Kabaka waffe buli lwalabika munoonya okutta abant

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Agafa e Mengo / News from Mengo Kabaka waffe buli lwalabika munoonya okutta abant

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18002
    NdibassaNdibassa
    Participant

    LWAAKI KABAKA WAFFE BULI LWALABIKA MUNOONYA BE MUNATTA OBA OKUKUBA

    Abalabe ba Buganda bakyogera dda nti ekiritta Buganda kigenda kuva Mengo naye ababadde tebakisizaako mwooyo bwetugenda tulaba ebiddiringana teturema kwebuuza oba ddala abayogera ebintu ebyo baali bamaze okusaayo abantu abanabakolera omulimu gwaabwe ogwokusanyaawo obuganda nga basinziira Mengo.Omulugube gwasuula wammese mu kita waliwo akakundi kabantu abalowooza nti abaganda kyebabonyebonye ku bagwiira bajja kukikkiriza nabeyita abaganda bajje bakibakole nga balowooza nti bo bebaddawo okubafuga begagawaze bo namaka gaabwe .Buli agenda e Mengo ngakolerera Obuganda nga abagala okusanyaawo obuganda bamulemesa nga bamugobayo kubanga balowooza nti bafuna awo kulembekera Buganda nnene wewuunya lwaaki tebafuna kifo kirala nebatandika bu bussiness bwaabwe abagala okubagoberera nokufugibwa nebabasanga eyo , okusinga okulowooza nti buli kiseera munatekanga abaganda ku bunkeenke buli Kabaka lwalabiseeko eri Obuganda.

    Omulabe abakozesa ate bweyekyuusa nayasa ebyaama era ,enkwe buli Katikkiro avaayo zayogerako ekiseera kijja kutuuka Obuganda bubafundire, abantu baffe babonyebonye ekimala okuba nga balina okwejjako emisota mu ntamu .Atayagala bwakabaka takakibwa agende gyebutali
    Abaganda okubuna amawanga olwabagwiira ababattira nokubabonyabonyeza mu nsi yaabwe kibakoyesezza, kuluno mujja kulaba kubusungu bwaabwe nga batandikidde mu nju mwennyini okugogola ,abenkwe abali e Mengo abaletera abanga okuttibwa nokubonabona nabo obuganda bujja kubakolako awatali kisa naye tubegayirira Kabaka waffe mumujje mu ntalo zammwe bwemuba mwagala okufuga mufune walala Obuganda bubataddeko abiri

    Lwaki amazaalibwa ga Kabaka gaggweeredde mu kuyiwa musaayi?

    Okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka agaabadde galindiriddwa n’essannyu ku ssomero lya St. Mary’s College Kisubi gaggweeredde mu kuyiwa musaayi, abantu abawerako ne bafuna obuvune obwamaanyi bwe waabaluseewo olutalo abantu ne balwana ne poliisi, ekyawuniikirizza buli muntu, nga bangi n’okutuusa kati bakyebuuza ekyavuddeko embeera eno.
    Ebyabaddewo
    Ssaabasajja Kabaka yatuuse e Kisubi ku ssaawa nga 4:30 ez’okumakya mu ssanyu eritagambika, ng’abantu abasinga abaabadde wabweru abaabadde bamulinze tebaategedde weyayise era bwe baategedde nti ayingidde ne batandika okuleekaanira wagulu nti, “Twagala kulaba ku Kabaka waffe” nga bwe basembera ku mulyango okuyingira.
    Aba poliisi abaabaddewo baagaanye ne babagamba buli ayagala okuyingira yabadde ateekeddwa okubeera ne kkaadi eyamuyise ku mukolo guno, ekyayongedde okusajjula embeera abantu ne beeyongera okutaamuuka.
    Minisita avunaanyizibwa ku ntambula za Kabaka, Kabuuza Mukasa, minisita w’amakolero Kaddu Kiberu, omukulu w’essomero ly’e Kisubi, poliisi n’abaamagye abakuuma Ssaabasajja beegeyezzaamu okulaba kye bayinza okukolera abantu abaabadde bataamye obugo.
    “Muleke abantu bayingire, basooke bayite mu mitendera gy’okukeberebwa ffe tujja kusobola okubafuga bwe banaaba batuuse wano munda,” Kabuuza Mukasa bakira bw’agezaako okumatiza abakuumaddembe, wabula baalemwa okutuuka ku kukkaanya.
    Baminisita b’e Mengo, ababaka ba palamenti, abalangira n’abambejja ssaako omukulembeze wa Japadhola, Adhola Achani mu kiseera kino baabadde bakyasibiddwa wabweru, nga bagaanye okugondera ekiragiro kya poliisi okuva mu mmotoka zaabwe bayingire nga batambula n’ebigere.

