Kiki Kyosinga Okwagala Ku Bantu B’ensi Mwoobera?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyokumawanga / Diaspora Data Kiki Kyosinga Okwagala Ku Bantu B’ensi Mwoobera?

 • This topic has 5 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
 • Author
  Posts
 • #17611
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  Abakulu baatugamba nti bwemugenda eyo ebweeru mukoppe yo ebirungi ebibi mubirekeyo. Ggwe biki byolabye eyo munsi gy’olimu ebirungu, katugambe byoyinza nokuwagira tukoppe tutwaale naffe ewaffe mu kuzimba Buganda yaffe?

  #19376
  JonaJona
  Participant

  Abantu bawano bali very hard working. Okutwalira awamu tebasosola mu mirimu. Ate besigwa. Bwakugamba nti ekintu ajja kukikola era akikola. Tebekyuusa, okujjako ngakuwa ansonga ennene enyo emukyusizza. Bagumikiriza nnyo. Bwemubeera kumulimu, tosangayo ba “boss” abagala bamanyike nti beba boss. Boss wo akuwuliriza kyogamba to the end, kobeere professional oba toli. Bakuleka gwe nobeera boss kumulimu gwo – nosalawo ekyokukola, kasita kiba nga kiri munkola y’omulimu gwo.

  Balina nebitali birungi.

  #19387
  KulabakoKulabako
  Participant

  Jona ebintu byoyogerako nange mbisemba bwooba okyalina amaanyi okozesa akakisa ako okusinga okwewummuza nogenda mu office ku saawa nnya nonovaayo nogenda ku kyemisana ku mukaaga ate no nnyuka ku kkumi.

  Ekisooka oli bwafuuka boss abufuula bumbula ngatandika okutumya ebitwe, nga ava ku kigendererwa ngebadde office efuukamu ekirala , kati nomuntu gwaleese okukola emirimu nga naye atandika okukola gadibe ngalye kuba aba manyi nti boss takyanyeze kintu kyonna.

  Nekirala kyamagezi okussa mu mirimu abantu abagirinako obumanyirivu mukifo kyokujjuzaamu aboluganda abako n’abemikwaano .

  kuba kizibu okusanga abantu bano nga bonna bassa kimu nga bwolaba aba mawanga amalala , ewaffe tukyalinamu nti nange bandabe, osanga batono abagala okujjayo erinnya eddungi erya wamu.

  Kirungi okuyisa buli muntu obulungi kaabe nti ayera bweezi office nomulaga nti omulimu gwakola gusimibwa so si kwewanikira ku buli omu,bakulengerere eri bonna bagwe ku ttaka bakuvunamire kuba oli boss.

  Gyokoma okuyisa omuntu obulungi naye gyakoma okwagala okukola ekisingayo obulungi, wamu nokweewa obuvunanyizibwa okulaba nti buli kimu kiggwa mu saawa entuufu.

  Ate guno omutwe gunzijukizza ekiseera kyeyaliko omukulembeze Mwami Lule
  Omuntu bwomuyisa obulungi naye ,kimubanja okweyisa ngomuntu mulamu
  Ekyo kyekikyalemye abangi okutegeera

  #19393
  MulongoMulongo
  Participant

  Abantu wano bagala nnyo ensi yaabwe, mu bigambo ne mu bikolwa. Osanga bayitiriza mu bimu nebaffuka basosoze. Nzikiriza yokka yekwogezesa ekyo. Naye wano bwokwata ku nsi, waliwo abantu bangi abetegese okufiirawo. Wano abantu tebagamba nti kino bwekirikyuuka, oba oli bwebalimujjako, oba abagwiira bwebalibagoba. Buli omu akyogerako akimanyi buvunanyizibwa bwe. Bagamba nti, “Bwetunakyuusa ebintu, bwetunajjako abafuzi bano, bwetunagoba abagwiira..” Luli nnatwaala omwana wa mukwano gwange okumugema mu ddwaliiro, nensanga yo abagwiira line nneene. Omusawo kyeyava avaayo nayita abe ggwanga lye be baaba basooka. Era wano abagwiira bakiimanyiira era tebakaayana. Bamanyi bagenyi, tebasulira kubawa balye ne meere ya baana.

  Ennaku ezo bakola empaka za bazinyi abasammula ku trash program emu. Waliwo abaana bawala aba Africa maama nga basammula nebegoyeza ku mitayimbwa naawe nogamba nti kyemukola ssi kifuufu naye mukikola bulungi! Bwebamala waliwo omuwala wawano eyali talina art yenna mu kusammula,nga tamaanyi kwesuuba nakumutayimbwa, nebamuwa ekikopo. Naye judge yayogera amazima, nti musamudde bulungi bannaffe mmwe, naye owa wano yalina okusinga. Ekyo ne mumasomero nga bakugamba, wawandiise bulungi nnyo mu bibuuzo, naye toyinza kusinga nyinimu kutannama.

