Kayanda M7 Yegumya mbu tewali amujjako

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Omw Africa / The African Kayanda M7 Yegumya mbu tewali amujjako

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #18258
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  ‘Tewali asobola kuggyako Gavt’
  Aug 01, 2012

  [attachment=2593]Omunnarwanda.jpg[/attachment]

  Minisita Migereko (ku kkono), Sipiika Kadaga ne Pulezidenti Museveni mu kuziika ebisigala bya Mbigita.

  Busoga
  Bya DONALD KIIRYA NE B. WAISWA

  PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni asekeredde bannabyabufuzi abalowooza nti bajja kumaamulako Gavumenti eriko nga bayita mu kwekalakaasa kwe bakola mu ggwanga era n’agumya Bannayuganda nti tewali ajja kutabula mirembe gyabwe.

  Bino Pulezidenti yabyogeredde mu kuziika ebisigala bya James Mbigiti eyattibwa abajaasi ba Idi Amin.

  Mbigiti yali muyeekera wa Museveni bwe baali mu nsiko nga balwanirira okuzza emirembe mu Uganda era yazaalibwa mu 1932 n’attibwa era n’aziikibwa mu kyama mu limbo y’olukiiko lw’ekibuga Jinja mu 1973.

  Ebisigala bye baaziikulwa mu limbo nga September 12, 2011 era byaziikiddwa mu maka ge ku kyalo Nabweya mu Ggombolola y’e Makuutu mu Disitulikiti y’e Iganga ku Lwamukaaga.

  Pulezidenti Museveni yagambye nti bannabyabufuzi omuli Besigye ne Abdu Katuntu n’abalala abawakanya Gavumenti, okwekalakaasa kwe bakola tekujja kumaamulako Gavumenti eriko.

  “Mbu bagaala kuggyako Gavumenti, ani yabalimba nti Gavumenti yaffe egenda kuvaako nga muyita mu kwekalakaasa, wuuuuuuuuuu!!!!! Ebyo bya busirusiru,” Pulezidenti bwe yagambye abakungubazi abaabaddewo okwabadde ne Abdu Katuntu omubaka w’Essaza ly’e Bugweri ne bafa enseko.

  Yeebuzizza nti, “Okwekalakaasa kugenda kugasa ki okuggyako okulinnya ennyaanya z’abantu mu butale era bannabyabufuzi abo nga Besigye tubakubamuko omukka omutono (ttiyaggaasi) okubakkakkanya n’okubaziyiza obutalinnya mu nnyanya z’abantu mu butale nga beekalakaasa”.

  Pulezidenti yategeezezza nti omulimu gw’abavubuka n’abantu nga Katuntu beetaaga okukuuma eddembe mu ggwanga bave mu wolokoso gwe babungeesa ku laadiyo ssaako n’okutiisatiisa abantu.

  “Ndabula abavubuka abamala googera ku Gavumenti nga bali ku laadiyo ez’enjawulo nti musengejje ebigambo byammwe era bwe munaayitawo tujja kuvaayo tubakoleko mu mateeka,” Pulezidenti bwe yategeezezza.

  “Entalo ziri mu Sudan, Congo n’amawanga amalala naye wano mu Uganda tezisobola kubeerawo kuba tulina eddembe n’ebyokwerinda biri gguluggulu era tewali ayagala kudda mu ddukadduka eyaliwo mu myaka gy’edda,” Museveni bwe yagambye.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.