    Poliisi eva mu mbeera
    Wano poliisi yatandise okukozesa amaanyi ag’enjawulo okusobola okugumbulula abantu okwabadde abayizi b’amasomero, aba Nkobazambogo n’abeekibiina kya BANGAWA abaabadde bakyalemeseddwa okuyingira.
    Abaserikale baakubye abantu embooko n’omukka ogubalagala awatali kusosola buli eyabaddewo bonna ne babuna emiwabo era waayiseewo eddakiika ntono amayinja ne gatandika okuvuga, omusaayi ne guyiika nga n’abapoliisi baalumiziddwa.
    Akavuyo keeyongedde era wano omuserikale wa poliisi omu yakubiddwa ejjinja era bwe yasituse wansi ng’atonnya omusaayi yawuliddwa ng’agamba omu ku banne nti, “ Where is the gun?” ekivvuunulwa nti “Emmundu eruwa?” ng’alabika yabadde ayagala kukuba mu bantu masasi.
    Ani eyatabudde omukolo?
    Abantu abasinga obungi olukongoolo balusimba mu bavubuka ba Nkobazambogo nti be baatabula omukolo, wabula ssentebe waabwe mu ggwanga, Francis Kigoye agambye nti, “Kizibu okugamba nti aba Nkobazambogo ffe twakola effujjo ate ku mikolo gya Kabaka. Owek. Kabuuza Mukasa yajja okutuyingiza naye ekibinja ky’abantu abalala kye tutamanyi gye kyava ne kiyingirawo amayinja ne gatandika okuvuga.”
    Omubaka Betty Nambooze, omu ku baafuna obuzibu obwamaanyi okuyingira agamba nti, “Abaakola effujjo si ba Buganda, aba Buganda tebalina ffujjo lino bweriti ate nga bakimanyi nti Kabaka gwe bazze okulaba. Nze abavubuka bampambye ne bantwala mu kisenge ekimu nga bwe bansikambula kyokka nga poliisi ebatunuulidde era nagenze okwetegereza nga balina entuumu z’amayinja mu ngoye zaabwe.”
    Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Idi Ibin Ssenkumbi agamba nti, “Embeera yateeka poliisi mu kaseera akazibu ennyo kubanga yalina okulaba ng’abantu bakugirwa obutatuuka Kabaka weyali, ekyanyiiza abantu ne batandika okukuba poliisi amayinja kyokka tewali muntu yenna gwe twakwata.”
    Abategesi boogedde ku byaliwo
    Omwogezi w’olukiiko olwategeka amazaalibwa gano, Owek. Peter Mayiga agambye nti, “Si kya buntubulamu okukasukira poliisi amayinja nga bwegwali e Kisubi. Poliisi teyalina buzibu bwonna kubanga yali ekolera ku biragiro olwokuba emikolo gyali gy’abaana n’abagenyi abayite abaalina kkaadi.”
    “Kabaka yasiima amazaalibwa ge agakuze n’abayizi awamu n’abaana abato era ky’ova olaba nga buli ssomero lyasabwa abaana 250 okuggyako aba St. Marys’ Kisubi abaategeka bonna baaliwo. Olwokuba waaliwo abantu bangi abaali baagala okulaba ku Kabaka waabwe kyokka nga tebaali ku nteekateeka, kye wava wateekebwawo olutimbe lwa TV olunene olwali mu kisaawe okugoberera emikolo era abantubalamu baagirabira okwo.”
    Wabula ye minisita w’entambula za Kabaka, Owek. Kabuuza Mukasa yagambye nti, “Ku lwange ndowooza nti ekizibu kyava ku mpuliziganya. Waabulawo enkwatagana mu maloboozi eri abateesiteesi, ab’ebyokwerinda n’abantu abaali bayingira.”

    DEO WALUSIMBI, KIRUMIRA GODFREY NE BATTE KIRWANA

    some COMMENTS

    nambooze kyayogedde kyekiba kisimbibwaako essira. kati baakozesezza ba “mayinja squad” basobole okufuna kye beekwasa nti abantu baakubye police. ye mmwe abategeka emikolo gino, lwaki mulinda amazaalibwa ga kabaka kwemuba mutegekera kabaka okulaba abaana? waliwo ennaku nyingi nnyooooo, kabaka zasobolerako okulaba abaana ba buganda, okugeza, nga olunaku lw’abaana. lwaki omukolo nga guno temugussa kulunaku lulala era nemulinda amazaalibwa ga kabaka agateekeddwa okwetabwaako obuganda bw’onna awatali kusosola muto na mukulu? e mmengo waliyo nayo ab’obuvuyo abetaaga okugobwayo bagende eri ewa ssabuvuyo. oba bambega be? ggwe bannange

    bino bikolebwa mu bugendereevu. sirowooza nti waliwo omuganda ayinza okukola effujjo ku mikolo egimukwatako. era tewali muganda yenna ayinza kukola fujjo nga kabaka waali. tewali muntu yenna ategeera ayinza kuleeta mbeera eyo mu budde buno ffena bwetumanyi nti bwabweerende naddala nga kabaka waffe ali mukitundu.
    naye kati kambategeeze, abakola bino bantu abategekebwa okulaba nga kabaka waffe waba ali wabeerawo embeera bwetyo. bwebanakikola emirundi negiwera, nga abali mu buyinza bagaana emikolo gyonna kabaka kwayinza okuba. kino bakikola bwebati nga bagala kabaka waffe asigale bwanamunigina nga nebwayita awantu atunulirwa nga bwolaba agkan bwali.
    kino sagala mukisagire mu. njagala webuuze, lwaki emikolo egize gibaawo tewabeera fujjo nga eryo? bulijo a police tebabeerawo. oba abasajja bayambazanga abasajja babwe ebyambalo bya basirikale ba gavumenti nebagenda nebatta abantu kukyaalo basobole okufuna obuwagizi, naye watya nti kati tebasobola kukola bikolwa ebyo? mujjukire wanno gyo lyabalamu ba kiboko squad. tebasooka kubeegaana wadde nga bafuubutuka mu cps nga ensi yonna eraba.
    kale tube begendereza nyo tomanya luliba olwo ne webeerawo omuntu gwempita omugweenyufu natukola ekibi ekyamaanyi. naye ha kale agenzaanga. 16 – Apr – 2012 19:36

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.