  Wano abantu bakola ebintu byaabwe newebuuza bategeraganye batya bonna nga nze abasula wano sitegedde? Tewayise birango, yadde ku radio yadde ku TV naye ogenda okulaba nga bakkungaanye mitwaalo mu kifo. Genda oggulewo edduka wano omugwiira, tewali gwebajjukiza butakugulako. Tewali nno ajja yadde okukubuuzako, mpozzi nanyini kifo nga azze okukujjako sente.

  Nga bwengambye, ndowooza bayitiriza. Bwekityo ekiyitiridde kingi nnyo ewaffe Mu Baganda ba Katonda. Naye nebwetuuti nga bwetuli tuyitiridde ate ku ludda olulala, nakyo nekibeera kibi nnyo.Twemanyiiza nnyo, kino tekikola. Abantu mubamanyidde ddala nti babi, naye mukyabekulubeesako. Mubasembezeeyo, mubejjeeko. Buli omu nga atandikira ku abo abamuli okumpi. Ne Katonda taasima kwessa ku bantu ba mpisa mbi nga abagwiira abali omwaffe!! Tekimala butabba, akkiririza mu butuufu olina nobutawagira oba okutambula, okuwa abaana bammwe okuwasa nokufumbirwa ababbi nabe mize emirala egikyaayibwa Katonda waffe.

  #19405
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Kyogamba nkitegeera bannafe abali e China bajje batutegeeze bino ebyokuleka abagwiira okutunyigiriza si bya myaka gyaba jjaajja ffe, kyoova olaba nti twasangawo bino byonna ebyononeddwa abagwiira kuba bo baali bekuumye wamu.

  Ate ekikwewunyisa singa obuuza kubaana abasomanga mu bisulo eka bajja kujjukiza nti bwewabangawo ekintu kyonna nga bagwiira bonna babeera side emu na Baganda side ndala kyokka bwebava awo nti bo baleme kutusosola, banaffe batubuza embiibya tuli waffe ate tugendere kubiragiro byaabwe songa bo bagala kusigala nga bekutte katu

  Era kyoova olaba nti buli afuna akakisa okulya obukulu nga yoola bewaabwe ba mwiiri we bonna abamalayo atalabanga ku mmotoka wakiri afuna ogwokweera office ate guno omulembe gwo gumenye record kuba abalala abavuddeko bo bayiwamu abantu baabwe naye ebintu nebabirekawo, kati wano kilinga enzige bwezigwa mulusuku nezireka nga ziridde buli kimu nga kiri kuttaka.

  Ekirungi kati tuyize nti actually okusosola si kubi buli omu bwatuula ewuwe emboozi negwa amakerenda don’t bother me , idon’t care about you buli omu nakulakulanira ewuwe.
  Noleka amaanyi namagezi negalaga obusobozisi bwo.
  Ekisinga okwewunyisa amawanga ga beeru bwegaba gekutula ku ganaago teli gwanga lya beeru lyowulira likuba nduulu naye bwebituuka kuba baddugavu ko bbo bwebaneyawula abo tebajja kubbika nga batandika okuwagira abalala nti temubakkiriza ngabatondawo obuvuyo, naye ebintu bikyuuse .

  Ebyakolebwanga luli nga ekibinja kyabagala okulya bokka kyekiri mu motambo naye kati ebintu bigenze bikyuuka munsi yonna.
  Kati ebibuuzo bitandise okuvaayo nti ye gwe ssebo lwaaki okukuta no mutemu deal ki eliwo? bwekisanga omweeru atayagala nnyo kuddugaza linnya lye kwe kukeera kali butemu nebamugamba nti kati vaako.

  Aba akyewoza nti ate tubadde best friend nga munne agamba abalala bakolagana nabo nti mugundetere omutwe gwe enkya ku saawa taano
  Kati bwotebereza omutwe gwo okugendera kulusania ngo gamba nti banange Mukama yandabikidde nti nveeko aha .

  Ngolaba panya eyamangu oba omukwesese gwe nsolima ngoyingirayo ngo linda abanatwaala omutwe gwo in mean time nga maloboozi ge ngalabi nga gakutukako ngowulira bayimba nti “twamugamba nga nyooma nga tabifaako omusajja yeyisa nga bwalaba” nga baseseggula engalabi nga bakyaala batintimya obubina, Nga neeyo chapter eggala.

Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.