Kisulo Mutabani Wa Katumba Asomba Midaali Mukuwuga

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebyemizannyo / Sports Kisulo Mutabani Wa Katumba Asomba Midaali Mukuwuga

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #17511
  MachatiMachati
  Participant

  Omuwuzi Kisulo ayagala ngule ya nsi yonna .
  Bya Musasi wa Ggwanga
  12 Nov 2010
  Arnold Kisulo, y’omu ku baana mu ggwanga lino abasinga okwewuunyisa, naddala bwe kituuka ku muzannyo gw’okuwuga.

  Ku myaka 12 gyokka, omwana ono yategeezezza Ggwanga nti ebirowoozo bye biri wantu wamu, kwe kufuuka Champion w’omuzannyo gw’okuwuga mu nsi yonna.

  Kisulo yatandika okuwuga ku myaka ena gyokka, wabula nga ne bazadde be abeewuunyisa ng’ebiseera bye ebisinga abimalira ku mazzi awatali kuyingirirwa kintu kyonna.

  Bwe yabuuziddwa muntu ki gwe yeegwanyiza, teyayonoonye budde kuddamu nti Micheal Phelps, ono alina likodi ey’okuwangula emidaali emingi mu mpaka ez’omulundi ogumu. Yawangula emidaali gya zzaabu munaana mu Olympics za 2008 ezaali mu ggwanga lya China.

  Kisulo yatandika okuwuga okw’empaka mu mwaka gwa 2007 bwe yalina emyaka 9. Yasookera mu mpaka za Kenya Open, n’amalira mu kifo kya mukaaga, oluvannyuma lw’obutawangula, yadde omudaali.

  Mu Janwali wa 2008, Kisulo yeetaba mu mpaka za Cana Zone 4 ez’omulundi ogw’okuna, n’amalira mu kifo kya 4, nga ne ku mulundi guno teyawangulayo yadde omudaali. Wabula mu Maayi wa 2008, yawangula emidaali etaano, n’eky’omuwuzi eyasinga obuto, mu mpaka ezaali e Nairobi.

  Mu Deesemba wa 2008, yawangula egya zzaabu emirala 5 mu mpaka za Regional Invitation ezaali ku Greenhill, era n’eky’omuzannyi omuto mu balenzi, n’akiwangula.

  Teyakoma awo, mu Janwali wa 2009, yalwala omusujja ng’ebula ekiro kimu okugenda mu South Africa mu mpaka za Cana Zone 4. Wabula yakomawo mu mwezi gwa Maayi n’awangula emidaali ena egya zzaabu n’ogwa ffeeza gumu, mu mpaka za Junior National Championships ezaali e Kenya.

  Ku midaali gino gyonna yayongerako egya zzaabu musanvu n’ogwa ffeeza gumu, gye yawangula mu Okitobba wa 2009, bwe yeetaba mu za Kenya Open mu kibuga Mombasa, ate kuno kw’ossa n’emidaali musanvu gye yawangudde, omwezi oguwedde.

  Ye kitaawe, Katumba Steven, yategeezezza Ggwanga, nti omwana ono yabategeeza nti kati aluubirira kuwangula mudaali mu za Olympics 2012 mu ggwanga lya Bungereza, wabula bo balaba nti olugendo lwe lukyali luwanvu.

  Wabula empaka z’asuubira okuddamu okwetabamu ze za Cana Zone 4 ezigenda okubeera mu Botswana mu Janwali wa 2011.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.