Kituufu Abaganda kati bagala nnyo okwagala abeeru?

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Mutaayi / Best Buddy Kituufu Abaganda kati bagala nnyo okwagala abeeru?

  • This topic has 5 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • Author
    Posts
  • #17945
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Ebbanga liyise nga nsoma ku magazines za baddugavu ne ku forums zaabwe wano ku internet, nga abaludde mu Diaspora, ngamba bali abajja edda ennyo, nga bagamba nti ebiseera bino abaddugavu abava mu Africa bagala nnyo okwagala abeeru. Bbo nno bakozesa nolulimi olukakali bweluuti, “Why Africans are drooling over white men and women.” Mpozzi kyetwandiyinzizza okuvvunula nga okulunduggira ku basajja nabakazi abeeru. Nze mbadde mbuuza, nti naye ddala na Baganda bwebali?

    #20039
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Anyway waliwo trend eyo, sooka olabe ku bayimbi baffe abafuna akakisa okujjako ebweeru. Grace ono owa onfukuula alina muzungu, Namubiru alina Muzungu, Maddox alina muzungu, Kafeero yalina muzungu. Kirabika eka eyo kiri ku mulembe, kiraga obugagga ne success. Percentage kwebagendera esinga nabaakulira ebweeru okwagala abazungu. Kale bandiba nga kyebagamba abo aba African Americans nga kituufu. Naye kyaava ku ki? Kulwanyisa bwaavu?

    #20179
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Abaddugavu abamu berabikirira bubi, era balaba nga abazungu balungi nnyo. Omukyala omu yayagalnga beeru, nagamba lumu nti ye tayinza kwagala baddugavu teyabamanyira. Nga bwabera nomuddugavu alaba nga awaliwo ekikyaamu. abantu nga bamugamba mbu munaku yepanka panka. Naye omuntu bwaabeera nga ekintu kimulabikira bubi, lwaki omunenya olwokweyagaliza ekirungi? Ndaba naawe ayagala muddugavu/muganda muno okikola kubanga akulabikira bulungi.

    #20305
    MugerekaMugereka
    Participant

    Aaaa Abaganda bayitiriza. Nze wano wendi babera bakatuuka nga bakwataganye dda nabeeru. Waliwo omuwala omu bweyajja nga agamba nti ha ye nemmala mufuna, era wakiri nenzala omukyotala, kale nempereza abeka ebifananyi. Naye nga ayagala langi, talina muntu gweyalabye. Nga oyagala otya abantu botomanyi, culture yaabwe ogimanyi, eneyisa, banakuyisa batya gwe? Ebyo byona tebagala kumanya, tebibakwatako. Okujako abewabwe babalabe babawane. Ne ka omuntu ayinza okuwasa omukazi kubanga mweeru, naye amumanyi muganda munne, ne nneyisa agimanyi. Awo wotegerera abeddako ababayitanga ba malaya. Gwe ate malaya kye kiki? Ye muntu eyetunda, nakuno kwetunda kwenyini. Wano ku tv abeeru bagamba mbu aba Africa bajja okubemunyungurizamu langi yabwe. Ate nga tebalimba, kubanga abaddugavu bano, bwebatula nga batandika okugeragaranya mwana wani omukyotala omweru okusinga owomulala, na nviri zaluwa eza munyerere ennyo. Nabanna kyebava basoberwa, kubanga mazima okuzala omwana mu muntu kubanga langi ye njeru, nga kyekyo kyokka kyoliko, obera mulwadde, naddala engeri ebintu gyebirimu wakati wa beeru anabadugavu.

    #20308
    TontoTonto
    Participant

    “Kituufu ABAGANDA kati bagala nnyo okwagala abeeru?”

    Nze ssiraba mugaso guli mu mulamwa guno. Ani ayagala ani, nze ndabanga ensonga eri “personal”.

    Okukireeta wano ku site yaffe ng’omulamwa nze ndaba tekirina wekituyambira. Kino kindabikira nga okulingiriza eddembe lyabanno. Oba “simple mind gossip”.

    Singa ogambye nti “Kituufu abaganda okwagala abeeru?” oba olyawo ekyo kyandibadde kitegerekeka. Lwaki? Kuba oluvanyuma lwabyonna, abaana bebazaala baba half-baganda / half-beeru. Awo webuuze nti ekyo kiyamba oba kikosa kitya BUGANDA? Awo waliwo omulamwa ogukwata ku BUGANDA obutereevu.

Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.