KULUNO ATAYOGERA MAZIMA TAYAMBA. ASIRIKE

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Masangaanzira / Crossroads KULUNO ATAYOGERA MAZIMA TAYAMBA. ASIRIKE

  • This topic has 6 voices and 6 replies.
Viewing 7 posts - 1 through 7 (of 7 total)
  • Author
    Posts
  • #18064
    MachatiMachati
    Participant

    Abaami bano wammanga balina ebifo ebyobukulembeze ebye njawulo. Nga abamu bakulira namadiini, era nga mu bantu abafudde mulimu nabagoberezi baabwe. Ekyo tebibesisiwazza nakamu, kubatuma kwevaamu kwogera mazima. Kubanga abamawanga amalala obalaba nga bafunye ebyokwogera nokukandula amaloboozi nga bakutte mmundu, era buli omu ekyo kyalinda nokwesunga mu bonna bannamawanga abagala okufuga eyo Uganda. Ebyo si bya bufuzi, era eyo si nsi. Obwo bumenyi bwa mateeka. Naye tunulira abavubuka ababadde bekalakasa jjo, wakati mu bimotoka bya tear gas, namasasi agabadde gakubibwa okutta abantu. Omuntu okugenda okutambaala embeera eyo aba alina amazima nokukkiriza nokwetamwa kwa kitalo. Abantu tebajja kukkiriza kitisibwa tisibwa, ekyo ba Museveni nebanne bandibade bakitegedde kati. Wabula nabo balina aboogezi abalala ababawaga. Nga befuula mbu Mengo/Abaganda be balina ekikyaamu. Nabantu abayitibwa aba Katonda nebatasobola kusala mazima, oba okugamba nti naye kino tekyabadde kituufu? Wakiri gaana okwogera ogambe nti ntya. Nze bannange kyendaba nga kuluno atayogera mazima gennyini kisingako nasirika. Kasita tewali bamusongamu mundu nga bamukaka okwogera.

    Boogedde ekinaamalawo obugulumbo mu Buganda

    Kalidinaali Emmanuel Wamala

    Bya A. Ssempereza, H. Mutebi ne a. Lubowa

    ABAKULU ab’enjawulo mu biti byabwe bavuddeyo ne boogera ku mbeera ey’okusika omuguwa eriwo mu Uganda wakati wa Gavumenti ne Mmengo ng’evudde ku kya gavumenti okugaana Kabaka okulambula essaza lye ery’e Bugerere.

    Abantu bangi baafudde mu kwekalakaasa, ekibuga bakikubyemu ttiyaggaasi n’amakubo ne bagaziba ekyavuddeko n’okuggala leediyo nga CBS, Akaboozi, Ssuubi, ne Sapientia:

    Zubairi Kayongo, Mufti w’ekiwayi ky’e Kibuli: Embeera eriwo yeerariikiriza era nsaba Buganda ne Gavumenti bateese bakkaanye. Nsaba Abasiraamu basabire eggwanga kubanga essaala z’abasiibi Mungu azaanukula mangu. Nnina essuubi nti Gavumenti ne Mmengo bagenda kukkaanya embeera edde mu nteeko.

    Wynand Katende, omwogezi w’Essaza Ekkulu ery’e Kampala:
    Obwegugungo obwabaddewo mu Kampala ku Lwokuna omwabadde n’okuyiwa omusaayi bwalibadde busobola okwewalibwa singa abakulembeze ku njuyi zombi baatudde ne basalira obutakkaanya buno amagezi.

    Godfrey Lule eyaliko Ssaabawolereza wa gavumenti e Mmengo: Wateekwa okubaawo okwogeraganya wakati w’abakulembeze basobole okumanya abantu kye baagala. Abakulembeze balina okumanya abantu kye baagala. Amaanyi tegalya kubanga ne bwe baagakozesa mu ntalo ez’ensi yonna nga Ssematalo asooka n’owookubiri era oluvannyuma baatuula wansi ne boogeraganya ne batuuka ku kukkaanya.

