Let’s face it, the Baganda abandoned their king

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyobulamu n Ebyenjigiriza / Health and Education Let’s face it, the Baganda abandoned their king

  • This topic has 4 voices and 3 replies.
Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • Author
    Posts
  • #18681
    MulongoMulongo
    Participant

    PLAINLY SPEAKING: Let’s face it, the Baganda abandoned their king
    By Nicholas Sengoba
    Monitor
    Posted Tuesday, May 25 2010 at 00:00

    Once again a stubborn piece of our history has risen from the ashes like the proverbial phoenix, landing in our midst and procuring yet more controversy.

    When the first President of Uganda who also happened to be the king of Buganda, Sir Edward Mutesa 11, died in exile in 1969, it was alleged that he had been poisoned by a woman, Tatu Sekanyo, sent by his nemesis Apollo Milton Obote. Earlier in 1966, Obote, the Executive Prime Minister, had ordered his army commander Idi Amin to storm the king’s palace after a stalemate between the central government and Buganda leading to the banishment of the king to far away London.

    It is said that Obote had wanted the king dead on that day which did not happen. When he died in 1969, it is claimed Obote had achieved a long time ambition through Tatu Sekanyo who apparently laced the king’s drink with poison. Fred Guweddeko, a researcher with Makerere University, has stated that it was the work of the then newly-formed State Research Unit which adopted the Israeli technique of using intelligence units to kill opponents of the State. The State Research Unit was formed in 1969 under the General Service Unit.

    But like most of Uganda’s poorly written or unwritten history, there is also another version. The one that claims that having been ousted from the Presidency and with that the desecration of his Buganda Kingdom, the king lived in exponentially humbled circumstances almost surviving on handouts.

    He fell from a magnanimous benefactor in huge palaces to a miserable jobless beneficiary in a one bed roomed flat paid for by friends. With many of his confidants moving on with their lives, the king became lonely and depressed, finding solace and refuge in hard liquor which eventually took its toll on him. Most Baganda one talks to do not give this version a second thought.

    Timothy Kalyegira, a journalist with the online publication, Uganda Record, says the immediate family of the late Sir Edward Mutesa in a report in 1971, was availed with a coroner’s report and were satisfied with the conclusions that the king had died of alcoholic poisoning (imbibing too much alcohol not taking poisoned alcohol, he emphasises). Despite the fact that some of the major players in this history like Tatu Sekanyo and many of those who were around the dead king in his last days are still alive, we hardly have a credible story from which to base an informed conclusion.

    We may hazard a guess. The death of the king makes many Baganda very uncomfortable for it lays bare many of the claims Baganda made and still make about their love and allegiance to the king. Baganda always swear that “woligwa wendigwa” (where thou shalt fall, so shall I or we). It gave and gives the impression that the Kabaka’s subjects were and are always ready to give not just an arm and leg but a full blooded body for the king’s life and well being.
    When Obote viciously came out in his contention with the king, he put the fear of God in the king’s followers and isolated him. They became like the biblical Peter and Jesus just before the cock crowed three times.

    It became taboo to associate or even talk about the Kabaka; which Christopher Ssebadduka captured in his song Taliyo “…okwogera ku Kabaka okiira ko awemudde…” (talking about the Kabaka was akin to uttering an obscenity because you would be persecuted.) The king found himself falling alone.

    Many believe that is the reason why many Baganda hold onto the poison theory. It shadows us from the blame we should rightly take for making a hollow or false promise to the king to live and die with him in health and sickness, wealth and poverty.
    But even if Obote’s agents poisoned the king, it still leaves Baganda embarrassed because it meant the king was still alone with no one to fall with him.

    Mr Sengoba is a commentator on political and social issues
    nicholassengoba@yahoo.com

    #26451
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Wewaawo tuwulidde emirundi mingi nga batemu bagezaako nnyo okulungiya side yaabwe naye nge kikulu tukimanyi nti obutemu bwaali bwakolebwa dda okuviira ddala Abaganda bwebakkiriza amawanga amalala okujja okusenga mu Buganda ekyeere kyotosobola kukola waabwe.

