LINNYA KI LYE TUBA TUTUUMA RADIO YAFFE ENGANDA

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Rediyo ya Baganda / Baganda Radio LINNYA KI LYE TUBA TUTUUMA RADIO YAFFE ENGANDA

  • This topic has 8 voices and 13 replies.
Viewing 14 posts - 1 through 14 (of 14 total)
  • Author
    Posts
  • #18865
    KulabakoKulabako
    Participant

    A bakiise muleete erinnya erija mu radio yaffe nze ndowozezaayo lirino Kawulizingannyo

    #19244
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Ndabawo wali Ababaka.com radio. Tujongereko neddala? Ye wamma ebeere ne bbatize neGganda.Oba tugituume Yekutule.

    #19254
    JonaJona
    Participant

    Tugiyite “Buganda Radio”

    #19255
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Jona ssebo oli mutuufu ngogyeeko nti teri noomu yali atutte linnya elyo ka nolweekyo ngataako kubakubawagidde erinnya eryo

    #19264
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Good idea. Nange mpagidde, tugitume Radio Buganda.

    #19285
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Radio Buganda — linnya ddungi. Naye tebalitwaalanga?

    #19292
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Singa baali balitwaala dda wandiwulidde yeyandisoose okuggala.
    Wali okyetegerezza nti amawanga amalala gasobola okweyita oba okkola ebintu ebyaago kubwaago netaba noomu awuuna?.
    Naye Omuganda agambeko nti kino kyange kubwange olyooke owulire buli omu bwakayana nga bwasosoleddwa, nga batandika okunyigawo ennimi endala . Kyesirowooza nti bwooba otambudde mu mawanga amalala onosanga ngabataddeko oluganda okusobola okubanguyiriza bamanye ekifa mu bitundu byaabwe ngo gyeeko akakodyo kobutaniriza bagwiiira akasooka okulabula nti wano ojjawo kululwo naye oyinza obutakeesa nga tebana kuwuula migoba nte.

    #19293
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Kati ndowooza ekyo kiwedde, radio egenda kuyitibwa ya Buganda. Oh Mpozzi abantu bakyakuba akalulu. Nze mbadde mmaze n’okubala.

    #19315
    MulongoMulongo
    Participant

    Kigongo wrote:

    Quote:
    Radio Buganda — linnya ddungi. Naye tebalitwaalanga?

    Kyeekyo kyenyini, ate kyansonyi nti tubadde tetukimanyi. CBS era yeyitibwa Radio yobujajja ate nga ye Radio Buganda. Naye nze mpulira nga CBS, naye mbadde sifunanga ndowooza mukisa guwulira nga bagiyita erinnya lino. Okwo kwekwewolereza kwange. Ate naagamba ki?

    Link yeno eye site okuli erinnya lino;

    http://gandaspace.com/modules/radioadverts/submitadvert/index.php

    Kati mpozzi kyetusobola okukola kwekutuuma eno Baganda Radio[/b, nga mu lwaffe kyetuyita Rediyo ya Baganda. Era tulabika mpola mpola tuzzeyo ku Ababaka radio mu bimpimpi.

    #19337
    KulabakoKulabako
    Participant

    Baganda radio nange nkiwagidde netugyeyitira nti redio ya Baganda

    #19339
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Awatali kubuusa buusa Baganda radio oba mu lwaffe radio ya Baganda kiwulikika na bulungi nnyo

    #21289
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Mu ssabbiiti ejja, Radio ya Baganda etandika okuweereza ennyimba ezigendera ku kiseera kino Buganda mweeri. Nga tumaze okukkalira mumwaka omujja, ne programmes eziri live zijja kutandika.

    Abakiise mwenna tubagaliza ssekukkulu ennungi nomwaka omujja ogwe sanyu, obulamu, emirembe nobugagga – ne mikisa emirala gyonna egiva ewo Mutonzi.

    #21290
    MubiruMubiru
    Participant

    “Radio Buganda” lyandibadde linya ddungi, naye mu bwangu oli ayinza okuwulira nga abagambye “Radio Uganda”

    “Buganda Radio” ndowooza nti lyandisingako.

    #21297
    KulabakoKulabako
    Participant

    http://www.freedownloadscenter.com/Web_Authoring/Multimedia_Web_Authoring_Tools/Wimpy_MP3_Player

    nfunyeobuzibu okuyimbisa ekigunda naye kandabe oba eno wimpy enekikola kuba obwedda engamabnti update flash adobe nenkikola negaana okuyimba naye ku computer endala nga kuliko
    wimpy player kati katulabe

Viewing 14 posts - 1 through 14 (of 14 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.