    Omutume Alex Mitala:
    Mu kiseera kino ng’eggwanga liri mu mbeera bw’eti, abakkiriza ffenna tulina okusaba Katonda wadde nga bulijjo tusabira eggwanga okuba n’emirembe, naye okuteesa kwe kujja okumalawo ebizibu bino byonna ebyolekedde Buganda.

    Omutaka Nakirembeka Allan Waliggo, akulira abataka mu Buganda:
    Abaana ba Kintu ffenna eno y’essaawa okuba obumu nga tussa kimu nga Nkuyege. Tuteekwa okutaasa Ssaabasajja Kabaka ffenna tumwetooloole kuba ffe tulina okusooka okufa okutuuka naye w’anaatuukirwako.
    Ono ne Godfrey Lule bokka bebogera amazima gennyini omutali kwekubiira nakuwolereza gavumenti mu lugezigezi, nokuyingiza Katonda mu byebogera nga ate temuli bwesimbu. Kya kabi nnyo nnyo okubanga amazima matono bwegati!

    Kalidinaali Emmanuel Wamala: Embeera eno erina kuggwaawo nga tutudde wansi ng’abantu abakulu ne wabaawo okuteesa wakati wa gavumenti eya wakati, ey’e Mmengo n’abakulembeze b’Abanyala. Basaana batuule wamu ng’abantu abakulu bakkaanye eggwanga lifune emirembe abantu baleme kuttibwa.

    Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo eyali Ssaabalabirizi wa Uganda: Okumalawo embeera eno tekyetaagisa maanyi ga mmundu kubanga amaanyi tegalya era emmundu tejja kubaawo lubeerera naye go amawanga gajja kusigalawo emirembe n’emirembe. Ekisinga obukulu kwe kutegeeragana wakati wa gavumenti ne Buganda ku nsonga eri mu ddiiro ekwata ku ssaza ly’e Bugerere.

    Abakulembeze basaanye okukimanya nti tewali alina maanyi ga nkomeredde okusinga okuteegeeragana. Okugonjoola ebintu byonna tulina kuyita mu kutegeeragana. Emmundu tejja kusobola kugonjoola nsonga za Bugerere ne Buganda okuggyako okutuula wansi ne bategeeragana.

    Bidandi Ssali:
    Mu kiseera kino tulina kuziyiza bantu ba Buganda okufa ate ne Beene aleme kukakibwa kugenda Bugerere kubanga ensi eri mu kaseera kazibu nnyo. Wabula nkubira Abaganda omulanga bakkakkane baleme kufiirwa bulamu, tulinde ekinaddako.

    Omusumba Joseph Sserwadda:
    Nsaba Abalokole bonna bateekewo okwegayirira okw’enjawulo nga basiiba n’okusabira embeera edde mu nteeko mu Buganda. Ekirala abakulu abatukululembera nsaba batuule wansi mu ngeri ey’ekisajjakikulu bateese abantu bafune eddembe baleme kuttibwa nga bye tulaba kati. Matayo essuula 5:9 atugamba nti balina omukisa abo abaleeta emirembe.
    Published on: Saturday, 12th September, 2009

    #25171
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Amagye galumbira ki Kabaka atalina mmundu!

    Friday, 11 September 2009 09:19
    Lowooza ku Muganda owa bulijjo, akkiriza nti newankubadde ensi ekyuse era ng’ebintu ebimu tebikyadda naye alinayo omukulembeze we ow’ennono ayitibwa Kabaka gw’ayagala era gw’akkiririzaamu.
    Kyokka Omuganda oyo osanga nga muwagizi wa NRM era nga ne Pulezidenti Museveni amuwagira olw’okulwanyisa effugabbi mu Uganda. Olowooza wiiki eno omuntu oyo emulese wa?

    Leero Kabaka lw’abadde asuubirwa okulambula Essaza lye ery’e Bugerere, wabula we mpandiikidde nga kizibu kya kumanya oba Gavumenti yamukkirizza okugenda e Kayunga oba yamugaanyi.