    Era kyoova olaba nga abo bonna abafuzi abazze bafuga bakola buli kya fujjo lyonna nga basinziira wano mu Buganda kyokka nga gyebava tebattayo wadde akawuka akamu.
    Ekintu abantu kyeberabira nti Ssekabaka waffe yennyini yali asobola okubeera mu mbeera yonna kuba nga era nemukukuzibwa bwebakuzibwanga okusobola okuguminkiriza mbeera ezitali zimu, ffenna tukimanyi nti obulamu osobola okubusangamu obusozi ne biwonvu kiri eri gwe okumanya bwobitebuka.

    Wadde Ssekabaka waffe bamutuusa mukifo ekifanana bwekityo naye teyali yekka yaliko abantu , era ngo muntu eyali alina omukwaano eri abantu be ebyamutukako singa byatuuka kumuntu yenna Katonda gweyatonderamu omutima yandyeralikiridde naye bino ebyabatemu abawoza omwenge nga bebamuwa obutwa ate nebanaabwe nebabayambako obutamujjanjabirawo wabula okumulinza nga bamuddusizza esaawa ne saawa mu dwaaliro bakakasize ddala nti webanamutukirako nga maze okuva mu bulamu buno obwokunsi nabo tubasabira Mukama abawe ekibonerezo ekyenkana mu kikolwa kyaabwe.

    Ebintu ebizze bikolebwa Abaganda nga mu basanga mu nsi yaabwe esaawa etuuse omuganda akyuuse naye kungeri ze kubanga bagamba nti ekisa kitta nenge etta,abatemu bebasinga okutya okufa, atenga mukwekangabiriza bebanamba emu
    Kyewunyisa okulaba nti abantu bangi bagezaako okuwa obwakabaka bwa Buganda erinnya ebbi nga balowooza nti osanga abantu banakeera nebabwegaana kubanga bagala okutekawo enfuga mwebabbira nokujonnyesa buli omu ago gabalimbye, mugezeeko kirala no mweeru yaremesebwa , kubanga yakisanga nti Abaganda byebagala bo kennyini bebabyeteseza nebamala okukkiriziganya nabyo okusobola okutambula obumu.

    #26452
    NkokoteyottaNkokoteyotta
    Participant

    Bino bikulu okumanya
    Ebbaluwa eyavaako okulumba olubiri ezuuse
    KAZIBWE BASHIR MBAZIIRA

    Ku bbalaza ya ssabbiiti ejja (muzigo 24) lwe giwera emyaka 44 ng’obwakabaka bwa Buganda bulumbiddwa gavumenti ya Milton Obote bwe yasindika amagye okuzinda olubiri lwa Sir Edward Muteesa II e Mengo. Eddoboozi likoze okunoonyereza ku bimu ku byaliwo ng’olubiri terunnalumbibwa.

    Oluvannyuma lwa Obote okuggalira ba minisita be abataano n’okuyimiriza ssemateeka nga 24-02-1966, embeera y’obunkenke yayongera okumaamira eggwanga era nga bannansi naddala mu Buganda baawangaalira mu kutya olwobutamanya kinaddirira.
    …………………………………………………………………………………………………………………………………………………………………………………..

    Appolo Milton Obote

    …………………………………………………………………………………………………………………………………………………………………………………..

    Liba teriri busa, Obote n’alagira basajja be okutikka ebintu bya Kabaka Muteesa byonna ebyali e Ntebe mu maka g’obwa pulezidenti ku loole, n’abimuweereza mu lubiri e Mengo. Yali amaze eggobe mu kibya era ekyaddirira, Obote kuyingira maka gano
    anti Muteesa yali amaze okumunaabira mu maaso!

    Ng’ennaku z’omwezi 02-03-1966, ssaabaminisita Obote yayisa ekirangiriro ekitongole mu Uganda Gazette nga bwe yali yeddizza obuyinza bw’omukulembeze w’eggwanga, nga buli kimu kyalina kutambulira wansi wa kusalawo kwe. Okunoonyereza okukoleddwa kukizudde nti Obote yatandika okukola kaweefube w’okukyusakyusa mu basirikale b’amagye.

