Kasongodde: Omusambwa ogugaba obugagga

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17986
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant


    Kasongodde: Omusambwa ogugaba obugagga bannabyabufuzi gwe beekwata

    Ejjinja omuli embuga y’omusambwa Kasongodde ogugaba obugagga.

    Bya Fred Kateregga

    ABAAGALA obugagga, abanoonya abaana, ababeezi n’abo abaagala okuyitimuka ku balala mu byobufuzi bonna baggweera eno.

    Ku lusozi Kasongodde kwe kuli ejjinja eryatuula ku linnaalyo omugambibwa okubeera omusambwa Kasongodde ogugaba eby’ensi byonna!

    Olusozi luno lusangibwa ku kyalo Kazirang’oma mu ggombolola y’e Maddu e Mubende.

    Ssentebe wa LC III, Patrick Kyambadde Ssendijja akkiriza nti buli agenda ku Kasongodde taddamu kwavuwala. Y’ensonga lwaki nange nnafukamidde ne nsaba bye njagala, ngezese ndabe oba nnaabifuna.

    “Ab’e Mmengo tebava ku jjinja lino kubanga lirimu emisambwa, wabula n’abagagga b’omu Kampala batera nnyo okujja okusaba bye beetaaga,” Ssendijja bwe yagambye,

    Olusozi Kasongodde luli kumpi ddala n’ejjinja omusambwa Nakayima we guli. Eno nayo abagagga bagendayo okusinza n’okusaba bye baagala.

    Omukongozzi w’omusambwa Kasongodde, Muky. Nabatanzi teyafumbirwa. Agamba nti olusozi terugendako bakyala bali mu nsonga, togendako n’onywa sigala n’emizizo emirala.

    James Musaazi aliraanye olusozi luno agamba nti emizizo emirala mulimu obutawandula ku lusozi luno malusu, tosuulako kisaaniiko.

    “Abagenyi bangi abajja ku lusozi, ne bamalako ennaku mwenda oba okusingawo nga basamira.

    Nzijukira mu 1996, Pulezidenti yagendako waggulu ku lusozi n’amalayo ebbanga, olwavaayo akalulu yakawuuta buva,” Musaazi bwe yagambye.

    Musaazi agamba nti yaliwo ku olwo nga Pulezidenti afukamira n’asaba bye yali ayagala. “Ebimu yabisaba mu kasirise naye kye nnawulira yasaba abantu bawagire gavumenti ya NRM esobole okukulaakulanya ebyobuwangwa.

    Nze nnali simusemberengako kyokka bwe yajja wano nnamusembera n’asiima obuyonjo obuli mu kifo kino, tewali muntu mwavu agenda ku jjinja lino n’addamu okukaaba,” Musaazi bwe yagambye.

    Wiiki ewedde nnasanzeeyo abakungu ba Gavumenti omuli Haji Edrisa Sseddunga n’abalala. Wabula bang’ambye nti baabadde tebagenze kunoonya mikisa wabula okusomesa ku byettaka!

    Sam Kitooke, omu ku batuuze yang’ambye nti, “Bw’omala okufuna obugagga n’otoddayo kwebaza ofuna obuzibu. Ku wiikendi abantu bangi bajja ku Kasongodde ne basaddaaka embuzi, enkoko oluusi n’ente okwebaza omusambwa ebirungi bye guba gubawadde.”

    Ejjinja omuli omusambwa liwerako ffuuti nga 10. Litudde ku linnaalyo ate wansi eriyo empuku enyirira ng’ekinya, Nabatanzi n’abagenze okusinza mwe batuula.

    Ekifo kiyonjo nnyo n’ekkubo erigendayo nalyo liyooyooteddwa bulungi ekikakasa nti abantu bajjumbirayo.

    Nga bwe kiri ku lusozi Sinai, Musa ayogerwako mu Baibuli bwe yaggyamu engatto, ne ku Kasongodde olina okuggyamu engatto.

    Bw’oba ossaawo ebigali olina kufukamira. Wabula Sseddunga n’abakakiiko akasomesa ku byettaka bwe baagenze e Mubende engatto tebaaziggyeemu!

    Munda mu mpuku mulimu endeku nnyingi abagendayo okusaba mwe bassa omwenge. Wabula weebuuza agunywa, ye Nabatanzi agamba nti misambwa gye gigunywa!

    Nabatanzi agamba nti mu ttuntu tolina kwesaaza mu mbuga ya Kasongodde kubanga olwo emisambwa giba gyetala. Kyokka nti bw’ogendayo ng’obadde tokimanyi giyinza okukusonyiwa!

    Published on: Wednesday, 6th August, 2008 1218037037zulu04.jpg

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.