    Gavumenti egamba nti e Kayunga eriyo omukulembeze waayo owennono, ayitibwa Ssaabanyala! Era abakyogerera bagamba nti Konsitityusoni y’eragira buli omu yeegatte mu buwangwa bwe, ate nga kye kituufu.

    Kyokka Konsitityusoni y’emu eraga nti Bugerere kitundu kya Buganda, ate nga Buganda eri wansi wa Ssaabasajja Kabaka! Mmengo egamba nti Essaza Bugerere libadde likulirwa Omutaka Namuyonjo okuva ku mulembe gwa Ssekabaka Mulondo, gy’emyaka egisoba mu 200!

    Mu kabbinkano kano waliwo ebintu ebitayinza kubuusibwa maaso. E Kayunga eriyo eggwanga eriyitibwa Abanyala, naye ate Abaganda nabo gye bali ate nga be basinga n’obungi. Olowooza bo tebandyagadde kulaba ku Kabaka waabwe? Lwaki Kabaka tagendayo, n’alambulako abo bokka olwo nalwo ne luggwa?
    Guliba gutya Abaganda abo bwe balyekandagga, nabo ne bagamba nti tebaagala kulaba ku ‘Ssaabanyala’? Tebuligayaggaya kuba ate be basingayo obungi, Abanyala bali 7000 bokka!

    Okubala abantu okwa 2001 kulaga nti Abaganda be bantu abasinga obungi mu Uganda kuba bali 4,130,000. Abanyankore be baddako, bali 2,330,000. Abaluuli bali wakati w’emitwalo 10 ne 25 ate Abanyala e Bugerere bali 7000.

    Amamese amangi tegatera kwesimira bunnya, naye katugambe Abaganda obukadde bubiri bokka bwe baba nga be bawagira Kabaka, abo bo tebalina ddembe kumusisinkana yonna gye baagadde mu Uganda?

    Njagala okwatulira Gavumenti nti Kabaka atalina magye, atasolooza misolo era abanja ne ssente eziva mu bizimbe bya Buganda ayinza atya okufuuka ensonga n’asojjebwa ku luwonzi buli lw’akolawo ekintu kyonna?
    Bwe kiba nga Kabaka muntu nga Bannayuganda abalala bonna, lwaki ate ye bw’asalawo okukola omukolo gwonna gugaanibwa nga n’abayimbi ebikaali byabwe tewali abiyingirira?

    N’ab’e Mmengo nammwe njagala okubaatulira nti ekkubo eriyinza okulokola Buganda lwa kwekakaba okukola Obwakabaka obw’ebyenfuna. Mmengo esaanye erowooze ku bintu ebivaamu ensimbi ng’amalwaliro, amasomero, okussaawo amakolero agasunsula ebirime, okwenyigira butereevu mu byentambula, kkampuni za yinsuwa, obutale n’ebirala.

    Ebyenfuna bijja kuwa Abaganda bangi emirimu, bave mu bwavu. Mu ngeri eyo Gavumenti terisobola kunyigiriza Buganda kubanga naye (Buganda) eriba yeesobola mu byenfuna.

    #25173
    NdibassaNdibassa
    Participant

    MUMBEERA ELIWO EKA EKOZE EKINTU KIMU EYAWUDDEABASAJJA KU BULENZI
    ABAZIRA BAGENZE NEBANGANGA OMULABE
    KINTU KIMU KYEBERABIRA NTI SINGA BABADDE OLUTALO BALULWANIRA MU WEST BANDI BADDE BAKUBA ABAABWE NE LIVE BULLETS , WADDE NOOYO TEAR GAS , OBA EZO EMBUKUULI , BANDIZIKUBYEEYO ABAABWE?
    KYOOVA

    #25178
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Obwediimo Obuzze bubeerawo mu Buganda

    Bya Anthony Ssempereza

    OMUKYALA Joyce Mpanga eyaliko omukungu w’e mmengo agamba nti obusambattuko bungi obuzze bubaawo naye kano ka njawulo. Yagambye bwati:

    Obwediimo obumu bubaddemu okulwanirira obwetwaze bwa Uganda okuva mu mikono gy’Abazungu nga kino kyakolebwa Baganda era ngakyavaako okuwang’angusa Ssaabasajja Kabaka.