    B’ofiisa abaali batamuwagira baali ba kutwalibwa mu bitundu ebyesudde Kampala, olwo asembeze abamuwagira yeekuumire mu buyinza.

    Ng’embeera eyongedde okuva mu nteeko, Sir Edward Muteesa yaddamu n’awandiikira Obote ebbaluwa ng’alaga obutali bumativu n’engeri gye yali akuttemu ensonga z’eggwanga. Ebbaluwa eno Muteesa gye yawandiika nga 03-03-1966 ng’alabula ku kabi akaali koolekedde eggwanga olwobwa nakyemalira, yasaanuula Obote era olwagifuna n’atandika okufungiza n’okuwawula emizinga egyalumba olubiri.

    Ebbaluwa y’eno wammanga:
    “Kaweefube gw’okoze okuleeta mu nsi muno obufuzi bwa nakyemalira mu ngeri emenya ssemateeka wa Uganda, era kwe wasinzidde okulangirira ebyo bye wayogedde eggulo, oteekwa okukimanyira ddala nti abantu b’ensi eno ebyo tebabiwagira n’akatono. Ekyo naawe wennyini okimanyidde ddala. Byonna by’ogenderera kati byeraga nti si by’ebyo omuntu alina omwoyo ogwokukolera ensi ye by’ateekwa okukola.

    Osaanidde omanye nti essanyu n’embeera ennungi ebya Uganda byonoonese olwebyo by’ogenda okukola okuviira ddala nga February 22,1966 ate nga biri bweru wa ssemateeka.
    Abantu b’omu nsi eno n’ensi zonna ez’ebweru, abalowooleza mu demokulasi, tebagenda kukkiriza n’omulundi n’ogumu ebikolwa ebyokunyakula obuyinza ssemateeka yennyini bw’eragira ddala nti Pulezidenti alondebwa palamenti so si muntu mulala yenna. Nze ku lwange siyinza kusemba mulundi n’ogumu ebyo byonna by’okoze mu ngeri emenya amateeka. Ka nnyongereko na kino nti, ebikolwa byo bifuuse bya kabi nnyo ku ebyo ebiriwo mu baganda baffe abalala mu Africa. Kubanga buli kisobyo kyonna ekiba kikoleddwa kyongera kuzitoya migugu gye balina gye batakyasobola kwetikka.

    Embeera eriwo mu nsi yonna ewanise abantu emitima. Kikwetaagisa okulaba nti tukola kyonna ekisoboka okuggyawo obweraliikirivu obwo so si kubwongera bwongezi.

    Nandibadde situukiriza buvunaanyizibwa bwange singa nkulekamu akakunkuna ojja kusuubira nti abantu b’ensi eno bayinza okusemba ebintu by’okoze ebimenya ssemateeka. Ebyokulabirako nkumu nnyo ebirabise buli wantu mu ggwanga ebiraga nti abantu baffe tebagenda kukkiriza kunyoomoola kutegeera kwabwe.

    Njagala ebbaluwa eno ogisome wamu n’eyo gye nakuwandiikira ku lwa February 28 1966.
    Sgd, MUTEESA, PRESIDENT

    #26454
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Effuttwa ,obutemu no bukyaayi bwebutuusa abantu okutuuka okuyisa banaabwe nga bo abataliva mu nsi muno nebalekawo buli kamu kebaba babbye kubalala kyoova olaba nga amawanga amalal makambwe bwekituuka ku kiki ekibakolebwa bo era kwekwesanga nga buli ayagala okukola ebikolobero asooka kwetegula kubanga aba akimanyi nti abewaabwe tebajja ku mukkiriza .
    Yensonga lwaaki mu Buganda tukulembeza mpisa kubanga tukimanyi nti zezikulaga omuntu kyaali nebweyakuzibwa , oyinza okwebuuza omuntu omu alina kutta bantu bameka namatira nti kati kyenkoze kimala ,mukusooka nnali newuunya abantu abasunguwalira abantu ababa babakoze ekibi nga batuuse okukibbasasuza naye kati sikyewuunya ,ngamba bugambi nti buli ou kyasiga kyakungula.
    Naye Obuganda bwebulyenunula bulituula wansi nebusooka bulengera gyebuvudde.

Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.