaweesi:
  Ettaka ffenna tulyetaaga n’olwekyo si kyabwenkanya okugobako abamu. Nze ndowooza yadde Poliisi erina ebizibu byayo, tugiwagire nga bwe tulongoosa.

  Ahmed Muyingo ow’e Butambala:
  Nkizudde nti abantu abakyusa ebyapa baagala kubba ttaka lya Buganda.Ate akabinja ka poliisi ke baagala okussaawo tekajja kumala kuba tekasobola kutalaaga ggwanga lyonna. Naye bino byonna biraga engeri gavumenti eno ebintu gye bigidobonkanyeeko.

  Chief Moses Mboowa, Lusaze:
  Ewaffe bakanyama ba poliisi be bawambako abantu ettaka n’okubagoba ku bibanja, kati ate be bamu abaaweereddwa obuyinza okukuuma abebibanja bababbire ddala! Poliisi terina maanyi kwang’anga bamagye abasiiba babba ettaka ly’abantu.

  Fred Bamwine, amyuka RDC e Nakawa:
  Nyaniriza ekitongole kya poliisi kino ekipya naye kirina omugugu munene kuba abamenyi b’amateeka abagenda okukwatibwa bangi nnyo.

  Isaac Mutyaba owa Shauriyaako:
  Lwaki okugoba n’okusengula abantu ku ttaka kuzze ku mulembe gwa Museveni?

  Ssebulinde John Bosco:
  Abagula ettaka ssente ze zibawaga era sente ze zimu ze bajja okukozesa okugulirira poliisi.

  Ssentamu George William, omu ku bofiisi ba poliisi eyenjawulo ekuuuma abebibanja:

  Ffe mutuggye mu byobufuzi byammwe. Baatuteekawo kunoonyereza ku nsonga eno ey’okusengula abantu era kino kye tugenda okukola. Tulina okukkiriza nti ekizibu ky’okusengula abantu weekiri era tusitukiremu tukikwateko nga bwe mutuwa amawulire.

  Baguma Yowaasi, omubuulizi w’enjiri:
  Pulezidenti Museveni aleete magye ge gajja okusobola embeera y’okusengula abantu.

  Asadu Kibuye- owa FDC:
  Gavumenti ne bw’eneeyiiya obukodyo obw’enkana wa, ffe Kabaka waffe yatugamba nti etteeka ly’ettaka tuligaane. Ne bwe banaakyusa etteeka lino emirundi emeka, ffe twaligaana dda.

  Hussein Semakadde ow’e Kawempe:
  Ku nguzi efumbekedde mu kkooti, abo abapoliisi tebalina kye bajja kukolawo.

  Omwogezi wa Poliisi, Judith Nabakooba naye Ttabamiruka yamwetabyeko ne bamwokya ebibuuzo. Mu bano mwabadde Nakagiri, Abdu Karim Kiggundu, Makolo Kavuma, Isma Lubega , Kasoma Farouk , Baguma Yowasi n’abalala abaamubuuzizza ebibuuzo ebikwata ku nneeyisa ya poliisi n’ekibinja kya poliisi ekinaakuuma abebibanja.

  Nabakooba yagambye nti abapoliisi 80 batendekeddwa okukuuma abebibanja, nga bakolera wansi w’abaduumizi ba poliisi ba DPC ne RDC .
  Bukedde
  Published on: Sunday, 14th September, 2008

  #19667
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Omuyindi agoba abantu ku ttaka munsi yaabwe

  batuuze 100 baakusengulwa e Banda

  Looya Birungi (ku kkono) ng’aliko by’annyonnyola abatuuze b’e Banda.

  Bya Herbert Musoke

  ABANTU abasoba mu 100 e Banda zooni B3 be batiisibwa okusengulwa nnannyini ttaka ku bibanja byabwe. Ettaka lino erisangibwa e Banda mu katundu akamanyiddwa nga mu Kasenyi.

  Kigambibwa nti Omuyindi nnannyini kkampuni ya Bobmil Indus yagula ettaka lino mu 1996 n’ekigendererwa eky’okuzimbawo ekkolero.

  Okusinziira ku looya wa kkampuni y’Omuyindi, Wycliff Birungi kkampuni y’Omuyindi yagula ettaka lino ng’eyagala kuzimbawo kkolero wabula ssente ne zibabula n’ekituusa abantu okwesenzaako.

  Baasuubiza okubaliyirira, kyokka abasenze bakigaanyi ne bagamba nti bajja kulwana okusigala ku bibanja byabwe.