    Akeediimo aka 1945 baakaayita nnamba Munaana nga kaali ka byanfuna. Abaganda baali banyigirizibwa mu byenfuna nga tebasobola kutuukirira butale kyokka nga beebali balima ebyamaguzi Abayindi nga be balina olukusa lw’okutunda ebyamaguzi mu butale. Ebintu by’Abayindi bingi ebyayonoonebwa omwali n’oluguudo lw’eggaali y’omukka.

    Akeediimo nnamba mwenda kaaliwo mu 1949 nga nako kaali ku byanfuna Abaganda baali bawakanya okunyigirizibwa okwaliwo n’omusolo ogwali gubinikiddwa.

    Abaganda baakung’aanira ku Lubiri e Mmengo ne basaba Kabaka okugoba omuwanika Sserwano Kkulubya kubanga baamulaba nga abanyigiriza.

    Akeediimo k’okuwangangusa Kabaka Muteesa II, kaaliwo mu 1953 era kano kaatusiza ddala mu 1955.

    Akeediimo aka Bboyikooti ya Kamya kaatandikira mu ppaaka ya takisi enkadde okusaasanira Buganda, nga tokkirizibwa kugula kintu kyonna kuva mu dduuka ly’Abayindi.

    Obwediimo buno okusaasaana baakozesa eggaali y’omukka ne mmotoka za tekisi kuno kw’ogatta abaami ba Kabaka abamu abaali bazze okukiika embuga nabo baakola kinene okusaasaanya obwediimo buno mu bitundu ebirala ebya Buganda.

    Akeediimo aka 1966 ; Kano kaagwawo nga Obote alumbye Olubiri lwa Ssekabaka Muteesa II amale awanganguke. Abaganda olwawulira nti Kabaka bamulumbye n’olubiri balwokezza baatandika obwegugungo omwali okusima enguudo zonna nga baziteekamu ensalosalo. Abamu baateekera amasundiro g;amafuta omuliro, wabula amagye ga Obote gaateekawo embeera eya Buganda okufungirwa ku mateeka g’entalo era baagirangiriramu ebiseera eby’akabenje nga tebakkiriza bantu kufuluma mu mayumba gaabwe.

    Ebikolwa byonna ebinyigiriza Buganda ne Ssaabasajja bisaana bikome”, bw’agamba

    #25180
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Wetaagisaawo abantu batuwandikiire ebitabo bye byafaayo wamu bintu ebiriwo kati mu mazima. Abantu baffe bakungibwe okwekengera ebintu abantu abalala abagala ebyokwefunira ebyaabwe ebyomusaayi, nabatitiizi nga abo abakulu wagulu abesowoddeyo mu kaseera kano naye nga tebagala kwogera ku nsonga zennyini ziruma Buganda kubanga abamu kubo ojja kusanbga nga gavumenti yabagulagula dda. Abo ba Museveni tebamanyi maganduula ga ba nnaddiini, tebamanyi bifo bitukuvu buli wamu batuusawo obulyaake bwaabwe. Ate oluusi ogenda noteebereza nga ne mubakulembera ba amadiini, mulimu abamu abatakkiririza namu Katonda. Bagukola nga mulimu, kusasulwa buli mweezi, osanga kubanga ebirala byabalema. Naye ka bakudaliire ku bafu baffe, amazima baligogera ekibi nga kibatuuse ku lususu. Okutuuka kwoolwo atalina muka mwaana wa kwekamwana yekka, nga ne ba jajja bwebagamba.

