Kitalo Ekya Musajja Wa Kabaka Mwagalwa Kangavve

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Okweyanjula / Introduction Kitalo Ekya Musajja Wa Kabaka Mwagalwa Kangavve

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #17658
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  [attachment=2628]download3.jpg[/attachment]
  http://www.bukedde.co.ug/news/78538-mwagalwa-kangavve-yatandikawo-bonna-basome-e-mawogola-mu-myaka-gy-enkaaga.html

  Mwagalwa Kangavve: Yatandikawo Bonna Basome e Mawogola mu myaka gy’enkaaga
  Ssembabule | Jun 03, 2014
  Bya DICKSON KULUMBA
  ABANTU b’e Lwemiyaga Ssembabule ne Klesia y’Abasodokisi bali mu kyobeera olw’okufa kwa Sam Mwagalwa Kangavve, taata w’omubaka Theodore Ssekikubo.
  Mwagalwa yazaalibwa August 20,1905, kitaawe ye mugenzi Athanasios Namwoleza Ssemakula eyali omutaputa wa Gavana Sir Andrew Cohen ate nnyina ye Bladinah Nambakire Namusoke eyali omu ku bazaalisa abaggulawo eddwaaliro e Mengo ne Dr. Albert Cook.
  OKUSOMA KWE
  Okusoma yakutandikira mu Kangavve P/S e Ssemuto, Anoonya Orthodox P/S erisangibwa e Degeya mu ggombolola y’e Kalagala e Luweero era bw’amala P6 yagenda mu J1 ne J2, olwo n’atendekebwa obusomesa.
  EMIRIMU GYE
  Omubaka Theodore Ssekikubo, omu ku batabani be agamba nti kitaawe yali musajja mukozi era ng’akoze emirimu egy’enjawulo era egy’ettendo egitalyerabirwa. Mwagalwa Kangavve ne munne Mubiru be bamu ku baatandika essomero lya Katikamu SDA erisangibwa mu disitulikiti y’e Luweero
  Yali musomesa era ye yatandika enkola ya Bonnabasome e Ssembabule mu 1963. Kino yakitandikira e Kibundabunda mu Mawogola bwe yatuuka mu kifo ekyo nga temuli masomero n’atandika enkola eno.
  Yatandika Lwemikoma P/S eryali ery’amatoffaali aga 99 era lumu omulaalo yamubuuza nti bwe nkuwa abaana bange basatu ompa ssente mmeka?
  Kangavve ye mutandisi wa Trenton White Memorial SSLwemiyaga mu 2014. Ogumu ku mirimu emirala gy’abadde yeenyumirizaamu, kwe kubeera omu ku batunzi b’ekyalani abatendeke abaasooka era ye yatunga essuuti ya SSekabaka Muteesa II gye yayambala ng’ava mu buwanganguse mu 1955.
  Yakola obusuubuzi bw’ebyennyanja mu mawanga okuli Uganda, Congo ne Kenya era nga kino kyamumanyisa nnyo ebitundu bingi. Mwagalwa y’omu ku baatolosa n’okukweka Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu 1966 amagye ga Obote lwe gaalumba olubiri lw’e Mmengo.
  Abadde musajja atya Katonda,ayagala eddiini ye nga y’omu ku baatwala eddiini y’Obusodokisi e Lango era afudde mwogezi wa Lulango kayingo.
  Yatandikawo amasinzizzo agawera okuli Kikoma, Kibundabunda ne St. Luke e Lwemiyaga. Era y’omu ku bagoberezi ba Kristo abaagenda mu Yisirayiri mu 1980 bwatyo n’akwata ne ku ntaana ya Yesu.
  Abadde musawo akuba empiso era eby’okuzaalisa yabikugukira e Congo gye yagenda ne Polofeesa omuzaalis Dimepolos ng’eno gye yava n’atandika obuzaalisa naddala mu disitulikiti zino; Ssembabule, Kiruhura, Gomba, Ngoma, Kyankwanzi, Buluuli, Bunyoron’awalala.
  Mu bulamu bwe, Mwagalwa Kangavve yazannya emizannyo egisinga okuli okusamba omupiira, okukuba ebikonde era yali muvuzi wa mmotoka za mpaka ne pikipiki ssaako n’emirala mingi.
  Omulanga gwa Ssaabasajja ogw’okuzaala okwaza Obuganda yagunyiikirira ddala ng’aleese abaana 35 abalamu ng’abalala bangi bafudde, abazzukkulu 150 ng’asobodde n’okulaba ku Bannakabirye
  EBYOBUFUZI:
  Okusinziira ku mutabani we Nicholas Katamba, Kangavve y’omu ku batandisi b’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya UPM oluvannyuma ekyeyubuula ne kifuuka NRM era yali musawo wa famire ya Pulezidenti Museveni okuviira ddala eyo mu 1950 we yabeerera omusawo mu bitundu by’e Kiruhura. “ Olw’enkola y’obusawo bwe okuva olwo buli Mzee Kaguta lwe yalwalanga yasabanga ku mutwala wa Sam Mwagalwa, olutalo yalubeeramu ng’awa obujjanjabi, kyamusembeza kumpi ne Museveni nga bwelwaggwa yaweebwa kkaadi emukkiriza okuyingira amaka g’obwapulezidenti butereevu okulaba Museveni,” Katamba bwe yannyonnyodde.
  Abamanyi Mwagalwa bagamba nti afudde munyiivu eri Museveni olwa ye ky’abadde ayita okuyigganya mutabani we ng’ate yamumuwa amuyigirize ebyobufuzi era baweereze eggwanga.
  “ Museveni adda atya ku mwana wange n’abonyaabonya ng’ate twalwana ffenna, olw’okuba ayogera amazima ku bigenda mu maaso mu ggwanga?,” Mwagalwa bwe yayogera nga January 4,2013, mutabani we Theodore Ssekikubo bwe yali ayimbuddwa mu kaduukulu ka poliisi gye yali asibiddwa e Kazo ewa Ssekikubo.
  Olwaleero omubiri gw’omugenzi gugenda kusabirwa mu Lutikko y’Abasodokisi e Namung’oona nga kwa kukulemberwa Metropolitan Jonah Lwanga oluvannyuma aziikibwe ku kyalo Kangavve e Ssemuto mu disitulikiti y’e Nakaseke enkya ku Lwokusatu.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.