  Published on: Sunday, 14th September, 2008 abatuuze.jpg

  #19668
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Ffe abayindi gyebateseza ne kaguta deals zaabwe tetwaliyo ,teyamala kutuuza bantu ba Buganda nti sente zebamuwoze bwezirimulema okusasula, sikuba tazirina naye lwakuba alina bakyokooza okumumalira his dirty deals .

  Abayindi mugenda kukinyonyoka nga munnamwe ababulidde ate kyemutamanyi nti luno luyinza okuba oluyiira olutazikira mujja mu munsi za Africa ezimu ne mukoleramu effujjo mubadde mukyakwatibbwa omukisa kuba abadde avaako najja nga bonna tulaba nsowera tetumanyiiko nsajja nankazi .

  Naye ku guno omulundi muyisizaawo ejoogo buli kya bulyaake mwe kituttwa , kyemutajjukira nti kululi abantu babaddeko obubega obutafaayo kulaga busungu bwaabwe kuba babaddebakyaliko webakyafuna kassente okuva ebweeru ,.

  Naye Kati ebintu nayo bikalubye mulowooza munasenda abantu ekikula ekyo nemuzimbawo amakolereo oba mukolela ddala effujjo nemumala okusenda nemuleka ekyangaala kati abantu nebasigala nga batayaya mu makubo , mukama wammwe najja nekabangali ye nabayoola nebagenda babasuura mu makomera
  Another type of camp eri mu Buganda.

  Kuruno nabayindi bali as guilty as museveni, era mwenna bebasengudde nokwononebwa ebintu byammwe n’omuyindi mumuseeko eriiso egyogi
  byonna alina okubisasula nabuli kyayonoona mukiwandiise mubitereke bajja nabo kuvunanibwa.

  Lwaki museveni bwalemwa oku basasula temugenda ne muwamba ente ze ne mumalayo ssente zammwe mbadde mwenna muli muttuluba lyelimu omubbi ne gwebabbye singa temubiyingizaamu bantu baffe ba salumanya nga tebaganyulwanga mu bi deal byammwe nga basasulwaamu kubonabona.

  #19718
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  1222111551flag.jpg

  Kabaka talina ntegeka kugoba bantu ku ttaka lye- Sserubiri

  Okuva ku kkono; Serugga Matovu, Ssewava Sserubiri, Lamech Musoke ne Lillian Kaddu.

  ABAKUNGU ba Kabaka ab’ekitongole kya Buganda Land Board; Ssewava Sserubiri, Lameck Ssonko Musoke ne Lillian Kaddu baakyadde ku Bukedde FM ku pulogulaamu Mugobasonga. Ahmed Mukiibi akutuusaako bye baakubaganyizzaako ebirowoozo nga bakubirizibwa Seruga Matovu.

  Buganda Land Board kye ki?
  Sserubiri: Kino kye kitongole Ssaabasajja Kabaka kye yatondawo okulabirira ettaka lye erya Mayiro 350. Wabula kyatondebwawo nga kirabirira 9000 mu kusooka.

  Mayiro 350 ziri ludda wa?
  Sserubiri: Mayiro 350 zisangibwa kumpi wonna mu Buganda, okugeza disitulikiti nga Kampala liri e Mulago, Masajja, Lubaga, Bbunga, Mengo, Kabowa, Mutundwe, Najjanankumbi, Kabowa, Kakeeka, Lukuli, Bwayise, Kkonge, Buziga n’ebitundu kumpi byonna ebikola Kampala kuliko ettaka lya Kabaka. Bw’ogenda e Wakiso, Masaka, Mpigi Mukono ebyalo bingi ettaka lino gye liri. Mu nkuba y’ettaka lino, kumpi mu buli ssaza Kabaka yalina okubaayo n’ettaka.

  Ku mbuga z’amasaza, waliyo abantu abaasenga ku ttaka eryo, abo nabo bali ku ttaka lya Kabaka oba ku 9000.

  Sserubiri: Embuga z’amasaza n’amagombolola ezimu ziri ku mayiro 350 ate endala ziri ku 9000. Tulina amagombolola agawera agali ku 350 ate amalala gali ku 9000.

  Ettaka lino BLB lye mukuumira Kabaka, bwe liba nga liriko abantu limugasaaki?

  Sserubiri: Limugasa nnyo. Gye likoma okubeerako abantu gye likoma okumugasa, era Ssaabasajja talina mutawaana ku bantu era talina nteekateeka ya kusengula bantu be. Abantu bonna abaafuna ebibanja tewali muntu Kabaka gwe yaguza kibanja oba ttaka. Tosobola kutunda kintu kyotaagula.