    #25186
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Kyennyamiza okulaba nti eriyo abakyawolereza omutemu sijjukirayo wennasoma nti omuyudaaya gundi yagenze kukazindaalo nawolereza Hitler , Kino abakyalowooza nti Abaganda tebabalaba kyeberabira nti okwekalakaasa tekutandikidde ku M7 era tekuli mu Buganda wokka okujjako nga temusoma nakugenderera bigenda munsi buli wosanga abantu abanyigirizibwa gavumenti yaabwe nga tebawuliriza bekalakaasa.

    Wano jjo lya balamu mu Greece abantu bekalakaasa nga babadde nebibaluma for elong time , naye musirikale okutta mwaana omu bwaati, nebookya ebibuga okubyetoloola mu gwanga lyonna , ffe wano mu Buganda kasokeddenga Obote alinnya kigere ekye mu Buganda babadde batta Abaganda nga nooyo kalibutemu wammwe M7 womutwalidde kubanga mu buli gavumenti abaddemu nga bebakola ogwokutta bikijambiya okussa abantu mu buutu , ne zipanda gaali .
    Abaganda buli kyebakola nebwebakikola muddembe bamaliriza babasse singa mujjukira Abataka baffe bebakuba tear gas abaami abakulu baali balootinga oba nga bonoona bintu ?

    Kyemutasooka kulowooza nti buli ajja okufuga Uganda asokera kukimu kya kutta Baganda nti abagonze akole kyonna kyayagala bwakisanga nti ekyo tekijja kusoboka kwekutandika okubatta .
    Kino ekyabaddewo tekyakolebbwa kulwa kuziyiza Kabaka waffe kugenda mu Ssaza lye kino ekizimba kigenze kizimba for every long time, ate nga mukikakase tekinayabika.

    #25187
    KulabakoKulabako
    Participant

    Bwemuba mutijjukana ne M7 temubiyingizaamu Kabaka waffe wadde temugeza kukikirira Buganda yonna , mweweeyo mwe mwekka ne zi family zammwe mumuyimbe nga bwabakolera ebirungi buli lwatwaala obulamu Bwo Muganda ,

    Abaganda baasigalira kubalaba nga ba Agent ba Museveni ate kino mukyetegereze abantu bwebabawulira byemwogera kyebava badduka mu makanisa gammwe kati olwokuba temukyabafunamu sente nemulowooza nti M7 yanazizaawo .
    Sirowooza nti M7 yonna gyawakankudde entalo kivudde kuba nti Kabaka tayagala kwogera naye , Kabaka waffe Baganda si wa M7 ayogere namawanga amalala amuvireko ddala .

    M7 alowooza nt Buganda anagifuula scape goat bwaaba yetenda amaanyi lwaaki tasigalayo mu Somalia nabazisimbagana nabazikutte oba better yet lwaaki talinda nabaganda nebamala nabo okuzikwaata netulaba ensisira bwezenkana emyooyo lwaaki alowooza nti anatweragirako ne Mamba nga ffe tuzigula muntuuyo zaffe ,tube nga tusigadde munda oba nga tuli bweeru.

    Abantu baffe natasobola kubawa malagala kubanga abagulira zi Mamba ezokubatta ne teargas nemundu,bosse e Somalia , M7 ne Congo ne Kenya ne Rwanda nawalala yonna bonna bakwesunga asooka okukukwatako nolweekyo ensonyi tozifuula busungu kugwa mu nsobi kutandika lutalo na Baganda abalwaana olutalo gwe nolowooza nti onoyitawio nobafuga ate nokujooga nojooga .

    Well buli kimu kiriko ekkomo , Kabaka gwewesibiridde oyagala kumuwa butwa nga bwemuzze mukola abantu bonna bobuwadde ? oba olowooza nti abantu tebabimanyi okuviira ddala ku PRO Yusufu Lule all over a suden afa era gwe amangu ago nga gwomuddira mu bigere oyinza okuba ngo bumansa mungeri eyo naye tomanya olibugabula naawe abaanabo ngo butegekedde mulala God is watching you :angry:

Viewing 7 posts - 1 through 7 (of 7 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.