Kamuswaga Yawasizza Wabweeru Wa Buganda!!

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Masangaanzira / Crossroads Kamuswaga Yawasizza Wabweeru Wa Buganda!!

  • This topic has 2 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #18917
    MachatiMachati
    Participant

    Kamusagwa bamugattidde ku mudumu gwa mmundu e Namirembe

    [attachment=2431]1292072894kamuswagga.jpg[/attachment]

    Kamuswaga Apollo Sansa Kabumbuli n’Omugo Rebecca Talituuka nga bali mu Lutikko e Namirembe.

    Bya Robert Mutebi

    KAMUSWAGA wa Kooki Apollo Sansa Kabumbuli II awasirizza ku mmundu oluvannyuma lw’okufuna okutya nti abamu ku bakazi be yaganza babadde beetegese okutaataaganya omukolo gw’okumugatta.

    Enguudo ezituuka ku Kkanisa e Namirembe zaayiiriddwaako poliisi n’abaserikale b’ebitongole ebirala ate nga ku kkanisa kwennyini buli mulyango n’ebifo ebirala ebyetadde nga waliwo abaserikale abakuuma.

    Bino okubaawo kiddiridde abakazi Kamuswaga be yaganza era n’abasuubiza okubawasa okuvaayo ne batiisatiisa nga bwe bagenda okulinnya eggere ku mukolo gw’okumugatta.

    Bino byawalirizza Kamuswaga okwesitula n’atuukirira omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Maj.Gen.Kale Kayihura wiiki bbiri eziyise n’amusaba okumuwa obukuumi obw’enjawuli ku mbaga ye.

    Kino kyeyolekedde ku byokwerinda ebyamaanyi ebibadde e Namirembe ku mukolo gw’okumugatta.

    Bbo abataka okuva mu Kooki abataayagadde kubaatuukiriza mannya baavuddeyo ne beemulugunya olwa Kamuswaga okuwasa omukazi Omusoga n’asuula abakazi Abakooki b’abadde apepeya nabo.

    Embaga ya Kamuswaga yali yaakubaawo emyaka esatu egiyise kyokka obutakkaanya mu famire n’ekizibu ky’okusalawo omukyala ow’okuwasa kye kibadde kimulemesezza okuwasa. Abataka bagamba nti baasaba Kamuswaga bamugattire e Rakai ekyo n’akigaana.

    Baleeta ekiteeso ky’okumugattira ku kkanisa e Kakoma mu ggombolola y’e Lwanda nakyo n’akigaana ng’atya olw’ebyokwerinda era nga n’abakazi beesomye okutabula embaga ye kwe klugireeta e Namirembe.

    Kamuswaga yagattiddwa n’Omugo(ekitiibwa ekiweebwa mukyala wa Kamuswaga) Rebecca Tulituuka mu lutikko e Namirembe era Ssaabalabirizi eyawummula Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo ye yabagasse.

    Omukolo guno kwabaddeko abantu batono ddala olw’abateesiteesi okukwesigaliza obudde obutuufu obw’okubagatta ekyaleetedde abasinga obungi okusubwa omukolo. Bangi baagenze okutuuka ng’okugatta kuwedde.

    We zaaweredde essaawa 12:45 ez’okumakya nga batuuse mu Kkanisa. Mmotoka za poliisi ze zaabakulembedde mu kugenda ku Kkanisa n’okuvaayo.

    Omulabirizi Nkoyooyo abagole yabasibidde entanda y’okukuuma obwesigwa mu bufumbo bwabwe n’okunyiikira okusaba Katonda buli kiseera.

    Katikkiro wa Buganda Ying.JB Walusimbi ye yakiikiridde Kabaka Ronald Mutebi ate Katikkiro wa Uganda Polof. Apollo Nsibambi n’akiikirira Pulezidenti Museveni.

    Mu bubaka bwe obwamusomeddwa Katikkiro Apollo Nsibambi, Museveni yeebazizza Kamuswaga okuwa ekyokulabirako ekirungi eri abantu be era n’amusaba okugenda mu maaso n’okukuuma obufumbo buno.

    Okugattibwa bwe kwawedde abagole ne boolekera Kooki ku mbuga ya Kamuswaga mu disitulikiti ye Rakai awategekeddwa omukolo gw’okusembeza abagenyi.

    Published on: Saturday, 11th December, 2010

    #27311
    MachatiMachati
    Participant

    Ono omwaami tanategeera buzibu Buganda mweeri. Akiraze mu ngeri nyingi. Buganda erina omulimu gwokumutegeeza ategeere.

    #27313
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Machati nkubulire embaga zennaku zino zikuleka osasamadde kyokka azikubamu omukono ye ababe abagamba nti wakiri okufumbirwa aboluganda naye nga temufulumye mukatu kammwe , okujjako osasira ababa besanze mu makkati gemikolo egyo , ate wewuunye nti bo ababa basigale nga bantu baabwe basigala mu mawanga gaabwe bagenda ne mu kujjirawo ddala omuntu aba yesimbye ku muwala waabwe oba mutabani nebamutta , bino byebayita ebye mpuna nga nnyinimu abba enva

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.