  Amateeka gagamba nti tosima ttaka, musenyu, mayinja n’ebyobugagga by’omu ttaka kubanga byonna bya nnannyini ttaka, emiti egy’embaawo byonna byannannyini ttaka nga engeri yonna gy’oyagala okubikozesaako olukusa olufuna wa nnannyini ttaka.

  Bwe mba nnazimba, ku ttaka lya Kabaka, ntandikirawo okunyweza okubeera kwange ku ttaka lya Kabaka.

  Kaddu: Omuntu okumanyibwa, okuwandiisibwa okufuna liizi, oba ekyapa ku ttaka lya Kabaka, oyita mu mitendera gino. Oleeta obuwandiike kwe wafunira ekibanja ku ttaka lya Kabaka. Owandiikira Omuwandiisi wa BLB, ng’omusaba Liizi, oluvannyuma okolagana n’omulambuzi omukulu ow’ettaka lya Buganda Mw. Ssonko Musoke ali wano, n’akuwa Foomu gy’ojjuza okusaba liizi. Ffoomu eno eyamba omulabuzi w’ettaka okutegeera oba ettaka ly’osabye totalize oba si totalize.

  Ettaka ettalize lye liruwa

  Kaddu: Lye ttaka, lye Mmengo Block 12 eryabangako ennyumba za baminisita b’e Mmengo. Eddala lye ttaka erisangibwa ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba ku Block 16, Poloti 198. Awamu ziri yiika nga 48, ettaka ly’omulamuzi e Kakeeka, ye Kibuga Block 8, ettaka lya ba Girl Guides e Busaabala, liri Kyaddondo block 273 Poloti 5, ettaka lyaba Boy Scouts e Busaabala, Block 273, Poloti 5, ettaka ly’ekkomera ly’e Kigo, ettaka ly’e Munyonyo Kyaddondo kumpi n’akatale liri yiika nga kkumi nalyo terigabwako liizi, ettaka ly’e Makindye Block 273 liriko yiika nga ttaano, ebizinga by’e Ddamba mu Kyaggwe liwerako Mayiro nnamba, nalyo terigabwako liizi, ettaka ly’e Kawempe block 203 ziri Yiika nga 52 nazo tezigabwako liizi n’ettaka ly’e Kasanga ne Nabutiti Yiika nga 150 nalyo terigabwako liizi. Ettaka lino lyatalizibwa Obwakabaka nga ligenda okukulaakulanyizibwa mu ngeri ey’enjawulo, terigabwako liizi kyokka ab’ebibanja abaliriko tetubagobaako.

  Ow’ekibanja ali ku ttaka ettalize akola atya okufuna liizi?

  Kaddu: Ategeezebwa nti tasobola kuweebwa Liizi.

  Abali ku ttaka eritali ttalize, bw’amala okujjuza Ffoomu, ng’amaze okusasula 95,000, bw’omala okugula ffoomu eyo, waliwo ffoomu ze bakuwa okutwalira abaami ba Ssaabasajja mu kitundu ewali ettaka eryo, omwami omutongole n’omwami ow’omuluka, bassaako emikono kyokka osooka kusasula 40,000/- era ssente ziwandiikiddwa ku ffoomu eyo nga 20,000/- za Mutongole n’endala za wa muluka okuddukanya ofiisi.

  Liizi mugaba za bbanga ki?

  Kaddu: Kisinziira , bw’oba ng’ettaka kyangaala, tusooka ne tukuwa emyaka ettaano olikulaakulanya, oluvannyuma lw’emyaka ettaano, endagaano egamba nti bwonaamala okulikulaakulanya odda ewa nnannyini ttaka era taagaane nga okuggyako ng’alina ensonga enkulu. Awo okufuna Liizi ya myaka 44 ne giwera 49 kyokka kisoboka okufuna omunaana singa nnannyini ttaka abaako by’azudde byotakoze nge bwe mwasooka okukkaanya mu ndagaano.

  Bwe bamala okujjuza ffoomu eyo okussa endagaano ne maapu eragirira Poloti yo weri okuva ku luguudo obunene bwayo, n’okussaako n’akafaananyi ko n’ekifaananyi ky’ekifo n’obizza mu Bulange.

  Musoke: Nga munnamateeka bw’annyonnyodde, Ffoomu ezo ozizza mu Buganda Land Board, ne twekakasa nti otuukiriza bye twakusaba , oluvannyuma netugulawo fayiro n’eweerezebwa mu ofiisi y’akulira okulambula ettaka. Olwo tusindiika abalambuzi baffe okwongera okwetegereza, era bakomyawo lipoota kwe tusinziira okukuwa nnamba ya fayiro, n’okukuwa omupunta agenda okupima ekibanja kyo,

  Ani asasula omupunta gwe mumpadde
  Musoke: Asaba gwe omusasula, ffe atuleetera byakubye ne tubissa mu Fayiro ne twongera okugitambuza

  Kaddu: Abantu bangi beetwala ng’abapunta so nga bakwasi bankoba, Tulina kampuni nya ze tukozesa mu mulimu guno, tulina Wemo Consults, Landserv, Meridium Surveyors ne Geoteam.

  Abatalina ndagaano mubakola mutya

  Kaddu: Endagaano gye twayogeddeko kubanga abantu abasinga bagula bibanja wabula waliwo ettaka ly’obusika, abantu abafuna ettaka mu busika, oleeta ekiwandiiko ekiraga obusika, oba ekiwandiiko kyonna kye wafunirako ekibanja ekyo okukakasa nti ekibanja kikyo

  Ettaka bweliba ttalize kubanga nalyo liriko abasenze, Buganda Land Board bw’eba erina gy’eyagala okukolerako, ekikola etya.

  Serubiri: Tulina ettaka ng’abalala bonna bwe balina ettaka ate nga lisangibwa mu bibuga, ekitegeeza nti ekibuga kirina amateeka agakifuga, era ekirina Pulaani efulumizibwa n’ekakasibwa. Ekyokulabirako waliwo emisolo gy’amayumba abantu baali bagitabula nga balowooza misolo gya BLB, oli talina kyapa, talina liizi naye ng’asasula emitwalo nga 80 mu KCC kubanga alina ennyuma mu kibuga. Newankubadde ffe wano tuli bannannyini ttaka mu kibuga, Fayiro zino zigenda mu KCC , ku disitulikiti ewa Wakiso, okulaga nti asaba Liizi egenda kugoberera amateeka g’ekibuga.

  Buganda Land Board temusengula bantu
  Serubiri: Tekisoboka, enjawulo eriwo ya kutwala bantu nga kaguddeyo, okujooga obujoozi abantu, ffe BLB tetukikola, Twalina jjuuzi eby’e Kigo, abantu be baatusabanga nga balaba enkulaakulana tebaagala ebaleke, nga basaba tubasse ku lukalala baagala bayingire mu Pulojekiti, abantu twabakwata bulungi.

  Kaddu: Kabaka tatunda ttaka wabula akuwa ku ttaka lye okumala ekiseera ekigere okulikolerako ekintu ky’oyagadde ng’ofugibwa amateeka agali mu ndagaano wakati w’asabye Liizi ne Ssaabasajja Kabaka ng’erimu amateeka agalambika obulungi engeri gy’okugenda okukozesaamu ettaka eryo, ebbanga lyogenda okulikozesa. Mulimu n’akawaayiro akagamba nti olina okukulaakulanya ettaka eryo

  Published on: Monday, 22nd September, 2008

  #19736
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Kino kirungi, abantu bawewere emyooyo, ate n’Obuganda bumanye wwa gyebugenda, buleme kubuza buzibwa.

  Awangale Ssabasajja.

  #22090
  MulongoMulongo
  Participant

  ‘Ssebo Kabaka totugoba ku ttaka’
  Written by ROGERS KIBIRIGE
  Tuesday, 10 February 2009
  ABATUUZE ku byalo bina ebiri okumpi n’omwalo gw’e Busaabala basisinkanye abakungu b’e Mmengo okuva mu kitongole ky’ebyettaka ne basaba Kabaka obutabagoba ku ttaka nga bwe bawulira.

  Baakulembeddwaamu avunaanyizibwa ku by’okwerinda ku LC II Israel Ssentongo. Baagambye nti tebalina nsimbi zigenda kugula gye bagenda kusengukira okuva ku ttaka lye bamazeeko emyaka 50 era nga balinako n’ebiggya.

  Kino kiddiridde abatuuze ku byalo bina okuli Busaabala, Zziranumba, Kirinda ne Buggu okulaba ekipande ekyasimbiddwa ku ttaka lya Kabaka ery’e Busaabala okuli ebigambo ebibalabula obutasaalimbira ku ttaka lino.

  Bino byabadde mu kiwandiiko abatuuze kye baakwasizza abakungu ba Kabaka, Joseph Mulindwa ne John Holly Kamoome mu lukiiko lw’ettaka lwe baakubye e Busaabala era nga lwetabiddwaamu abatuuze abasukka mu 500.

Viewing 13 posts - 1 through 13 (of 13 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.